TOP
  • Home
  • Gallery
  • Bp. Ssebaggala ne Kakooza be bakulembeddemu ekkubo ly’omusaalaba e Mukono

Bp. Ssebaggala ne Kakooza be bakulembeddemu ekkubo ly’omusaalaba e Mukono,

by Henry Nsubuga

Added 19th April 2019

Abakulembeze b’eddiini okuli atwala klezia mu ssaza ly’e Lugazi Bp. Christopher Kakooza ne munne etwala obulabirizi bw’e Mukono, Bp. James William Ssebaggala be bakulembeddemu nnamungi w’abakkiriza abeetabye mu kutambuza ekkubo ly’omusaalaba ku Lwokutaano olutukuvu ku makya.

Bano batandikidde Wantoni mu kibuga Mukono nga Bp. Kakooza ne Ssebaggala be baatandise n’okusitula omusaalaba ne baguggya oluguudo lw’e Katosi we lutandikira okuva ku luva e Kampala okugenda e Jinja ne bagutwala okutuuka ku kkanisa ya St. Dunstan.

Msgr. Richard Kayondo nga ye mubeezi wa Bp. Kakooza agambye nti ekkubo ly’omusaalaba lino lyatambuziddwa ku mulamwa ogugamba nti, obukulu bw’amaka n’engunjula y’abaana.

Kayondo asabye abazadde okugunjula obulungi abaana n’amaka okubeera obulungu. “Omwana okukula obulungi alina okubeera n’amaka mw’ava. Engunjula ennungi ey’abaana erina kutandikira mu maka gaffe amalungi. Amaka amalungi g’ego agawa eky’okulabirako ekirungi mu bulamu ne mu mpisa. Abaana ab’empisa ennungi baba baziyigidde ku bazadde baabwe. Mu mpisa ennungi mwe muli okwagala Katonda n’okwagala bantu bannaffe nga tubaagaliza ebirungi, okuyamba abali mu bwetaavu, okuba abagumiikiriza nga twewa ekitiibwa ate nga tukiwa ne bannaffe,” Kayondo bw'agambye.

Ono era abasabye okwewala okuyomba n’okuvumagana n’okumatira n’ebyo bye balina, okuyiga okukola n’okwebezaawo ssaako okubeera ab’empisa.

Ekkubo ly’omusaalaba lino lyetabiddwamu eyaliko omubaka wa palamenti owa Mukono South, Rev. Peter Bakaluba Mukasa, meeya wa munisipaali y’e Mukono George Fred Kagimu n’abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...