TOP
  • Home
  • Gallery
  • Ssaabalabirizi Ntagali avumiridde abakulembeza ssente ,mu buli kimu

Ssaabalabirizi Ntagali avumiridde abakulembeza ssente ,mu buli kimu,

by Lawrence Kizito

Added 19th April 2019

SSAABALABIRIZI w’ekkanisa ya Uganda Stanely Ntagali asabye Abakrisitaayo okulekeraawo okukulembeza  ssente mu bulamu bwabwe, wabula beekwate Yesu Kristu.

Bino abyogeredde ku lutikko ya All Saints e Nakasero, ng’akulembeddemu Abakristaayo okutambuza ekkubo ly’Omusaalaba.

“Ennaku zino abantu batunuulidde nnyo sente ne balemwa okutaasa emyoyo gyabwe. Wabula wadde balina sente naye basigadde balulunkanira n’ebintu ebirala ekivuddeko ebikolobero omuli obubbi, okutta n’ebirala okweyongera.” Ntagali bwe yagambye n’abawa amagezi okunoonya Yezu Kristu eyakomererwa ku musaalaba nga yekka yasobola okubajjuza n’okubamalako ennyonta y’ebintu.

Yenyamidde olw’Abakrisitaayo abasigazza amannya, naye ng’ebikolwa byabwe byesitaza, n’abasaba okukozesa olunaku luno okwezza obuggya.

Ntagali era ayongeddeko nti okutambuza ekkubo ly’Omusaalaba lye limu ku kkubo e Kanisa mweyita okubunyisa enjiri ya Kristu eri abantu b’okunguudo, nga bababuulira obukulu bw’omusaalaba ne Kristu eri obulamu bwabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola...

Eby'abayizi 15 abaagaaniddwa okukola ebya S.6 biranze

Capture 220x290

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130...

Gavumenti yeetaaga obuwumbi 130 okusasula aba LDU

Capture 220x290

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde...

Ekirombe ky'amayinja kibuutikidde bana

Abamukubantuabeetabyekumukologwokutongozaenkolayapulezidentieyemyoogaemasaka2 220x290

Bakalaatidde abakulembeze okuggya...

Mu nkola eno abakozi b’emirimo egifaanagana baakwekolamu ebibiina by’obwegassi n’okutereka ensimbi nga bino gavumenti...

Sseka 220x290

Abaatemyetemye ssemaka ne banyaga...

Baamutemyetemye ebiso ne bamusaba ssente zaalina kwe kuzibawa ne mukazi we ne bamuyisaamu ensambaggere olwo ne...