TOP
  • Home
  • Gallery
  • Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira,

by Muwanga Kakooza

Added 19th April 2019

 

Okuva e Namirembe, Omulabirizi Kityo Luwalira y'akulembedde Abakrisitaayo okuyita ku ssomero ly’abaana abaliko obulemu ekya Kampala School of the Physically Handcaped n’ayitako ne mu ddwaliro e Mengo. Ono yasabye sayansi ne tekinologiya atabuse ennaku zino obuteerabiza bantu Katonda n’agamba nti balina kumweyambisa kubunyisa njiri.

Yakubirizza abantu okukuuma emirembe n’okwagala. N’abasaba obutatambuza kkubo lya musalaba nga kinyumu naye beefumintirize ku Yesu bye yabalagira.

Abakrisitaayo abalala baavudde  ku Kkanisa ya All Saints e Nakasero mu Kampala nabo ne batambuza kkubo lya musalaba okutuuka ku kisaawe e Kampalamukadde.

Eno beegatiddwako Abasodokisi abaavudde e Namungona abakulembeddwa Fr. Emmanuel Ssekyewa  n’abakirizza abalala okuva mu Maklezia agatali gamu mu Kampala okwabadde n’abavudde e Mbuya abaakulembeddwa Bwanamukulu w’ekigo kya Our Lady of Africa Fr. Anthony Kibira Kimbowa.

Oluvannyuma amaddiini gonna geetabye mu kusaba okwa wamu ku kisaawe ky'essomero lya Old Kampala  ne beetaba mu kusaba kw’amaddiini gonna okwakulembeddwa Ssabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda,  Stanley Ntagali. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...