TOP
  • Home
  • Gallery
  • Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!,

by peter ssaava

Added 23rd April 2019

ABADIGIZE baakedde kweyiwa mu kifo ekisanyukirwamu ekya Hakuna Matata Fun City e Nansana- Naluvule okunyumirwa emiziki gya Easter Monday wabula kyababuuseeko bwe baalinze abayimbi nga teri n'omu alabikako.

Ekivvulu kino kyategekeddwa pulomoota eyategeerekeseeko erya Roger owa Roger Promotions.

Ono yalanze abayimbi okwabadde ; Cindy, Fresh Kid, Madrat ne Chiko ssaako abalala bangi wabula bano tekuli n'omu yalabiseeko.

Ku ssaawa 2 ez'ekiro waliwo omukyala eyalinnye ku siteegi n'atandika okuyimba ennyimba z'abayimbi omuli n'abaafa ng'ono abadigize baamukubye olube nga bwe bamulagira okuva ku siteegi.

Ekyaddiridde kuggyako byuma okumala eddakiika 30 olwo abadigize ne batandika okulangira eyategese ekivvulu nga bw'agenda okutta ekifo kya munne olw'okufera abadigize.

Oluvannyuma ebyuma byazziddwako wabula nga Roger yadduse dda era bano mu kifo ky'okwetonda n'okubuulira abadigize ebyazzeeko baatandise kubakuba muziki mukalu ekintu ekyanyiizizza abadigize ne beekandagga ne bafuluma ekivvulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana