TOP
  • Home
  • Gallery
  • Belinda Nansasi omusuubuzi w’engoye e Ntebe awangudde eza Miss Curvy

Belinda Nansasi omusuubuzi w’engoye e Ntebe awangudde eza Miss Curvy,

by Josephat Sseguya

Added 27th April 2019

OBUNKENKE bwabadde mu mpaka z’abobubina, abawala bwe beewanise emitima nga balwanira okuziwangula ekyaleetedde omuwanguzi okulangirirwa n’afuna kammunguluze ekyatiisizza baminisita Kiwanda, Ruth Nankabirwa n’omutegesi waazo Annie Mungoma nga balowooza nti azirise.

Zaabadde ssaawa 7:30 mu ttumbi, ku wooteeri ya Imperial Royale gye zaabadde ku Lwokutaano, ng’okulangirira kunaatera ekyaleeredde buli eyeesimbyewo okukola ekisoboka awangule era omu ku beesimbyewo, kwe kuwa ebyafaayo by’obufumbo bwe nti; ‘Nze mpise mu bizibu bingi olwa sayizi yange (alina kiro 125), baze yatuuka n’okunvuma nti nninga embizzi.’ Awo we yakomye n’akaaba abantu ne batandika kumusaasira.

Wadde talina kabina kanene nnyo ate nga teyayawula bulungi, Maria Namukasa nga musomesa wa nasale e Busega yakutte kyakusatu wabula era ye yasinze bonna okuddamu obulungi ebibuuzo.

Maria Praise Nansamba akola mu TASO e Ntebe ye yakutte eky’okubiri ate Belinda Nansasi omusuubuzi w’engoye e Ntebe ye yasinze.

Nansasi era ye yasinze okuyaayaanirwa abantu n’awangula ekifo kya ‘Miss Popularity’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...