TOP
  • Home
  • Gallery
  • Rebecca Jjingo ayimbye ennyimba z'eyali muninkini we ng'ajaguza emyaka 18 mu nsiike

Rebecca Jjingo ayimbye ennyimba z'eyali muninkini we ng'ajaguza emyaka 18 mu nsiike,

by peter ssaava

Added 27th April 2019

Abadigize abeeyiye mu bungi ku Club Obligato ku Lwokutaano mu kivvulu kya Rebecca Jjingo baakanze kulinda eyali bba era taata w'abaana be, Roy Kapale okuyimba wabula ekivvulu kyawedde talabiseeko. 

Wadde Jjingo yali yategeeza nti ng'ajaguza emyaka 18 mu kuyimba, agenda kuleeta Roy Kapale ayimbe naye tekyasobose era ono bwe yazze ku siteegi n'ayimba oluyimba lwa Roy Kapale olwa "Ebitaala bintadde " olwo enduulu n'eraya era abadigize baalabiddwako nga beekuba obwama ng'eno bwe beebuuza ekiriwo.

Baamubuuzizza lwaki ayimbye oluyimba olwo n'ategeeza nti "oli taata wa baana bange, yonna gy'ali mmusabira mikisa era nnabadde mmanyi anaabaawo naye nze kanzannyewo 'part' ye kuba amateeka ga 'kopirayiti' tegankwata."

Rebecca yawunze mutabani w'omukulembeze w'eggwanga, Gen Muhoozi Kainerugaba bwe yamuwadde obukadde 10 mu kivvulu kye. 

Ssente zino Muhoozi yazitisse omu ku bajaasi abakuuma Pulezidenti Museveni aba Special Force Command (SFC), Canole Magezi  .

Ono yaddiriddwa Kiyimba Free Man eyawadde Rebecca Jjingo akakadde kamu era n'ategeeza nga bw'atayinza kwerabira lwe yali afiiridde ku lyato omwaka oguwedde n'agamba nti wadde baabayeeya ne babavuma naye yeebaza bonna abaafaayo okubasabira ssaako okwebaza nabo abakyabasabira. 

Ekivvulu kino kyabaddewo eggulo ku Lwokutaano. Abadigize Jingo yabakubye omuziki gwa layivu bbandi ne basiima era ng'ono obwedda atuuka nayogera ku linnya lya Joel Isabirye olwo enduulu neraya. 

Rebecca Jingo yakyusizza ebyambalo emirundi esatu okwabadde n'ekiraga ebisambi nga kino kyaleese abasajja amabbabbanyi olwengeri gye yabadde azinamu mu ngeri esoomooza. 

Abayimbi bangi abaamuyimbiddeko okuli; Mariam Ndagire,  Angella Kalule,  Sophie Gombya, Betina Namukasa, Flash Love,  Flavia Mawagi nabalala bangi era ng'ono yayimbye ennyimba ze zonna okuli n'olweyali bba Roy Kapale olwa "ebitaala bintadde ".

Yamalirizza na mazina Maganda ge yazinidde ku luyimba lwa "Ndabirawa "

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...

Sula 220x290

Abadde yeefudde mmo okubba abagagga...

POLIISI ekutte omukazi agenda mu bbaala ne wooteeeri ez’ebbeeyi okusikiriza abasajja okumukwana oluvannyuma n’abakuba...