TOP
  • Home
  • Gallery
  • Bobi kata asse Barbie ensonyi ku siteegi

Bobi kata asse Barbie ensonyi ku siteegi,

by Moses Nsubuga

Added 27th April 2019

Bobi wine assizza Barbie ensonyi ku siteegi ne yeekwata ne mu feesi bw'anyumirizza abadigize nga we yasooka okufuna kiisi ya Barbie esooka e mabega wa siteegi ya National Theatre

Barbie yakanze kwebika mu fesi ba bwamusunako yekomeko naye nga waa Bobi agenda mu maaso ku nyumizza abadigize ebalabise nga banyumiddwa ennyo embozi eno, anti obwedda bwasirikamu nga babwatuka lumu saako n’okukuba engalo nobululu.

Guno gwe mulundi gwa Robert Kyagulanyi ogusoose okulabika mu bantu oluvannyuma lw;okumla ennaku ng'agobagana ne Poliisi lwa kuwera kivvulu kye.

Bobi yabadde ku National Theater mu muzannyo gwa 'Zansanze'  oguzannyibwa n’okutendekebwa John Segawa  nga gukwata ku byabufuzi, obukenuzi, n’obulyake obuli mu ggwanga. Segawa ye yayise BobiWwine aggye ng'omulabi omukulu.

Mu kusooka wabadewo obukenke mu badigize bwe baalabye Hon Robert Kyagulanyi ng’atuuka. Ono yayingidewo ne ba kanyama be abasuka mu 10 nga bakulira Eddie Mutwe, ababaka ba palamenti omwabadde Latif Ssebagala ( kawempe North ) Francis Zzaake ( Mityana Munisipaali ) n'abalala.

Abantu baasoose kutya nga balowooza poliisi yandibasalako munda.

Omuzannyo olwawedde John Segawa nayita Bobi wine bwaba asobola agye ayogereko eri abantu.

Bobi yazze musanyufu era yasoose kutema ddansi n’okwebaza abazannyi olw'okwolesa obuvumu n'obukugu mu muzannyo guno.

Mu kwogera yasoose kubanyumiza gyenvude we ne Theatre eno nti mwe baasooka okwenywegera ne Barbie emyaka 17 emabega era okuva olwo omukwano gwabwe teguddanga mabega n’okutuusa kati.

Yagambye nti Barbie yali muzaanyi wa katemba era ku National Theatre gye beesanga nga bazannya omuzannyo gwa 'lady will u marry me', Barbie mwe yazannyira nga 'First lady ate nga Bobi ye Pulezidenti nti era wano ne ng'ombo eno we yagiggya.

Bino obwedda abinyumya nga Barbie enthonyi zibula okumutta anti nga bba attottolera abantu gyenvudde w’omukwano gwabwe wakati mu kusakaanya n’obugalo obwabadde obwamaanyi.

Bobi Wine bwe yabuuziddwa lwaki yafiiriza eggwanga ng'aggya Barbie mu katemba yabazzeemu kimu nti “Buuza maneja” okukira Fresh Kid.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera