TOP
  • Home
  • Gallery
  • Poliisi eridde matereke ne bannabyabufuzi abeetisse omulambo gw’omusajja eyafiiridde mu kaduukulu kaayo

Poliisi eridde matereke ne bannabyabufuzi abeetisse omulambo gw’omusajja eyafiiridde mu kaduukulu kaayo,

by Paddy Bukenya

Added 30th April 2019

ENSASAGGE egudde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mpigi nga poliisi erya amatereke ne bannabyabufuzi abeetisse omulambo gw’omusajja eyafiiridde mu kaduukulu kaayo ne bagezaako okugusuulira RDC.
 
Yabadde nsiitaano yennyini nga bannabyabufuzi abaakulembeddwaamu eyavuganyaako ku bwapulezdenti Walter Lubega Mukaaku abaavudde mu ddwaaliro e Mulago n’omulambo gwa Swaibu Lugemwa, ow’abaana abasatu eyafiiridde mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi bubeefuka n’abaserikale abaabadde babeetegekedde okubatangira okusuulira RDC omulambo.
 
Mukaaku ne banne nga bali n’aba famile ya Lugemwa baasoose kutwala mulambo ku poliisi kyokka bwe baabasuulidde emisanvu ne basalawo okugutwala mu ofiisi ya RDC wabula baabadde batuuka ku kitebe kya disitulikiti poliisi n’ekwata abaabadde basitudde omulambo.
 
Abalala olwalabye nga bannaabwe babakutte ne bagusuulawo ne badduka. Aba poliisi baayisizza bubi Mukaaku nga baamunyodde emikono n’okumunyiga obusajja n’akuba omulanga ogwomwanguka kyokka ekyo tekyabalobedde kumuyoola ng’akasaaniiko okumufulumya.
 
Yagezezzaako okwekwata ku mitayimbuwa gy’oku luggi lwa RDC olw’ekyuuma, abaserikale ne bamala eddakiika nga 15 nga bamusikako kyokka ng’akutteko nga ppati.
 
Bwe baamumaamudde ku luggi lwa RDC, ne bamuwalabanya okumufulumya kyokka baabadde bamutuusa ku madaala agafuluma ekizimbe n’abasambasamba era abamu n’abayuliza ebyambalo olwo n’abeekwatako mu magulu n’abalemesa okumufulumya.
 
Wabula baasonze amaanyi ne bamusitula mu bbanga okumutwala ku kabangali ya poliisi okwabadde omulambo.
 
Baasoose ne bamuyingiza kabangali omwabadde omulambo kyokka n’asambasamba abaserikale n’abuukayo, oluvannyuma ne bamukaka okuyingira mmotoka endala mwe baamutadde okumutuusa ku poliisi e Mpigi we baamuggalidde.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu

Kiteb13webusemubuulo 220x290

Abatundira ku nguudo baweereddwa...

Abasuubuzi abakolera mu katale ak'omu buulo n'ababadde bakolera ku kkubo mu bitundu by'e Kabowa - Wankulukuku –...

Olukiiko lwa Bobi Wine luli mu...

POLIISI eyiye abaserikale baayo mu Ndeeba okuziyiza olukiiko lwa Bobi Wine lw’ategeseeyo olwaleero; okwebuuza ku...

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be