TOP
  • Home
  • Gallery
  • Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote

Buganda ejjukidde emyaka 53 bukya Lubiri e Mmengo lulumbibwa Obote,

by Dickson Kulumba

Added 26th May 2019

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okwongera okwetanira obumu era bwekwate ku Kabaka nga bwebazimba enkulakulana ya Buganda okudda ku ntikko.

Bino byabadde mu bubaka bwe obwamusomeddwa Omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa mu kusaba kw’okusabira Obwakabaka ne Kabaka ku muzikiti e Kibuli ku Lwokutaano May 24, 2019 okujjukira emyaka 53 bukya Gavumenti ya Uganda ng’ekulemberwa Obote bwerumba era neekuba olubiri lw’e Mmengo nga May 24, 1966.

“Nga tujjukira okulumbibwa kw’Olubiri twebaza Katonda nti Obwakabaka bwaddawo kati emyaka 26 egiyise. Tusaba Katonda akuume Kabaka waffe ate akuume eggwanga lyaffe Buganda ebyo ebyaliwo mu 1966 bireme kudda mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu,” Mayiga bweyategezezza mu bubaka bweyatise Nsibirwa.

Okusaala kuno kwakulembeddwamu Sheikh Yusuf Mutimba ng’ono yegayiridde Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni okusonyiwa abasibe naddala abasiramu abasibibwa obwereere.

Jjajja w’Obusiramu Omulangira Kassim Nakibinge, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa, Minisita w’ettaka,eby’obulimi,obutonde bwensi ne Bulungibwansi Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, LoodiMeeya Erias Lukwago n’abaami abalala okuva e Mmengo betabye ku mukolo guno.

Lukwago yasabye bannabyabufuzi naddala abali mu buyinza bw’okufuga eggwanga ekiseera kino, balwanirire emirembe mu ggwanga n’okutambuliza eby’obufuzi ku mazima n’obwenkanya kubanga okuva okugavaako kyekyaleeta akatyabaga ka 1966.

Mu ngeri y’emu, Olukiiko lw’Abazzukkulu ba Buganda International bategese omusomo gw’okujjukira okulumbibwa kw’olubiri n’okuwangusibwa kwa Ssekabaka Muteesa II ku J-Frigh Hotel e Kikoni- Makerere.

Eyaliko Katikkiro wa Buganda Dan Muliika yasinzidde mu musomo guno nategeza abavubuka nti obuvumu n’obuvunanyizibwa bw’okulwanirira ensonga za Buganda buli mu bavubuka era naabasaba okwetegekera embeera eno nga banoonyereza, okusoma ebyafaayo ate n’okwebuuza ku bantu abakulu abakyaliwo.

Polof. Lwanga Lunyigo nga yeyabadde omusomesa omukulu yategezezza aabantu ba Bugand aokwekubamu ttooki ng’ensonga za Buganda bwezibeera zibalemye, bagende betabe mu za Uganda ezawamu kubanga mu by’obufuzi bwa Uganda,baliyo batono naddala mu bibiina by’obufuzi.

Ng’ayogera ku miteeru egyaava mu 1966, eyaliko minisita wa Bulungibwansi e Mmengo, Ssewava Sserubiri Walungama yategezezza nti enjegga eno yaleeta obwavu,obukyaayi,okusasanya famire n’okubulwa emmere ng’abantu tebakyalya kukuta era basigaza malwaliro amanene agatalimu ddagala.

“Kyaali kizibu Ssekabaka Muteesa II okutegera Obote kubanga yali akulembeddwa abantu abaali bekweka nga si Baganda. Abaganda tuli mu kizibu kinene nga tukulemberwa abantu abatali 100 ku 100.Buganda ekiseera kino eri mu buwambe. Ettaka n’ebintu byaffe bannaffe babitwala. Ettaka liriko ebyapa bisatu,abantu batemulwa misana ttuku,” Sserubiri bweyategezezza.

Yategezezza abantu ba Buganda okusigala nga bebuuza ekibuuzo nti abaalaga obukyaayi obwenkanidde awo ku Ssekabaka Muteesa II singa leero bakomawo, bameka abeetefuteefu okulwanirira Obwakabaka bwatyo naabakuutira okulambika abaana mu buwnagwa bwaabwe.

Ye Omuwandiisi w’ekibiina kino, Mubiru Njuki yasabye Mmengo okuddamu okulowooza ku ky’okutegeka omukolo omunene ogw’okujjukiraobulumbaganyi buno saako n’okulaba ng’ebika biwagirwa n’okumalirizibwa omulimu gw’amasiro kubanga bino biswaaza Obwakabaka.

Omukolo gwetabiddwako abazaana ba Kabaka ababeera mu masiro e Kasubi, abavubuka ba Nkobazambogo,Bangawa n’ebibiina ebirala saako Mukyala Safina Ntongo Kavuma eyavudde e Bungereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze