TOP
  • Home
  • Gallery
  • Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala,

by Joseph Mutebi

Added 18th July 2019

NAKOMYEWO awaka eggulo (Lwakuna) nga bukyali ne tuyingira mu nnyumba ne tutandika okusiika kabalagala. Awo we nakomye okutegeera, hhenze okudda engulu nga ndi mu ddwaaliro bantaddeko amacupa.

Nakitegedde luvannyuma nti mukyala wange, Prossy Namata yafudde. Maurice Ssali omutuuze w’e Bulenga mu zooni A, y’annyonnyola ebyabatuseeko nga beggalidde mu nnyumba yaabwe ekiro.

Ssentebe w’ekitundu, Luyimbaazi Bisaso agamba nti abafumbo bano baasembyeyo kubalabako kawungeezi mu maka gaabwe nti kyokka bwe bwakedde, baaluddewo okuggulawo kye batakola bulijjo era bwe baakutte ku luggi nga luggalire munda.

Abatuuze baasazeewo okuyita poliisi eyazze n’emenya oluggi kwe kusanga nga Ssali aboyaana takyategeera kyokka nga mukyala we ye mufu. Ssali yatwaliddwa mu kalwaliro mu kitundu okumukolako.

Kiteeberezebwa nti abafumbo bano amanda ge baabadde bafumbisa nga beggalidde, gaavuddemu omukka ogw’obutwa gwe baasise.

Kigambibwa nti Namata okufa amangu yabadde lubuto ng’omubiri gwe mugonvu. Nnannyini mayumba gano Michael Kategano yagambye nti abafumbo bapangisa be balungi era abavubuka abato abakkakkamu.

Ku mayumba ge babadde baakamalako emyezi musanvu era abadde talabanga muntu yenna gwe bayombye naye.

Akulira poliisi y’e Bulenga, John Byamugisha yawadde abatuuze amagezi okukomya okufumbira mu nnyumba kubanga agamu ku manda ge bafumbisa gaggyibwa mu miti gya butwa ng’omuntu bwasika omukka ogugavaamu bwe gwegatta n’ebbabe lya butto bifuuka butwa obw’obulabe eri abantu.

Yayongeddeko nti mu mbeera y’emu era abantu abamu babeera n’endwadde endala mu mibiri nga baziyira mangu.

Ssali kyategeerekese nti nzaalwa y’e Gogonya mu Wakiso ate Namata w’e Mityana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got2 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi...

Obadde okimanyi nti butto w’ekisubi akola ku musujja mu bantu, enkoko n’ebisolo ? Soma wano mu mboozi y'omukenkufu...

Lab2 220x290

Bawadde endowooza ku Ssemateeka...

Bawadde endowooza ku Ssemateeka

Kcca1 220x290

Mutebi awawudde abazannyi be

Lwokutaano, KCCA yeetegekera kuddiηηana ne African Stars ey'e Namibia, mu CAF Champions League e Lugogo. Mu gwasooka,...

Aviv 220x290

Aviv akubye ku mattu

Aviv, eyamenyekera mu kutendekebwa mu Amerika omwezi oguwedde wabula kati ali mu mbeera nnungi ng’era empaka za...

Kip2 220x290

Kkooti ewadde Lukwago obukadde...

Kkooti ewadde Lukwago obukadde 600