TOP
  • Home
  • Gallery
  • Bba wa Nabukenya ayagala Gen. Tumwine anoonyereze ekyasse mukazi we

Bba wa Nabukenya ayagala Gen. Tumwine anoonyereze ekyasse mukazi we,

by Paddy Bukenya

Added 28th September 2019

Kino kyanakuwazza abakungubazi era abamu amaziga ne gabayitamu. Mu kuziika okwabadde e Kabira mu ggombolola y’e Kammengo mu Mpigi, bba Wissey Kitto baamuyise ayogereko eri abakungubazi era olwakutte akazindaalo nga bw’akaaba n’asaba minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine eyabaddewo mu kuziika amuyambe amuzuulire ekyasse mukaziwe.

“Gen Tumwine kiki ekyasse Deborah era lwaki? Kubanga n’omwana wange omukulu akedde kukimbuuzza nti naye Daddi bulwadde ki obwasse mnami, Kitto bwe yeebuuzizza.

Yagambye nti n’abasawo obulwadde obwasse Nabukenya bwabasobedde nga tebabulabangako kubanga yabadde aggwaamu omusaayi ne kibatabula.

Yakukkulumidde Gavumenti olw’okukozesa mukaziwe ng’akalogoyi n’atafuna budde bwa famire ye wadde yali abasuubizza nti mu maaso bajja kweyagala ekitatuukiridde. Kitto yasabye bannaddiini okumusabira kubanga okufiirwa omukazi gw’okolagana naye obulungi si kyangu ng’ate asigazza n’omulimu gw’okukuza abaana.

Muganda w’omugenzi Moses Matovu yagambye nti y’afuna okutya nga Nabukenya awereddwa obwa RCC e Kawempe kubanga ofiisi eyo yali agimanyi nti sinnyangu kyokka bwe yayogera ne Nabukenya n’amulaga nti mumalirivu okukola.

GAVUMENTI ETENDEREZZA OMUGENZI

Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine yatenderezza Nabukenya olw’okubeera omukozi n’okulwanirira ekibiina kya NRM n’asaba abavubuka abavumaganya eggwanga lyabwe nga bakola ebikolobero okulabira ku mugenzi bakulaakulanye eggwanga lyabwe.

Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba akubagizza famire ya Nabukenya n’asaba aba NRM obutatiiririra kibiina kyabwe nga Nabukenya bw’abadde era n’amwebaza okuyamba NRM okuwangula ebifo by’obwassentebe bw’ebyalo mu Kampala.

Awaddeyo amabugo ku lw’ekibiina kya NRM ga bukadde butaano n’awa ne bba Kitto ebbaasa ne bazadde b’omugenzi. RDC wa Luwuka, Pamera Watuwa n’eyali RCC wa Nakawa, Jackie Kemigisha abayogedde ku lwa mikwano gy’omugenzi batenderezza omugenzi okubeera omukozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata