TOP
  • Home
  • Gallery
  • Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa

Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa,

by Samuel Balagadde

Added 3rd November 2019

Abasaabaza enseenene bakubye aba tulafiki ekimmooni ne baziyingiza Kampala nga ziri mu madirisa!

ABASAABAZA enseenene  okuva mu byalo bakubye poliisi y'ebidduka ekimmooni ne baziyingiza  Kampala  nga  ziri mu madirisa ga mmotoka endala waggulu ku bbonti ne ku bbuutu  nfa kino kimenya mateeka agafuga ebidduka  n'okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Abamu ku ba tulafiki  bwekyabayitiriddeeko , beefudde abatalaba kigenda mu maaso  nga batya abantu abaabadde nabo abali ku mugano ng'ogwenswa nga  baaniriza  enseenene ezaabadde  ziyingira Kampala mu bungi.

Mu kisaawe ky'e Katwe  ekirin emabega w'akatale ka Kakaba ak'e Katwe nga kino kyekimu ku bifo  ekyassibwawo ekitongole kya KCCA ebitongole mu Kampala omulina okutundirwa e nsenene  mmotoka zaatandise okuyingira okuva ku ssaawa munaana  ogw'ekiro  ekyakeesezza ku Lwomukaaga.

Bangi  ku bakozi mu mu butale obw'enjawulo mu Kampala  baavudde ku by'amaguzi bye babadde  basuubula  mu nkola  eya bulijjo ne badde ku nseenene nga kati ky'ekyettunzi.

 Abamu  basuubula bukutiya oluvannyuma nebatandika okuzirejjesa nga bapima za 1,000/- n'okudda waggulu ate abalala bazikongola ne bazitunda nga tekuli byoya nga tampeko y'enkongole etandikira ku 4,000/- okudda waggulu ate abalala bwe balaba nga zigenda kuboonoonekako  nga bazifumba ziriko ebyoya.

Moses Kateregga omu ku bazisuubula b'ensense  abamanyifu  e Katwe  yagambye nti  wadde  ku Lwomukaaga zazze mu bungi  emiwendo gyazo gibadde gikyali waggulu.

Ekitundutundu ky'akasawo ka sukaali aka kiro 50 nga kino kye kipimo ekimanyiddwa  mu basuubuzi  b'enseenene ku Lwomukaaga  ku makya  kyabadde ku 200,000/- wabula ng'ebiseera  ebimu kirinnya  ne kituuka mu 500,000/- n'okusingawo  ate bwe ziba mu kidibo zikka  ne zituuka ku 50,000/-.

David Mukasa nga  naye musuubuzi waazo yagambye nti  Bannayuganda  abali mu Bungereza  n'amawanga amalala   buli mwaka  omwezi gwa  November bagwesunga nga mbaga olw'enseenene  era zitwalibwa mu bungi mu mawanga  ag'ebweru wadde ng'ebiseera  bino bagezaako okutangira abatambuza ebiwuka ebyabuli ngeri ku nnyonyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...

Kalule1 220x290

Enkola empya eya UNEB eyongedde...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo ekya UNEB, enkyukakyuka ze kyakola mu bibuuzo bya PLE omwaka oguwedde zikyusizza...

Skjhtlu3 220x290

Loodi Meeya takyaddamu kukubiriza...

OLUVANNYUMA lw’ennongoosereza ezaakoleddwa mu tteeka erifuga Kampala okulangibwa mu katabo k’eggwanga aka Uganda...