TOP
  • Home
  • Gallery
  • Aba Ebonies bacamudde abantu n'omuzannyo gwabwe omupya 'Bassedduvutto'

Aba Ebonies bacamudde abantu n'omuzannyo gwabwe omupya 'Bassedduvutto'

By Moses Nsubuga

Added 4th November 2019

OMUZANNYO gwa Ebonies Big Jimmy gusanyudde abadigize bwe baanise akabi akali mu basajja bassedduvuutto abaganza abaana abato ne beesanga nga bakwaniddemu ne bawala baabwe.

Bigjimmy33 703x422

Guno gwabadde ku Theatre labonita  mu Kampala nga gwatongozeddwa omulangira David Wasajja eyasiimye aba Ebonies okusomesa n’obulirira abantu nga bayita mu katemba, kuba byonna bye bazannyako bibeera bya bulijjo abantu bye babuusa amaaso.

Ku ssaawa  11 ez'akawungeezi waasooseewo 'Red carpet' ebyana kwe yatambulidde nga biraga emibiri olwo abantu ne bakung'aana beelorere ku bya ssava.

Tebakomye kulaba wabula baatenze n’ebyebalabye nga abamu batuuse n’okukuba enduulu eyasombodde abantu abeeyiye wabweru wa Theatre eno berabire ku byaana biwala obwedda byolesa emisono.

Emisono gino oyinza okugiyita ssonsomola kuba obwedda ebyana biraga biraga emibiri.

Omuzannyo gwatandise ku ssaawa 1: 20 ez'akawungeezi nga balaze akabi akali mu bawala abato okuganza abasajja abakulu saako nabasajja abakulu okujumbira abaana abato.

Omuzanyo guno  gye byaggweeredde nga Dr. Bossa oba Sam Bagenda ayanjudde ekijujulu ekito kyokka nga kyana kya mukyala we gwe yabadde alimbye nti alina olugendo lw'alagako so nga agenze kwanjula mwana wa  mukyala we.  

Wabula kyazuuse oluvannyuma nga Captain Ricky  yazaala omuwala ono kyokka nga naye yali amukwanyeeko.

Oluvannyuma ennyonza za Uganda ezaakamala okuwangula empaka za East Africa Has Got Talent; Ezekiel ne Esther Mutesasira baalidde mu ndago ne basanyusa ababadde bazze mu muzannyo guno.

 

alt=''

 

 

 

 

alt=''

 

 

 

 

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...