TOP
  • Home
  • Gallery
  • John Blaq owa 'Aya bbaasi..' amenye likodi ku Freedom City

John Blaq owa 'Aya bbaasi..' amenye likodi ku Freedom City,

by Mary Nambwayo

Added 30th November 2019

JOHN Blaq akikubye ku Freedom City n'aleka ng'abawagizi be beenuguuna n'okusaba anko.

Abadigize abazze mu kivvulu kya John Blaq bamulaze omukwano mu konsati ye eya 'Aya bbaasi' esoose bukya ayingira nsiike ya kuyimba.

Ono nga tannalinnya ku siteegi, yasoose kubuuza ku bawagizi be. Yajjidde mu mmotoka eyamuyisizza mu bawagizi oluvannyuma n'agibuukamu okulinnya ku siteegi kyokka abawagizi be ne bamusika nga baagala kumukwata bw'atyo n'agenda ng'ababongako kyokka ba kanyama baalabye abantu bongera kumuyiikira ne bamuggyawo n'alinnya ku siteegi olwo enguliko n'etandika.

Yasoose kubakuba 'Do dodododo dat njagala butter ng'aliko n'omugaati' olwo enduulu n'evuga n'abaabadde bakyesisiggirizza mu butebe ne basituka ne batandika okuzina ng'eno bwe baleekaana n'okusuuta omuntu waabwe.

Blaq yayimbye ennyimba ze zonna okuli Obubaddi, Sweet Love era ne yeenyiga ne Vinka n'amusitula n'okumusitula olwo n'azzaako Kamotoka luno yaluyimbye ne Iryn Namubiru, Maama Bulamu, Tukonekitinge wamu n'endala nnyingi.

Bakira ayimba bwe yeebaza abantu okumuwagira.

Yawerekeddwako abayimbi okuli, Eddy Kenzo, Opa Fambo, Suspekt Leizor, Karole Kasita, Recho Rey, Nu York Da Styla, Erik Disk, Pallaso, VIP Jemo, Fresh Kid, Jowy Landa wamu n'abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Patu 220x290

'Twagala Mityana eyegombesa'

Patrick Mugisha ng'ono y'avuganyaako ku kifo ky’obubaka bwa Palamenti okukiikirira Mityana North aludde ddaaki...

Pro 220x290

Ddala kiki ekyasse omugagga wa...

OBULWADDE obwasse omutandisi w’essomero lya Kabojja Junior School, bwasooka kucankalanya lubuto, aba famire ne...

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...