TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yasanjaga Omutaka w’e Jjokolera ebiso n’amuleka ku mugo gw’entaana ng’ataawa?

Ani yasanjaga Omutaka w’e Jjokolera ebiso n’amuleka ku mugo gw’entaana ng’ataawa?

By Musasi Wa

Added 6th October 2011

Ani yasanjaga Omutaka w’e Jjokolera ebiso n’amuleka ku mugo gw’entaana ng’ataawa? James Kibombo yaakasimattuka okuttibwa emirundi esatu. Ogusembyeyo mu July w’omwaka guno, omutemu yamutemyetemye era ku kitanda e Mulago yasimbyeyo kitooke.

 Ani yasanjaga Omutaka w’e Jjokolera ebiso n’amuleka  ku mugo gw’entaana ng’ataawa?

James Kibombo yaakasimattuka okuttibwa emirundi esatu. Ogusembyeyo mu July w’omwaka guno, omutemu yamutemyetemye era ku kitanda e Mulago yasimbyeyo kitooke.

Kalondoozi wa Bukedde alaze enkaayana z’ettaka Kibombo z’alimu ne ssentebe w’ekyalo wamu n’omuserikale wa RRU, Kibombo z’agamba nti abamutemula ze bamulanga bamutwaleko yiika ze ebbiri kitaawe ze yamulekera mu 1989.
 
JAMES Kibombo omutuuze w’e Jjokolera mu Wakiso, aliira ku nsiko! Abatemu baakamwegezaamu emirundi ebiri okumutta ng’entabwe eva ku yiika z’ettaka ebbiri kitaawe Ssaalongo Stanley Kigere lye yamulekera.
 
Kibombo agugulana ne Ssentebe w’ekyalo kino Steven Ssekitooleko  n’omuserikale wa RRU, Vincent Musoke agamba nti ettaka lino lirye kuba yaligula ku Ssekitooleko.  
 
Enkaayana we ziva
 Kibombo okumutuukako kaba katuubagiro ng’azina n’ow’enkutu! Mu maka ge e Nakyesasa- Jjokolera yaddukayo dda, emyezi esatu egiyise.
 
Agamba nti baakamwegezaamu emirundi esatu, ogwasembyeyo yasimbyeyo kitooke.
Abeng’anda ze tebagaba ssimu ye, bw’obeesibako ennyo bakulagirire gye yeekukumye buli omu akuuliita bibye! Oluvannyuma Kibombo nnamuguddeko mu Kampala, ate nno ng’anneetooloozezza gy’obeera yasoma bwambega!
Emboozi ye aginyumya bwati:
 
Kitange Stanley Kigere yagula ku mukulu munne Damiano Mugerwa ettaka lya yiika bbiri mu 1974. Nga bw’omanyi eby’edda ate ng’abantu b’emanyi tebaakola ndagaano, kyokka waliwo foomu ekkiriza okukuba ettaka likutulwemu, eno Mugerwa yagiteekako omukono nga July 12, 1974 era ettaka lyakubwa ne likutulwamu. 
Wadde ng’ettaka lyali likutuddwaamu, naye Mugerwa teyawa taata kyapa. Waaliwo okugugulana okwatuuka ne mu RC, kyokka ebyembi Mugerwa ne taata bombi ne bafa mu 1989.
 
Olw’okuba emisango gyali gigenda mu maaso n’okuwozebwa, famire yaffe yasigala ng’ewoza n’eya Mugerwa, okutuusa LC II eyali ekulirwa Mw. Kaye lwe yasala omusango nga tubawangudde.
 
Kino Ssekitooleko teyakikkiriza era yagenda mu maaso n’okwagala okwezza ettaka. Yagenda n’ajingirira ekyapa okuva mu mannya ga kitaawe Mugerwa n’akizza mu gage ne kaviti eyali ku ttaka n’agisazaamu.
 
Atandika okutunda 
 Ku Jjokolera tulinako yiika ezisoba mu 90, kyokka zino ebbiri ze ziriko enkaayana era ze zinzisa. Ssekitooleko bwe yalaba eby’okutunda mbimulemesezza n’afunayo omuserikale wa RRU Vincent Musoke eyajjanga ku kyalo entakera ng’akaalakaala n’emmundu.
 
Ono baatandika okukolagana naye, ng’agamba nti yamuguza ettaka lino, era n’atandika n’okuzimbamu akayumba oluvannyuma kibuyaga ke yasuula. Omuserikale ono amaze ebbanga ng’atuliisa akakanja. 
 
Yasooka kutema lusuku lwa yiika emu olwali lusimbiddwa ku ttaka kuno, n’azzaako okusiba ekikomera n’okwonoona entuumu z’amayinja gange. 
 
Tulina omusango mu kkooti, wabula buli kiseera Kibombo asaba gwongerweyo mbu akyategeka mpapula zikwata ku ttaka lino, naye ng’ekituufu tazirina kuba ettaka si lirye.
 

Ani yasanjaga Omutaka w’e Jjokolera ebiso n’amuleka ku mugo gw’entaana ng’ataawa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...