TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssente z’omufu zitabudde abaana ne kitaabwe

Ssente z’omufu zitabudde abaana ne kitaabwe

By Musasi Wa

Added 11th February 2012

Dereeva wa gavumenti agambibwa okuvuga ng’atamidde ye yamalawo obulamu bwa Rose Namubiru nga October 22 2011 bwe yatomera bodaboda omugenzi kwe yali atambulira.

2012 2largeimg211 feb 2012 180333217 703x422

 Bya Kizito Musoke

 
Dereeva wa gavumenti agambibwa okuvuga ng’atamidde ye yamalawo obulamu bwa Rose Namubiru nga October 22 2011 bwe yatomera bodaboda omugenzi kwe yali atambulira. 
 
Gavumenti yasasula famire ya Namubiru obukadde bubiri  kyokka n’okutuusa kati ssente zino tezituukanga mu baana be 10 be yaleka nga kati n’abaali basoma batudde waka tebakyasoma. 
 
Ssente ezo obukadde obubiri zaawudde mu famire ya Namubiru bwe wabaluseewo obutakkaanya wakati wa bba w’omugenzi John Bisaso gwe yalinamu omwana omu n’abaana b’omugenzi omwenda. Abaana bagamba nti kitaabwe ono Bisaso ssente zonna yazitwala era ebbanga lyonna babadde babigoba ku poliisi nga tebamanyi nti yazitwala.
 
    Namubiru ne muzzukulu we baali batambulira ku booda nga badda ewaka ne batomerwa mmotoka  nnamba UG 2164A n’ebatta.
 
   Emmotoka yasobola okukwatibwa  era  minisitule y’ebyobulimi n’eriyirira famire obukadde bubiri, kyokka  abaana b’omufu bagamba bwali butono era kuno kwe bagasse okulumiriza kitaabwe atalabirira baana okubatwalako ssente zonna bamulekwa ne basigala nga bayagga.
 
Baatugamba tuggalewo fayiro bajja kutulabirira
 
Omusango baguggya ku poliisi:
Muwala w’omugenzi, Rebecca Nakasenge era nga y’azaala omwana Michael Muteesa eyamenyeka amagulu annyonyola ekyabaggyisaayo omusango:
 
Omwami gwe nategeerako erya Kasigwa yatusisinkana n’atutegeeza nga bwe yali owokutuyambako okulaba nga tufunayo ku buyambi. Yatugamba nti kino yali waakukikola ng’omuntu, si minisitule.
Poliisi e Wakiso baatusaba tukkaanye ne Kasigwa abeereko ky’atukolera kuba gavumenti omuntu afudde bamuliyirira emitwalo 20 gokka.
Oluvannyuma lw’okumatizibwa poliisi n’abantu abalala, twakkiriza ne tuggalawo fayiro, Kasigwa asobole okutusasula era nga yatusuubiza n’okutuyamba okuweerera abaana ng’okusoma kuzzeemu”.
 
Akulira poliisi y’ebidduka e Wakiso, John Senoga agamba: Abooluganda lw’abantu abaafuna akabenje bakkaanya n’abekitongole kya minisitule y’ebyobulimi ne basalawo okutegeeraganira wabweru era fayiro y’omusango baagiggalawo ku poliisi.
 
Engeri Kasigwa gye yagabanyaamu ssente
 
Rose Namubiru eyafiira mu kabenje yamusasulamu 2,400,000/- era zino Bisaso bba ye yazitwala, Ivan Sebunnya eyafiirwa mutabani we yamusasula 1,500,000/-, Michael Muteesa eyamenyeka okugulu baamuwa emitwalo 98, nnannyini piki yafuna emitwalo 78, Richard Semulema eyali avuga piki yafuna 1,120,000/-).
Nakasenge muwala w'omugenzi annyonnyola ebyaliwo.
 
Obuzibu ku ssente bujja
Nakasenge agamba: Ssente ze baatuwa zaali ntono, kuba mutabani wange okuva lwe natandika okumujjanjaba yaakatwala obukadde obusukka mu bubiri, era nga nkyamujjanjaba.
 
Obukadde obubiri bwe twafuna mu maama,  Bisaso zonna yazitwala ng’ate akimanyi waliwo abaana bataano abakyasoma talina ky’atuyambako. 
 
Wadde Kasigwa yali atusuubizza okutuyambako ng’okusoma kuzzeemu, essimu yagiggyako era tetuddangamu kumuwuliza. Tuli beetegefu okwongerayo ensonga zino mu boobuyinza tusasulwe ssente ezeegasa, tusobole okuweerera bato baffe”.

Eyali bba wa Namubiru ng'alombojja byonna.
 
Engeri akabenje gye kajja
 
John Bisaso (47) eyali bba wa Namubiru annyonyola:
 
Ku Lwomukaaga  nga October 22 omwaka oguwedde mukyala wange Namubiru yapangisa booda  okumuggya  e Ssenge Wakiso emutwale e Kawanda.
 
Booda eno yali evugibwa omuvubuka Ronald Semulema, era   yagituulako ne bazzukulu be Michael Muteesa (5) ne Dan Senkya(6). Baali baakalinnya nga banaatera okumalako Ssenge, mmotoka ya gavumenti eyali eva e Kawanda ey’ekika kya Double cabin nnamba UG 2164A  eya  minisitule y’ebyobulimi n’ebatomera.
 
Mmotoka eyakola akabenje omwafiira Namubiru.
 
Mmotoka yabakoona n’ebalinnyisa ekifunvu, Senkya yafiirawo ate Namubiru yafa luvannyuma ate Michael  Muteesa baamutwala amenyese amagulu.
 
   Ddereeva gwe balumiriza nti yali atamidde yadduka ng’akabenje kaakagwawo.
  Abatuuze nga bakolaganira wamu ne poliisi y’e Naluvule, bassa abaali bagudde ku kabenje n’omulambo ku mmotoka yennyini eyabakoona ne babatwala mu ddwaaliro e Mulago.
 Olwabatuusa mmotoka n’ekomezebwawo ku poliisi e Naluvule, era poliisi yayingiza omusango ku fayiro nnamba SD 13/22/10/2011.
 
 Nga wayise wiiki bbiri ng’emmotoka eri ku poliisi tewali aginona, omusajja eyategeeza nti ye Kasigwa era nga y’akulira ebyentambula mu kitongole ky’ebyobulimi ekikola ku by’okunoonyereza yagenda ku poliisi omusango ne baguweereza ku poliisi e Wakiso.
 
 Kasigwa yajja n’atusaba ebiwandiiko ku ssente zonna ze twali tukozesezza mu kujjanjaba abalwadde era n’atusuubiza nti nga ye omuntu yali waakuyamba ne ku ssente zonna endala ezaali zikozeseddwa era nga bino yabyogera n’akulira poliisi y’ebidduka e Wakiso, John Senoga alaba.
 
Kasigwa yatutambuza obwoya ne butuggwa ku ntumbwe oluvannyuma yatuwa ssente era omusango ne tuguggyayo ku poliisi era tetukyabanja. 
 
Ebibuuzo ebyetaaga okuddamu
 
1 Lwaki poliisi yaperereza abooluganda okuggya omusango ku poliisi. Kituufu nti ddala gavumenti buli afa, emusasulamu emitwalo 20?
2  Kasigwa yajja wa obuvunaanyizibwa okuliyirira abantu bano ng’omuntu? Kyandiba nga kituufu oba aliko omusimbi gwe yeezibika?
3  Ssente ezaaliyirirwa abantu bano ani yazigereka era baasinziira ku ki? Nga kuba bamulekwa bagamba nti temwalimu kuteesa!
4 Poliisi etuuka etya okugabana ku ssente ze baaliyirira bamulekwa, kiri mu mateeka?
5  Lwaki poliisi teyaweereza musango guno mu kkooti, okusinga okugumalira ku poliisi?
6  Bw’aba nga Kasigwa ddala yali Mwesigwa, lwaki mu kiseera kino yaggyako essimu?
 
 
 
 
 
 
 

Ssente z’omufu zitabudde abaana ne kitaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?