TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Poliisi n’ekuba ttiyaggaasi mu nkoko zange 700 ne zifa, ne bagaana okundiyirira!’

‘Poliisi n’ekuba ttiyaggaasi mu nkoko zange 700 ne zifa, ne bagaana okundiyirira!’

By Musasi Wa

Added 16th May 2012

MARTIN Kasule, omutuuze ewa Zzana yali alembekera mu nkoko, kyokka mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to work’ omwaka oguwedde, agamba nti poliisi yakuba omukka ogubalagala mu nkoko ze era 700 ne zifa.

MARTIN Kasule, omutuuze ewa Zzana yali alembekera mu nkoko, kyokka mu kwekalakaasa kwa ‘Walk to work’ omwaka oguwedde, agamba nti poliisi yakuba omukka ogubalagala mu nkoko ze era 700 ne zifa. Wayise omwaka gumu nga Kasule atambula ku poliisi bamuliyirire era KALONDOOZI WA BUKEDDE alaga lwaki lipoota ya poliisi eyakolebwa yali kiguumaaza ng’ayinza obutaliyirirwa!

OKWEKA­LAKAASA kw’okutambuza ebigere okwa ‘Walk to work’, kwaleka bangi nga banyiga biwundu nga n’okutuuka kati tebiwonanga!

Martin Kasule amany­iddwa nga ‘Afu­ga’, omutuuze w’e Zzana mu Lufuka zooni yafiirwa enkoko z’amagi 700, oluvannyuma lwa poliisi okuziwandagazaamu obukebe bw’omukka ogu­balagala ne zikunkumuka kumpi kuggwaawo.

Kasule agamba nti nga 29/04/2011 oluvannyuma lw’omuserikale wa poliisi eyali mu ngoye za bulijjo ey­ategeerekeka nga Arinaitwe, okukoona endabirwamu ya mmotoka ya Col. Kiiza Be­sigye n’amufuuyira omukka ogubalagala, enkeera olugambo lwayita nti Besi­gye yali afudde abantu ne batandika okwekalakaasa.

TTIYAGAASI MU NKOKO ZA KASULE
Zaali ssaawa nga 4:00 ez’oku makya ng’abantu batandise okugenda ku mirimu gyabwe, wabula abaali bagenze mu kibuga okukola baatandika okudda nga bagamba nti kibooko enyooka eyo temanyi ssaa­lumanya ne nnaalumanya!

Baatutegeeza nti waaliwo olugambo olwali lutambula nti Col. Besigye yali afudde oluvannyuma lw’okumufuuyira omukka ogubalagala. Mu ddakiika ntono nnyo, kapangali za poliisi zaatandika okuwand­agaza amasasi, omukka ogu­balagala n’okukuba abantu.

Ffenna tweggalira mu mayumba, naye waliwo abavubuka abaddukira mu kifulukwa, abaserikale ne babasuulamu akakebe k’omukka ogubalagala ate ne babasibiramu. Okugenda okubaggulira ng’abamu bazirise.

Ng’omulunzi, omutima gwankubira ku nkoko zange ezaali zisoba mu 1,000, era ng’enda okuzituukako nga zonna zigwa bugwi eri ku­banga mu kukuba omukka waliwo akakebe akaagwira ddala mu kiyumba kyazo ne guzigendamu.

Nakubira omusawo gwe nkozesa okuzijjanjaba Dr. Margaret Namusoke eyampa amagezi okusooka nkyuse amazzi agalimu olu­vannyuma lw’eddakiika 30 nteekemu amalala agalimu ‘glucose’ nange kye nakola era ne zirabika ng’ezitereera kyokka zaagenda mu maaso n’okufa.

Wadde ng’abaserikale bano baali bakambwe nnyo era nga buli abasala mu maaso baali bamukuba, naguma ne nnumba eyali abakulira ne mute­geeza kye baali bakoze kyokka n’amboggolera nga bw’ang’amba nti, “Osobola okundaga akubye omukka mu nkoko zo? Nva mu maaso!”

Nnali sikyalina kya kukola okuggyako okutambula mmuviire sikulwa ng’ate nange ankuba!

Enkoko zange zaafa ntunuulira ntunuulire era omwami omu Ronald Sserugo ye yazitwalanga n’azifumbira embwa ze.

Kasule yagenda mu bamawulire, teyajja gye tuli - Poliisi

KASULE AGAMBA:
NGA tukyesansabaga Ssentebe w’ekyalo Ssaalongo Francis Musoke yajja n’alaba ekyali kituuse ku nkoko zange. Mu kiseera kino nange natandika okwewu­lira obubi olw’omukka guno era nassi­bwako eccupa kyokka nasaba omusawo aginteereko awaka nga bwe ndabirira enkoko zange.

Nga wayiseewo ennaku nnya nakubira omuduumizi wa Poliisi, Gen. Kale Kayihura n’angamba nti agenda kusindika abaserikale banoony­ereze n’oluvannyuma bamuwe lipooti kw’anaasinziira okusalawo eky’okukola.

Bwe nadda eka nayita abamawulire ga Bukedde aga Agataliiko Nfuufu’ ne ba­laga ekyatuuka ku nkoko zange nga zifa nga 09/05/2011. Enkeera nakubira Gen. Kayihura ssimu kyokka n’annyombesa nti lwaki nayise abamawulire ng’ate ensonga namaze okuzimutwalira? Yantegeeza okukwagatana n’omwogezi wa poliisi Muky. Nabakooba annyambe okundaga engeri y’okukwatamu en­songa zino.

Muky. Nabakooba n’antegeeza nti en­songa yali agenda kuzitambuza era nga mu bwangu abaserikale baali baakug­gya okukola okunoonyereza.

Omwezi gwa June nga guggwaako nafuna ssimu okuva ku kitebe kya Poliisi ekwasisa empisa (PSU) e Bukoto ne bantegeeza okugendayo mbannyon­nyole ensonga zange era nagendayo enkeera ne bansuubiza okujja nabo bakole okunoonyereza okusingawo.

Oluvannyuma lwa wiiki bbiri, abasajja bana (bambega) nga bakulembed­dwaamu Mw. Isaac Mugisha bajja ne mbatwala ku buli yalabako ng’enkoko zange zifa ne bawa obujulizi. Wabula ekyanneewuunyisa baagaana okugenda okubuuza Ssentebe wa LC1 nga bag­amba nti baali bakooye nga n’obujulizi bwe baali bafunye bwali bubamala. Bwe nababuuza ekiddirira nga bamalirizza, bantegeeza nti bajja kuntegeeza nga lipoota ewedde.

Lipoota ya Poliisi
Mu lipoota ya poliisi eyafu­luma nga August 23 2011, era eriko omukono gwa DIP Isaac Mugisha yalaga nti wadde en­nyumba ya Kasule n’ekiyumba ky’enkoko biri mmita 10 okuva ku luguudo lw’e Ntebe; era nga ttiyagaasi ayinza okuba nga yakubibwa n’akosa enkoko, kizibu okumanya oba ye yazitta!

Mu lipoota, DIP Mugisha agamba nti wadde omu­sawo yalaga nti ttiyagaasi ye yatta enkoko, kizibu okuka­kasa obutuufu bw’ebigambo by’omusawo.

“Kizibu okukakasa nti akake­be ka ttiyagaasi akaggyibwa mu nkoko nti poliisi ye yakakasuka­mu oba tebaakalonda ku kkubo ne bakasuula mu nkoko!

Ate Kasule ebintu yabi­waaba mu mawulire, ffe twa­genda okutuukayo ng’obujulizi bwasaanawo dda. Ekirala teya­songa ku ani yakasuka ttiyag­gaasi, n’olwekyo tewali bujulizi bw’aba ayagala agende awaabe,” Mugisha bwe yawandiika.

Kasule agamba nti mu mwezi gwa September, yakubira Mw. Mugisha n’amutegeeza nti lipooti yali emaze okufuluma nti yali mu kitongole ky’amateeka gye nagenda ne nfuna kkopi ku lipoota eno.

Lipoota yali eranga nti poliisi yali erina okubaako engeri gy’e nnyambamu okundiyirira enkoko zange ze nafiirwa olw’ebikolwa byayo era nga singa er­emererwa nsobola okugenda mu kkooti okusobola okufuna obwenkanya.

Nga mmaze okufuna lipooti nakubira Gen. Kale Kayihura nang’amba nkola­gane n’avunaanyizibwa ku kumuteek­erateekera abantu b’alina okusisinkana antegekere olusisinkana kyokka okuva mu kiseera ekyo buli lwe njogera ne gwe bansindikako ankambuwalira nti, ‘Ggwe buli omu wano amanyi ensonga zo tewali lwaki kikwetaagisa okulaba IGP!’.

Ate bwe nkubira Gen. Kayihura ang’amba ndabe amutegekera b’alina okusisinkana nsobole okumulaba akole ku nsonga zange. Wano amagezi we ganneesibidde!
 

‘Poliisi n’ekuba ttiyaggaasi mu nkoko zange 700 ne zifa, ne bagaana okundiyirira!’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lampholders3webusenew 220x290

Omulimu gwe nasomerera mwe nayiiyiza...

Nakolerera okuva mu kukozesebwa era mu myaka ena nnali nneekozesa ku mulimu gwe nasomerera.

Funayo1 220x290

Leero mu mboozi z'Omukenkufu tukulaze...

WIIKI ewedde nawandiise ku birime by’osobola okulima n’ofunamu ssente mu nkuba eno etonnya. Ekimu ku bye nakonyeeko...

Wereza 220x290

‘Abakyala mukomye okwetonaatona...

AKULIRA ekibiina ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bwe Namirembe ekya Mother’s Union, Josephine Kasaato akuutidde...

Twala1 220x290

Abakyala n’abavubuka e Wakiso Gavt....

GAVUMENTI ewadde abakyala n’abavubuka ba Wakiso Town Council mu disitulikiti ya Wakiso ssente z’okwekulaakulanya...

Omukoziwekitongolengapakiraebyamaguziebitalikumutindo 220x290

 Abasuubuzi b’e Masaka beezoobye...

“Abasuubula ebintu bino mubamanyi era mmwe mubakkiriza nga babawadde enguzi bwe mumala n emwefuulira ffe abatalina...