TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yalya ssente akawumbi akalamba Pulezidenti ze yawa abasuubuzi b’omu Park yard?

Ani yalya ssente akawumbi akalamba Pulezidenti ze yawa abasuubuzi b’omu Park yard?

By Musasi Wa

Added 23rd May 2012

AKAWUMBI ka ssente, Pulezidenti ke yaweereza abasuubuzi mu Park yard kaatandika okubaweebwa nga kayitira mu SACCO yaabwe eya Kampala United ParkYard Cooperative Savings & Credit Society.

2012 5largeimg223 may 2012 113128993 703x422

AKAWUMBI ka ssente, Pulezidenti ke yaweereza abasuubuzi mu Park yard kaatandika okubaweebwa nga kayitira mu SACCO yaabwe eya Kampala United ParkYard Cooperative Savings & Credit Society.

Kajjira mu bitundutundu bya bukadde 200, 400 ne 400 mu mwaka gwa 2010 era ne zitandika okuwolebwa. Balondawo akakiiko okuddukanya SACCO eno akakulemberwa ssentebe Charles Lubega, akaalina okufuga okumala emyaka ebiri mu lukiiko olwatuula ku ssomero Buganda Road mu 2009.

Okusinziira ku mateeka agafuga SACCO, omusuubuzi yenna okufuna ku ssente zino yalina okusooka okwewandiisa ng’asasula 15,000/- n’aweebwa akatabo akalaga entereka n’eneewolaye. 

Okuva mu 2011, abakulira SACCO baatandika okubanja abeewola ssente za Pulezidenti kuba zaaliko amagoba ga bitundu 17 ku buli 100 ng’ozizzaayo wakati w’emyezi mukaaga n’omwaka.

Ekibi abasuubuzi abamu kata beetuge kuba ssente zaabalemerera era abamu emidaala ne bagitwala. Abakulira SACCO bagamba mnti obukadde obusoba mu 700 bukyali mu basuubuzi; abasuubuzi bagamba nti ssente abakulira SACCO be baazeeriira oba okuzigabira abagagga mu Kampala Mw. Moses Eserait, maneja wa SACCO y’akatale ka Park Yard agamba nti omuliro ogwakwata akatale kano mu July wa 2011 gwagenda okubaawo nga baakazzaayo
obukadde 330.

Mw. John Bosco Lukwago, omu kubaali ku kakiiko akafuga akatale mu kiseera akatale we kaakwatira omuliro mu 2009, agamba nti Pulezidenti bwe yabasuubiza ssente ye n’abakungu okuva mu kibiina ekiyamba ku SACCO, n’abaava mu ofi isi ya RDC bawandiisa buli musuubuzi eyali akolera mu katale ku bwereere era baaweebwa ssente kubanga baali tebalina kye basigazza.

Nga ssente zituuse baazissaako obukwakkulizo ng’amagoba amayitirivu n’ebibonerezo ebyazigobako abasuubuzi, zaasigala mu baluganda, abako n’abemikwano era zagweera mu basuubuzi abakolera mu maduuka nga Mukwano, Cooper n’abaddukanya bizinensi ennene.

Abasuubuzi bagamba nti nga ssente obukadde 600 ze zaakajjawo, beekubira enduulu mu ofi isi ez’enjawulo okuli Minisita w’ebyensibimbi, ow’ebyenfuna, RDC n’endala ne boogera ebizibu byabwe kyokka tebaayambibwa.

Baagala Gavumenti esseewo akakiiko akabuuliriza ku ssente zino; abasuubuzi abaazifuna balagibwe ne ssente ze baafuna. “Mu ngeri y’emu twagala katulage ssente ezaasoloozebwa mu basuubuzi mu kwewandiisa omuwendo gwazo ne kye zaakola.

Bwe kitaakolebwe mu myezi ebiri tujja kuwaabira abakulira SACCO okukumpanya ssente zaffe,” Lukwago bwe yagambye.

Ani yalya ssente akawumbi akalamba Pulezidenti ze yawa abasuubuzi b’omu Park yard?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...