TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yajingirira obujulizi ku mubazi w’ebitabo bya Disitulikiti y’e Gomba okumusibisa mu kkomera afiirwe omulimu gwe?

Ani yajingirira obujulizi ku mubazi w’ebitabo bya Disitulikiti y’e Gomba okumusibisa mu kkomera afiirwe omulimu gwe?

By Musasi Wa

Added 13th June 2012

Poliisi y’e Mityana yakutte Henry Sebugwawo mu ngeri eyeewuunyisa n’emuggalira mu kkomera e Kaweeri mu Mubende awatali musango!

2012 6largeimg213 jun 2012 100413557 703x422

Poliisi y’e Mityana yakutte Henry Sebugwawo mu ngeri eyeewuunyisa n’emuggalira mu kkomera e Kaweeri mu Mubende awatali musango!

Sebugwawo mubazi wa bitabo mu disitulikiti empya ey’e Gomba. Kalondoozi wa Bukedde yeebuuza oba luno lukwe olukoleddwa okulemesa Sebugwawo omulimu guno nga bamussaako emisango.

28 Bukedde Lwakusatu June 13, 2012 Poliisi y’e Mityana yakwata Sebugwawo lwa bbanja lya 9,720,000/-, ezigambibwa nti yazeewola ku kibiina ekiyitibwa Tropical Microfinance Entrepreneurs Savings & Credit Society LTD (bo bagiyita bbanka) ekisangibwa e Kassanda - Mubende.

Wabula ye Sebugwawo agamba nti ssente zino gwali musaala gwe gwe yali akoledde mu kibiina kino ng’omubazi w’ebitabo okumala emyezi 30.

Poliisi y’e Mityana olwakwata Ssebuggwaawo nga May 18 2012, baamusindika ku poliisi y’e Mubende eyamutwala mu kkooti ne bamusingisa omusango nga tawozezza era ne bamusiba emyezi mukaaga.

Kyokka bw’anaava mu kkomera ateekeddwa okusasula ssente ezo obukadde 10! Sebugwawo newankubadde baamusalira omusango, naye bw’otunuulira empapula zonna kkooti e Mubende kwe yasinziira okumusiba emyezi mukaaga oli taba mukyamu bw’agamba nti baamusibira bwemage! Sebugwawo anyumya Nasobodde okumukyalirako mu kkomera e Kaweeri gy’ali era bino bye yantegeezezza:

Steven Asiimwe, akulira ekibiina kya Tropical Micro Entrepreneurs Cooperative Savings and Credit Society Limited yampita okumukolera ogw’okubala ebitabo mu bbanka yaabwe mu July wa 2006, era ne nfuuka mmemba ku kibiina kino ne bampa ennamba 120.

Mu kiseera ekyo tewaali ssente, ne bansaba nsooke nkole nga sifuna musaala naye ng’omwezi nalina kufuna mitwalo 30. Mu December wa 2008 naweza emyezi 30 nga sisasulwa ne mba nga mmanja obukadde mwenda.

Olw’okuba nze nali mbala ebitabo nagenda okubalamu nga tukoze amagoba ga bukaddde 110, nasaba bannange okunsasula ku ssente kuba kati zaaliwo nga tewali kyekwaso kirala.

Kyokka Asiimwe yampaako obukadde butaano, ate nazo yazimpa ssaawa nga 2:00 ez’ekiro. Ssaali mumativu, era twakaayana naye nga njagala ansasule ssente zange ezaali zisigaddeyo, kyokka yagaana.

Wabula mu kifo ky’okunsasula, yansasulamu kungoba ekifo mwe nali n’akiwa mukazi we! Ebintu byatandika okukyuka ekintu ne kujjulamu baluganda na mikwano.

Banzigulako omusango Mu mateeka agafuga ebibiina bya Sacc o, singa wabaawo ebisobye mutuula ne mugonjoola ensonga, bwe kigaana ne mufuna omutabaganya ebintu ne biggwa.

Wabula kkampuni ya Tropical Micro Entrepreneur Savings and Credit Society Ltd yanzigulako omusango gw’okutwala ebbanja ne ng’aana okulisasula.

Ekyewuunyisa, nze ssaafuna ku bbaluwa zimpita mu kkooti, wabula bbo bennyini baaziteekako omukono ne bazizzaayo ew’omulamuzi nga bagamba nti nazifuna wabula ne ng’aana okugenda mu kkooti era bandeeta mu kkomera nga simaze kwewozaako!

Mpandiikidde abantu bangi mu ggwanga naye sifunye kuyambibwa, ku bano kwe kuli ne Kaminsona w’ebibiina by’obwegassi mu ggwanga.

Nawandiikira omulambuzi wa kkooti (Inspector of courts), ono ebbaluwa gye nnamuwandiikira nga musaba ayite fayiro yange eve e Mubende egende e Kampala yagiddamu e Mubende n’ebatuukako nga May 15, 2012 wabula ekiragiro kye ne bakiziimuula nebankwata nga May 18 2012 ne bansiba nga siwozezza era kati ndi mu kkomera simanyi kiddirira.

Nsaba be kikwatako okunnyamba ndi mu mbeera mbi.” Swaleh Ssendawula Ono ye maneja wa bbanka eno, bwe nayogeddeko naye yang’ambye nti: Mw. Sebugwawo tebeerangako mukozi wa bbanka yaffe, wabula yali mmemba era yatwegattako nga wayise akabanga eyali nnamba 120. 

Kkooti yatuula ku Ssande okusiba omukungu?

Ssendawula akulira bbanka ayogera Ogwo si gwe mulundi ogwasooka okumuwola ssente, Mu kwewola ssente ezo obukadde 5 yatusingira ennyumba ye ey’e Nansana era n’endagaano yagituwa ffe tugirina.

Twagezaako okulaba nga tutegeeregana mu buntu ne tulemagana, buli bwe twagezangako ng’ omwami oyo alaga nti ye ayagala kulya era lumu yabuuza omutabaganya nti, ‘ggwe tolina w’olira?’

Awo omukyala we yakoma n’atugoba. Yatuuka n’afuukira Sacco ekizibu, yawandiikira abantu bangi ng’agamba nga Sacco bw’eddukanyizibwa abooluganda, mbu era ssente z’abeewozi zikwatibwa bubi, nti era ffe tuli mu kulya ssente z’abantu.

Mw. Sebugwawo tayagala kusasula ye ky’agamba nti gwali musaala gwe, naye mu mateeka ga Sacco omuntu okufuna omusaala asooka kutwalibwa w’akulira Sacco mu ggwanga n’amukakasa.

Ku bamu be yawandiikira mwe mwali n’akulira ebibiina by’obweggasi (Comissioner For Cooperatives) era yatuyita ne tugendayo ne tumutegeeza ensonga zaffe n’atugamba tugende mu maaso n’amateeka.

Robinah Sebugwawo Ono ye mukyala wa Sebugwawo: Kye mmanyi nti bbanka eyo mu kugitandika ne Sebugwawo yaliko, naye eby’okumuwola ssente nze sirina kye mbimanyiiko kuba tabing’ambwangako, kituufu endagaano ya poloti be bagirina ey’e Nansana kuba Sebugwawo baali bamukwano nnyo ng’ebintu bye ebisinga abitereka eyo mu bbanka.

Kirabika engabana mu ssente y’ebatabula, kuba bonna beemanyi, ne Ssendawula asiba Sebugwawo akulidde wano mu maka gange era mutwala nga mwana.

Balina kutuula ne bakkaanya okulumagana ne kuggwa. Ebituli mu musango Ffoomu ewa Sebugwawo looni ey’obukadde obutaano kuliko omutwe omunene ogwa Tropical Micro Entrepreneurs Co-operative Savings and Credit Society Limited. Naye ekyewuunyisa, ku bbaluwa balooya aba Tebusweke Mayinja, Okello & Co. Advocates kwe baawaabirira Sebugwawo Kkooti yatuula ku Ssande okusiba omukungu? mu kkooti ku lwa bbanka, eriko Tropical Micro Entrepreneurs Savings & Credit Society Limited.

Kino kiitegeeza nti bbanka oba kkampuni ewaabira Sebugwawo omusango gw’ebbanja ate si ye yamuwola, olwo omulamuzi yasinziira ku ki okusalira omuntu omusango nga kkampuni eyamuwola ndala n’emuwaabira ndala?

Mu bbaluwa y’emu eraga nti yatuuka mu kkooti nga November 28, 2010 n’omulamuzi n’ateekako omukono gwe wadde nga tekuli mannya ge.

Naye bw’okebera ku kalenda olunaku luno lwa Ssande! Ekyebuuzibwa kkooti zaawa ezikola ku Ssande? Mu bbaluwa y’emu, eraga nti Sebugwawo ebbanja yalifuna September 02, 2009, yafuna obukadde butaano.

Mu kuzzaayo yalina okwongeramu emitwalo 40. Akatundu ‘c’ ak’ebbaluwa eno kalaga nti yalina okusasula ebbanja lino mu bitundu bibiri nga buli kimu alina kusasula 2,700,000/-.

Naye ekyewuunyisa balaga nti ekitundu ekimu yalina kukisasula February 02, 2009, ekitundu ekisembayo akisasule March 02, 2009!

Omuntu eyafuna ebbanja mu September wa 2009 ate alisasula atya mu myezi gy’omwaka gwe gumu egyayita? Kino kikuleetera okwebuuza oba waliwo ensonga eri emabega w’ebintu bino.

Mu bbaluwa ewaabira Sebugwawo, akatundu ‘d’ kalaga nti okuva March 02, 2010, Sebugwawo yalemererwa okusasula ebbanja.

Kyokka era kalaga nti gyali giweze emyezi 20, okuva ku lunaku lwe yalina okusasulirako ebbanja erisembayo. Ekyewuunyisa, okuva ku March 02, okutuuka 28 October we baabagira ebbaluwa eno gyali emyezi munaana gyokka! Olwo emyezi 20 giwera gitya?

Ani yajingirira obujulizi ku mubazi w’ebitabo bya Disitulikiti y’e Gomba okumusibisa mu kkomera afiirwe omulimu gwe?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.

Afcon16 220x290

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda...

Olugendo lwa Uganda Cranes okugenda mu AFCON2018 e Cameroon.