TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani atta aba bodaboda e Luweero mu ngeri ey’ettima?

Ani atta aba bodaboda e Luweero mu ngeri ey’ettima?

By Musasi Wa

Added 8th August 2012

Bukya mwaka guno gutandika, abavuzi ba bodaboda abattiddwa mu Luweero bawera

2012 8largeimg208 aug 2012 203337613 703x422

BW’OBA okyewuunya ekittabasuubuzi ekiri mu Kampala ennaku zino ate bbo ab'e Luweero bakaaba olw’abantu abatta aba bodaboda. Omwaka guno bukya gutandika aba bodaboda abasoba mu 10 batirimbuddwa ne pikipiki zaabwe ne zibbibwa!
 
Obutemu buno butadde abavuzi ba bodaboda n'abatuuze ku bunkenke, ababba battirawo ne pikipiki ne bagitwala! Kisoboka okuba ng’abatta aba bodaboda baana nzaalwa za ku byalo? Ssi y’ensonga lwaki battibwa sikulwa babalonkoma mu bapoliisi olw’okuba babamanyi?
 
Omutuuze omu ataayagadde kumwatuukiriza yang'ambye nti, bodaboda ezimu ezibbibwa zikyusibwa ennamba ne langi okwo kw’ossa okuzisiimula nnamba ya yingini n’ennamba y'akayumba ne bawandiikako endala ne bazizza mu Luweero kabekasinge ne ku siteegi kwennyini w'eba yabbibwa ne bazivugira omwo mwennyini nga temusobola kumanya!
 
Batta Kasule
Bwe nayogeddeko ne nnamwandu wa Bulasio Kasule, Muky. Joweria Nakanyike yang'ambye nti: Baze tatera kukola kiro, era lwe baamutta yakomawo eka essaawa 1:00 ey'akawungeezi. Kyokka n’embooge yali tennabuguma, omuntu gwe ssaamanya n'amukubira essimu, awo kwe kusamba pikipiki ye n'addayo era yang'amba nti k'agende anoonye amata g'abaana olwo lwe lwakoma.
 
Baze yali avuga pikipiki Bajaj Boxer nnamba UDU 583B era zino ze zimu ku nnamba eziriko. Bwe yagenda teyadda, nasooka kumukubira ssimu nga tagikwata ate olwaddamu okukuba ku ssaawa nga 4:00 ez'ekiro nga teriiko! Omulambo gwe gwasangibwa nkeera mu kaabuyonjo emu ku kyalo Kibikke ekiriraanye Kasana, baamufumita ekiso mu bulago ate ng'alina n'ekiwundu mu kibatu ekitebereezebwa okuba nga yali alwanira ekiso n'abatemu ne kimusala.
 
Kasule yali Ssentebe w'abawuliriza ba Bukedde Fa Ma e Luweero, era okuttibwa kwe kwawaliriza abantu okwekumamu ogutaaka ne balumba omusajja Maboko ne bamukumako omuliro, kyokka kigambibwa nti bangi abaali mu lukwe luno naye bayinaayina ne poliisi terina ky'ebakola wadde nga baagibaloopera!        
  

                                          Namwandu wa Kasule n'abaana be yasigaza nga bba bamusse.
 
Abalala abattiddwa
Bukya mwaka guno gutandika, abavuzi ba bodaboda abattiddwa mu Luweero bawera, okusinziira ku likodi za poliisi y'e Luweero. Kuliko Eliphaz Sseruwagi eyali avugira ku siteegi e Kasana, abatemu baamukuba ennyondo ku mutwe nga April 20 2012 ku kyalo Bukuna, omulambo ne bagusuulawo ne bakuuliita ne pikipiki ye na buli kati tewali amanyi mayitire gaabwe.
William Ssebadduka eyali avugira ku Sunny Stage e Kasana, ono naye ababbi baamutuga ne bamutta, Julius Mawerere eyali avugira ku Mukookoowe Stage, ono baamufumita ekiso ne bamusuula mu kibira e Yandwe, kyokka ono baasooka kumunoonya nga talabika, okutuusa lwe baayokya oluyiira olwo omulambo gwe ne balyoka bagulaba.
Ate John Lubowa, ono baamutta omulambo gwe ne baguziika mu ttosi ku kyalo Nabutaka era embwa za  poliisi ze zaamuziikula.      
 
Obukodyo bw e bakozesa
Abatemu ku siteegibajja nga basaabaze, era bwe muba musimbula ku siteegi oba otwala kasitoma.  Wabula bangi bwe batuuka mu kkubo nga bakyuka ate abamu beegattibwako bannaabwe ne bakutemula. Abamu ku batemu abatta aba bodaboda beefuula ababakubidde essimu ne beefuula aboogera nga abatawulira!
Bw’akusaba oyimirire  amale okwogera ku ssimu n’okikola, bw'atakunyoola nsingo, ayinza okuggyayo ennyondo oba okukusanjaga ekiso olwo n'atwala pikipiki. Basinga kubba pikipiki ez'ekika kya Bajaj Boxer. Abamu akuyimiriza nti ayagala kufuka, wabula agera ekifo banne we beekukumye w'akuyimiriza, oluba okuyimirira nga banne bafubutukayo nga bakutuga pikipiki nga bagitwala.
 
Okukupangisa ekiro: Kano akakodyo abakazi be basing okukakozesa kuba aba bodaboda tebabeeralikirira nnyo, kyokka abakazi bavuddeko okufa kw'aba bodaboda bangi, kuba bakolagana n'abasajja era babasanga eyo mu makubo ne babatuga. Kyokkka abamu baba bavuzi ba bodaboda bennyini ne babagulirizaako abatemu ne bakuteega mu kkubo ne bakutta, ate olumu baba banno ne bakwetuugira olw'okuba bamanyi nti ojja kubalonkoma pikipkiki bagibba naawe ne bakutuga.
 
NAFFE TUGENDA KWERWANAKO
Nayogeddeko n'abavuzi ba bodaboda ku siteegi ez'enjawulo okuli e Wobulenzi mu tawuni, e Luweero n’e Kibisi ne bang'amba nti, nabo tebagenda kutunula ng'abatemu babamalawo era bagenda kubakolako kuba abasing poliisi bw’ebakwata ate ebata ne badda ne babatigomya.
Bawera nti kati omuntu yenna gwe baddamu okukwata ng’asse munnaabwe bagenda kumukumako muliro, nga kino baakikoze ku musajja Saddam Maboko ow'oku kyalo Kikubajjinja eLuweero bbo gwe balowooza nti ye yasse
Kasule ne bamutikka ekinywa ky'enku n'ateta.  
 
LWAKI BABBA BAJAJ ZOKKA?
Omu ku babodaboda ku siteegi e Kibisi, yang'ambye nti: mu Luweero mulimu abagagga abakolagana n'abatemu nga bano be babatuma era akatale ke balina ka pikipiki za Bajaj. Abamu bagamba nti, bazitunda ku nnyanja nti kuba yingini zaazo zikola ne mu maato!

Ate abalala bagamba nti, ababbi bano balina abagagga be bakolagana nabo mu Kampala nga bano batunda sipeeya wa pikipiki, oluba okugibba bagitema sipeeya ne bagitwalira mu bibookisi. Eno y'emu ku nsonga lwaki basinga kubba pikipiki mpya eziba n'ebyuma ebiramu ebitundika amangu. 

Ani atta aba bodaboda e Luweero mu ngeri ey’ettima?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...