TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani akotoggera enkulaakulana ng’awera Oluganda okusomesebwa?

Ani akotoggera enkulaakulana ng’awera Oluganda okusomesebwa?

By Musasi Wa

Added 17th October 2012

OKUSINZIIRA ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kuteekateeka ebisomesebwa mu Uganda aka National Curriculum Development Center e Kyambogo, okuva mu 2015, ennimi ennansi tezigenda kubeera ku masomo agalina okusomesebwa abayizi ba siniya okuva ku okuva mu S1-S4.

OKUSINZIIRA ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kuteekateeka ebisomesebwa mu Uganda aka National Curriculum Development Center e Kyambogo, okuva mu 2015, ennimi ennansi tezigenda kubeera ku masomo agalina okusomesebwa abayizi ba siniya okuva ku okuva mu S1-S4.

Omwogezi w'akakiiko kano, Grace Namata Ssenoga agamba nti ono ye kaweefube w'akakiiko kano okukola enkyukakyuka mu bisomesebwa ku mutendera guno bukya biyisibwa Gavumenti y'Abazungu.

Agamba nti ennimi ennansi zisomesebwa abayizi mu bibiina bya pulayimale ebisooka (P1-P3) nga buli omu asomesebwa mu lulimi lw'ekitundu kye, ate okutandikira mu P.4 ne zisomesebwa ng’amasomo mu kibiina. Mu ngeri y'emu omuyizi asobola okweyongerayo n'okusoma ennimi zino oluvannyuma lwa S.4 gamba mu Haaya oba Yunivasite!

Muky. Senoga agamba nti, "Obuzibu obuliwo buli nti mu Uganda mulimu ennimi ennansi ezisukka mu 65, ate nga tetusobola kugamba nti buli lulimi lusomesebwe kubanga ezimu tezirina na biwandiike bizikwatako".

Olw’okuba Uganda erina ennimi bbiri ezaatongozebwa okuli Olungereza n'Oluswayiri, zino ze zigenda okusomesebwa mu nteekateeka eno. amasomo gak yusiddwa.

Nga ekitundu ku nkyukakyuka ezikolebwa mu byenjigiriza, Gavumenti yaakuggyawo ensomesa y'amasomo (Subjects), esseewo enkola y'okusoma ebintu ebifaanagana ebissiddwa awamu okuyamba oyo avudde mu ssomero n’oyo eyeeyongeddeyo.

Amasomo agasomesebwa abayizi mu siniya (S1-S4) geesigamye ku kukwata bukusu, kati essira lyakussibwa ku kugezesebwa, omuyizi amalirize ng’alina ky’ayize.

Okugeza bw’oba osomye ebyassaayansi okutuuka ku S4 nga wabikwata bulungi, ne bw’oteeyongerayo ng’oyinza okukanika amasannyalaze, ppaasi, okujjanjaba ebisolo, okubajja, okutunga ekyalaani n’ebirala.

Muky. Ssenoga agamba nti bino bye byetaagibwa mu bulamu obwabulijjo okusinga amasomo agabaddewo ag'okwogera obwogezi.

ENSOMESA Empya

Wagenda kussibwawo amasomo musanvu ag'obuwaze eri buli muyizi ali mu mutendera guno.

i. Okubala: Okulowooza n'okugonjoola obuzibu (Mathematical Reasoning and Problem Solving), Nnamba (Number), enfaana y'ebintu n'ebbanga (Shape and Space), Bwino n'omukisa (Data and Probability), Patterns, Algebra n’ebipimo (Measurement).

ii. Ssaayansi: Obukugu mu byassaayansi (Science skills), Ssaayansi w'obulamu (Life Science), Ssaayansi w'ebintu (Material Science), Ssaayansi w'omubiri (Physical Science), Ensi n'obwengula (Earth and Space Science), Tekinologiya n'ebitundu mwe tubeera (Science technology and Society).

iii.Amasomo g'ebyobulamu (Life Education): Ebyediini (Religious Education), Ebyobuntu n'enkolagana n'abalala (Personal and Social Education), Okukozesa omubiri (Physical Education).

Enkyukakyuka ezireeteddwa

Ebirala ebinaasomesebwa

iv. Ennimi: Okuwuliriza (Listening), Okusoma (Reading), Okwogera (Speaking), Okuwandiika (Writing), Ekwasaganya y’ebiwaandiikiddwa (Response to literary text).

v.Amasomo g’obuntu (Social Studies): Ebitundu n’obukulembeze (Society and leadership), Ebiseera n’okutwala mumaaso (Time and continuity), Abantu n’obutonde bwabwe (People and their environment), ne Enkulakulana enung’amu (Sustainable development).

vi.Tekinologiya n’okutandiwo emirimu (Technology and Enterprise): Eby’obulimi Agriculture, Okutandikawo bizinensi Entrepreneurship, Eby’emmere n’Ebiriisa (Food and Nutrition) n’okukizesa kkompyuta (IT).

vii.Obuyiiya (Creative Arts): Okuzina (Dance), Okuzannya katemba (Drama), Okuyimba (Music), n’okukwata ebifaananyi Visual Arts. Wadde ebikyusiddwa mu kusoma birungi, wabula ennimi ennansi ziwereddwa!

Mu Uganda, ennimi ennansi ezisinga okusomesebwa mulimu Oluganda n’Olunyakitara, ennimi endala ng’Olusoga babadde batandise okukung’aanya amateeka kwe lutambulira ng’essaawa yonna nabo baakutandika okulusoma.

Mu nteekateeka empya, okuggyako Oluswayiri n’Olungereza ez’obuwaze okuva mu S1, omuyizi ayinza okulondayo ennimi endala z’asoma.

Muno baataddemu ennimi endala engwira zonna kasita teziba za wano mu Uganda. Kino kitegeeza nti Oluganda, Olunyakitara n’endala zonna ziwereddwa!

Ekyewuunyisa nti Gavumenti erina Minisitule y’ebyobulambuzi n’evunaanyizibwa ku byobuwangwa, kale weebuuze nti olulimi bwe kiba kyabuwangwa olwo bw’oluggyawo nga n’ebifo by’obuwangwa bingi byokeddwa oba bisaanyiziddwaawo, olwo bulambuzi ki oba buwangwa ki bw’oba ossizaawo ebitongole?

Bw’omala okuweraennimi ennansi, olwo kinaatwala bbanga ki nga n’ebintu ng’amazina, ebyemikono, eby’ekinnansi ng’ebibbo, emikeeka, ensuwa, amafumu, emmere n’ebirala tebivuddeewo?

Oba Olungereza lubadde mu Uganda okuva mu 1879 kyokka era ng’abantu bakyakaluubirirwa okuyiga n’okululowoolezaamu, era ng’abakugu bagamba nti kye kivuddeko Bannayuganda obutayiiya bulungi, bw’owera ennimi ennansi oba oluubirira kukulaakulanya ggwanga?

Ani akotoggera enkulaakulana ng’awera Oluganda okusomesebwa?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...