TOP
  • Home
  • Emboozi
  • 'Eyali omugagga bwe bansiba kati nsabiriza'

'Eyali omugagga bwe bansiba kati nsabiriza'

By Musasi Wa

Added 24th October 2012

BANGI abavudde mu kkomera ne bayigayo emirimu era ne bagissa mu nkola. Kalondoozi wa Bukedde akuleetedde abalina kye bafunyeemu.

BANGI abavudde mu kkomera ne bayigayo emirimu era ne bagissa mu nkola. Kalondoozi wa Bukedde akuleetedde abalina kye bafunyeemu.

Morris Kizito Mukasa yaggalirwa mu kkomera e Luzira okumala emyezi esatu wabula eno gye yafuna omutima oguyamba abasibe n’abantu abavudde mu kkomera.

Kizito omukisa gwe yaggya mu  kkomera agunyumya bwati:

Ndi omu ku baana omusanvu maama waffe be yazaala, twali tubeera Kalisizo mu Rakai. Wadde ssaasoma kufuna diguli, nafuna ssente nga nkyali muvubuka ze naggya mu kuzimba kubanga nali nakuguka mu nkokoto n'okubuzimbi.

Natendekerwa mu Iganga Vocational Institute gye nafuna dipuloma wakati wa  1989-1992.

Nga mmaze okusoma nafuna kontulakiti ne kkampuni emu, ey'okuleeta ebizimbisibwa mu ggwanga bye nasuubulanga e Bungereza. Neeyongerayo n'okusoma  mu Nottingham University e Bungereza ne nkuguka mu byokuzimba n'enkokoto. 

Nakomawo kuno ne ntandika okukolera mu National Housing n’amakampuni amalala mwe nazimbira ebizimbe bingi omuli Naalya Housing Estate, State House e Kisozi era nze nasooka okuleeta bubbulooka obwa ‘pavers’ mu Uganda.

Nnafuna ssente nnyingi  ezaakwasa omu ku baganda bange eyali akola mu kitongole ekikuumi n’atandika okunnimirira nti nnina emmundu era njagala kuggyako Gavumenti.

Olwo nnali mbeera Kabojja, bankwata ne bansiba okumala emyezi esatu naye kkooti y’e Makindye n’ ennejjeereza.

Mu October wa 2000 baddamu ne bankwata ne banzizaayo e Luzira ne mmalayo omwezi omulala mulamba nga muganda wange y’annimirira!

Bwe naleetebwa mu kkooti bantegeeza nti fayiro yange yabula. Bansibira bwereere era nnasangayo abasibe abalala bangi abali mu mbeera y’emu n’eyange; ate nga bali bubi. Nnasalawo nti bwe balinta ng’enda kutandika okuyamba abasibe.

 Bangi ku basibe bang’amba nti baggaliddwa awatali nsonga, abalala nga tebamanyi ddi lwe balitwalibwa mu kkooti kuwoza.

Nasalawo okutandika okubalwanirira era nga bonna mu kiseera ekyo nga tuli mu kkomera nga bandaba nga katonda waabwe..

Emyezi esatu gye namala e Luzira gyampa ekyokuyiga era namanyiramu bingi ebikwata ku basibe n'ekkomera. Nga nakateebwa nasaba sente zange ezaali ku akawunti yange e Bungereza ne nziwaayo okuyamba abasibe era nawaayo doola 130 ezaali ku akawunti yange e Bungereza eri  abatwala  abasibe zibayambe.

Mu 2005 natandikawo ekibiina ekiyamba abasibe n’abo abavudde mu kkomera kye natuuma Mission After Custody  ekiyamba abasibe n’abavudde mu makomera nga tebalina waakutandikira."

Mukasa omulimu guno agukola ne mukyala we Teddy Nakalema. Ono asinga  kuyamba bakyala ababa bavudde mu makomera.

Agamba nti yasisinkana  Morris mu 2005 nga yaakava ku yunivasite .“Nzudde nti abakyala abasinga okusibibwa gaba mabanja na nsonga za maka ate bamanelenda basinga kufera bakyala.

Abakyala abasibe bangi bajja n'embuto nga tebalina waakutandikra era nakazaaza abakyala bataano n’abaana baabwe ne mbatuuma amannya.”

Bannadiini tebakoze

Kizito agamba nti bannaddiini tebakoze mulimu gwabwe okuyamba abasibe n'okubabudaabuda.

“oLUUSI nze mbatiza abasibe oba bbo okwebatiza mu makomera! Ate ne Gavumenti yeggyeeko obuvunaanyizibwa.

 

''Eyali omugagga bwe bansiba kati nsabiriza''

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...