TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani yayokya Nayiga, omuserikale wa Kabaka n’amulesa amabujje?

Ani yayokya Nayiga, omuserikale wa Kabaka n’amulesa amabujje?

By Musasi Wa

Added 13th November 2012

ENSI erina ettima, kuba Aisha Nayiga, omuserikale wa Kabaka eyaggyiira mu muliro ogwayokya wankaaki wa Bulange, omutemu amulesezza amabujje!

2012 11largeimg213 nov 2012 113619427 703x422

Bya LILIAN NALUBEGA

ENSI erina ettima, kuba Aisha Nayiga, omuserikale wa Kabaka eyaggyiira mu muliro ogwayokya wankaaki wa Bulange, omutemu amulesezza amabujje!

Nayiga abadde yaakamaliriza emisomo ne bamutikkira dipulooma. Abadde yaakayanjula bba mu bakadde, kyokka byonna bino abirese ku nsi n’abaana be basatu.

Nayiga muwala wa Haruna Lubega Kaddunabbi ne Jalia Nassuuna e Mugojja - Mirembe mu Butambala. Amaze ebbanga lya mwezi mulamba ng’ajjanjabirwa mu ddwaaliro e Nakasero, Ssaabasajja Kabaka gye yalagira atwalibwe ne banne abalala bataano abaggyiira mu muliro guno.

Nayiga baamulesezza omwana omuwere.

Ku bano, basatu baafa gye buvuddeko ate ababiri ne baasiibulwa wadde nga bakyalina obulumi obw'enjawulo.

Abalala abaafa olw’omuliro guno kuliko Richard Ssebuguzi eyali omukozi wa Buganda Land Board, Capt, Mivule eyali akulira amagye ga Kabaka; omuwala eyali alabirira abaserikale mu by’okulya ku Bulange n'okuyonja ofiisi zaabwe Betty Nakanwagi ko n'omukazi agambibwa okuba omulalu eyali asibiddwa mu kifo kino eyafiirawo omuliro lwe gwakwata nga October 10 2012.

 

Taata wa Nayiga, Mw. Kaddunabbi yagambye nga muwala we afudde nti, “Nayiga ebbanga lyonna abadde akuumirwa mu kifo omulabirirwa abalwadde abayi e Nakasero kyokka ku Lwokubiri nga November 6, yaggyiddwaayo ng’abasawo bagamba alabika ajja kuba bulungi . Gye baamuzzizza yamazeeyo olunaku lumu n’afa.”

Aisha Nayiga lwe yatikkirwa omwaka oguwedde.

Nayiga yasomera mu Kawempe Primary School gye yava n'agenda e Kibibi SSS gye yamalira S4. Oluvannyuma yeegatta ku Saidina Abubakar e Kaabasanda gye yamalira S6 era amangu ddala n eyeegatta ku magye n'atendeklerwa e Kabamba gye yava n'aweebwa okukuuma Kabaka, omulimu gw’amazeeko emyaka 10.

Newankubadde Nayiga abadde mu magye azze ayongera ku kusoma kwe, omwaka oguwedde yafuna Dipulooma mu byakompyuta nga yali wamu n'abamu ku baserikale ba Kabaka abalala nga baayambibwako Saabasajja Kabaka mu kusoma kwabwe.

Nayiga era omwaka oguwedde yayanjula bba Edward Mawanda ow’e Banda era akolera mu Lubiri lwa Kabaka. Alese abaana basatu nga kuno kuliko n'ayavula!

Bba wa Nayiga, Edward Mawanda ( ku kkono) lwe yayanjulwa.

"Neebaza nnyo Ssaabasajja Kabaka n'Obwakabaka bwa Buganda olw'okufaayo ennyo okulaba nga bajjanjaba abaana baffe newankubadde tebasobodde kudda ngulu naye nga babadde bajjanjabwa wakati mu kulabirirwa okwenjawulo ate nga n'ensimbi ezibagenzeeko nnyingi.Ssaabasajja abadde amanyi omwana wange ng'omuntu ate nga n'ebbanga lye yamala ng’aweereza Naabagereka nalyo lyali ddene, Mw. Lubega Kaddunabbi bwe yagambye.

Nayiga yaziikiddwa e Mugojja-Mirembe.

Ani yayokya Nayiga, omuserikale wa Kabaka n’amulesa amabujje?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.