TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abaana b’amasomero abakutuseeko amagulu olwa bodaboda banakuwaza

Abaana b’amasomero abakutuseeko amagulu olwa bodaboda banakuwaza

By Musasi Wa

Added 14th November 2012

E Mulago abaana abasoba mu 100 baweereddwa ebitanda lwa bubenje bwa bodaboda

2012 11largeimg214 nov 2012 180824670 703x422

Buli mwaka abantu abasoba mu 500 bafiira mu bubenje bwa bodaboda mu Uganda yonna. Abalala abasoba mu 1200 balumizibwa, abamu ne batemwako amagulu oba okufuna obuvune obw’amaanyi.

KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze engeri bodaboda gye bitirimbulamu amabujje ekivuddeko n’eddwaaliro ly’e Mulago okussaawo wooda nnamba ejjanjaba abaana abagudde ku bubenje ku bodaboda.


ABAANA abasukka mu 100 omuli n’abasoma nnassale baweereddwa ebitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okufuna obubenje nga batambulizibwa ku bodaboda okutwalibwa ku masomero.

Kino kyeraliikirizza Minisitule y’ebyentambula n’ezuukusa etteeka ly’eyagala okuleeta eriwera abaana abatannaweza myaka 12 okutambulira ku bodaboda.

Joel Ssekatawa baamutemyeko okugulu lwa bodaboda kumukuba.

ABAANA BATTOTTOLA


Joan Naluggwa 6, asoma Top mu Salver Village e Wandegeya agamba nti yalumiziddwa bodaboda kwe yabadde atambulira okugenda ku ssomero bwe yatomereganye ne bodaboda endala nga batuuse ku Kaleerwe.

Annet Komimbo 7, asoma Top e Makerere West Valley agamba nti yabadde ava ku ssomero ng'ali ku bodaboda ne zitomeregana n’endala ng'ava ku ssomero ku ssaawa kkumi ez'olweggulo n'alumizibwa omutwe.

Joan Nalugwa 6, asoma Top class mu Salver Valley e Wandegeya yakooneddwa bodaboda ng’ava ku ssomero.

Elijah Kapule 2, yabadde akulisaayo banne nga bava ku ssomero, bodaboda n'emusanga ebbali w'ekkubo n’emutomera n'amenyeka okugulu era nnyina Yunusi Namutosi ayagala poliisi esitukiremu ku bodaboda.

Abel Bukenya 6, asoma P.1 mu Omega Primary School nga batuuze b’e Kabalagala yabadde ava ku ssomero ng’anaatera okutuuka awaka ng'asala ekkubo bodaboda n'emutomera.

Sharifa Nakato 10, asoma mu Kayembe e Bweyogerere yabadde asala ekkubo ku ssaawa 12.00 ez’akawungeezi, bodaboda n'emutomera n'edduka era nnyina Florence Nakayiza amujjanjaba ayagala poliisi eyongere amaanyi mu kulawuna bodaboda, kikendeeze ku bubenje.

Godfrey Ssevvume,4,banne baabadde bamugoba nga bazannya n’ayingira ekkubo. Wano ng’ali ne nnyina Teopista Nalwadda basaba buyambi 0706340995.

Avias Niwagaba 8, asoma Top mu John Bosco Katende yabadde atumiddwa okugula amata ng'ali ne muganda we Sanyu Tusiime 12, era mugandawe ono yafiiriddewo ng'abadde asoma Katende mu Umea.

Racheal Nakidde 6, asoma Middle e Masuuliita yakooneddwa bodaboda eyamusanze ebbali w'ekkubo n'afuna ebisago eby’amaanyi ku mutwe era bodaboda teyayimiridde.

Joel Sekatawa 6, yatomeddwa ng'ava ku ssomero lya St. Francis Salaama gy’asoma mu Top Class era yakutuddwaako okugulu.

Nnyina Annet Nalwoga amujjanjaba mu ddwaaliro e Mulago, yagambye nti eggumba ly’omwana lyakusalibwangako mu biseera ebigere okutuusa lw’aliweza emyaka 20!

Abaana abalala bangi abaweereddwa ebitanda e Mulago era wakati wa October ne November abayingiziddwaayo nga bali mu mbeera mbi basukka mu 100!

Reachel Nakidde 6,asoma Middle e Masuuliita yakooneddwa bodaboda eyamusanze emabbali w’ekkubo . Nnyina Nnaalongo Kintu asaba abazirakisa bamukubire ku ssimu 0772011627.

OBUBENJE bwa bodaboda mu baana obweyongedde buwalirizza Minisitule y’ebyentambula okubaga etteeka erifuga pikipiki.

Mu tteeka lino mulimu okuwera abazadde obutatambulizaako baana abatannaweza myaka 12 wamu n’okuziwaliriza okussibwako nnamba puleeti bbiri; ey’omu maaso n’eyemabega nga kizuuliddwa nti nnyingi zikola obubenje ne zibulawo.

Etteeka lino bwe linaaba lissiddwa mu nkola ligenda kusikira eryo erya bodaboda eririwo kati eryayisibwa mu 2004.

Joshua Biyinzika, 4, asoma mu bebi ku Rommy and Solome Gayaza. Ali Mulago lwa kabenje ka bodaboda.

Ronald Amanyire, avunaanyizibwa ku kwekebejja ebidduka mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula yagambye nti etteeka lino ligendereddwaamu kulongoosa ntambula ya pikipiki mu ggwanga n’okukendeeza obubenje naddala mu baana era lyakwanjulwa mu palamenti likubaganyizibweko ebirowoozo.

Paul Kwamusi, omukungu mu by’entambula y’olukale yagambye nti omwaka oguwedde bodaboda 3,279 ze zaakola obubenje era abantu 570 abaali bazitambulirako baafiirawo ate abalala ne baweebwa ebitanda nga bakutuseeko amagulu, emikono n’ebisago ebirala.

Annet Komimbo 7, asoma Top, Makerere West Valley yabadde asala ekkubo bodaboda n’emutomera n’amenyeka okugulu e Kikoni okumpi ne poliisi.

POLIISI ERANGIRIDDE EKIKWEKWETO
Aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Lawrence Niwabiine alangiridde ekikwekweto ku ba bodaboda abatwala abaana b’amasomero naddala ababatikkako nga basukka mw’omu kubanga etteeka eririwo kati wadde terinnagaana baana kutambulizibwa ku bodaboda kyokka ligaana okutikkako abantu ababiri oba okusingawo ate agituddeko ateekeddwa okussaako ekikoofiira ekitakolebwa ku baana abasing obungi abazitambulirako.

Sharifa Nakato 10, asomamu Kayembe Primary e Bweyogerere ,yakoneddwa bodaboda ng’ava ku ssomero ku ssaawa 12.00 ez’olweggulo ku Lwokusatu.

Niwabiine yagambye nti abamu ku bavuzi ba bodaboda bazzi ba misango era bavugira mu kutya nga beekengera poliisi okubakwata era mu kutya okwo abamu mwe bakolera obubenje.

Yagambye nti bagenda kukola ebikwekweto bya bodaboda mu Kampala n’emiriraano mu kaweefube w’okukendeeza obubenje.

 Etteeka lijja erinaawera okutwalira abaana abato ku bodaboda.

Abaana b’amasomero abakutuseeko amagulu olwa bodaboda banakuwaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.