TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Aggrey Memorial: Essomero erimazeewo emyaka 80 lyakumenyebwa nga Gavumenti etunula butunuzi!

Aggrey Memorial: Essomero erimazeewo emyaka 80 lyakumenyebwa nga Gavumenti etunula butunuzi!

By Musasi Wa

Added 21st November 2012

Mu myezi esatu gyokka, Aggrey Memorial School, essomero ery’obwannannyini eryasooka mu Uganda liyinza okumenyebwa.

2012 11largeimg221 nov 2012 173842080 703x422

Mu myezi esatu gyokka, Aggrey Memorial School, essomero ery’obwannannyini eryasooka mu Uganda liyinza okumenyebwa.

Abayizi abasoba mu 800 ababadde basomeramu bandinoonya awalala, oluvannyuma lw’omuzzukulu w’Omulangira Ssuuna eyawaayo ettaka okwazimbibwa essomero lino okulyeddiza era agezaako okulitunda.

KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaze obufere bwe bukudde ejjembe mu nsonga z’ettaka.


OMULANGIRA Yusuf Ssuuna yagabira essomero lya Aggrey Memorial School erisangibwa mu zooni ya Busingiri mu ggombolola y'e Makindye yiika 30 eziri ku bbulooka 265 mu mwaka gwa 1932.


Omulangira yakola ekiwandiiko ekikakasa nti agabye ettaka lino era n’akikwasa Dr. Honesty Kalibbala eyatandika essomero wamu n'Omuzungu Mrs Alta Johns.


Oluvannyuma Kalibbala yeegatibwako abasomesa abaava e Buddo ne bafuula essomero lino ery'amaanyi mu ggwanga kubanga ly’essomero ly'obwannannyini eryasooka mu Uganda saako n'okuyigiriza Olungereza.

Ng’Omulangira Ssuuna amaze okufa, Gavumenti yeddiza essomero lino mu 1992. Muwala we Nnaalinnya Nkinzi bwe yamanya nti Gavumenti tejja kulondoola ttaka lino n'akozesa olukujjukujju n'atundako yiika musanvu!

Abatuuze kye bagamba

Abakulu b'essomero nga bakitegedde baatwala Nnaalinnya Nkinzi mu kkooti n'emulagira addize essomero yiika zaayo musanvu wabula olw'obulagajjavu bw'abakulu bano, Nnaalinnya yatuuka okufa mu 2010 ng’essomero taliddizza ttaka lino. Yaliguza abantu basatu okuli Lwanga ne Kirumira.


Ebyo bibadde bikyali bityo, mutabani wa Nnaalinnya, Saava Stephen Kikonyogo n'atunda yiika 23 essomero ze lyali lisigazizza ku ntandikwa y’omwaka guno! Ettaka lino yalisalamu poloti ez’enjawulo n’azitunda wakati w’obukadde 10 ne 15 okusinziira ku bunene bwa poloti.

Yaliguza Sam Kayinzi n’abalala 

Saava agamba nti ku ttaka lino, essomero lyewang’amyako mu bukyamu kubanga jjajjaawe Ssuuna ettaka lino talina gwe yaliwa.

Saava yeeyambisa omukisa gw’okuba nga essomero teririna kyapa era eno y’emu ku nsonga gye yeekwasa nti singa ettaka lyali lyaweebwa essomero, singa balina ekyapa. Newankubadde ng’abakulira essomero lino balina endagaano ekakasa nti ettaka lino lyabaweebwa.


Abatuuze abamu bagamba nti Saava yeekobaana n’abamu ku bakulembeze by’ekyalo ne poliisi y’omu kitundu okujingirira ebiwandiiko by’okutwala ettaka lino mu lukujjukujju wabula bino babyegaana.

Abaaliko abakulu b’essomero lino n’abalitwala kati wamu n’abamu ku bakulembeze b’omu kitundu, baasalawo okutwala ensonga zino mu kkooti wabula Saava agamba nti abakulu bano bamala biseera kubanga ye alina ekyapa ate bbo tebakirina!

SSAAVA KIKONYOGO
Sitegeera bantu kye baagala kubanga tebalina kiwandiiko kyonna kiraga nti ettaka lyabwe. Tutambudde mu ofiisi ez’enjawulo ne balemwa okukakasa obwannannyini bwabwe ku ttaka lino n’olwekyo nze mbamanyi nga bakibanja kubanga tebalina kyapa.

BEATRICE KARUURU, OMUKULU W’ESSOMERO ALIWO KATI:
Bwe twalaba nga Ssaava atufuukidde ekirala, twekubira enduulu mu kkooti enkulu ekola ku byettaka nga tumulanga okutunda ettaka lyaffe mu bukyamu. Tewali yali aggyeeyo musango nga bwe byogerwa kubanga empapula zonna ezimala okuwangula omusango guno tuzirina.

 

‘Ssaava amenya essomero eryamusomesa ku bwereere!’

SAMUEL BUSUULWA
Ono yakulirako essomero lino okuva 1976-1985 era agamba bwati:
Essomero lino lye lyasooka okubeera ery'obwannannyini mu Uganda era nga lyatandikibwa Dr. Honesty Kalibbala oluvannyuma lw'abayizi n'abamu ku basomesa baabwe okwediima e Buddo we baali basomera nga bawakanya ekifaananyi kya Kabaka Daudi Chwa 11 okubeera wansi w'ekya Kkwiini wa Bungereza


Abaali bakulira essomero lino bwe baagaana okukyusa ebifanaanyi bino, abayizi beekalakaasa olwo abakulu ne basalawo okubagoba. Kino kyaleetera abamu ku basomesa abaali emabega w'abayizi omwali ne Dr. Kalibbala okulekulira essomero ne batandika eryabwe.

Mw. Busuulwa Samuel


Nze ebiseera bye nakulembera essomero lino, nalabako ku ndagaano Omulangira Ssuuna ze yakolera essomero ng’aliwa ettaka lino era nze nazimbawo n’ennyumba z'abasomesa.


Essomero lino lyafuuka ery’amaanyi kubanga lye lyatandikawo okuyigiriza mu Lunguleza. Essomero lyalimu Abaddugavu okuva mu mawanga eg’enjawulo olw'omutindo gwe lyaliko.


Nneewuunya okulaba nga muzukulu w'Omulangira, Ssaava Ssuuna atandika okugamba nti ettaka lino essomero liriko mu bukyamu kyokka nga limaze emyaka mingi era Dr. Kalibbala yalagira bonna abalisigala nga baddukanya essomero lino nti abaana bonna abava mu lunyiriri lw'Omulangira Ssuuna basomerenga bwereere. Mu bano ne Ssaava agobaganya essomero lino we yasomera ku bwereere era n'abaana be bonna!


We naviira ku ssomero lino mu 1985 tewaali buzibu bwonna wabula Gavumenti bwe yatandika enkola ya Bonna Basome eya siniya, yatwala essomero lino ne liva mu mikono gy'abantu.

Abantu omuli Nnaalinnya Nkinzi yamanya nti Gavumenti teyalina kye yali emanyi ku ttaka lino era n'akozesa omukisa guno n'atundako yiika musanvu.

Abatuuze kye bagamba


Kkooti y'e Ntebe yamulagira addize essomero yiika zaalyo wabula yatuuka okufa nga tazizzizza era kino nkiteeka ku bunafu bw'abaali bakulembera essomero ekiseera ekyo.


Yiika omusanvu bwe zaagenda, twasigala tugumidde ku yiika 23 ezaali zisigadde wabula nazo mutabani wa Nkinzi ng'ayambibwako abanene abamu ne poliisi asazeewo okuzitunda.


Twali tukyali awo, ne wajja abasajja abaategeeza essomero nti bapunta ne batandika okukuba ettaka era ne basiba ne sseng’enge nga bakuumibwa abaserikale kyokka nga bambadde ngoye za leeya.


Twagezaako okwogera ne Ssaava wabula ye yatugamba nti essomero liriwo mu bukyamu era y’alina ekyapa era kati ensonga twazirekera kkooti.

Lwaki Gavt. ekkiriza okumenya essomero ery’ebyafaayo?


JAMES SSEKYONDWA,  YALI MUSOMESA
Essomero lino lyasooka kubeera lya pulayimare ku nnyanja ya Kabaka gye lyava okudda we liri kati.
Nneewuunya okulaba nga Ssaava agamba nti ettaka lirye era nti alina n'ekyapa.

Ekyapa si kituufu okuggyako nga yakolagana ne Minisitule y'ebyettaka okukikyusa kubanga nze nkimanyi nti ekyapa kya wano kikyali mu mannya g'Omulangira Yusuf Ssuuna.


Wabula bino byonna okubaawo obunafu nsinga kubuteeka ku bakulembeze b'essomero lino obutafaayo kulaba nga bazza ekyapa mu mannya g'essomero ekituusizza essomero okugobwa.


Endagaano nnazirabako nga Godfrey Lule eyali ssentebe w'olukiiko olukulira essomero lino y’azirina. Nkakasa nti kkooti bw’eneeba ya mazima, ejja kusingisa Ssaava omusango kubanga ebyo byonna ajingirira bijingirire.

 

Mw. Ssekyondwa

 

EDITH LUTAAYA,  OMU KU BATUUZE
Nakula mmanyi nti ettaka okuli essomero lino lyaweebwayo Omulangira era we nasomera era n'abaana bange we basomedde. Ssaava okweddizi ettaka lino tekyewuunyisa kubanga atunze ettaka lyonna Omulangira Ssuuna lye yaleka ng’awamu atundawo emirundi ebiri.


Nze mbadde nnimira mu ttaka lino era lumu nnali mu nnimiro abapunta ne bangoba nga bagamba nti awo we nnali waali wa Ssentebe w'ekyalo David Muyanja.


Nebuuza bingi kubanga nnali nkimanyi nti ettaka lino lyali lya Aggrey Memorial. Ng’enze okwetegereza nga ssentebe buli lukiiko lw'okulwanirira ettaka lino we lubaawo, ye talabikako ng’agamba nti talina biseera!

Kino kituleetera okulowooza nti osanga kituufu baamuwaako yiika asobole okuteeka emikono ku biwandiiko Saava by’aba ayagadde okukozesa!

JOHN LWANYAAGA, YALIKO  OMUKULU W'ESSOMERO LINO
We nabeerera omukulu w'essomero lino, namanyaako bitono ku byafaayo by'essomero kubanga amaanyi nasinga kugateeka ku ngeri abaana gye bayinza okusoma ne bayita bulungi.


Wabula buli omu yali akimanyi nti Omulangira Ssuuna yawaayo ettaka okuzimba essomero lino naye nze ndowooza Ssaava akimanyi bulungi nti kyakaayanira si kikye wabula ayagala byanfuna.

Mw. Lwanyaga

KU POLIISI Y'E  BUNNAMWAYA:
Akulira poliisi eno Abel Muwonge yagambye;
Abantu balekere awo okusiba ku poliisi amatu g'embuzi kubanga ffe twogera na buli omu. Bwe balaba twogera ne Ssaava balowooza nti tubeera twekobaanye naye.


Ebintu bino bitandise okuntabula kubanga nalabye Ssaava ng'alina ebiwandiiko ebiraga nti oludda olumuwaabira, lwaggyeeyo omusango mu kkooti ne bagussa ku kitongole ky'ebyettaka nti era tebakyamulinako nsonga yonna.

Njagala okukakasa abantu nti nze sirina ludda lwonna wabula ndiwo kulaba nga ku njuyi zombi tewabaawo afuna buzibu.

DAVID MUYANJA,  SSENTEBE W'EKYALO
Bwe natuuse ewa Ssentebe ne mubuuza ku nsonga zino namusanze asala njala era n’ang'amba muviire ye talina ky'amanyi ku nsonga zino. “Genda ewa Ssaava y’amanyi ensonga zino,” bwe yagambye.


Nabadde ngezaako okumunnyonnyola obukulu bw'alina mu nsonga zino n’ang’amba, “Bw’okiremerako nja kukusala ejjirita oba okukuteera embwa!”

Abatuuze kye bagamba


Dr. J.C Muyingo, Minisita w’ebyenjigiriza ebya waggulu yagambye nti abadde tamanyi nti Aggrey Memorial litundiddwa!


Capt. Jessica Alupo, Minisita w’Ebyenjigiriza
yasabye abakulira Aggrey Memorial n’abaliddukanya okussa okwemulugunya kwabwe mu buwandiike bakumutwalire.


“Bwe banaakikola nze nja kukolerawo kubanga tetuyinza kufiirwa ssomero nga lino erimazeewo emyaka emingi,” bwe yagambye.

Abatuuze kye bagamba

 

 

 

 

Aggrey Memorial: Essomero erimazeewo emyaka 80 lyakumenyebwa nga Gavumenti etunula butunuzi!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...