TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Omuyindi akkirizibwa atya okusengula amaka 500 e Myanzi nga tabaliyiridde?

Omuyindi akkirizibwa atya okusengula amaka 500 e Myanzi nga tabaliyiridde?

By Musasi Wa

Added 28th November 2012

EMYAKA 50 egiyise Omuyindi yafuna ettaka e Myanzi ategeka kusengula batuuze nga tabawaddeeyo wadde omunwe gw’ennusu.

2012 11largeimg228 nov 2012 141844207 703x422

EMYAKA 50 egiyise Omuyindi yafuna ettaka e Myanzi oluvannyuma lw’Omuzungu omu okulyeggyako ng’adda ewaabwe nga Uganda efunye obwetwaze.

Omuyindi naye ettaka teyalikozesa kuba mu 1972 baabagoba mu Uganda nga tebeesiikidde wadde akawande. Omuyindi we yafunira ettaka nga kuliko abantu abasasula ne busuulu, wabula emyaka bwe giyiseewo, ategeka kubasengula nga tabawaddeeyo wadde omunwe gw’ennuse.

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri abakulembeze b’omu kitundu gye balekeredde abaabalonda ne babaleka okusindiikirizibwa ng’ekyonziira.

ABANTU abasukka mu 500 e Myanzi mu disitulikiti y’e Mubende, boolekedde okugobwa ku ttaka kwe bamaze
emyaka n’ebisiibo!

Bangi ku batuuze bano bamazeeko emyaka egisoba mu 50, bakozeeko ebirikulaakulanya n’abalala balinako ebiggya.

Ekyewuunyisa kwe kuba nti ng’etteeka ly’ettaka eryandibadde libakuuma limaze okuyisibwa mu 2010, ekisengula bantu mu Buganda lyeyongera bweyongezi.

Abaggyibwa ku ttaka bali mu byalo bibiri okuli Myanzi- Kabubbu ne Kalama. Milly Najjuma, mutuuze e Myanzi agamba nti bamaze emyaka ebiri nga bali ku bunkenke bw’okugobwa oluvannyuma lwa kkampuni ya General Products & Traders okuvaayo gye buvuddeko n’ebategeza nti eyagala kubasengula ettaka erikulaakulanye!

Ettaka lino eryogerwako lisangibwa ku bbuloka 297 , liwezaako yiika 550.

Mu lukiiko wiiki ewedde okuteesa ekiddako.

GENERAL PRODUCTS & TRADERS
Kkampuni eno egamba nti yagula ettaka lino okuva mu ofiisi ya Administrator General, nti ettaka lyali lya Muzungu, Joseph Francis Mackeni eyafuna ettaka lino okuva ku gavumenti enkuumi (Crown land).

Omuzungu ono yafa mu myaka gya 1960 nga gitandika, olw’okuba teyalina musika kuno, Gavumenti ng’eyita mu kitongole ekiddukanya ebintu by’abafu n’ebeera nalyo okutuuka lwe yasaba abantu abaagala okuligula bajje.

Abantu abasangibwa ku ttaka baafunako bibanja kyokka ne wasigalawo ekitundu. Mu mbeera eno Administrator General yategeeza nga bwe yali ayagala okuguza omuntu omu ettaka lino eryali lisigaddewo, General Products & Traders nga kkampuni y’Abayindi n’ejja n’egula ettaka lino.

Mu myaka gya 1970 bwe wajjawo enkyukakyuka mu byobufuzi, Abayindi tebaafuna kyapa mu butongole era mu bbanga lino Pulezidenti Amin n’aggyawo ettaka lya mayiro n’erya freehold .

Mu kiseera kye kimu Abayindi ne bagobwa mu ggwanga. Gavumenti ya NRM bwe yazzaayo ebintu bya Bamuyindi muzungu, aba General Products & Traders kwe kuddamu okwagala okweddiza ettaka lyayo. Maneja wa kkampuni eno, Muhammed Magala agamba

ENKAAYANA KU TTAKA:

Maneja wa kkampuni eno, Muhammed Magala agamba nti oluvannyuma lw’okufuna ettaka lino mu myaka gya 1960, General Products & Traders yafuna obuzibu n’abatuuze bwe yali ezze okusiba sseng’enge ku ttaka lyayo bwe baagitwala mu kkooti.

Omutuuze Tereza Nnaalongo yawa obujulizi mu kkooti enkulu nti kkampuni eno yayingira ku kibanja kye nga temaze kumubuulira n’esiba sseng’enge nga October 28,1968, ekintu kye yagamba nti kyamukaluubirizanga.

Era mu musango guno, kkampuni eno yasabibwa okuleeta ekyapa ekiraga nti ettaka lyabwe nga tebakirina. Kati ku mulundi guno era ekomyewo okulaba nga ‘yeddiza’ ettaka lyayo.

Ku disitulikiti

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende, Amooti Kibuuka agamba: Ensonga z’ettaka ly’e Myanzi zeetaaga kutegeeragana wakati wa kkampuni ya General Products & traders eyagala okusiba ettaka n’abatuuze.

Kkampuni nagitegeezezza esooke kulaba ng’eriyirira abatuuze, ekintu kye nalabye nti si nneetegefu kukikola.

Era abatuuze nabasomesezza eky’okukola; okubeera abakkakkamu kyokka nga buli alinako ebintu bye alina okusooka okusasulwa singa buli omu abeera alina ebiwandiiko ebikakafu.

Abatuuze b’e Myanzi nga bawuliriza Hajji Kimera gwe baali balowooza nti ye nnannyini ttaka.

‘Ettaka libaako litya ebyapa bibiri?’
ABATUUZE bwe bamanya nti ensonga z’ettaka zoolekedde okubonoonekako, kwe kwekolamu omulimu okwetaasa obutasengulwa.

George Kalungi, owamawulireku kakiiko k’ettaka ku kyalo Myanzi- Kabubbu, agamba nti General Products yabaleetera ebiwandiikong’ebagoba ku ttaka era waayita ebbanga ttono n’eyaga okupima ettaka.

“Okupima twakugaana kubanga baali tebatulaga biwandiiko. Baasooka ne batulaga poloti 55, eno nga yasalwamu ng’era eriko poloti endala. Bwe baddayookuleeta ebiwandiiko ebirala kwe kuleeta ate ebiraga nti poloti eno erimu endala nnyingi.

Ekirala ekisinga okutuluma kwe kuba nti kkampuni eno ebiwandiiko by’egamba nti bigiwa enkizo ku ttaka lino yabiteeka ku ggombolola mu kifo ky’okubireeta ku LC 1, eri abantu abavunaanyizibwa ku bantu abaagala okusengulwa.

ABANTU BABASIBA
Era ffe abagezaako okulwanirira abatuuze twatwaliddwaako mu kkomera lwa kujeemesa batuuze kuva ku ttaka. Baamutadde ku Lwamukaaga nga 24/11/2012.

Mu mbeera eno tugenze mu maaso n’okunoonya bannanyinni ttaka abatuufu be tuba tukolagana nabo bw ekiba nga ddala be banannyini lyo.

Bwe twagenze mu kitongole ky’ebyettaka e Mityana, nanyinnittaka twagenze okukisanga nga lya Mumbejja Nabisaalu. Ono emabegako abatuuze gwe baawanga obusuulu.

Kkampuni eno emaze ebbanga ng’eyagala okujja ku kyalo kino okwerula empenda z’ettaka n’ekifuba nti eyagala kukolerako mirimu.

Abeggombolola tebatuyambye kubanga baali bawadde kkampuni eno olukusa okwerula empenda, awatali ffe kusooka kukkaanya!

Ebiwandiiko bye baali bawadde Gen. Products & Traders Ltd, baalina okutandika okwerula nga June 26, 2012. Ate olwo lwe lunaku lwe lumu eggombolola lwe yali etegese okusisinkana abatuuze okwogera nabo ku nsonga eno!

ABALANGIRA BAJJA OKUSISINKANA ABATUUZE
Mu lukiiko olwaliwo nga November 22, 2012 Omulangira Hajji Mustafah Kimera yakulembera banne ne bajja basisinkana abatuuze. Baabategeeza nti baali bakyanoonya ettaka lyabwe eriri mu kitundu kino kyokka nga tebanneekakasa oba ly’eryo abatuuze kwe baali.

“ Ettaka bwe tunaakisanganga lyaffe, tugenda kujja tupime bulungi era be tunaasangako tugenda kukolagana nabo awatali kuyombagana.

Wabula mu kiseera kinombadde nsaba mukkirize ne kkampuni eri ejje eyerule empenda ku ttaka lino kisobole okuggyawo eggoye eririwo. Gye mukoma okubagaana okwerula empenda, gye mugenda okukoma okubeera ku bunkenke,” bwe yategeezezza abatuuze!

Omuyindi akkirizibwa atya okusengula amaka 500 e Myanzi nga tabaliyiridde?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.