TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani ajingirira ebyapa mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono?

Ani ajingirira ebyapa mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono?

By Musasi Wa

Added 5th December 2012

Bw’obeera mu disitulikiti y’e Mukono, teweeyibaala nti olina ekyapa, muyinza okuba nga ku poloti emu waliwo abalina ekyapa kyayo nga babiri oba okusingawo!

2012 12largeimg205 dec 2012 120818083 703x422

E Mukono, buli w’oyita abantu beeraliikirivu olw’ekisengula bantu n’ekibba ttaka ekigenda mu maaso.
Era bw’obeera mu disitulikiti y’e Mukono, teweeyibaala nti olina ekyapa, muyinza okuba nga ku poloti emu waliwo abalina ekyapa kyayo nga babiri oba okusingawo!

KALONDOOZI WA BUKEDDE asisinkanye abalina ettaka e Mukono ne balaga obuzibu obuli mu ofiisi y’ebyettaka.


ABALINA ettaka e Mukono bangi bagamba nti emivuyo ku ttaka gitandikira mu ofiisi y’ebyettaka gye bagamba nti erwawo okukola ku nsonga zaabwe, mulimu abakozesebwa abanyazi b’ettaka okubuzaabuza ebyapa.

Abalala babatambuza kumpi bwoya kubaggwa ku ntumbwe, nga batambulira ebyapa, oluusi ne kizuuka luvannyuma nga byagabirwa abantu abalala!

Okumala eggobe mu kibya, abakungu abamu mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono bwe baabagobaayo olw’okujingirira ebyapa, baakola kkampuni yaabwe wabweru wa ofiisi eno.

Omuntu ayagala okumukeberera ku kyapa kye okulaba we kituuse bw’agenda mu ofiisi y’ebyettaka, bano be bamwesooka ne bamuggyako ne ssente empitirivu kyokka gye biggweera nga tebamuyambye.

John Kasiigwa ow’e Namanve agamba nti abafere mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono mwebali bangi.
“Batuwaayiriza ffe ababa bagenze okunoonya ebyapa byaffe nti ffe bafere naye tusiiba mu ofiisi eno buli lunaku nga tunoonya ebyapa byaffe bye baabuza.

Ofiisi eno mulimu abajingirira ebyapa n’okussa emikono ku byapa ebifu. Bayinza okukutambuza olw’ekyapa kyo nga baagala okukukamulamu ssente. Nze kati emyaka ena nnoonya ‘white page’ yange mu ofiisi eno terabikanga.
Olumu nnagenda ew’omukungu assa emikono ku byapa okumubuuza ku nsonga zino naye teyannyamba.

 Bumpenje Kalule Kagodo , Paul kalungi ne Ssekakande Musoke Festo  Mubiru ne Twaha Sserunkuuma bonna nga balaga ebyapa byabwe ebya kyusibwa.

Bupenje Kalule Kagodo, Paul Kalungi Kagodo ne E.W.K Ssekakande abava mu famire ya Enosi Muwanga Kagodo e Nangwa- Kyaggwe abalina ettaka e Namubiru mu munisipaali y’e Mukono bwe bakunyumiza engeri ofiisi y’ebyettaka e Mukono gy’ebadingisizzaamu oyinza okwewuunya ensi gy’etuuse.
“Ettaka liwezaako yiika 7.5, nga lyali lya jjajjaffe Enosi.

Yaligula mu 1960 nga liri ku Block 189 Plot 22. Bwe yafa , kitaffe Kalule Kagodo n’amusikira era n’abeera nga y’akulira ettaka eryo.

Naye bwe yafa mu January wa 2005 ettaka lyadda mu mikono gya Paul Kalungi Kagodo, Edward William Ssekakande, Kitto Enosi Kagodo n’omugenzi Christopher Kibirige.

Twafuna ebbaluwa ezitukkiriza okuddukanya ettaka lino (letters of administration) mu December wa 2010 naye ekitwewuunyisa, nga November 25, 2011 bwe twagenda mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono ng’ekyapa kikyusiddwa okuva mu mannya ga kitaffe ne kizzibwa mu ga Wilberforce Odong gwe tutamanyi era gwe tutalabangako!

Odong ne ku ttaka lyaffe yasibako kaviti ku nnamba MKO 129783 nga November 25 2011. Bwe kitaba nga waliwo abakungu mu ofiisi eno abaamukolera ku nsonga zino, ani yamukolera tulansifa era yajja atya okugula ekifo ekyo ate nga si ffe twakimuguza?

Etteeka ly’ebyettaka erya 1998 lirimu akawaayiro akagamba nti singa ettaka lyo liwaanyisa emikono gy’obwan-nannyini emirundi esatu olwo liba likufudde!

‘Nnoonyezza ekyapa emyaka 3 kati poloti yange baagigabye’

Norah Nankya ow’e Sseeta- Nazigo agamba nti yagula ettaka lye mu 2009 erisangibwa ku Block 224 plot 663.


“Nagenda okunkolera tulansifa naye olwatuuka awatuukirwa abagenyi mu ofiisi y’ebyettaka, waafubutukayo omukyala eyeeyita Nagujja, eyeefuula agenda okutuyamba.

Yatusasuza ssente nti za misolo, bwe nnaddayo ogwokubiri yanneesooka n’ansaba 600,000/- okungobera ku kyapa. Na buli kati ettaka tebalikyusanga kulizza mu mannya gange.

Ensonga naziyitiramu Muky. Christine Namirembe (registrar of titles) n’abagambako olwo ne banoonya ffoomu zange gye baali bazikwese ne bazisindika ew’omupunta wa disitulikiti.

Norah Nankya

Naye ono buli lwe tugenda mu ofiisi ye agamba nti ettaka lyaffe baalisibako envumbo ate ng’abantu bange bonna nababuuza nga tewali yali alisibyeko kaviti.

Namala ne nzirayo mu ofiisi y’ebyettaka ne mbannyonnyola ne bang’amba nti ettaka liriko nnyini lyo, ye James Mutebi era alina n’ekyapa!

Ndowooza baamukolera ekyapa ekirala ekikyamu kuba omwami oyo alinayo abantu be mu ofiisi eno.

Oluvannyuma akakiiko ka LC 3 kaatuula ne bampita mu butongole okunjatulira nti sirinaawo ttaka era ne bantegeeza nti oba njulira njulire, Mutebi ye mutuufu kubanga alina ekyapa ate nze nnina ffoomu eziwaanyisa obwannannyini zokka!

Olwaddayo okukebera mu bitabo ew’omupunta wa disitulikiti, nasanga nnamba ya poloti n’eya bbulooka babisanguddemu mu kitabo!

Ofiisi y’ebyettaka e Mukono erimu katemba mungi, bw‘oba tolina ssente ggwe ng’ebibyo bikomye awo. Nsaba Kaliisoliiso wa Gavumenti aginoonyerezeeko.

‘E Mukono ebyapa babikyusa mu lunaku ne tufiirwa’
Sserunkuuma Twaha
Naweebwayo mu famire ng’omuntu akulira ettaka lya famire lyonna era nga nze nsembayo okussa emikono ku nsonga zonna ezikwatagana n’ettaka lyaffe.

Nkyusizza ebyapa bingi okuva mu disitulikiti ez’enjawulo naye obuzibu mbusanze mu ttaka ly’e Kyaggwe mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono.

Christine Namirembe, awandiisa ebyapa e Mukono.

Nagenda mu ofiisi eno okulaba ettaka lya jjajjange Yokaana Bazikube mu 2005, naye nagenda okutuukayo nasanga ettaka eryali lisangibwa ku volume 5062 ne folio 19 ku kyapa no.fc no 8982 nga balikyusizza balizzizza mu mannya ga Kisitu Lawrence era ne baliwa ne Block nnamba empya 233, ku poloti nnamba 2!

Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Kisu ekiri mu ggombolola y’e Lugazi mu disitulikiti y’e Buikwe
Ebiseera ebyo ng’ekyapa tekinnakyusibwa eyali abissaako emikono yali ayitibwa Masaaba.

Naye nagenda okuddayo nga bakikyusizza, nasangayo Muky. Namirembe era ono ye yabissaako emikono.

Bwe namubuuza yang’amba nti ekyapa kyange kyakyusibwa. Mu ofiisi ya Mw. Musiitwa (omupunta wa disitulikiti) namunnyonnyola ng’ali ne Namirembe ne bang’amba nti, “ Ebyapa byo biri mu nkola nkadde. Bulijjo olinda ki okubikyusa okubiggya mu folio obizze mu plot?”.

Nababuuza etteeka lye nnali mmenye ne bang’amba nti bwe mba njagala ettaka ndisseeko envumbo. Nabasaba ekyapa baddemu bakizze mu mannya ga Yokaana Bazikube ne bang’amba nti tekikyasoboka.

Nga 17-12 2011 naddayo ku nsonga y’emu, nnasanga ekyapa bakikyusizza ne kidda mu mannya ga Evalesto Kamaali! Bwe nnabuuza Muky. Namirembe wamu ne Mw. Musiitwa bang’amba nti nabo tebamanyi yakyusa ttaka eryo! Naye nga kisoboka kitya nga be bali mu ofiisi?

Musoke Festo Mubiri agamba nti balina ekibiina kyabwe e Sseeta- Nazigo ekya Kamaanyi Growers Society ekiri ku ttaka Block no 224 .

“Munnaffe omu eyali omuwanika w’ekibiina mutebi james oluvanyuma yajja n’ekyapa ekifu nga kiri ku plot 405 ekyateekebwako omukono Muky. Nankabirwa okuva mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono ekyali kiraga nti kiri mu luguudo.


Mu 2012, ate yadda n’ekyapa ekipya ekiraga poloti eyo yennyini eya Kamaanyi Growers Society nga kiraga plot 657 ate nga mu kusooka kye yalina kyali kifu!

Galiwango Charles agamba nti poloti yali ya jjajja we Buule eyafa, yali abeera Sseeta - Nazigo. “Ettaka lino lyali lisangibwa ku plot 176 ku block 224 era mu 1994 twasalawo nze ne jjajja tulagaane ne landiroodi waffe John Ssenteza Ssebbowa twegule.

Twasisinkana ku ofiisi y’ebyettaka e Mukono kubanga gye twali tugenda okufuna ekyapa kya poloti eyatuweebwa Kaweesa Lujumbuka, taata wa John Ssenteza Ssebowa .

Kaweesa bwe yafa , yasikirwa mutabani we John Ssenteza, ono yatugamba nti buli alina poloti mu kabuga k’e Sseeta- Nazigo addemu yeegule aweebwe ekyapa.

Twamusasula 2,000,00/- n’atukolera ne ffoomu za tulansifa nga ziri mu mannya ga Buule Yusuf mu maaso g’omukulu Tamuzadde, eyali mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono.

Omukulu ono yalagira jjajja asasule ssente z’emisolo gyonna era ne kikolebwa, n’amulagira ajjenga akebere oba ekyapa kiwedde. Olw’okuba jjajja yali akaddiye, yandagira ntadike okumugenderayo ndabe oba ekyapa kiwedde naye newuubira omwaka mulamba nga tekiggwanga.

Omwaka ogwaddako naddayo mu ofiisi yeemu, Tamuzadde n’ang’amba nti twalwawo olwo Ssebowa n’aleeta omuntu omulala William Mpagi nti gwaguzizza poloti eyo era bwatyo Tamuzadde n’akwata tulansifa za jjajjange n’azinziriza. Bwe twamugamba atuddize ssente ze twamuwa yanziramu nti, “ Eno si kkooti!”

MBAZIIRA ROBERT
Ono ye Senior Land Management Officer mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono era agamba:
Obuvuyo bwonna obukolebwa buviira ddala mu balandiroodi b’abantu abo n’obugayaavu bw’abalina ebyapa.


Abantu bagayaalirira nnyo ebyapa byabwe ne bibula. Singa bibula tumukolera ekirala n’akolerako n’ekirayiro .

Olumala tulanga mu lupapula lw’amawulire lwe bayita Uganda gazettee okumalira ddala ennaku 30, bwe watabaayo akiwakanya oba akizuula ,omuntu oyo tumukolera ekirala ekyapa ekikadde ne kisazibwamu.

Olw‘okuba tetulina byuma bikebera mikono gy’abantu, omuntu yenna asobola okukoppa omukono gw’omuntu omulala, era n’atuwa lipooti nti ekyapa kye kyabula. Ffe tumukolera ekyapa ekipya , era ekikadde we kirabikira, kye tusazaamu!



Ani ajingirira ebyapa mu ofiisi y’ebyettaka e Mukono?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...