TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ani anaasimattuka ekibbattaka n’ekisengulabantu mu 2013?

Ani anaasimattuka ekibbattaka n’ekisengulabantu mu 2013?

By Musasi Wa

Added 2nd January 2013

ABANTU bangi bagobeddwa ku ttaka mu mwaka 2012. Wabula wadde Minisita w’ebyettaka Aidah Nantaba afubye okugonjoola endooliito ku ttaka omwaka oguwedde, bangi beeraliikirivu nti 2013 yanditandika n’okubagoba ku ttaka kwe bamaze ebyeya n’ebisiibo. Kalondoozi wa Bukedde akulaze engeri wonna mu Buganda

2013 1largeimg202 jan 2013 083026330 703x422

ABANTU bangi bagobeddwa ku ttaka mu mwaka 2012. Wabula wadde Minisita w’ebyettaka Aidah Nantaba afubye okugonjoola endooliito ku ttaka omwaka oguwedde, bangi beeraliikirivu nti 2013 yanditandika n’okubagoba ku ttaka kwe bamaze ebyeya n’ebisiibo. Kalondoozi wa Bukedde akulaze engeri wonna mu Buganda abantu gye balindiridde okusengulwa ku ttaka.

BANNAYUGANDA baayanirizza omwaka omuggyaogwa 2013 mu sitayiro. Wonna ng’owulira bakuba enduulu, batulisa ebiriroliro n’okwokya ebipiira.

Wabula wakati mu kujaganya kuno, bangi balimu kutya nti oba guno gwe mwaka mwe bagenda okugobwa ku ttaka!

E Kayunga, Minisita Aidah Nantaba gye yazzizza abatuuze ababadde bagobwa omugagga mu bibanja byabwe, abaayo bakyalimu okutya oba omwaka 2013 gunaaleetawo enkyukakyuka era ne baddamu okugobwa.

N’abatuuze b’e Vvumba ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Luweero nabo bakyasattira oluvannyuma lwa kkampuni ya Zion okugula ettaka yiika ezisoba mu 300, ku mukadde Norah Nabikande abamu lye bagamba nti ttaka lya Bwakabaka.

Ssentebe w’e Vvumba Herbert Musoke bwe nayogeddeko naye yang’ambye nti: Ffe kye tumanyi nti ettaka lino lya Bwakabaka era edda nga bakadde baffe obusuulu babuwa ewa eyali Nabikande Tereeza Basirika eyo mu myaka gya 1960.

Tuzze tutambula bwe tutyo, wabula mu 2008, Nabikande yawulira ng’amaanyi gamuwedde kwe kusalawo okuleeta Sserebe (Katikkiro we) era eyakung’aanyanga busuulu mu bantu, naye ffe tukimanyi nti ettaka lya Kabaka. Nabikande kitiibwa, era ono aliko yasikira Basirika eyaliko. 

Ku mulembe gw’ono abantu baatandika okwegula, kyokka nga tabawa byapa naye nga bakola ndagaano. Mu 2010 Nabikande yakyusa Katikkiro we n’aleeta omulala ayitibwa Bugoba, wabula Bugoba ate ebintu yabyonoona n’akatagga! Yatandika okusala ku bibanja by’abantu ng’abitunda olwo ng’abalekerawo kawugiro, ate n’akawugiro ke yabalekera baakaguzizza kkampuni ya Zion!

Mu 2011 twatandika okuwulira oluvuuvuumo nti Zion yaguze ettaka lino, naye nze nga ssentebe w’ekyalo ssaabimanya. Twalabidde awo nga tulakita zitandika okusenda emmere y’abantu era enjala tetumanyi gye tugenda kugidda mu 2013, abazadde batuuse n’okulemwa okuzza abaana ku masomero kuba ssente za fiizi bagenda kuzigulamu mmere.

Ani anaasimattuka ekibbattaka n’ekisengulabantu mu 2013?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...