TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Banene ki abalya mu lufula ng’eno abakinjaaje babakekemya bukoko?

Banene ki abalya mu lufula ng’eno abakinjaaje babakekemya bukoko?

By Musasi Wa

Added 9th January 2013

ABAK INJAAJE mu lufula y’oku luguudo lwa Old Port Bell beddiza lufula eno mu November wa 2011 oluvannyuma lw’okugisuuza nnaggagga Hassan Basajjabalaba.

2013 1largeimg209 jan 2013 123641620 703x422

ABAK INJAAJE mu lufula y’oku luguudo lwa Old Port Bell beddiza lufula eno mu November wa 2011 oluvannyuma lw’okugisuuza nnaggagga Hassan Basajjabalaba.

Wabula w’osomera bino nga bangi beevuma ekyabagobya Basajjabalaba kuba bannaabwe ababakulira babakekemya bukoko.

Kalondoozi wa Bukedde alaze ensonga w’eva n’abamu ku banene abagiryamu.

Abakinjaaje abeegattira mu kibiina kya City Abattoir Traders Association (CATDA), baalumiriza Basajjabalaba mu 2011 okubatulugunya ng'abaggyako ssente ennyingi mu mpooza ey’ejjingirizi.

Mu kiseera ekyo baali basasula 1,700/- ku buli nte esalibwa. Okumala eggobe mu kibya, Basajjabalaba baamulumiriza okutunda lufula n’agiguza Dr. Dan Katarihwa eyali agenda okuzimbawo ppaaka ya bbaasi.

Okulwanagana okwaddirira kwavaako abakulembeze ba CATDA okuli ssentebe Abby Mugumba, omuwandiisi Muhamad Nsubuga, Wilberforce Mutesaasira n'abalala okusibwa mu kkomera.

W’osomera bino ng’abakinjaaji abaali balowooza nti Basajjabalaba y’abalemesezza okukulaakulana ate balwanagana bokka na bokka.

Beekutuddemu ebiwayi bibiri ekimu kigamba nti embeera eriwo essaawa eno mbi nnyo n’okusinga nga Basajjabalaba w’ali.

Bagamba nti basoloozebwamu ssente nnyingi okusinga bwe kyali ku Basajjabalaba, sso nga tewali musolo gusasulwa mu gavumenti.

Bagamba era nti ebifo byabwe mwe bakolera bitwalibwa abakulembeze nga bwe babeera baagadde, abaavo okwogerako agobwa na jjambiya!

N’okutunda ebigere n’ebyenda byonna babiwooza nnyo kati.

Okugoba Basajjabalaba
Akulira ekitongole kya KCCA Jennifer Musisi yali awagira Basajjabalaba okuddukanya n'okukulaakulanya lufula eno.

Mu lukung’aana nga September, 26, 2011, Muky. Musisi yategeeza nti Basajjabalaba yali yaweebwa liizi ya myaka 49, era nga KCCA esobola kuyamba ku kukakasa nti ekifo kiyonjo, ebyobulamu butumbulwa, okuzimba kaabuyonjo n'ebirala.

Kyokka Loodi meeya, Erias Lukwago yawakanya Muky. Musisi ng'agamba nti Basajjabalaba yafuna liizi eno mu lukujjukujju.

Bino byonna okubeerawo nga Basajjabalaba ensonga azitutte mu kkooti okuvunaana Lukwago olw’okusaalimbira mu lufula ye n’agisibako n’amakufulu.

Minisita avunaanyizibwa ku butale, Moses Byabagambi agamba nti okusinziira ku nteekateeka Pulezidenti Museveni ze yayisa, abasuubuzi be balina okwekulaakulanyiza ebifo mwe bakolera ekitegeeza nti abasuubuzi nga bayitira mu kibiina kyabwe ekya CATDA baalina olukusa okweddukanyiza lufula eno.

Kyewuunyisa nti na buli kati enkaayana zikyagenda mu maaso mu lufula eno, yadde Basajjabalaba yagyabulira dda.

Abalina obuyumba bakaaba kubongeza ssente za bupangisa.

ABA CATDA
Omuwandiisi w'ekibiina kya CATDA Muhamad Nsubuga agamba nti okuva lwe baatandika okuddukanya lufula yaabwe bazzizza embeera mu nteeko.

“Waaliwo embeera eyali etunyigiriza evaako okulwanirira eddembe.

Mu kiseera ekitono, twasala ssente eziggyibwa ku basuubizi abakolera mu lufula. Twassaawo enkola ya munno mu kabi kubanga KCCA tennatukkiriza kusolooza mpooza era ssente ezisasulwa zaakulongoosa n'okusasulira ebikozesebwa ng'amasannyalaze n'amazi, n'okulongoosa ekifo.

Ente esasula 8,000/- n'owebyenda n'ayongerako 2,000/-, gwe 10,000/- abaali basasula 17,000/-; abaziyingiza basasula 2,000/- abaali basasula 5,000/-.

Kino kiyambye okwongera ku bungi bw'abasuubuzi abaleeta ente mu lufula yaffe ekitaaliwo mu kiseera kiri bwe baazitwalanaga ku Kaleelwe n'ebitundu ebirala.

Okusinziira ku mateeka agafuka entambuza ebisolo mu ggwanga, wadde ng’ekisolo kibeera kya kusala olina okukirabirira ng'okukiwa omuddo n'amazzi.

Tuzimbye amaato omunywera n'okuliira ente n'okutereeza we ziyita okugenda we zisalirwa.
Tuguze amalobo 300, nga buli limu ligula 400,000/- agakozesebwa okusitula ente ebaagibwa n'okutambuza ennyama okuva w'ebaagirwa okutuuka mu ddiiro w'etemerwatemerwa okugitunda.

Mu ngeri yemu tuddaabirizza n'agaaliwo agabadde gakaddiye kubanga gateekebwawo mu 1935.

Obusa bagenda kubukolamu ebigimusa.

‘Ssente ze tusasula mu lufula bazongezza nnyo’

BINGI ebikoleddwa mu lufula. Mu kiseera kiri nga tubeera n'ekizibu ky'amazzi ate nga gakozesebwa nnyo mu mulimu gwaffe gamba ng’okwoza ebyenda, ebigere n'ebifo kyonna okukikuuma nga kiyonjo.

Tusasula obukadde 45 omwezi ez’amazzi n'amasannyalaze obukadde 20. Twassaawo omutemwa gw'okuyamba omusuubuzi abeera n'obuzibu bwa ssente mu bizinensi ye n'okusikiriza ebitongole ebiwola n'okutereka ssente ebitali bimu okusomesa, okutereka n'okuwola abasuubuzi okwekulakulanya.

Nga tukolagana n'ekitongole kya Swedish Bio Innovate International, tulina pulojekiti y'okukola amasannyalaze okuva mu busa obukung'aanyzibwa mu lufula (Bio Gass). Mu ngeri y'emu yaakuyamba okutumbula obuyonjo nga ekung'aanya kazambi yenna.

Tugenda kufunamu amazzi oluvannyuma lw'okulongoosebwa n'okufunamu ebigimusa ebigenda okukozesebwa abalimi mu Uganda okutumbula eby'obulimi.

Lwaki abasuubuzi bagobwa mu lufula ?
Wabula abamu ku bakolera mu lufula eno bagamba nti abali ku kakiiko akaddukanya lufula
batulugunya abasuubuzi n'okubanyuunyuunta.

MUSISI MUTEBI QC, agamba nti ssentebe Mugumba n'akakiiko ke babasoloozaamu ssente ezitalina na gye zitwalibwa kyokka nga buli agezaako okukyogerako oba okubawakanya afuuka muyeekera era agobwa.

“Waliwo abasuubuzi bangi abazze bagobwa akakiiko kano olw'okugezaako okubabuuza lwaki babasasuza ssente ennyingi ze bagenda bongeza kyokka nga tewali gye ziraga oluvannyuma lwa KCCA okuyimiriza okusolooza empooza okutuusa ensonga lwe zinaagonjoolwa”,

Mw. Musisi bw'agamba. Ono agamba nti kati ab'ebifo awoolezebwa mmotoka abaali basasula 240,000/- kati basasula 360,000/- omwezi; ab'obuyumba abaali basasula 130,000/- kati ba 150,000/-; ab'enkoko baali basasula 650,000/- kati 2,000,000/- ate abalina firiigi okuterekebwa ennyama baali basasula 550,000/- kati basasula 1,000,000/-.

Bano balumiriza abakungu mu Gavumenti ne poliisi okukuumira abantu bano mu buyinza nga batulungunya abasuubuzi.

Kyokka Mw. Nsubuga agamba nti bano basuubuzi abawagira Basajjabalaba era ng'abakozesa okusigala ng'alwana entalo ze okusobola okudda mu kifo kino.

“Ng'akakiiko tetulina musuubuzi yenna gwe tusobola kugoba mu lufula eno kyokka abasuubuzi abalala olw'okuba nti baakoowa obutabanguko obubalemesa okukola singa
bakulaba ng'oyagala kutandika okutabangula mirembe basalawo okukufulumya”, Mw. Nsubuga bw'agamba.

Mu ngeri y'emu agamba nti okumalawo bino byonna Gavumenti esse mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti oky'okuwa abasuubuzi obutale bwabwe okubwekulaakulanyiza.

Ono agamba nti abakulira CATDA baabagamba nti okubasonyiwa baddemu okukolera mu lufula eno balina okwetondamu buwandiike n'okulayira nti tebaliddamu kuwakanya bukulembeze bwabwe.

RCC Mpimbaza Hashaka agamba nti yafuna dda okwemulugunya okuva mu baali baddukanya lufula eno era nga waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso.

“Nassaawo akakiiko akanoonyereza ku bantu bano naddala abakulembeze ba CATDA kubanga waliwo ekiwandiiko kya kkooti ekyampeebwa nga kiraga nti obukulembeze bwa lufula eno baawamba buwambe era nga baliwo mu bukyamu.

Okusinziira ku kiwandiiko, kkampuni ya Basajjabajala eya 'Basajjabalaba Hides and Skins Company', yali ekyalina liizi y'okuddukanya lufula eno era abagikulira bagamba baagobwa mu bukyamu era essaawa yonna bakomawo.
 

Banene ki abalya mu lufula ng’eno abakinjaaje babakekemya bukoko?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...