TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Emyaka 27 egya NRM: Biki ebituukiddwako, biki ebikyagaanye?

Emyaka 27 egya NRM: Biki ebituukiddwako, biki ebikyagaanye?

By Musasi Wa

Added 30th January 2013

NGA Uganda ejaguza nga bwe giweze emyaka 27 bukya NRM/NRA ejja mu buyinza, omuwandiisi waffe AHMED KATEREGGA MUSAAZI awumbyewumbye obuwanguzi obutuukiddwaako okuva mu 1986.

2013 1largeimg230 jan 2013 170903367 703x422

NGA Uganda ejaguza nga bwe giweze emyaka 27 bukya NRM/NRA ejja mu buyinza, omuwandiisi waffe AHMED KATEREGGA MUSAAZI awumbyewumbye obuwanguzi obutuukiddwaako okuva mu 1986.

Mu 1994, omu ku bannamawulire abagundiivu Charles onyago Obbo yalagula nti entikko y’ebyobufuzi mu Uganda ebera ya myaka munaana.

Olw’okuba obukulembeze bwa Obote obwasooka (1962-1971) n’obwa Idi Amin (1971-1979) bw’amala emyaka munaana gyokka, nti n’obwa NRM/NRA ekulemberwa Pulezidenti Yoweri Museveni bwali bugenda kukoma.

Wabula kati Pulezidenti Yoweri Museveni amazeeko emyaka 27 era nga tewali kubuusabuusa nti agenda kukoonola emyaka 30 mu 2016.

Bingi ebituukiddwaako NRM mu bukulembeze obw’emyaka 27 mu byobufuzi, mu byenfuna, mu by’embeera z’abantu mu byobuwangwa, ne mu birala bingi.

Emirembe gizzeewo
Mu byobufuzi NRM teryerabirwa okuzzaawo emirembe n’obutebenkevu ebyali bifumwa. Emmundu zaasulanga zitokota mu Kampala n’emiriraano, abajaasi baasiibanga batulugunya abantu ku loodibulooka n’okubazinda mu bibuga ne mu byalo ne babanyaga.

Kampala ng’abantu bakyamuka ku ssaawa nga 11:00 ez’olweggulo buli omu n’adda ewuwe.

Okusanga emirambo mu masang’anzira ng’ewa Kibuuka ku lw’e Salaama ne ku Kategula ku lw’e Busaabala e Kibuye buli ku makya kyali kya lutetentezi. NRM yazimba eggye ery’abantu okuviira ddala mu February wa 1981 okutuusa kati.

Eggye lino okugenda okuwamba Kampala nga January 26 1986, nga lijjuddemu abajaasi ab’empisa ennungi.

Omujaasi waddiza omusango, waawozesebwa n’okusalirwa era asembyeyo ye Rwakihembo eyasingiddwa omusango gw’okutta abantu mu butanwa e Luzira n’asindikibwa ku kusibwa emyaka 30.

OKUDDIZA ABANTU OBUYINZA
NRM yazza demokulaasi omuli ow’okulonda Palamenti, obukiiko bwa LC eyatandikibwa
mu ddwaaniro e Ssemuto mu 1983.

Mu 1986 wassibwawo gavumenti ey’ekintabuli eyalimu ebibiina byobufuzi byonna n’ebibiina ebirwanyi byonna.

Olukiiko lwa NRC olwali olw’eggwangal lwagaziyizibwa mu 1989 buli ssaza ne lyerondera omubaka na buli disitulikiti n’eronda omubaka omukazi.

Wassibwawo akakiiko k’omulamuzi Benjamin Odoki ne kakung’aanya ebirowoozo byawandiikibwamu Ssemateeka wa 1995 era olukiiko olwamuyisa lwalondebwa bantu mu 1994.

Okuva mu 1996 okutuusa kati buli Luvannyuma lwa myaka etaano wabaawo okulonda kwa Pulezidenti, Palamenti ne gavumenti ez’ebitundu era nga mu 2006 ne natti ezaali zassibwa ku bibiina byobufuzi zaasumululwa.

EBYENFUNA
NRM we yajjira mu buyinza nga Uganda eyimiriddewo ku buyambi obuva ebweru. Yali esigadde kutunda mmwaanyi zokka.

Kati ebirime nga emmwaanyi , ppamba, taaba , amajaani , kasooli, ebijanjaalo, ebinyeebwa, ssoya, entungo byonna bivaamu ensimbi.

Abalala ssente bazifuna mu bimuli, ebyennyanja, buli kintu kivaamu ssente. Ente, embuzi n’endiga zitundwa e Rwanda n’e South Sudan n’ebimuli bitundwa mu Bulaaya.

Nga gwe mulungi ogusookedde ddala, kati Uganda etwala abantu baayo ebweru okukuba ekyeyo ne baweereza kuno ensimbi sso nga luli edda baabanga badduse kuno ffugabbi.

NRM we yajjira mu buyinza mu 1986 ng’ebintu bya kusimbira nnyiriri, kye yava efuba okuddaabiriza amakolero.

Kati ebintu nga ssukaali, omunnyo, amafuta, ssabbuuni , ebibiriiti, tebikyali bya bbula; sooda ne bbiya tebikyagabirwa ku bupapula nga bwe gwali mu biseera bya Obote ne Amin.

EBYENJIGIRIZA
NRM yasanga Uganda erina yunivasite emu yokka e Makerere eyatandikibwa abafuzi b’amatwale mu 1922.

Mu 1988, yunivasite y’Obusiraamu e Mbale yagggulwawo; mu 1988 yunivasite y’ebyassaayansi ne tekinologiya e Mbarara nayo yatandika, okwo kwe kuzze ey’e Kyambogo, ey’ebyobulimi n’obulunzi e Gulu, ey’ebyemikono e Busitema, ey’Obukulisitaayo e Mukono, ey’Obukatilikiti e Nkozi ey’obwadiventi e Bugema n’endala nnyingi.

Naye ng’ekisinze byonna ye Bonna Basome wa pulayimale ne siniya. Mu myaka 15 bukya UPE atandikibwawo mu 1997, abayizi abasoba mu bukadde 12 basomera ku bwereere. Ekibi nti abasomesa basasulwa kitono.

Ekinaajuna Uganda ge mafuta agagenda okutandika okusimwa agajja okulongoosa ebintu bingi.


EBYOBULAMU

Newankubadde gavumenti ya Obote l yazimba amalwaliro 22 mu myaka gy’enkaaga era nga Amin we yawambira mu 1971 nga Uganda ye yali esinza enguudo ennungi mu Afrika, kyokka NRM we yajjira mu buyinza ng’amwaliro gano gonna gafaaganye.

Enguudo ezisinga obungi zimaze okuddaabirizibwa era n’ebitundu omutaali kolaasi bituuseeyo. Gavumenti ezmbye amalwaliro amatonotono mu buli ssaza, ggombolola ne mu miruka.

Enkola ya Bonna Bagemwe eyambye okukuuma abaana, wabula ekibi nti mu malwaliro mangi temuli gye liri abasawo balibba.

OBWAKABAKA
Mu 1992 olukiiko lw’amagye olwatuula e Gulu lwasalawo Obwakabaka buzzibwewo era kino ne kikakasibwa olukiiko lw’eggwanga mu NRC Ssaabasajja Kabaka Muwenda Mutebi n’atikkirwa nga Kabaka wa Buganda owa 36 ku  Lwomukaaga nga July 31 1993 e Naggalabi- Buddo.

Obukama bwa Bunyoro, Toro, Obwakyabazinga bwonna bwaddawo. Okwo kwe kuzze n’obulala omuli Adhola owa Budaama, Emiromiri owa Teso, eriyo owa Bugisu, Rwot owa Acholi, eriyo owa Lango, waliwo owa Alur n’abalala.

Okwabya ennyimbe n’okuzina abalongo, ebyali bitandise okudiba ne biddamu buto.

Emyaka 27 egya NRM: Biki ebituukiddwako, biki ebikyagaanye?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga