TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abanene abavuba obwennyanja obuto lwaki poliisi ebattira ku liiso?

Abanene abavuba obwennyanja obuto lwaki poliisi ebattira ku liiso?

By Musasi Wa

Added 15th May 2013

SSENTE eziri mu kuvuba n’okusuubula obwennyanja obuto zifuula oyo atuula mu ofiisi okulinda ez’omusaala ekisekererwa! Eno y’ensonga lwaki wadde wayise emyaka 10 bukya obuvubi obw’ekika kino buwerebwa n’obutimba obumu okugaanibwa, bizinensi ekyagenda mu maaso nga bugolo. Kalondoozi wa Bukedde alaze

2013 5largeimg215 may 2013 144458363 703x422



SSENTE eziri mu kuvuba n’okusuubula obwennyanja obuto zifuula oyo atuula mu ofiisi okulinda ez’omusaala ekisekererwa! Eno y’ensonga lwaki wadde wayise emyaka 10 bukya obuvubi obw’ekika kino buwerebwa n’obutimba obumu okugaanibwa, bizinensi ekyagenda mu maaso nga bugolo. Kalondoozi wa Bukedde alaze abanene abali emabega w’okuvuba obwennyanja obuto.

EKITONGOLE ky’omusolo ekya URA wiiki ewedde kyakutte bokisi z’obwennyanja obuto 30 ezaabadde zikukusibwa okuzitwala mu DR Congo.

Obwennyanja obwabadde bukukusibwa okubuyisa e Kisoro bwabadde wakati wa yinsi 2 ne 8, sso ng’obunene obukkirizibwa buli yinsi 20.

Eno y’embeera eri mu nnyanja Nalubaale ensangi zino, ey’abanene mu ggwanga n’amakampuni agasasula omusolo omungi okukukusa obwennyanja obuto!

Lwaki omuze guno gweyongedde nnyo ennaku zino? Lwaki obutimba obutakkirizibwa mu mateeka bukyayingira mu ggwanga wadde nga wayise emyaka egisoba mu 10 nga bwawerebwa Gavumenti?

Abavubi abasinga be nnayogedde nabo, bakissa ku Gavumenti nti yeesibye abavuba obwennyanja obuto nga bakozesa obutimba obutakkirizibwa mu mateeka.

Bagamba nti Gavumenti tekoze kimala kulwanyisa bali ba nguzi.

Wabula ekisinga ku byonna kusooka kutunuulira ssente mmeka eziri mu bwennyanja obuto. 

Capt. Godfrey Kashaka, omukungu wa URA atwala obubuga bwonna obwetoolodde Rwanda agamba nti ssente eziva mu bwennyanja obuto nnyingi.

“Buli bookisi y’obwennyanja buno egula wakati wa 250,000/- ne 300,000/-. Zino ssente nnyingi nnyo, ziwaliriza omuntu okukola ky’atandikoze” bwe yagambye.

Joseph Lukabwe, omuvubi ku mwalo e Nakiwogo agamba nti obuzibu bwonna buva ku nguzi kuba abaserikale bennyini abaweerezebwa okukwasisa amateeka be bakolagana n’abavubi ne babasasulayo ku ssente olwo bo ne basigala nga bakwata obwennyanja obuto.

‘Abavuba obwennyanja obuto bali mu Gavumenti’

Abaserikale abamu olumala okukwata obwennyanja buno ate nabo babukukusa nga babuzza ku katale kuba kizibu okwesonyiwa ssente ezibulimu.

Kuba teebereza, omuserikale owa bulijjo afuna wakati wa 240,000/- ne 280,000/- omwezi; kati singa afuna amuwa enguzi ey’emitwalo 20 mu lunaku lumu oba okufuna enguzi ya bookisi ya bwennyanja, ayinza atya okutta ekkubo mw’aggya ssente ez’amangu!

Kenneth Mbaziira, omukungu akulira ebyamateeka mu disitulikiti y’e Masaka agamba nti abakulira poliisi abamu bakolagana n’abavuba n’okukukusa obwennyanja obuto naddala ababutwala e Congo.

“Twakutte emmotoka erimu obwennyanja buno, naye eyabadde akukusa obwennyanja kye yasoose okukola kukubira omu ku bakulu mu poliisi ng’asaba buyambi ateebwe,” bwe yagambye.

Mu bayambako okukukusa obwennyanja obuto mulimu abaserikale, abakulira emyalo, ababaka ba Palamenti, bannaddiini n’abakulembeze b’ebitundu.

“Emmotoka gye twakutte e Ntungamo ey’ekika kya Fuso yabadde ekubyeko obwennyanja bwe twabaliridde nga bugyamu obukadde 100. Era be twakutte obwedda balaajana batuweeko obukadde waakiri butaano tuve mu kintu bo babutwale e Congo. 

Eyo obwennyanja buno babutunda mu kkiro; emu bayinza okugigula ddoola nga 100 (emitwalo 25 eza Uganda), kale abo obayimiriza otya?,” bwe yabuuzizza.

Ate obutimba?

Ekizibu ekiriwo ku butimba obutakkirizibwa mu Uganda kya kussa mu nkola mateeka wadde amatono agaliwo.

Dr. Maggie Kigozi, eyali akulira ekitongole kya Uganda Investment Authority agamba nti wadde Gavumenti yawera obuyimba obulina amaaso agakka wansi wa yinsi nnya (4), kyokka bino biri mu bigambo.

“Olaba ne ku nsalo, ku lukalala lw’ebintu ebitakkirizibwa kuyingira mu ggwanga aba URA lwe balina, obutimba tebulina we bulabikira, olwo bunaggwa butya mu ggwanga?,” bwe yabuuzizza.

Akatimba akamu akakkirizibwa mu mateeka kagula wakati wa 30,000/- ne 100,000/- okusinziira ku mutindio gwako.

Ate obukokota ebyennyanja ebito bwabbeeyi, kagula wakati wa 1,000,000/- ne 8,000,000/- okusin ziira ku bugazi bwako.

Kano kabbeeyi kubanga ko bw’okasuula awantu olina okufuna, ate engeri obwennyanja obuto gye buli ku ttunzi oba naawe akaguze ofunamu.

Kyokka ekireese obuzibu kwe kuba nga waliwo abagezigezi abatandise okubuluka, bulo obuluke butandikira ku 3,000/-, kyokka nga kasobola okukukolera emitwalo 10 olunaku!

Mw. Jamir Ntambi, ku mwalo e Bukakatta agamba nti obuzubu bwonna buvudde ku byennyanja okuggwa mu nnyanja kuba omuntu okukwata ekyennyanja ekikuze osobola okutwala essaawa ezisoba mu ttaano ate n’okitunda 10,000/- kyokka nga mu ssaawa bbiri zokka osobola okukwatiramu obwennyanja obutono obuvaamu  100,000/-.

John Mangeni akola n’ekitongole ekirwanyisa envuba embi  ku mwalo e Gaba agamba nti oluvannyuma lwa Gavumenti okumyumyula ebituli by’okuyingiza obutimba obutakkirizibwa, kati babukola mu wuzi ezitunga engatto!

“Obuzibu Bannayuganda bagezi nnyo nti obutimba buno babuyisa mu magendo, abalala babulukira ku ttale kuba bagula goozi atunga engatto olwo ne batandika okuluka akatimba ka ‘Kokota’ , mu nnaku ssatu zokka abeera akamaze”, Mangeni bw’agamba.

Ono ayongerako nti bannabyabufuzi nabo balemesezza envuba embi ku nnyanja, bwe bakwata abasangiddwa n’obwennyanja obuto nga batandika okukuba enduulu babalekere abantu baabwe.

 

Abanene abavuba obwennyanja obuto lwaki poliisi ebattira ku liiso?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye