TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Engeri omusaayi gw’Abajulizi ne leero gye gukyakulukuta okutuwa emikisa

Engeri omusaayi gw’Abajulizi ne leero gye gukyakulukuta okutuwa emikisa

By Musasi Wa

Added 3rd June 2015

OGENZE e Namugongo okulamaga naye omanyi ebikifuula ekifo ekyenjawulo? Okimanyi nti omusaayi gw’Abajulizi ogwayiika emyaka 120 egiyise ne leero gukyakulukuta okuwa abakkiriza emikisa?

2015 6largeimg203 jun 2015 122519923 703x422

Bya ALICE NAMUTEBI
 

OGENZE e Namugongo okulamaga naye omanyi ebikifuula ekifo ekyenjawulo? Okimanyi nti omusaayi gw’Abajulizi ogwayiika emyaka 120 egiyise ne leero gukyakulukuta okuwa abakkiriza emikisa?

Okuggyako okuba nti Abajulizi battirwa Namugongo, ekimu ku bifo ebiwa Namugongo obulamu lwe luzzi lwa Mukaajanga.

Tewandibaddewo mukkiriza ava Namugongo nga tagenzeeko Nakiyanja awali oluzzi luno.
Ebyafaayo biraga nti luno lwe luzzi omumbowa wa Kabaka, Mukaajanga mwe yayolezanga amafunu agamaze okufumita Abajulizi.

Amazzi ge gamu Abajulizi ge baanywangako nga tebannattibwa, kale omusaayi ogwayiika ne gusigala nga gutambulira mu go okuwa emikisa abakkiririza mu Katonda omu.

Abalamazi nga basena amazzi g’omukisa e Namugongo.

Ate amazzi ku kayanja k’Abajulizi gaaweebwa omukisa Bapaapa basatu balamba abakyaddeko mu Uganda, y’ensonga lwaki abalamazi okuva mu Uganda n’ensi eziriraanyeewo bagasomba mu bidomola na buli kintu ekisoboka okwetwalira ku mikisa egivuluuja!

Ababeera n'ebizibu ng’emisango, abanoonya emirimu, abaagala okugenda e Bulaaya n'ebizibu ebirala bajja n’empapula zaabwe ne bazimansaako amazzi gano bafune bye baagala!

Ate mu wiiki eno ey’okulamaga, abakkiriza bangi amazzi gano ge bafumbisa emmere awaka. Omu ku balamazi, Nalutaaya Jane eyavudde e Buwama yang’ambye nti muliranwa we ku muziogo yali ayitirizza okumuloga, naye amazzi gano bwe yagamansira mu nnyumba ge gaamumutaasaako!

Rev. Mikayiri Wasswa Ssentamu okuva ku kiggwa ky’Abakulisitaayo e Namugongo agamba nti edda ekifo kya Namugongo lyali ttambiro gye battiranga abajeemu.

Empuku ya Makaayi e Nateete eyavaako okutta Abajulizi.

Ku matambiro 13 agaali mu Buganda, Namugongo awali ekiggwa ky’Abakulisitaayo kati lyali ttambiro lya maanyi kubanga battirangawo Abalangira, Abambejja n'abaami ba Kabaka abajeemu.

Mu matambiro amalala battirangayo bakopi abaali bajeemedde ebiragiro bya Kabaka. Abantu baayiokebwanga kusaddaakira lubaale Nnende.

Lubaale Nnende ye yakuumanga emmanju wa Buganda, oba muyite lubaale akuuma ensalo ya Buganda ne Busoga.

Kino kyali bwe kiti kubanga abalaguzi mu biseera bya Ssekabaka Ssuuna baali balagudde nti omulabe wa Buganda ajja kuva mmanju! Ekitebe kya lubaale Nnende kyali Bukeerere okuliraana Namugongo.

“Mu luzzi muno Mukaajanga mwe yayolezanga ebiso bye n'okukola emikolo gy'okweyambulula emizimu gy’abo basse gireme kumuwondera.

Oluzzi lwa Mukaajanga e Nakiyanja bagenda kupaakinga amazzi gaalwo.

Rev. Ssentamu agamba nti oluzzi lwa Mukaajanga lwali mu kibira, nga kizibu nnyo abantu ba bulijjo okumala gasaalimbirawo.

“Oluzzi lwa Mukaajanga lwamukisa kubanga lwagendamu omusaayi gw’Abajulizi ,” bw’agamba.
Wabula agamba nti omukisa gwa buli kintu gukola naawe okkirizza.

“Ggwe kasita okkiriza mu mutima gwo nti bwe nnaanywa amazzi gano nja kufuna kye nsaba nga kw’otadde n'okusaba n'okwegayirira, ku Mukama buli kimu kisoboka,” bwe yagambye.

Rev. Ssentamu agamba nti waliwo abajja ne batwala ettaka okuva mu kifo Abajulizi we battirwa era ne basaba ne bafuna ebyamagero.

Okusobola okukukulaakulanya ekifo kino Ekkanisa ya Uganda etandiseewo enkola ey'okupaakinga amazzi agava mu luzzi lwa Mukaajanga ng’abakkiriza abagaagala bajja kugagula buguzi!

Nnamukadde atambudde kuva Sheema okujja e Namugongo.

Empuku ya Makaayi eyavaako okulamaga e Namugongo
OSANGA Bannayuganda n’abantu abalala abakkiriza mu nsi yonna tebandibadde Namugongo leero singa omuminsane Makaayi teyakola mpuku gye yasomesezanga abakkiriza.

Empuku eno esangibwa e Nateete ye yavaako abavubuka abattibwa ku mulembe gwa Ssekabaka Mwanga II okujeema n’atuuka n’okulagira babatte n’okubookya babookye.

Makaayi yali mumisani eyajja mu Uganda mu 1877. Yasulanga Lungujja era ye yawoma omutwe mu kusomesa abavubuka n’abakungu ba Kabaka okusoma n’okuwandiika.

Olw’okuba kyali kipya gye bali, bangi beerabiranga n’emirimu gyabwe. Rev. Samuel Kalibbala yategeezezza gye buvuddeko, ku mukolo gw’ekkanisa ya Makaayi okujaguza emyaka 100 nti, abambowa Muteesa be yawa Makaayi okumukuuma be bakenkufu Uganda be yasooka okufuna omwava abayigirize abalala kubanga be yasookerako okusomesa eddiini n'ebirala.

Ebyafaayo biraga nti Makaayi yali musajja mujagujagu era ayagala ennyo okunoonyereza. Bwe yajja mu Uganda, yajja n'ekyuma ekikuba ebitabo n’ekirengera ewala.

Kyokka olw'okuba yali abeera kumpi n'Olubiri lwa Muteesa e Lubaga abaami be baafuna okutya nti yandikikozeesa n’alengeera

Kabaka ng'aliko eby’ekyama by’akola olwo kwe kumusengula ne bamutwala e Nateete.
Mu 1884 nga Ssekabaka Muteesa 1 akisizza omukono, okubonaabona kwa Makaayi we kwatandikira.

Olw'okuba Mwanga yali muto (emyaka 16) yali ayagala nnyo abantu okumuwa ekitiibwa wabula ng’ate ensomesa ya Makaayi eringa ejeemeesa abantu be kubanga yali eyogera ku Kabaka ali omu yekka asangibwa mu Ggulu.

Kino Mwanga yalaba ng’ejjoogo, kubanga abaami be baakeeranga wa Makaayi okusoma mu kifo ky'okumuweereza n'okulima kyokka n’atakoma okwo n'agattako n'okubasomesa beegaane empisa z'Ekiddugavu.

Makaayi yalaba embeera esajjuse kwe kusima empuku mwe yateeka ekibiina kye ekyasooka era nga be yali asomesa bokka be baali bagimanyi.

Ku mabbali g'empuku yasimawo oluzzi ng’abayizi be omwali n'Abajulizi bwe babeera bajja, beefuula abakimye amazzi ng'olwo beesogga empuku.

Munda yateekebwamu emikwesese ebiri, ogumu nga guva ku mpuku ne guggukira ku kkanisa ate ng'omulala guggukiriza ku geeti ewali ennyumba ya Ssaabadinkoni kati.

Yasimba omuti okumpi n'empuku nga buli ssaawa kubaako omuntu waggulu alengera n'abatemyako nga waliwo omuntu ajja gw’abeera yeekengedde.

Okuttibwa kw’Abajulizi abaali basomera mu mpuku ya Makaayi kwavaako ebyenjigiriza n'eddiini okutumbuka mu Uganda olw'obuvumu bwe baayolesa.

Amasomero agaatandikibwawo oluvannyuma lw’Abajulizi okuttibwa e Namugongo gonna gaali ku musingi gwa ddiini era agasinga baagabbulamu mannya gaabwe. Laba ebyamagero bye nzigye e Namugongo mu Bajulizi!

Rosemary Kacence (waggulu), w'e Bunyaruguru mu disitulikiti y’e Lubirizi
Nnalumwanga nnyo omutwe, ng'oluusi mpulira kammunguluze omungi. Olumu nga n'omutwe gutabukamu nga n'amaaso gannuma.

Nnatandika okusabira ekizibu kino wabula mu 2010 nnasalawo okulamaga e Namugongo ne nsaba nga mpita mu bajulizi bankolere ekyamagero mpone omutwe ogwali gummazeeko emirembe. Omwaka oguwedde omutwe gwawona, siddangamu kuguwulira.

Ekirala nnina omwana wange Didas Kamugisha eyabula nga wa myaka 12, kati gy’emyaka 30 egiyiseewo. Twamunoonya n’atubula ne tulowooza nti yafa era ne ntandika kumusabira ssaala z'abafu.

Bwe nnatandika okulamaga e Namugongo nga bwe nsaba Mukama omwoyo gw'omwana wange aguwummuze mirembe yonna gye guli ng'essuubi ery'okubeera omulamu lyanzigwamu, naye ku mulundi guno (2015) bwe mbadde nzija nnasaba Abajulizi bankolere ekyamagero waakiri mmanye eyatta omwana wange oba mmanye gye baamuziika oba amayitire ge.

Nnabadde ndi awo ne ndaba omuvubuka amwefaanaanyiriza, bwe nnamutuukiridde okumubuuza nga ye mutabani wange eyambulako emyaka 30 egiyise, era nzize kujaguza. Ky’ekyamagero kye nzigye e Namugongo, ntambuza bigere okuva e Sheema buli mwaka!

Engeri omusaayi gw’Abajulizi ne leero gye gukyakulukuta okutuwa emikisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...