TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Moses Lumala yafuna atya ettaka lya famire ya Kantinti okuzimbako galagi?

Moses Lumala yafuna atya ettaka lya famire ya Kantinti okuzimbako galagi?

By Musasi Wa

Added 2nd July 2015

ETTEEKA eryewuunyisa erigamba nti ettaka bwe liwaanyisa emikono emirundi esatu, olwo nnyini lyo aba alifiiriddwa, abatwala ettaka lya bannaabwe lye beeyambisa.

2015 7largeimg202 jul 2015 121427203 703x422

ETTEEKA eryewuunyisa erigamba nti ettaka bwe liwaanyisa emikono emirundi esatu, olwo nnyini lyo aba alifiiriddwa,
abatwala ettaka lya bannaabwe lye beeyambisa.

Kalondoozi wa Bukedde akulaga engeri omugagga Moses Lumala gye yatwalamu ettaka lya famire ya Kantinti mu mancoolo ate poliisi ne kkooti ne birema okumuyamba.

 MU 1999 abantu abaali beeyita bawannyondo ba kkooti abaagamba nti baali bakolera kkampuni ya Popular General Auctioneers baamenya ennyumba ya James Kantinti esangibwa e Mengo- Lubiri mu zooni ya Wansawo.

Oluvannyuma kyazuulwa nti baamenya ennyumba eno ng’ekiragiro kya kkooti kye baakozesa kyali kyayitako ate nga baali tebalina layisinsi ebakkiriza kukola bwawannyondo!

Muzeeyi Kantinti alumiriza omugagga Moses Lumala okubeera emabega w’abaamenya enyumba ye n’ekigendererwan ky’okwezza ettaka lye era bwe yakituukiriza n’azimbako galagi!

Lumala okufuna ettaka lino yategeeza nti yaligula ku Timothy Kamya, Kantinti gw’agamba nti talina kakwate ku ttaka lino era nti Lumala kino yakikola kubuzaabuza bantu.

Wabula mbega wa poliisi, Edith Komwiswa mu lipoota gye yafulumyanga February 16 2006 yategeeza nti Kamya ettaka lino yaligula ku bawannyondo ba kkooti bwe baali batuukiriza ekiragiro kya kkooti okusobola okuggyayo ssente Kantinti ze yalemererwa okusasula Kasozi, omutuuze omulala eyali amututteko poloti.

Wabula muzzukulu wa Kantinti, Geoffrey Bulayi agamba nti owa poliisi ono lipoota yagikolera ku biragiro bya Lumala. 

JAMES KANTINTI

Nze nnazaaliwa ku ttaka lino era nnaliweebwa maama Rose Natebwa nga tannafa. Ettaka lino lyali ku block 7 plot 1051.
Nnatuusa ekiseera ne nsalawo okubeera mu kyalo, ennyumba eyali ku ttaka lino ne nzirekamu mwannyinaze Nanziri ne mutabani wange Geoffrey Bulayi. 

Mu 1990 nnalina obwetaavu n’ensalawo okutundako desimoolo 20 nga nziguza Esau Kasozi emitwalo 60 naye n’ansasulanga mu bitundutundu.

Ssente zaamulema okumalayo ebbanga ne liyitawo nga ddene era ne mutwala mu kakiiko k’ekyalo omusango
ne gumusinga n’ajulira ku Lc 11 nayo ne gumusinga nga bagamba nti desimoolo 20 ge nnali mmuguzizza gaalina kunzirira kubanga yalemererwa okutuukiriza endagaano.

Wabula Kasozi n’asalawo okutwala ensonga zino mu kkooti, looya wange n’alemererwa okutwala omujulizi mu kkooti Kasozi n’alimba kkooti ng’agiwa obujulizi bw’endagaano enjigirire n’asinga omusango
kkooti n’esalawo desimoolo 20 zimuddire.

Kasozi yazimba mu kitundu kino kyokka n’atakoma awo, n’aleeta ekiwandiiko kya kkooti ekyali kindagira okusasula balooya be.

Yaleeta ne bawannyondo ba kkooti okuwamba ekifo kyange wabula ne kitakolebwa

GEOFFREY BULAYI

Ono ye muzzukulu wa Kantinti: Muzeeyi bwe yagenda okubeera mu kyalo, nnasigala mu nnyumba eno. Waliwo abantu abajjanga ne bantiisatiisa nga bandagira okuva mu nnyumba ne ng’aana.

Mu August wa 1999, bawannyondo ba kkooti aba Popular General Auctioneers abaali bakulembeddwa Geoffrey Serubiri bajja ne bamenya ennyumba yaffe nga baagala kutwala poloti eno 1051 block 7.

Nategeeza ku taata ne tugenda ku poliisi y’e Katwe okuggulawo omusango wabula ne bagaana nga bambega ba poliisi baali bamuwadde emitwalo 50 okuziyiza omusango guno.

Twasalawo okugenda ku poliisi ya Jubilee nga tebannasengulwa ne tuggulawo omusango gw’okwonoona ennyumba
yaffe ku SD05/03/10/1999 wabula oluvannyuma fayiro baagizza e Katwe naye nga tetambula.

Okutuusa mu 2005 lwe nneekubira enduulu ku kitebe kya poliisi e Kibuli ne baggulawo fayiro endala ku GEF 67/05 wabula owa poliisi Edith Komwiswa gwe baakwasa ensonga zaffe yazidibaga mu bugenderevu ng’alimba bakama be ebyali bikwata ku fayiro okutuusa lwe nnasala amagezi ne ndaga bakama be ekituufu ekyamuleetera n’okukyusibwa.
Kyeraga lwatu nti buli kimu kye yakola yali akolera Lumala okumuyambako okubba ettaka lyaffe.

Bwe nnakola okunoonyereza ebyali bikwata ku ttaka lyaffe, mu ofiisi z’ebyettaka mu Kampala nnakizuula nti Lumala yafunab ekyapa nga 13 October 2000 n’azimbawo galagi omubeera ebimotoka bye biweetiiye. 

Moses Lumala yafuna atya ettaka lya famire ya Kantinti okuzimbako galagi? Galagi ya Lumala e Mengo, gye yazimba ku ttaka lya Kantinti. 

Moses Lumala Ettaka nnaligula mu butuufu - Lumala BULAYI AGAMBA: Nnay ongera okukizuula nti ekyapa kyava mu mannya ga taata aga James Kantinti ne kidda mu ga Moses Lumala. Kino kitegeeza nti Kamya gw’agamba nti ye yamuguza yamuwaayiriza.

Wabula bwe nayogeddeko ne Lumala, yantegeezezza nti eky’okugamba nti ekyapa kyava mu mannya ga Kantinti okudda mu gage byabulimba kubanga ye akimanyi nti kyava mu ga Kamya ne kiryoka kidda mu mannya ge. Bulayi ayongerako:

Ne bwe kyandibadde nga kituufu nga Kamya yagula ettaka lino ku bawannyondo ba kkooti, era abeera yagula mpewo kubanga waliwo obujulizi obw’enkukunala obulaga nti bawannyondo ba kkooti bano, ekiseera we baakolera bino baali tebalina layisinsi zibakkiriza kukola mulimu guno.

Ate era obuyinza obwasooka okubaweebwa kkooti okukola omulimu guno, bwali buweddeko nga kino kyayongera
okukakasibwa sitaatimenti eyakolebwa Eddy Joe Kalamawo, omu ku baali abakozi ba Popular General Auctioneers era nga yaliwo nga bamenya ennyumba ya
Kantinti.
Ngezezaako enfunda nnyingi okutwala Lumala mu kkooti wabula buli looya gwe nfuna, ne mmusasulako ne ku ssente bwe
bawandiikira Lumala ebbaluwa emulabula okumutwala mu kkooti, batandika okubuza omuliro n’okwebuzaabuza nze kye ndowooza nti babeera balina engeri gye bategeeraganyeemu ne Lumala.

Hajji Sula Lubwama, eyali Ssentebe Ensonga zino nzimanyiiko wabula obunafu nze mbuteeka ku Kantinti kubanga
baamuyitanga mu kkooti nga tagenda ne basala omusango nga Kasozi ajulidde ye nga teyeefiirayo.

Wabula ku ky’okuvunaana Lumala, nze ndowooza nti Kantinti bw’aba agamba nti awantu we baatwalawo mu bukyamu, yandibadde avunaana Kamya kubanga ye yagula ku bawannyondo ba kkooti era Lumala talina musango.

Lumala yali akkirizza bategeeragane naye Kantinti n’abuza omuliro wabula nze mmusuubiza nti na kati bw’aba ayagala nsobola okumutwala ewa Lumala ne bategeeragana.

Augustine Katamba ( ku kkono) alina ekyapa kya famire ya Musoke

MOSES LUMALA
Ettaka eryo nze nnaligula ku Kamya era ekyapa kyange kyakyuka okuva mu mannya ga Kamya ne kidda mu gange. Ebyo bye boogera nti kyava mu mannya ga Kantinti okudda mu gange byabulimba.

TIMOTHY KAMYA EKYAPA nnakiggya mu bawannyondo ba kkooti ne nkissa mu mannya gange olwo ne nkiguza Lumala. Kantinti tewali we batatuuse ku nsonga eno naye tebalina we batandikira kubanga kkooti yasalawo.
Nkakasa nti muzeeyi Kantinti akimanyi bulungi era y’ensonga lwaki ye si y’alwanirira ettaka lino, yalivaako. Nja kukuleetera fayiro ogirabe naawe okakase nti ddala ekyapa kyava mu mannya gange okudda mu ga Lumala.

‘Owapoliisi atunda atya ekyapa kyaffe mu bamanerenda?’
FAMIRE y’omugenzi Wilson Musoke ow’e Nsuube, Busiro mu disitulikiti y’e Wakiso ewawaabidde akulira bambega e Wakiso, George Mpungu olwa kye baayise okutunda ekyapa ky’ettaka lyabwe kye yabaggyako ng’ekizibiti.
Bagamba nti ekyapa yakiguzizza manerenda w’omu Kampala, Augustine Katamba.

Omusango gwe baawawaabidde Mpungu guli ku nnamba SD39/30/05/2015.
Omu ku bafamire ya Musoke, Drake Kizito yawandiikidde kamanda w’ekibinja ekirwanyisa ababbi b’ettaka ku poliisi e  ibuli  ga June 8, ng’agamba nti Mpungu yeekobaanye ne bannyina okuli Betty Namubiru, Margaret Nanziri ne Deborah Namusoke ne bawamba ettaka lino era nga kati batandise okulisalaasalamu obuguju nti wabula wadde beegayiridde Mpungu ebbanga ddene obutasala mu ttaka lyabwe okuli n’ekiggya yeeremye. 

Ettaka eryogerwako liri ku Block 273 plot 14 ne 16 e Kkona mu Busiro.yokka Mpungu agamba
nti Kizito ne banne baafuna obuyinza ku ttaka lino nga tebamaze kukkirizibwa bafamire bonna era ne balifunako ekyapa mu ngeri emenya amateeka.zito ne banne okuli Fred Mubiru ne Kyobe James twabavunaana kufuna kyapa ky’ettaka lino
mu bukyamu.

Bwe baatuuka ku poliisi baatugamba nti bagenda kutuula nga famire bateese era kye baakola, abawala ne babawa ettaka lyabwe.

Kye mmanyi nti Kizito bwe yalaba nga tugenda kubawaabira mu kkooti kwe kugoba ku by’okufuna obuyinza okuva mu ofiisi ya Administrator General era ne bafuna obwannannyini nga tebamaze kuteesa na bafamire.

Era kye mmanyi, nze okuwa Katamba ekyapa yamala kujja na Mubiru musika wa Musoke ne nkimukwasa,” Mpungu
bw’agamba.

Kyokka Katamba bwe nnayogeddeko naye yang’ambye nti ekyapa okukimuwa, bwe yatuuka ewa Mpungu baakubira Mubiru essimu n’akkiriza okukimuwa.

Kyokka Mubiru binon byonna abyegaana. Agamba nti tewali yamukubira ssimu oba yadde ye okwesitula ne Katamba okugenda ewa Mpungu, nti era ye okumanya nti ekyapa kigenze ewa Katamba, manerenda
yamala kukubira muto we Kizito essimu okumutegeeza nti ekyapa y’akirina!

Ekyewuunyisa kwe kuba nti ekyapa kya Musoke kyali kiwandiisiddwa nga kizibiti ku poliisi y’e Wakiso ku nnamba 15782!
Kati olwo kisoboka kitya okuweebwa atali mmemba wa famire?

Bwe kiba nti Mubiru ne Katamba bakkiriziganya nti tebaagenda onna wa Mpungu, mbega
omukulu nga Mpungu akakasa atya nti gwe yali ayogera naye ku ssimu yali Mubiru atuuke okumukkiriza okuwaayo ebyapa?

Fred Mubiru, omusika wa Musoke agamba: Bwe kiba nti twakkaanya nga famire wamu ne Katamba, lwaki ate Kizito yawaabira Mpungu, bannyina ne Katamba?

Nga April 27 nnali Ssentema, abapoliisi okuva e Wakiso okuli omu ayitibwa Latiff ne Ssemanda ne bampa ebbaluwa nga banneetaaga ku poliisi nga April 29. Mu mmotoka mwajjiramu bannyinaze babiri naye tebaavaamu. Ku poliisi twagenda ne Kizito, bwe twatuuka eyo ne bamugamba nti twabba ettaka ne tulizza mu mannya gaffe.

Eyakulira okunoonyereza ku musango guno ayitibwa Okunyuk yalagira Latiff ne Ssemanda ne banzisa mu mmotoka nga ndi ku mpingu ne tugenda ewa maama e Kawempe okunona ekyapa.

Maama bwe yalaba nga ndi ku mpingu yatya nnyo n’awaayo ekyapa era okuva olwo yalwala atereeranga. Ekyapa
olwakifuna kwe kunteera ku kakalu ka poliisi.” Kyokka bwe nnatunuulidde bondi ya poliisi eyakolebwa nga April 29, Mpungu yalaga nti omusango ogwali guvunaanibwa Mubiru kwali kufuna ssente mu lukujjukujju! Ssente ki ezaali zoogerwako?

Ye lwaki Mubiru yekka ye yafuna bondi, Kizito bwe baagenda bombi ku poliisi n’atagifuna?
Mubiru agamba nti kitaawe okufa wadde ettaka yali yaligula naye ekyapa kyali kikyali mu mannya ga Elizabeth Nakabiri. 

Naye yali alese nga kinaatera okukyusibwa. Bwe baawulira nti liyinza okutundibwa kwe kugenda ne balinunula. Bonna abana abali ku kyapa kati okuli Nakkazi Lovinsa, Mubiru Fred, Drake Kizito ne Kyobe James era be baali balondeddwa
okuddukanya ebyobugagga by’omugenzi ku lw’abalala.

Katamba agamba nti okumanya bakkaanya, n’olwa April 30 lwe baagenda ku ttaka okulirambula, famire yonna yaliyo. 

Kyokka Mubiru agamba nti bo baagenda kubanga baali balagiddwa era ku ttaka baali ku mudumu gwa mmundu kubanga e Katamba yajja alina abemmundu! Ebirala birinde.

 

Moses Lumala yafuna atya ettaka lya famire ya Kantinti okuzimbako galagi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta