TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Kanyankore ne Sobbi abaasibwa okutta abantu boogedde abagagga ababawa ddiiru

Kanyankore ne Sobbi abaasibwa okutta abantu boogedde abagagga ababawa ddiiru

By Musasi Wa

Added 9th July 2015

Kanyankore ne Sobbi bamaze emyaka egisoba mu esatu mu kkomera e Luzira nga bavunaanibwa gya butemu n’okubbisa eryanyi. Wabula baabayimbudde emyezi ebiri egiyise mu ngeri etategeerekeka. KALONDOOZI WA BUKEDDE yabasisinkanye n’awayaamu nabo, era banyumya emboozi yaabwe omuli n’engeri abagagga gye

2015 7largeimg209 jul 2015 122756010 703x422

Kanyankore ne Sobbi bamaze emyaka egisoba mu esatu mu kkomera e Luzira nga bavunaanibwa gya butemu n’okubbisa eryanyi. Wabula baabayimbudde emyezi ebiri egiyise mu ngeri etategeerekeka.

KALONDOOZI WA BUKEDDE yabasisinkanye n’awayaamu nabo, era banyumya emboozi yaabwe omuli n’engeri abagagga gye battamu abantu mu Kampala.

RONALD Asiimwe abasinga gwe bamanyi nga Kanyankore ne Paddy Sserunjogi, mu Kampala gwe bayita Sobbi be bamu ku bagambibwa okuba abamenyi b’amateeka ab’omutawaana ab’ensangi zino!

Bw’oba oyagala okumanya nti baamutawaana, tunula butunuzi ku misango egibadde gibavunaanibwa era nga bombi bamaze emyaka egisoba mu esatu e Luzira esibirwa abazzizza emisango egy’akabi.

Kanyankore kigambibwa nti yali mu kibinja ky’ababbi ba mmotoka era abatemu ekikulirwa Kazawula ( oluusi eyeeyitanga Ssempebwa). Baaasibibwa mu October wa 2010 n’abalala 11 lwa kutta na kubba!

Kanyankore yasibibwa ne Kazawula, Bob Kibi¬rango, Mutebi Ssekatawa, Kassim Kato, Geoffrey Ssempijja (eyeeyitanga omugagga omuto ow’e Kawempe), Bernard Muhangi (ono manerenda eyawolanga ekibinja kino ssente), Michael Matovu, Charles Yiga ne Edmond Nsubuga. Nsubuga yali mukozi mu URA!

Wabula w’osomera bino ng’okuggyako Kazawula, bonna be yasibibwa nabo baabata dda. Eyasembyeyo, Kanyankore yateereddwa mu April.

Ensonga zaabwe zibadde zikolwako ofiisi ya DPP, kkooti enkulu ne poliisi era be baaluka olukwe olugenze nga luyitibwamu okuta abantu bano bonna nga n’abamu baasemba kusomerwa busomerwa misango, tebawozangako!

Ensonda mu poliisi zang’ambye: Abo bonna balina abagagga mu Kampala be bakolera, era babaddenga babakubira amasimu n’okubakolera ku nsonga zaabwe sikulwa nga beekyawa eyo gye bali ne babalonkoma olw’emisango gye baabatumanga.

Abamu baddayo mu mirimu gyabwe, abalala baayingira busawo bwa kin¬nansi gye baferera abantu baabwe!”

Kanyankore nga bamutwala okumusiba

Kanyankore ne Sobbi nnabasisinkanye enfunda bbiri ne bannyumiza embeera y’ekkomera, abagagga abaliyo engeri gye beeyisa ate Kanyankore n’annyumiza ku mugagga omu eyabatuma okumukolera ‘omulimu’ n’asasulako banne abamu ate abalala n’abasenza luti.

Oluusi yeerabira nti yaakava mu kkomera n’aluma emba, eriiso ne limyuka ng’ettungulu n’awera: Naye oyo omugagga nja kumwanika oba kitegeeza kudda mu kkomera kale, okuzaalibwa kumu n’okufa kumu!

Wabula Kanyankore agamba nti tazzanga musango, era y’ensonga kwe baasinzidde okumuta! “Si buli ali mu kkomera oba eyasalirwa omusango nti aba yaguzza,” bw’atandika emboozi ye.

“Nze mbadde mu kkomera emyaka ena, nkizudde nti abasibe 25 ku buli 100 bokka be bazza emisango gye baabassaako, abasigaddewo bagibasibako ndowooza poliisi okwagala okulabika nti erina omulimu gw’ekola baleme kuswala mu bakama baabwe,” Kanyankore bw’agamba.

Sobbi: Nze nnakwatibwa ku gw’obutemu n’okubbisa eryanyi, ne nsibibwa mu kkomera okumala emyaka esatu, ne boonoona erinnya lyange sso nga nze nnina ssente zange naye Katonda engeri gy’atalya nguzi, kkooti yamaze n’ezuula nti sirina musango n’enta.

Nkizudde ebbanga lino lyonna nti bannannyini misango ate nga be bagagga bo basigala balya butaala, ffe abaavu ffe tufuulibwa ssaddaaka.

KKOOTI nazo zifuna obujulizi obw’obulimba ne zisalawo okusiba omuntu mu bukyamu.

Kanyankore: Nze ne bannange twakwatibwa mu kikwekweto ky’ababbi b’emmotoka mu 2010. Ekikwekweto kyatwaliramu n’abagagga b’omu Kampala bangi.

Nga tutuusiddwa e Kireka, ffe baatwawula ku babbi b’emmotoka ne bagamba nti ffe abagagga baatugulanga okubattira abantu ababalinako embiranye.

Eyo gye baatugambira tulumirize omugagga omu ffe batusonyiwe batute naye tekyasoboka. Nze nnali mmanyiddwa ng’omufere mu Kampala kyokka nnali nneegulira em¬motoka zange ne mikwano gyange okumpa mu zaabwe ne nneevugira.

Baatusiba emyaka etaano nga batugguddeko gwa kubba mmotoka, kyokka ng’omusango omutuufu ogwatusibya, ogwatukubya emiggo n’abamu ne tulemala, nnannyini gwo omugagga ali mu kupokera baabuyinza ssente abuzeebuze obujulizi.

Byonna nja kubikubuulira nga bwe byajja ne gye byakoma na lwaki fayiro z’omusango zonna zaasokoolwa naye ng’omusango gwakoma awo”

Sobbi mu kkooti mu 2012

EMBEERA Y’EKKOMERA
Sobbi anyumya: E Luzira bw’oba teweesobola, obonaabona nnyo. Ebyendya bibeera bizibu, teweebaka n’obulamu obwa bulijjo bukukaluu¬birira. Okugeza mu myezi mukaaga, buli omu aweebwa kitundu kya kitole ekya ssabbuuni okwoza n’okunaabako!

Akawunga kaba ka kyenvu nnyo, ebijanjaalo obibalira ku ngalo, olumu bampaako ebijanjaalo 5 mu ssowaani! Ekisenge ekimu (waadi) kisulamu abantu 250 ate tekiba kinene. Tubadde tusula wansi, tolowooza nti kiri kiringa kisulo ky’abayizi nti munaasula ku bitanda.

Osula weezinze bugongolo, ate ng’abasula mu waadi 1 mu kkomera ly’abazzizza egya nnaggomola (Upper Prison) gye tubadde, waliwo abasula mu kaabuyonjo.

Oggwaamu essuubi ate aweddemu essuubi aba mubi nnyo. Olaba waliwo abakola bye batandikoze, anti nga kye yeegomba takirina, ng’akirina naye alina okufuna ky’ayagala!

Kale olaba omuntu eyeegomba akandaazi oba capati, ne bagimugulira ng’agiguze alina ky’amwagalako era n’akifuna.

Kanyankore: Kye nnalabye mu kkomera, abasibe bandibadde babaawula, abazzizza emisango eminene ne babeera bokka n’abazzizza obutonotono ne babasiba bokka.
Naye osanga omwana ataweza myaka 18 nga bamusibidde wamu n’oyo gwe baavunaana okukwata abakazi.

Bw’osangayo omusajja nga Sobbi, gwe boogerako nti yayonooneka dda, abbisa mmundu, asobola okwegulira kyonna ky’ayagala omwana oli amwegomba era bangi bava mu kkomera ng’ate ayongedde kwonooneka bwonoonesi!

Kale nkizudde nti bangi bagenda e Luzira ng’omukwasi w’abakazi, adda ku kyalo nga mubbi, kuba bangi bavaayo n’omutima ogwenjawulo, ogutatya.

ABASIBE AB’AMANNYA BEEYISA BATYA?
Kanyankore agamba nti omwana omuto oba oyo atamanyidde kuzza misango bw’asangayo abagagga nga Kato Kajubi, Kazinda, Katuramu (eyali Katikkiro wa Tooro) tayinza butabeegomba kuba n’eyo abamu beeyisa kigagga.

“Kajubi ye takyalina ssuubi, era tayogera nnyo. Ekirungi ky’alina teyeekuluntaza, n’akawunga akalya kuba ayagala nnyo okufaanana abalala.

Kyangu okumusanga mu bazannya zzaala, ludo oba omweso. Ye Katuramu asinga kwesibira mu kasenge ke era tatera kufuluma okuggyako ng’azudde nti alinayo abagenyi,” bw’agamba.

Bombi bano beebaza Gavumenti kuba e Luzira eddagala eriweweeza ku siriimu abalyagala babadde balifuna bulungi. “Ate bataddeyo n’emisomo, bw’oba oyagala kuyiga kubajja, kusamba kyalaani oba kusiba nviiri osobola okuyigira mu kkomera,” bwe yagambye.

Sobbi: Naye nze nneewuunya, lwaki Gavumenti abasibe abawezezza emyaka 60 tebasibira mu byalo gye bava! Kuba oli aba n’emyaka 60 nga yasibwa emyaka 50. Alina abaana n’abazzukulu wamu n’obuvunaanyizibwa. Abo bw’obasibira ku byalo byabwe kiba¬kosa nnyo naye basigala batuukiriza obumu ku buvunaanyizibwa.

Mu ngeri ey’okwerabira, Kanyankore addayo ku mboozi y’abagagga abatta abantu.

Agamba: Abagagga mu Kampala be basinga okutta abantu. Babatta olw’okwagala okutwala ettaka lyabwe, bakyala baabwe oba nga bafunye obutakkaanya mu bizinensi.

Abantu babiri bayinza okutandika bizinensi, omu bw’alaba ekutteyo (ng’erose) ng’atta munne. Nnina omu gwe mmanyi e Mukono eyakikola kyokka naye alya butaala.

Omulala gwe mmanyi mugagga wa bizigo mu Kampala. Yatta maneja we Stephen mu ngeri etiisa n’amutwalako omukazi ne ssente ze ate n’atasasula kumalayo abamu abaamukolera!

Ddiiru omugagga yagiwa omwami omu ayitibwa Nkubito. Ono ye yayita Kazawula okuttaanya ensonga era Stephen yakubirwa essimu ku ssaawa nga 3:30 ez’ekiro ku olwo lwe yafa, n’ajja ku wooteeri emu eyitibwa Jericho e Mengo we yattirwa. Omulambo gwasuulibwa Kasenge e Nakawuka.

Ku olwo olwa October 17, 2010, omugagga twali naye mu kaduukulu e Kireka, ne twewaayo nga ssaddaaka ye n’alya butaala!

Kanyankore emboozi y’ekkomera bw’aginyumya toyagala agimale ate naye mwattu ayagala okuginyumya!


Engeri Sobbi ne Kanyankore gye baasibwamu olw’obutemu

RONALD ASIIMWE ( KANYANKORE)
Yeegatta ku kibinja ekyali kikulemberwa Robert Kazawula ( oluusi nga yeeyita Ssempebwa) ekyattanga abantu ne kibabbako emmotoka mu 2006 era yenyigira mu kutta abantu bangi ng’ali ne Kazawula.

Yakwatibwa ne Kazawula ne banne mu October wa 2010 ku misango gy’okutta abantu ku fayiro ez’enjawulo ezisoba mu ttaano era abadde Luzira okuva olwo.

Nga tannasindikibwa Luzira, Kanyankore yakkiriza okuluka olukwe olwatta Raymond Nkata eyali bbulooka w’ettaka n’amayumba, oluvannyuma lw’okumukubira essimu nti baalina ettaka lye bagenda okumuguza e Nakigalala mu Kajjansi wabula bwe yatuuka eyo Kazawula ne banne baamunyoola ensingo omulambo gwe ne bagusuula e Ndejje.

Obutemu obulala Kanyankore bw’agambibwa okwenyigiramu kuliko Claudia Ndezi, Constantine Ssempala n’eyali munywanyi we eyategeerekeseeko erya Mubarak.

PADDY SSERUNJOGI
Ono mu Kampala asinga kumanyibwa nga Sobbi. Agambibwa okubeera omu ku babbi abakyasinze okubeera ab’omutawaana mu Kampala. Azze avunaanibwa emisango mingi era ogumu ku gino gwe gw’okutta Agnes Birulu nga April 23, 2012 n’amubbako obukadde 467.

Sobbi yavunaanibwako omusango omulala nga kigambibwa nti yali ne banne ne bakozesa eryanyi ne babba ku Martin Uja, obukadde bw’ensimbi 120. Ku lunaku olwo baazingiza ne Emma Envuma ku Arua Park ne bamubbako obukadde 347 ne bamala ne bamukuba n’amasasi.

Sobbi yavunaanibwako n’omusango gw’okubba essimu ya Benard Twesigye nga July 03, 2012 ku kisaawe e Nakivubo, eyali ey’ekika kya G.TIDE ebalirirwamu 600,000/- kyokka emisango gyonna yagyegaana.

FRED ENANGA
Ono ye mwogezi wa poliisi mu ggwanga. Agamba:
Ensonga ezo ffe ng’aba poliisi tetuzivunaanyizibwako era mbeera tubeera tetumanyi ngeri gye bateebwamu kubanga kkooti y’ebavunaanyizibwako era aba kkooti be bamanyi bye basinziirako okuta abantu abo.

ERIAS KISAWUZI
Ono ye mwogezi w’ekitongole ekiramuzi. Agamba:
Esaawa eno sirina fayiro ya Kazawula naye oluusi abantu abo batera okuteebwa olw’ensonga nti ebiseera ebisinga abajulizi tebabaawo oba ng’obujulizi obubeera buleeteddwa bubeera tebumatiza kubanga obuvunaanyizibwa bubeera ku ludda lw’omuwaabi okulumiriza abantu abo ne wabulawo okubuusabuusa.

Wabula ku nsonga ng’ez’abantu abateereddwa naddala ku fayiro ya Kazawula, kyandibadde kirungi n’obuuza ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti (DPP) kubanga olumu basobola okuggya emisango ku bantu ababeera bavunaanibwa nga bamaze okukiraba nti tebalina musango.

Kati bwe bateebwa, abantu balowooza nti kkooti y’ebeera ebatadde oluusi ekitabeera kituufu.

Kanyankore ne Sobbi abaasibwa okutta abantu boogedde abagagga ababawa ddiiru

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta