TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Minisita yafuna atya ettaka e Kabalagala eryakakubya abantu babiri amasasi?

Minisita yafuna atya ettaka e Kabalagala eryakakubya abantu babiri amasasi?

By Musasi Wa

Added 23rd July 2015

ETTAKA eriri ku Block 245 plot 256 e Kabalagala lyakassa abantu babiri nga bonna babakuba masasi. Owookusatu eyali alikaayanira naye yafiira mu kabenje ka mmotoka mu 2008. Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri Minisita gye yafunamu ettaka lino erikaayanirwa.

2015 7largeimg223 jul 2015 100412793 703x422

ETTAKA eriri ku Block 245 plot 256 e Kabalagala lyakassa abantu babiri nga bonna babakuba masasi. Owookusatu eyali alikaayanira naye yafiira mu kabenje ka mmotoka mu 2008. Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri Minisita gye yafunamu ettaka lino erikaayanirwa.

NNAALONGO Gertrude Namirembe yafa nga June 25 1983 n’aleka ettaka e Kabalagala mu zooni ya Kiwuliriza Central mu Makindye divizoni.

Ettaka lino liri ku bunene bwa hekiteya 0.04, litudde ku Block 245 plot 256 nga lyawandisibwa ku ssaawa 11:06 ez'oku makya ga January 1 1981 ku nnamba KLA 97166.

Nnaalongo mu kuwandiisa ettaka, yaliteeka mu mannya ge n'ag’abaana be abato basatu okuli Henry Kato, Barbra Harriet Babirye (abaalina okutandika okulyeddukanyiza nga 10 August 1993 ) ne Francis Namyenya nga 13 April 1991.
Abaana bonsatule yabazaala mu Ssaalongo Difasi Lubowa (yalinayo abaana abalala abakulu be yasooka okuzaala mu ddya eddala).

Nga June 25, 1983 abantu abataategerekeka baalumba Nnaalongo Namirembe mu maka ge e Kabalagala ku ssaawa nga 8:00 ez'ekiro ne bamukuba amasasi. Yaziikibwa ku biggya bya bajjajjaabe e Nangabo mu Wakiso.
Okuva olwo, olutalo ku ttaka lino lwatandika ne mutabani we eyali agezaako okulirondoola naye ne bamukuba amasasi n’afa!

Mu ngeri ey’amancoolo, ekyapa kyakyusibwa ne kisalibwamu poloti endala bbiri, eziri mu mannya ga Rose Mary Nakityo ne mutabani wa minisita w’ebyamasannyalaze Ronald Denis D'ujanga!

Cotrida Namubiru, muwala wa Namirembe omukulu annyonnyola enfa ya nnyaabwe.
“Mu kiseera ekyo nze ne baganda bange abakulu maama be yasooka okuzaala twali tubeera ne jjajja Lazia Nandegeya e Magere.

Maama yateranga okujja n’atulabako naye lumu yajja n’agamba jjajja nti ettaka ligenda kumussa kubanga bba (ssaalongo Lubowa) yali alyesimbyemu.
Ettaka maama yaligula ku ba H Mukasa and Brothers Limited aba P.O Box 14039 Mengo. We yaligulira yali musuubuzi ng'alina n’ebbaala.

Omulundi ogwasembayo maama okujja okutulabako, jjajja yamugamba bw’aba alaba ng’obulamu bwe buli mu matigga, akwate abaana n'ebiwandiiko byonna akomewo eka naye kino tekyasoboka. Waayita ennaku nga ssatu owa takisi n’aleeta akapapula ku siteegi nga bawandiiseeko nti Nnaalongo afudde!

Ewa Adminstrator  General
Nga wayise ebbanga ttono, twagenda mu ofiisi ya Adminstrator General ne tuggulawo fayiro kyokka twasanga Ssaalongo Lubowa yatusookayo dda n’aggulawo fayiro.

Okusooka olutalo lwali lwa ssente maama ze yaleka mu Barclays bank emitwalo nga 50. Ssaalongo yali ayagala bbanka ezimuwe naye nga talina buyinza naffe ne batuwa amagezi tuggulewo fayiro.

Olutalo lwali mu ofiisi eno, anti abaana ffenna Nnaalongo be yazaala baatuyita ssaako ne bajjajja bonna. Ssaalongo bwe baamubuuza oba atumanyi yatwegaana, ne jjajja azaala maama naye n’amwegaana.

Naye ku nkomerero omusango nnagusinga, ssente ne nziggyayo era ne nzigabanya mu baana bonna.

 

Olw'okuba waaliwo enkaayaana nnyingi ate nga n'ekyapa kiri mu mannya g'abaana abato, twasalawo obuyinza ku ttaka busigale mu mikono gya Adminstrator General. Eky'obugagga maama kye yaleka lyali ttaka e Kabalagala era nga yazimbamu n'emizigo.

Nga September 19, 1985 omulamuzi wa kkooti enkulu Arthur Haggai Okello Oder yalagira Administrator General asigaze obuyinza ku bintu by'omugenzi okutuusa ng’abaana bonsatule bakuze ne batandika okwesalirawo.

Abaana Kato be yaleka nga bwe bafaanana

Kato akubwa amasasi

Barbra  Babirye agamba: Mu kusooka twali tetumanyi nti ettaka lyaffe wabula bwe twakula taata ssaalongo Difasi Lubowa yatandika okukola enteekateeka z'okulitunda.

Taata yasinga kwesiba ku mwannyinaze Kato eyali omuggunzi w'ebikonde mu KBC kubanga ye mulenzi yekka gwe twalina. Taata ng’ali ne Kato baagenda ewa looya John Ssengooba Fisheries okuva ku kkampuni ya John Ssengooba Advocates ng’ayagala okukyusa ekyapa akizze mu manye ge (aga taata).

Looya yali taliiyo era ekyapa ne bakirekera omuyambi we wabula bwe baali baddayo eka, Kato yaddayo mu offisi ya looya  n’amusaba ekyapa era kwolwo lwe yakizuula nti kiri mu mannya gaffe. Empalana ey’amaanyi we yatandikira!

Taata olwakitegeera  yasaba Kato amuwe ekyapa naye n’agaana. Yaddayo ewa looya ne basala amagezi balange mu Gazette nti kyabula! Ssaalongo Difasi yateekayo okusaba okuweebwa ekyapa ekirala nga June 27 1995 era nga September 8 1995 akatabo ka Gavumenti akatongole aka Gazette kaafuluma nga kategeeza nti oluvannyuma lw'omwezi gumu ekyapa ekirala kigenda kufulumizibwa nga kiri mu mannya ga Getulida Namirembe Nnaalongo, Henry Kato, Barbra Harriet Babirye ne Francis Namyemya.

Ekiseera bwe kyaggwaako, mu kifo ky'ekyapa okufuluma nga kiri mu mannya ga Nnaalongo n'abaana be, kyafulumira mu mannya ga Difasi Ssaalongo Lubowa nga 18 April 1995 nga beeyambisa instrument nnamba KLA 176628.

Taata olwafuna ekyapa, ettaka n’alisalamu poloti bbiri okuli 494 n’agiwa muganzi we Rosemary Nakityo ne 495 eyateekebwa mu mannya ga mutabani wa minisita Ronald Denis D'junga.

Nakityo (yafa) olwafuna ekyapa, yagenda mu kkooti n’asaba obuyinza aggyemu abapangisa abaalimu era najja n'ebipapula bye yagamba nti bivudde mu kkooti n’agoba abapangisa bonna abaali mu nnyumba za maama.

Kato bwe yagenda okukola saaci, yasanga ekyapa kyakyusibwa dda nekisalibwamu. Naye  kwe kuteekako envumbo  nga April 19 1996 n’agattako n'okugenda  mu ofiisi ya Adminstrator General eyali eweereddwa obuyinza ku bintu bya maama nga yeemulugunya.

Ofiisi eno yawandiikira akulira eby'okunoonyereza  ku buzzi bw'emisango  mu Kampala ng’amutegeeza anoonyereza ku tulansifa ez’amancoolo ezaakolebwa ku ttaka era n’eyazikola akwatibwe.

Poliisi yakwata Ssaalongo Difasi n’emuggulako omusango gw'okujingirira ku fayiro E/50/96. Wabula yateebwa ku kakalu ka mitwalo 10 ezitali za buliwo!

Kato yaddayo mu balooya baffe aba Kabanza, Kiboneka Advocates ng’ayagala bamuyambeko ekyapa kidde mu mannya gaabwe wabula ne bamuwa amagezi asooke anoonye ssente baggulewo omusango mu kkooti kubanga yali amaze n'okussaako envumbo ekugira okutunda.

Kato abasinga gwe baali bayita  Sky Baster  yali agenda kukiikirira Uganda mu mpaka za Commonwealth  ezaali e Bungereza mu July wa 2002.   Paasipooti   yagifuna nga  March 1 2002 n’atandika okugoba ku bya  viza, wabula aba tannagifuna  ne bamukuba amasasi okuliraana ettaka ly’akaayanira era n’afa nga 22 March 2002.

Kato bwe yattibwa, tetwaddamu kunoonyereza ku ttaka lyaffe kubanga twali mu ntiisa. Eyali akuliira  poliisi Maj. Gen. Katumba Wamala yatuwandiikira  nga 23 March 2002 nga bwe bagenda okukwata omutemu era avunaanibwe naye byakoma mu bigambo.

Kato yaleka abaana basatu abato okuli Brenda Nannono, Victoria Nalubowa ne Gillian Namirembe. mu kkooti

Omwaka guno nga ndi wamu ne muganda wange Francis Namyenya twatwala omusango mu kkooti e Nakawa ku fayiro CS 442/2015 nga tuvunaana mutabani wa Minisita Ronald Denis D'ujanga, mutabani wa Nakityo omugenzi Paul Kiggwe ne Kaminsona w'okuwandiisa ettaka 

Mu bimu bye twasaba kwe kusazaamu poloti ezaasalibwa ku ttaka lyaffe n'ebyapa byakwo kubanga beekobaana ne kitaffe ne bakyusa ettaka nga ffe abaali bannannyini lyo tetumanyi.

Okusinziira ku biwandiiko mutabani wa minisita Ronald Denis D'ujanga bye yateeka mu kkooti nga yeewozaako ku mivuyo gy'ettaka ng’akozeesa balooya be aba Luzige, Lubega, Kavuma & Co. Advocates, D'ujanga agamba nti ettaka lino lyamuweebwa nga kirabo okuva ewa kitaawe Simon D'ujanga  nga wa myaka 7 era ne likyusibwa okuteekebwa mu mannya ge ng’awezezza emyaka 8 nga January 14 1998.

Agattako nti ssente zonna Ssaalongo Difasi ze yafuna okuva mu ttaka yazikozesa okulabirira abaana be  n'okubagulira ennyumba mu kifo ekirala.

Abazze bateeka  envumbo ku ttaka lino

 Nga Kato tannafa, yateeka envumbo ku ttaka lino mu mwaka gwa 1996 ku nnamba KLA 179952. Wabula aba tannagiggyako   mu September wa 1997, envumbo endala ku nnamba KLA 190757  yateekebwako ngeri mu mannya ga Fred Basiima.

Mu September wa 2001 envumbo endala yateekebwako Hon. Simon D'ujanga ku instrument nnamba KLA 228895.

Leero kuliko envumbo endala mu mannya ga Maj. Timothy Bwiza ow’omu nkambi e  Bombo ku KLA 188292 eyateekebwako mu May wa 1997!

Ebibuuzo

1. Obuyinza obuddukanya ebintu by'omugenzi bwe buba bwaweebwa Adminstrator General, Ssaalongo Difasi yaggya wa obuyinza obutunda ettaka ly'abaana? 

Mw. Joseph Kibande, okuva mu ofiisi ya Adminstrator General agamba nti singa ofiisi ye y’eba n’obuyinza kyokka omuntu omulala n'avaayo n’atunda ebintu nga tafunye lukusa kuva wa Adminstrator General b’abeera aguzizza babeera baguze mpewo!

2. Ekyapa bwe kiba nga kyali mu mannya ga Nnaalongo n'abaana be, Ssaalongo Difasi bwe yasaba ‘Special title’ ng’agamba nti kiri kyabula lwaki kyafulumizibwa mu mannya ge mu kifo ky'okukizza mu mannya ga Nnaalongo n'abaana be?

3. Lwaki aboobuyinza abavunaanyizibwa ku byapa baafulumya ‘special title’ emyezi 5 emabega, (nga  April 18 1995) ng’akatabo ka Gavumenti akatongole (Gazette) ekirango mwe kyafulumira tekannafuluma?  Gazette yafuluma nga September 8 1995!

4. Nkolagana ki eyali wakati wa Ssaalongo Difasi ne minisita w'ebyamasanyalaze  Hon. Simon D'ujanga n’atuuka n'okugulira mutabani we ettaka lino nga tasoose kunoonyereza ku bwannannyini bwalyo obutuufu?

5. Lwaki poliisi tevangayo kuvunaana  muntu yenna ku kufa kwa Nnaalongo Namirembe ne mutabani we Henry Kato? 

 

 

Minisita yafuna atya ettaka e Kabalagala eryakakubya abantu babiri amasasi?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?