TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Obukadde 74 eza SACCO y’eggombolola zibula zitya abakulembeze ne wabulawo abavunaana?

Obukadde 74 eza SACCO y’eggombolola zibula zitya abakulembeze ne wabulawo abavunaana?

By Musasi Wa

Added 30th July 2015

Abatuuze mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono bamaze emyaka nga batereka ssente mu SACCo y’eggombolola okwekulaakulanya. KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze engeri abakulira SACCO eno gye baavuddeko ssente z’abatuuze okubbibwa.

Abatuuze mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono bamaze emyaka nga batereka ssente mu SACCo y’eggombolola okwekulaakulanya. KALONDOOZI WA BUKEDDE alaze engeri abakulira SACCO eno gye baavuddeko ssente z’abatuuze okubbibwa.

BAMMEMBA 329 ab'ekibiina ky'obwegassi ekya Nakisunga Cooperative Savings and Credit Society Limited (NASSACO) eky'eggombolola y'e Nakisunga mu disitulikiti y'e Mukono kata bagwewo ekigwo oluvannyuma lw'okubayita bukubirire mu lukiiko ttabamiruka olwenjawulo, abaabadde basuubira okugabana ku magoba okuva ku musimbi gwabwe gwe baludde nga batereka ate ne bafuna mawulire ga nnaku!

Bammemba baategeezeddwa mu butongole okuva eri maneja wa SACCO eno, Patrick Bunjo ne ssentebe wa SACCO Lameck Kasolo ng'ensimbi obukadde 74 ze baterese okuva mu 2007 bwe zaabulankanyizibwa nga we butuukidde olwaleero tebalinaako wadde omunwe gw’ennusu ku akawunti!

Kyokka ekyasinze okubaggyako enviiri ku mutwe, kwe kubagamba nti babanjibwa ensimbi mpitirirvu okuli ez'obupangisa we bakolera, okuva mu kitongole ekiddukanya ebibiina by'obwegassi ekya Micro Finance Centre n'amabanja amalala.

Bammemba abamu baayozezza ku mmunye, anti baagambye nti ssente mu bamu zibadde za kuweerera baana ate abalala kumaliriza nnyumba n’ebirala. N'ebizibu ebirala bingi okuli n'ensimbi za Gavumenti ez'ekitongole kya NAADS ez'eggombolola y'e Nakisunga nazo tezaalutonze.

Abamu awo we bajjuukiridde mu ngeri y'okwefumiitiriza nti eno yandiba nga y'ensonga ebadde evaako okuba ng'abakozi mu SACCO okumala ekiseera babadde tebakyabawa ssente.

Eky'ennaku kiri nti mu lipoota ya maneja Bunjo ne ssentebe Kasolo, bonna bakkiriza nga ssente zino bwe zaabulankanyizibwa era beetonda.

Kyokka bonna olukongoolo balusonga mu kaasiya Faith Namande agambibwa nti mu kadde kano aliira ku nsiko.

Ssentebe Kasolo olwalabye nga bammemba bongera kwesala kajegere, kwe kubategeeza nga bwe baafuna omubalirizi w'ebitabo eyeetongodde ne bamuteekako okwekenneenya ensonga ng'era yali mwetegefu okubasomera lipoota ennyonnyola akawonvu n'akagga ku ngeri ensimbi gye zaabulankanyizibwamu.

Omubalirizi w'ebitabo, Robert Sebugere okuva mu Kirangwa, Kiwanuka and Company Certified Public Accountants yasomedde bammemba lipoota eno kyokka nga nayo teyatula ani yatwala ssente ate n’ensonga ezimu bakira ekoonako nkoone.

ROBERT SEBUGERE
Okunoonyereza kwange kwakizudde nti abakozi ba SACCO ab’enjawulo baalina obuvunaanyizibwa mu kuddukanya SACCO. Muno mwe mwali ne Faith Namande eyali kaasiya ng’avunaanyizibwa okufuna ensimbi okuva mu bammemba, okuzitereka n’okusasula.

Ye maneja Bunjo yalina obuvunaanyizibwa obw’okuwandiika ensimbi zonna eza SACCO ezaayingiranga n’okufulumizibwa.

Mu ngeri eno, ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, Bunjo yakizuula nti ensimbi ze yalina mu buwandiike zaali nnyingi okusinga ezo zennyini ezaaliwo mu kaasi nga kino yakitegeeza kaasiya Namande ne ssentebe Kasolo.

Namande mu buwandiike yakkiriza nga bwe yali yatwala ku ssente za SACCO obukadde 17 mu ntuula ez’enjawulo ez’olukiiko olufuzi naye ate ensimbi ezisigadde ku bukadde 74 ezitalabikako teyalaga ani azivunaanyizibwako.

Nnatunuulidde emyaka ebiri egiyise ogwa 2013 ne 2014. Ensimbi 74,969,955/- zo tezimanyiseeko mayitire. Ku nsimbi zino, 56,165,955/- zaali ziterekeddwa bammemba nga nazo teziriiwo. Okuva ku ntandikwa ya NASSACO okutuuka ku nkomerero ya 2014, bammemba baagula emigabo gya 17,349,000/- (share capital) wabula nazo zaabulankanyizibwa.

Ensimbi 1,455,000/- zaakung’aanyizibwa okuva mu bammemba abeewola ssente wabula nazo tezimanyiseeko mayitire. Mu kunoonyereza kwe nnakola, nnakizuula nti ensimbi ezimu zaafunibwanga ku 'Mobile Money' okuva mu bammemba kyokka ezo tewali we ziragibwa mu buwandiike nti zaayingira mu bitabo bya SACCO.

Bammemba baateekanga ssente ku ssimu nga basasula looni zaabwe ssaako abo abaaterekanga ssente mu SACCO naye nga baziyisa ku ssimu nnamba (0773601055) ng'eno yali eddukanyizibwa kaasiya Namande.

Okunnyonnyola n'okwewozaako mu bulambulukufu okuva ewa Namande tetwakufuna olw'ensonga nti yasuulawo omulimu n'adduka nga tasiibudde.

LWAKI SSNETE ZA SACCO ZAABULANKANYIZIBWA
Maneja yalagajjalira obuvunaanyizibwa bwe obw'okulondoola emirimu gya SACCO era y'emu ku nsonga eyavaako SACCO okufiirizibwa ensimbi zaayo.

Kino kiragibwa mu nsonga nti yalemererwa okubala n'okuteeka mu buwandiike ensimbi ezaayingizibwa n'okufulumizibwa mu SACCO buli lunaku okumalako omwaka gwa 2014 gwonna.

Olw'obulagajjavu obwo, kyatwalira NASSACO emyaka ebiri okumanya nti waaliwo obuzibu nti era ensimbi zonna zaali zibbiddwa.

Sebugere yagambye nti yasanga obutakkaanya wakati wa maneja ne kaasiya ate nga maneja yalina obuyinza butono ekyavaako ensimbi za bammemba okubeera mu matigga.

“Maneja oba ssentebe wa SACCO baggyangayo ssente okuva mu bbanka kyokka tewali bukakafu bwonna bulaga nti bano ensimbi baazituusanga ewa kaasiya,” bwe yagambye mu lip;oota ye.

SSENTE EZIBANJIBWA

Lipoota ya Sebugere we yakoleddwa nga Micro Finance Support Centre ebanja NASSACO 4,131.632/-.
Abakozi babanja NASSACO emisaala gya myezi mwenda egitasasulwanga. Sebugere agamba nti kizibu okuzuula abakozi babeerangawo batya okumala ebbanga eryo lyonna nga tebasasulwa.

“Ye landiroodi w'ekizimbe okuli ekitebe kya SACCO abanja emyezi 14. Singa ebbanja eryo terisasulibwa, SACCO etuuse okwesanga nga terina w’ekolera mirimu. 4,200,000/- ze zibanjibwa wadde tewali ndagaano ya bupangisa.

Sebugere eyazuula obubbi bwa ssente mu SACCO y’eggombolola

ABABASINGA OKUBA  NE SSENTE MU NASSACO
Kyetume Rural Entrepreneurs' Association 7,423,700/-, Kayemba Steven 5,647,800/-, ssente z'eggombolola eza ISFG NAADS 3,913,800/-, Patrick Bunjo 3,580,500/-, Sarah Nakafeero 3,456, 200/-, Alex Kizza 2,227,000/-, Grace Namayanja 2,057,600/-, Prossy Kikabi 2,000,000/-, Juliet Namagulu 1,624,000/-, Lameck Kasolo 1,488,300/-, Rev. Peter Bakaluba Mukasa 1,380,669/-, Sylivia Nakibirango 1,306,000/-, Ritah Nanyonjo 1,223,100/-, Wilson Ntale 1,082,000/-.

Abalala y'e Norah Namuyanja 995,000/-, Joyce Namakooye 995,000/-, Resty Nabulya 899,000/-, Dauda Mukasa 712,500/-, Joseph Musajjalumbwa 637,400/-, John Kisolo 632,500/-, Yiga Joseph Wasswa 595,000/-, Henry Bisaso 498,000/- n'abalala bangi nnyo.

Okunoonyereza kuno era kwakizuula nti maneja Bunjo yaggya ssente za SACCO mu bbanka 22,990,000/- sso nga ssentebe Kasolo yaggyayo 15,500,000/- naye nga tekimanyise oba ssente zino baazituusa mu kittavvu kya SACCO.

ABAKOZI BA SACCO N'ENSIMBI ZE BASASULWA
Bunjo Patrick, Maneja asasulwa 300,000/-, Faith Namande kaasiya 195,000/-, Samuel Ssebaggala akola ku mabanja 225,000/-, Peter Ssozi akola mu ofiisi 80,000/- ng'awamu bonna babanja 6,400,000/-.

MANEJA ALUMIRIZA  KAASIYA NAMANDE
Ng'abakozi emirimu tugitambuzza bubi omwaka gwa 2014 oluvannyuma lwa kaasiya Namande okubulankanya ssente.

Namuwandiikira mu butongole era ne mpaako ssentebe kkopi era ne mmugamba anziremu mu buwandiike kye yakola oluvannyuma lw'akaseera.

Ssentebe yayingira mu nsonga eno nga kaasiya obuwandiike bukkiriza ensobi ye, n’alaga n'embeera gy’agenda okusasuliramu ssente ky’ataakola.

Nga wayise akaseera nnaddamu okumuwandeiikira, n’atusisinkana ne ssentebe mu lukiiko lw'abakozi n'ayongera okukakasa ensobi ze.

Twasisinkana bba wamu ne maama wa Namande mu lukiiko lw'akakiiko akafuzi era ne mutavaamu kalungi. Ensonga twaziyingizaamu ab'amateeka okuli ne poliisi eri mu kumunoonyerezaako.

We njogerera tetulinaawo ssente yadde wadde nga go amabanja ge tulina mangi. Teri mmemba abanjibwa looni, mu bbanka tetulinaayo ssente zikola mirimu wabula ezikuuma akawunti mu Centenary ne UBA zikyatambula.

EBINTU SACCO BY'ERINAWO
Pikipiki UDR 455Y emu, seefu etereka ssente emu, jjenereeta emu, kompyuta n'ebigenderako 2, emmeeza 3, entebe 12, ez'oku kawunta 3, entebe ennyimpi 4 n'empanvu 2, eza ofiisi 3, amasa ga fayiro ne dduloowa 2, ebifaananyi eby'oku kisenge 8 nga ku bino, ebya Pulezidenti biri 2, ebya Kabaka 2, certificate 2, eky'akakiiko akafuzi kimu n'eky'abagenyi okuva e Kenya 1, essaawa ez'okubisenge 2 n'ebirala ebitonotono.

Kaasiya yagenda n'ebisumuluzo bya ofiisi ssaako kkopi eggula sseefu ya ssente gye yali akozesa, akasimu ka ‘mobile money’ ne layini yaamu.

SSENTEBE WA  SACCO KASOLO
Bwe yabadde ayogerako ne bammemba, Kasolo yasoose kubeetondera olw’okulemererwa okubatuusaako obuweereza, naye ye yagambye nti kaasiya ye mulagajjavu!

“Twaggulawo omusango oguli ku fayiro CRB169/2015 era poliisi egunoonyerezaako. Tulumirwa wamu ffenna,” bwe yagambye. Avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi e Mukono, Irene Musiime yagambye nti SACCO y'e Nakisunga yali ekola bulungi nnyo nga bagikozesa ng'ekyokulabirako.

“Abakulembeze ba SACCO balina okukwatibwa bavunaanibwe olw'emivuyo egyavaako okubulankanya ensimbi.

Mu mwaka gw'eby'ensimbi 2013/2014, kkampuni eyakola lipoota ya audit yakola ebintu bya bicupuli kuba yalaga nti embeera yali nnungi ekitaali kituufu.

Ekizibu ekiriwo kwe kuba nti SACCO tebadde mu yinsuwa kuba yandibadde eyambako okusasula bammemba ensimbi zaabwe,” Musiime bwe yagambye.

RDC W'E MUKONO
Bammemba bwe bantuukirira nga beemulugunya ku kubulankanyizibwa kw'ensimbi zaabwe nabakwasa poliisi n'akola ku nsonga z'ebibiina by'obwegassi be ndowooza nti balina kye baakolawo.

Njagala bammemba bano bayambe poliisi mu mulimu gw'okunoonya Namande gwe balumiriza nti yadduka ne ssente zaabwe.

Wabula DPC w'e Mukono, Abraham Tukundane yategeezezza nti ye talina ky'amanyi kikwata ku musango guno olw'ensonga nti mupya mu ofiisi eno.

Wabula abamu ku bammemba oluvannyuma lw'okuwulira amawulire gano baggyeyo ebifaananyi bya Namande ng'amema n'omwagalwa we ne bategeeza nti kyandiba ng'ensimbi zaabwe ze yawaayo ne bamukuba embaga! Embaga yaliwo mu 2012.

Sarah Nakafeero, omu ku babadde batereka mu SACCO yalaze obutabo mw'abadde aterekera ensimbi okuli n'eza muwala we agenda ku yunivasite. Mukaziwattu ali mu kattu kubanga alina bangi be yaliisa enjiri okutereka mu SACCO, era baamukanulidde amaaso nga talina kyakukola!

Waalondeddwaako akakiiko okukola n'akakiiko ka Kasolo okutwala SACCO mu maaso.

Kasolo ne banne bakkiriza nga bwe bavunaanyizibwa ku nsimbi ezaabula era baasabye bammemba babaweeyo omukisa bakole ekisoboka okunoonya ssente okutwala SACCO mu maaso.

Obukadde 74 eza SACCO y’eggombolola zibula zitya abakulembeze ne wabulawo abavunaana?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”