TOP
  • Home
  • Emboozi
  • KCCA ewa etya baddereeva ba loole ettaka ate n’eremwa okubalwanirira ng’abagagga balibatwalako?

KCCA ewa etya baddereeva ba loole ettaka ate n’eremwa okubalwanirira ng’abagagga balibatwalako?

By Musasi Wa

Added 6th August 2015

BADDEREEVA ba loole baabawambyeko ettaka lyabwe eriri okumpi n’akatale k’ewa Kisekka! Wabula wadde n’ekitongole kya KCCA kikkiriza nti ettaka lyabwe, KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaze lwaki abagagga b’omu Kampala ettaka lino baligaanidde.

2015 8largeimg206 aug 2015 124758980 703x422

BADDEREEVA ba loole baabawambyeko ettaka lyabwe eriri okumpi n’akatale k’ewa Kisekka! Wabula wadde n’ekitongole kya KCCA kikkiriza nti ettaka lyabwe, KALONDOOZI WA BUKEDDE akulaze lwaki abagagga b’omu Kampala ettaka lino baligaanidde.

OMUGENZI Ahmed Tamale eyafa mu 1994, yalina ekibanja ku Makaayi Road kati awali ppaaka empya wakati wa 1960-1970. Mu kifo kino yali addukanyizaawo mirimu gya ppaaka ya loole.

Omu ku batabani be, Juma Ssegawa, agamba nti mu 1990, ekitongole kya KCC kyasaba kitaawe abawe ekyanya bateekewo ppaaka ya takisi ne bakkiriziganya era ne bamuwaamu ekitundu ky’akatale k’ewa Kisekka.

‘Taata yasenguka ne loole ze zonna ezaali mu kifo kye baawaanyisa ne KCC n’adda ewa Kisekka ku kibanja nnamba 99A – 107A nga kiweza obunene bwa yiika emu n’obutundutundu bubiri.

Yazimbako poliisi y’ewa Kisekka gye yali asenguse nayo okuva kati awali ppaaka empya ne bagiyita Lorry Park Police Post era nga na kati weeri.

Bino byonna Taata Haji Tamale yabikola ng’ayita mu kibiina kye eky’obwegassi kye ekya Uganda Commercial Road Transport Cooperative Society LTD.

Yalinamu banne bwe baddukanyanga ekibiina kyabwe, okwali Wilson Mugerwa, James Tagenda, Darlington Wamala, Ben Ssali (mugenzi), Abdallah Tamale ne Sam Baliruno ng’ono y’asinze okuvaako obuzibu obutuusizza ekifo kino okwagala okunyagibwa,” Juma Tamale bw’agamba.

Tamale agamba nti mu 1994, kitaawe we yafiira, ekibiina kyali wamu, kyokka Baliruno olwalaba Haji Tamale ng’afudde, n’awamba obuyinza bw’ekifo kyonna, era n’atandika okugobaganya loole era ezimu ne ziddukira ku Kalittunsi.

Yeegatta n’omusuubuzi wa sipeeya mu Kampala, Nsegumire Kibeedi ne bateeka obutale ku ttaka lya loole okusobola okubuzaabuza enkozesa y’ekifo n’okulowoozesa abantu nti ettaka eryo lyonna lya katale.

KCC yabatebuka era buli eyazimbawo akayumba yalina okubeera ng’asembeddwa abaddukanya ekibiina ky’obwegassi ekya loole olw’obwannannyini bwe kirina ku ttaka eryo.

Mu 1999, KCC yabakozesa endagaano ez’emyaka 10 nga zino zaggwaako mu 2010, olwo ekifo ne kiddizibwa bannyini kyo aba loole, nga famire y’omugenzi Tamale y’esinzaamu emigabo.

Juma Tamale agamba nti mu December wa 2014 baawulira oluvuuvuumo nti abasuubuzi b’akatale ka Kisekka ku ppaaka ya loole beekolamu dda ekibiina ekiyitibwa Mpabaana Nakivubo Road Traders Association, nti era baali bafunye n’omugagga agenda okukulaakulanya ekifo ekyo we bali era baabawa nsalessale wa 20/12/2014 okubeera nga baggyeemu ebintu byabwe , omugagga akulaakulanyeewo!

“Ffe ng’abaana, twabuuza Baliruno engeri abasuubuzi gye baatuuka okwekolamu ekibiina nga tetukimanyi ate nga n’endagaano zaabwe zaali zaggwaako dda.

Twamusaba ekiwandiiko ekikwata ku kibiina n’agaana okukituwa, wabula n’atutegeeza nga ffe aba loole bwe yatuyingiza edda mu kibiina ky’abasuubuzi ekyo, n’atutegeeza nga buli mwana bw’ajja okumuwa ku buyumba omugagga bw’anaaba abazimbidde.

Kino kyatwewuunyisa nnyo ffe bannannyini ate ye okutugabirako ate nga kitaffe yamulekawo nga mukuumi. Talina kiwandiiko kyonna kimwogerako nga ye era awo awangaddewo nga yeekweka mu linnya lya Haji Tamale.

KCCA eragidde ebyapa bisazibwemu
SSEGAWA Tamale agamba: Mu bintu bye twasinga okwewuunya, kwe kuwulira nti aba Mpabaana baali bafunye n’ekyapa okuva mu Kampala District Land Board ate ng’ettaka eryo liriko ekyapa ekikadde KCC kye yasabira taata omugenzi mu mwaka gwa 2000, olw’endagaano gye baali baakola naye ng’asenguka okuva mu ppaaka empya balyoke baweewo UTODA.

Nneesitula ne ng’enda mu ppaaka ya loole ewa Kisekka, ne ngabira abasuubuzi empapula z’obwannannyini era ne mbakuutira obutavaawo tumale okwekenneenya ensonga.

Ensonga bwe zaalabikira mu mawulire, nnafuna essimu okuva ewa Nsegumire Kibeedi ng’asaba okumusisinkana.

Nga sinnamusisinkana, nnagenda gye bawandiisiza kkampuni ne nnoonyereza ekibiina kye baali bakoze era ne nkizuula nti Mpabaana si kibiina kya busuubuzi wabula bannyini kyo mulimu Sam Baliruno, Darlington Wamala, Charles Bulega (mugenzi) ng’ono ye yali addukanya we booleza mmotoka eyali ku ppaaka ya loole. Eno nayo twali twasenguka nayo okuva ku ppaaka empya.

Darlington Wamala yali omu ku bammemba abaali baaleetebwa Haji Tamale mu kibiina kya loole era twakitegeerako nti muganda wa Sam Baliruno.

Wano we twazuulira ekkobaane wakati w’abantu bano okukyusakyusa obwannannyini babweddize oluvannyuma batunde nga beekwasa nti basuubuzi .
Abasuubuzi baali beepangisiza era baavaawo mu bwangu ddala olw’okwagala okutaasa emmaali yaabwe.

NSISINKANA KIBEEDI
Kibeedi nnamusisinkana wiiki esooka eya December wa 2014 ng’akatale k’ewa Kisekka tekannamenyebwa. Yajja ne Ephraim Ntaganda. Ntaganda ye nnannyini kizimbe kya E- Tower mu Kampala.

Ono yambuuza obwannannyini bwange, nze ne mbaanukula baleete Baliruno abannyanjulire.
Ntaganda yantegeeza nga bw’atadde ssente ennyingi ennyo mu kifo kino nti era singa twali baakulemagana ye teyali mwetegefu kufiirwa.

Nnamukakasa nti Mpabaana kabiina kajingirire, naye n’antegeeza nti abantu be yaakasisinkana ab’akabiina ako, baali tebawera wadde abataano ate nga bw’atunuulira akatale kalimu abantu abasukka mu 600.

Yagamba nti abo be yaakasisinkana, be baali balina okuteekako emikono ku mpapula kubanga be baakawandiisa. Nze nnamutegeeza nga bwe yali abbiddwa kubanga abantu abo b’agamba nnali mbamanyi era baali bakuuma bukuumi kifo.

Nnamugamba nti bangi ku bammemba mu ppaaka ya loole baafa ne batulekera abaana abaalina okuganyulwa , nga tekiri ku bantu babiri oba basatu okusalawo nga tebamaze kulaga bbo ng’abantu engeri gye baafunamu ekifo ekyo oba okulaga ku ndagaano kwe baagulira.

Ntaganda yandaga nti yali ku bwangu nnyo, era bwentyo ne mmulabula ku ky’okumenya amayumba gaffe, naye nga byonna tabiwuliriza.

Nga 25/12/2014, ekifo kyaffe kyamenyebwa nga bafuba bakimenyere mu kiseera kye kimu ng’ab’akatale bamenya awaabwe, KCCA ereme kubatebuka kubanga byali biseera bya ggandaalo. Olukwe lwabwe luno lwayitamu.

Nga 29/12/2014, nnawandiikira abatwala eby’ettaka mu KCCA abajja ne balambula ettaka lino era ne bakyewuunya okubeera nti ewa Kisekka waaliwo ettaka eritali lya basuubuzi abaaweebwa n’ekyapa.

Baalisanga likubiddwaako ekibaati, nga kapoliisi kalekeddwa wabweru . Kino ky’ekibaati ekyasookawo nga n’abasuubuzi b’ewa Kisekka tebannakuba kyabwe, ekyayongera okubakakasa nti bye nnali njogerako byali bituufu.

Ntaganda yagezaako okuntumya nzije n’aba famire yange, yeeyongere okutegeera era olwabaleeta ne mbamulaga. Yalondamu abamu be yayita abangu, naye nabo baamulemwa. Yantegeeza nga bwe nnamuleetera ebizibu ebingi olw’okutegeeza ku Muky. Jennifer Musisi ku by’ettaka eryo, ekyamuleetera n’okuwamba pulaani ze ze yali atadde mu KCCA mu January wa 2015.

Muky. Musisi yawandiikira Kaminsona w’ebyettaka, Sarah Kulata nga 15/01/2015 ng’amusaba okusazaamu ebyapa ebiwerera ddala musanvu ebyali bikoleddwa mu kitundu kya ppaaka ya loole ewa Kisekka, ekitaakolebwa!

N’ekibiina kya Uganda Commercial Road Transport Cooperative Society LTD kyawaabira Baliruno ku Legal Suit 402/2014 olw’okutunda ebitali bibye.”

Omusango gwabadde gutambula bulungi kyokka wiiki ssatu eziyise, Ntaganda bwe yawaabidde Juma Tamale ne bamusiba e Luzira, omulamuzi omusango n’agugoba, wabula bwe yavudde mu kkomera n’ajulira.

KCCA nayo yawaabidde akabiina ka Mpabaana wamu n’akakiiko k’ebyettaka mu Kampala olw’okugaba ebyapa ku ttaka lya baloole. Omusango guli ku nnamba 298/2015, gwawaabwa nga June 11, 2015.
Kyokka Kibeedi yang’ambye nti abasuubuzi abaali mu kibiina ky’obwegassi ekya Uganda Commercial Road Transport Cooperative Society LTD be baavaamu ne bakola akabiina ka Mpabaana, n’olwekyo Tamale tamanyiddwa.

Yagambye nti ekibiina ky’obwegassi kyakola ensobi ne kitafuna kyapa ku ttaka lino noolwekyo baali batuufu aba Mpabaana okuguiza Ntaganda kuba be bannannyini. Dr. Ntaganda nnagezezzaako okwogera naye, naye essimu ze ezimanyiddwa nga teziriiko.

Ebyapa ebyakolebwa ku ttaka lino biwera musanvu
TAMALE agamba nti baakola endagaano ne KCC mu 1990 ebakyusa okudda ewa Kisekka. Kyokka mu mwaka gwa 2000, KCC n’ekola endagaano n’akakiiko k’ebyettaka mu Kampala okuggyayo ebyapa okubibawa. Endagaano we yakolerwa ng’olwo baddereeva ba loole bali ku ttaka eryo.

“Nakola okunoonyereza ku byapa ebipya ne nfuna endagaano aba Mpabaana gye baakola ne ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka mu Kampala, Yusuf Nsibambi mu 2014! Eno y’ensonga lwaki KCCA ewaabira akakiiko kano n’aba Mpabaana.

Nakizuula nti mu wiiki bbiri ezisooka eza January wa 2015, ebyapa by’ettaka lino byakyusibwa emirundi egisukka mw’ena. Byasibira mu mannya ga DL Properties, kkampuni ya Drake Lubega!

Nagenda ku ofiisi ye ey’omu Kikuubo ne mmunnyonnyola. Lubega yankakasa bwe yali awoze obuwozi ssente ze era nti ensonga ne bwe zigootaana amanyi bw’ajja okuzibanja.

Essuubi twalisigaza mu kkooti wadde nayo ebiriyo bikaabya amaziga.
Twawawaabira akakiiko k’ebyettaka mu Kampala, Sedra Limited, Logic Real Estate ne Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa ebyapa.

Kuno twagattako ne Dennis Muganga eyayingira mu byapa nga byakava mu mannya nga Mpabaana, wabula nga ye tamanyiddwa.

Tusisinkanye Ntaganda emirundi egiwera nga tuteesa ku ppaaka ya loole ey’ewa Kisekka ne tulemagana,” Tamale bwe yang’ambye.

Kyokka bwe yali akola sitaatimenti ku poliisi ya CPS nga June 4 2015, Ntaganda yategeeza nti avunaana Ssegawa Tamale okumulebula mu mawulire n’ekigendererwa ky’okwonoona erinnya lye!
Ntaganda yakkirizza mu sitaatimentti nti yatwala ettaka lino bwe yategeeza nti mu 2014 yatuukirirwa ab’akatale k’ewa Kisekka abaali bammemba ba Nakivubo Mpabaana Market Vendors Association be yakolagana nabo okufuna ettaka lino era bwe baamala okukkiriziganya ne bamenya ebizimbe byabwe.

Kyokka mu lukiiko Ssegawa Tamale lwe yalimu naye mu December wa 2014, Ntaganda yasaba Ssegawa ababuulire we baali basobezza balongooseewo ekitegeeza nti yali akkirizza nti Tamale yalina omugabo ku ttaka ly’ewa Kisekka.

SAM BALIRUNO
Bwe yali yaakamala okufuna liizi ku ttaka lino mu 2014 mu ngeri emenya amateeka, nga March 24 2015, Baliruno yateekako kaviti ku ttaka lino ng’agamba ettaka lyali lya kibiina kya Mpabaana Combined Traders Association limited!

Ekyebuuzibwa nti Baliruno eyalekebwawo mukwano gwe Hajji Tamale, kisoboka okuba nga yali takimanyi nti ettaka si lirye! Ekirala, lwaki Ntaganda takkiriza kuteesa na Tamale okusinga okumuleppusa mu kkooti?

Bwe kiba nga ne KCCA ekkiriza nti ettaka lya Tamale n’ekibiina kye ekya Uganda Commercial Road Transport Cooperative Society LTD, era nga yawaabira akakiiko k’ebyettaka mu Kampala wamu n’aba Mpabaana, lwaki kino tekimala Ntaganda okulaba nti oludda lw’aliko lwe lukyamu?

Lwaki Kaminsona avunaanyizibwa okuwandiisa ebyapa bwe yasabibwa okusazaamu ebyapa ebyakolebwa ku ttaka lino na buli kati akyeremye?

Tamale agamba: Kitange Haji Tamale yafa ayavuwadde kubanga ssente yazimalira mu kujjuza ttaka mu kitoogo ekyali awo nga lyaggyibwanga ku kasozi Kampalamukadde. Nkyewuunya nti ekibaati ekitalina pamiti kiri mu kibuga wakati nga beeyongera kuzimbamu biyumba mu matumbibudde aba KCCA ne batavaayo kutuyamba!

Baliruno yang’ambye: Ffe aba Mpabaana twasooka kugenda mu KCCA nga tusaba liizi ku ttaka lino ne batutegeeza mu buwandiike nti bo awo ewa Kisekka tebalinaawo ttaka wabula tugende butereevu mu kakiiko k’ebyettaka tusabe. Kati olwo tuba tuzzizza musango ki nga tugoberedde amagezi ge baatuwa?

KCCA ewa etya baddereeva ba loole ettaka ate n’eremwa okubalwanirira ng’abagagga balibatwalako?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?