TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Ssente 25,000/- eziweebwa abakadde si ntono ku byetaago byabwe?

Ssente 25,000/- eziweebwa abakadde si ntono ku byetaago byabwe?

By Musasi Wa

Added 13th August 2015

GAVUMENTI egabira abakadde ssenhte 25,000/- buli mwezi ez’okwebeezaawo. Enkola eno eri mu disitulikiti zimu kubanga egendereddwaamu kugezesebwa oba eyinza okubunyizibwa mu ggwanga lyonna. AHMED MUKIIBI yakyaddeko mu disitulikiti y’e Lyantonde mu maka g’abakadde babiri era alaga engeri ssente gye b

2015 8largeimg213 aug 2015 145433270 703x422

GAVUMENTI egabira abakadde ssenhte 25,000/- buli mwezi ez’okwebeezaawo. Enkola eno eri mu disitulikiti zimu kubanga egendereddwaamu kugezesebwa oba eyinza okubunyizibwa mu ggwanga lyonna.

AHMED MUKIIBI yakyaddeko mu disitulikiti y’e Lyantonde mu maka g’abakadde babiri era alaga engeri ssente gye bayinza okuziganyulwamu.

“Yiiii! Paasikaziya nnazza gwaki ku nsi kuno? Ng'ennaku ejula okunzita muzzukulu!”
Bwatyo wakati mu maziga, nnamukadde Paasikaziya Tindikyeyitira 78 bwe yannyanirizza mu maka ge ku kyalo Nkote mu muluka gw’e Wabusaana mu ggombolola y'e Kinuka mu disitulikiti y'e Lyantonde e Kabula.

Embeera ya nnamukadde ono eyungula ezziga! Zaabadde ssaawa nga 4:00 ez’oku nkya ne ntuuka omwa Paasikaziya nga tansu¬ubira. Nnamusanze mukaziwattu yeeyanise mu kasana, yeeyenje mu ttaka ng'omusujja gumuluma okufaako obufi.

Eky'omusujja okumugoya si y’embeera eyungula ezziga wabula buzzukulu bwe 13 bwe nnasanze bumuwalampa n'okumusikasikanya olw'enjala eyabadde nabwo ejula okubukuulamu ennimi!

Abazzukulu 13 ng'asingako obukulu wa myaka nga 15 n'asembayo obuto wa myezi nga musanvu baabadde batunula njala njereere nga kyeyoleka lwatu nti baabadde baasuze makaya.

Ku njala kwe bagasse okugubaasiira ku mubiri n'engoye nga singa bakubuuza ddi lwe baasembayo okunaaba , bw'ogamba nti wiiki nnamba tewali ayinza kukuwakanya! Engoye zo zirabikanga ziwezezza ssabbiiti nga ziizo nga tezikunyizibwa na ssabbuuni .

Eno y'embeera gye nnasanzeemu Paasikaziya era bwe nnagenze okumubuuzaako bwe yasuze, okwandibadde ng'okunnyanukula, gaabadde maziga.

Wandisuubidde nti abazzukulu we baabadde basikasikanyizza jjajjaabwe, nga ku masiga kuliko esseppiki y'obuugi wabula amasiga gaabadde meereere okuggyako mpozzi ekiseppiki ekyabadde ku masiga ku nsonda y'enju nga Paasikaziya yeefumbira eddagala Egganda okwejjanjaba omusujju.

"Nnazaala abaana 12 kyokka w’ondabira wano nsigazza omwana omu yekka, abalala bonna mbaziise, bali awo mu bitooke!", Paasikaziya bwe yantegeezezza.

Omulenzi gwe yasigazza ye muggalanda Paul ow'emyaka nga 24 wabula asiiba ku kyalo nga yeeyiiya, talina mulimu gwa mu mikono oba obutendeke bwonna kubanga mu ssomeryawunyayo buwunya olw'ebbula lya fiizi.

Paasikaziya agamba nti bba Mikayiri Kizza yamufaako mu 2010 era okuva olwo obulamu buzze bweyongera okumukaluubirira naddala olw'abaana be abazze bafa obulwadde bwa Siriimu.

Yasituse n'andaga amalaalo ga mutabani we Lozio Tibulu 27 gwe yaakasembayo okuziika mu January w’omwaka guno eyamulekedde abazukkulu bana.

Paasikaziya agamba nti talina ky'aliisa bazzukulu kubanga olusuku lwe omusana gwalwokya lwonna, ennimiro talinaamu wadde kikolo gya muwogo olw'omusana ogwememula mu kitundu kino ensangi zino.

Kassukaali , Paasikaziya agamba nti bamala ebbanga nga tebakafunye Obuzibu bwa Paasikaziya si kuliisa baana kwokka wabula n'ebyokubabikka n'okubambaza abaana tebakirina, basula mpewo ate emisana kumpi bayita bukunya kubanga Paasikaziya talina mwasirizi.

Agattako nti abazzukulu be baliwo ku bwa Katonda kubanga endwadde bwe zibagwira ayengayenga biragala n'abawa Mukama n'ayambira eyo!

NNAMUKADDE KABUNDO ENNAKU EMWOZA NGA LUMONDE
Nnavudde ewa Paasikaziya ng'amagezi gampeddeko ne njolekera ew'omukadde Harriet Kabundu, kyokka nayo kitokota si kisaanikire. Ennaku eri ku Kabundo eyoza lumonde!

Kabundo agamba nti tebamanyi ddi lwe yazaalibwa wabula ebbanga ery'essawa nnamba gye nnamaze naye nga twogera ekifaananyi kye nnafunye kiraga nti atemera mu myaka nga 75 egy’obukulu.

Mu bulamu bwe, Kabundo yazaala abaana mwenda kyokka abasatu baamufaako obulwadde buno n'asigazaawo mukaaga.

Eby’embi ababiri kw'abo omukaaga, balina obulemu ku bwongo, abasigadde abana , nnamukadde Kabundo amaze emyaka n'emyaka tabawuliza era ye kyenkana ababala ng'abaafa!

Ensibuko y'okuboonaboona kwa Nnamukadde Kabundo, ge gasajja gakaggwensonyi agaasooberera bawala be abalina obulemu ku bwongo ne gabazaalamu abaana ne babulawo, ekiseera bwe kituuka eky'okubazzaako nga gaddamu nga gasooba.

Nnamukadde Kabundo ateebereza nti agasajja gamubaza agenze okusaka emmere mu byalo ne geesogga akayumba ke ne gafutubbala ku bawala be ne geekeja, ye alabiraawo nga mbuto!

Omu ku bawala ye Edina Namanda ow'emyaka 20, agasajja gwe gaakakunkumulamu abaana basatu ne gabula era Jjajja (Kabundo) y’avunaanyizibwa ku buli kimu omuli n'okutuuma abazzukulu amannya.

Omuzzukulu omukulu owa Namanda wa myaka ena n'ekitundu, addako wa myaka nga esatu n'asembayo wa mwaka gumu n'ekitundu.

Omuwala omulala ye Erina Namata ow'emyaka 18 ng'eno agasajja gaamufumbiriza ne gamuzaalamu abaana babiri. Omwana omukulu wa myaka nga esatu ate omuntu wa mwaka gumu.

Nnamukadde Kabundo yannyonnyodde nti bba omugenzi Eriazaali Kamuhanda yamufaako emyaka nga 10 egiyise era okuva olwo azze ettunka okusobola okukuza Namanda ne Namata n'abazzukulu wakati mu bugubi.

"Ffe tumalako ne wiiki essatu nga tetufunyeeko kitole kya Ssabbuuni", bwe yagambye n'agattako nti n'akataala ka tadooba kaakala dda olutambi ne lusiriira olw'obutabaamu mafuta.

Yagambye nti bayingira ssaawa 12 n'enkoko ne babeera mu nzikiza okutuusa buli omu otulo lwe tumubba ne bukya era omwana ne bw’akaaba ekiro , yennyula yekka n'asirika nga tebakoleezezza ttaala kubanga amafuta bamala ne wiiki ebbiri nga tebagafuna.

Eby’okusula biwuniikiriza! Bbo kye bayita ebifaliso bwe budeeya bwe baatemeramu ebisubi ne bapakira ate essuula, ezo tebalina, ne bulangiti zaabwe ziringa ntuula ez'abayizi ze bategesa ensolo ez'omu nsiko.

Ssukaali, Kabundo yagambye nti bawezezza omwezi nga tebamunywa kubanga ssente ezimugula talina, era obuugi bawuuta bukalu ate nga nabwo okufuna asooka kulimira abantu ennimbi ( okusaka).

Kabundo agamba nti bw'alwaza abazzukulu oba bawala be, atambulira nabo ku mugongo Mayiro ttaano okugenda e Kaliro mu ddwaaliro lya Gavumenti okusobola okufuna obujjanjabi obwoleere kyokka nga nayo enfunda nnyingi tasangao ddagala.

SSENTE Z'ABAKADDE ZIFUNIBWA ZITYA?
Bannamakadde Paasikaziya ne Kabundo, ne bamu ku bakadde abali mu mbeera embi abeetaaga okuyambibwa mu ngeri eyenjawulo.

Uganda erina pulogulaamu ey'okugabira ensimbi abakadde abali mu mbeera embi abasussizza emyaka 65 okubayambako okweyimirizaawo.

Pulogulaamu eno eyitibwa Senior Citizens Grant (SCG) yatandike mu 2010 , abakadde abasussizza emyaka 65 gye basasulwa 25,000/- buli mwezi okubayam¬bako okusitula omutindo gw'obulamu bwabwe.

Abakadde 110,135 mu byalo 5,714 ezisigangibwa mu disitulikiti 15 kw'ezo 112 eziri mu Uganda ba basooka okuganyulwa mu Pulugulaamu eno, Gavumenti erina eteekateeka ey'okubunyisa Pulogulaamu eno mu disitulikiti za Uganda zonna omwaka 2018 we gunaatukira.

Kyali kisuubirwa nti mu mwaka gw'ebyensimbi 2014/15 Gavumenti egenda kwongera ku bungi bwa disistulikiti okuva ku 14 okutuuka ku 24 kyokka tekyakoleddwa.

Ssente Gavumenti z'ewa abakadde ziva mu bitongole ebigabi by'obuyambi okuli UK Aid ekya Bungereza, Irish Aid okuva mu Ireland ne UNICEF eky'amawanga amagatte ebyawaayo ssente Pawunda obukadde 50 (eza Uganda obuwumbi nga 210) ezibadde zikosezebwa okuva mu 2010 wabula ssente ezo zigenda kuggwaawo omwaka guno (2015).

Mu kiseera kino, Minisitule y'ekikula ky'abantu erina Pulogulaamu eyitibwa Expanding Social Protection Programme (ESPP) mw'eyise okulwana okulaba nti enteekateeka ya Gavumenti okuyamba abakadde abasukka emyaka 65 ebuna Uganda yonna.

Abazungu abagambi b'obuyambi beeteefuteefu okwongeramu ssente mu Pulogulaamu eno wabula baagala gavumenti ya Uganda okulaga nti Pulugulaamu eno yeetagibwa nga nayo (Uganda) egissaamu ssente.

Minisita avunaanyizibwa mu bakadde, Sulaiman Madada, agamba nti gavumenti eteekateeka okubunyisa Pulogulaamu eno kubanga mu disitulikiti 15 gy'esokedde , abakadde bangi obulamu bwabwe bukyuse kinene.

Ssente 25,000/- eziweebwa abakadde si ntono ku byetaago byabwe?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...