TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Nnatta omukuumi wa supamaketi e Bwebajja ne bansasula obukadde 2’

‘Nnatta omukuumi wa supamaketi e Bwebajja ne bansasula obukadde 2’

By Musasi Wa

Added 20th August 2015

ISMA Kalule alina emyaka 15, wabula yattottoledde Kalondoozi wa Bukedde engeri gye yakubamu omukuumi ku supamaketi e Bwebajja omuggo ku mutwe n’afa ne bamusasula obukadde bubiri n’ekitundu. Ekyebuuzibwa lwaki omwana ng’ono ataafunye kubudaabudibwa yateereddwa n’adda ku kyalo e Kajjansi?

2015 8largeimg220 aug 2015 081152273 703x422

ISMA Kalule alina emyaka 15, wabula yattottoledde Kalondoozi wa Bukedde engeri gye yakubamu omukuumi ku supamaketi e Bwebajja omuggo ku mutwe n’afa ne bamusasula obukadde bubiri n’ekitundu. Ekyebuuzibwa lwaki omwana ng’ono ataafunye kubudaabudibwa yateereddwa n’adda ku kyalo e Kajjansi?

MU kiro ky’Olwokuna nga September 4, 2014, ababbi baayingirira supamaketi e Bwebajja ne batta Benson Ochan eyali omukuumi waawo. Ochan yali akolera kkampuni ya Aim Security Services Limited.

Ababbi babba ebintu eby’enjawulo naye nga  wayise wiiki ng’emu, abakuumi ku ddwaaliro lya Namulundu Medical Centre e Bwebajja beekengera Isma Kalule, 15, eyali asalinkiriza ku ddwaaliro ku ssaawa 10:00 ez’ekiro ng’anoonya aw’okwebaka ne bayita Ssentebe w’e Bwebajja Charles Zziwa eyamukwata n’amutwala ku poliisi y’e Kajjansi.

Ku poliisi, Kalule yabategeeza nti ekibinja kye kye kyakatta omukuumi Ochan nti era ye yamukuba ekiti ku mutwe ekyamutta ne basobola okunyaga. 

Ab’ekitongole kya Flying Squard baayogeza Kalule ne bakwata banne be yali akola nabo ne babasindika mu kkooti wabula abantu bano ng’oggyeeko Kalule, baalabiddwako ku kyalo ekintu ekitiisizza abatuuze nti obulumbaganyi obwabakolwako bwandibaddira.

Kalule anyumya engeri gye yayingiramu ekibinja ky’ababbi kino n’engeri gye yattamu omukuumi wa supamaketi eno.

“Amannya gange nze Isma Kalule, kitange ye Medi Kyagulanyi ow’e Makandwa. Maama sibeerangako naye wabula mbadde mbeera ne muka kitange eyasalawo okwekobaana ne taata okuntulugunya ne batuuka n’okunzigya mu ssomero ku Elen White gye nnali nsoma mu P.5.

Bwe nnalaba ng’eby’okusoma kigaanye ne ngezaako okuyiga okukanika mu galagi e Kajjansi wabula nayo ne bangobayo nti nnali ng’enda kubabba, ne bang’amba nzireyo ne taata  kyokka bwe nnamugamba n’agaana.

Okutuusa lwe yalagira maama obutaddamu kumpa mmere nange ne nsalawo okuva awaka ne ntandika okusulanga mu bifulukwa nga nkola gwa kulonda sikulaapu.

 Omuserikale wa poliisi n’embwa ng’anoonyereza ku abatemu abatta  omukuumi Benson Ochan.       

Lumu nnali mu Kijapaani e Kitende nga ngula erindaazi ne wajja omusajja gwe nnali simanyi ng’ali ku kagaali n’ampita erinnya ne mwewuunya kubanga nnali simumanyi. Bwe nnasembera we yali yang’amba nti tugende tukole ddiiru nange ne nzikiriza nga simanyi ddiiru gye yali ampitira.

Yampitiramu ku bye twali tugenda okukola nga tuli ba kubba bintu ne ssente mu maduuka nange ne nzikiriza kubanga nnali sikyayagala kubeera waka ate nga tewali we nnali nnyinza kubeera.

Mu bubbi bwe nzijukira obwatambula obulungi mwalimu amaduuka ge twabbamu kompyuta ekika kya laptop e Kanyanya era gano okugabba abantu abaagalimu twasooka kubawa kalifoomu. Olwamala okubba amaduuka, twabba ne bbanka y’abakazi e Kanyanya ne tuggyamu ssente nnyingi ze ssaamanya muwendo wabula nze bampaako akakadde kamu n’ekitundu zokka!

‘Taata olwangoba awaka nnalina okweyiiya’

Oluvannyuma gwe nnali mmanyi nga mukama waffe Yusuf yantwala e Bwebajja n’antegeeza ng’omulimu gwe twalina okuddako gwali gwa kubba dduuka lya supamaketi era nze gwe baawa omulimu gw’okutta  omukuumi!

Nasooka kugaana kubanga eby’okutta nnali sibyagala wabula ne bampisaamu empi ne bamaliriza nga bagamba nti ng’ende mmukube ekiggo ku mutwe awunge oluvannyuma bbo bamumalirize.

Ssaalina kyakukola era essaawa ze twateranga okukoleramu emirimu bwe zaawera (ssaawa munaana ogw’ekiro) twekung’aanya ne tusooba mpolampola ne mbaleka emmanju wa supamaketi nga beekwese ne mbaza omukuumi nga yeebase ne mmukuba ekiggo ku mutwe bannange ne bamumaliriza. 

Twamuttisa biyinja n’emiggo omutwe ne gwatika!

Oluvannyuma twakoona endabirwamu ne tuyiwa asidi ku mitayimbwa gy’eddirisa olwo ffe abaana abato twali bana, ffenna ne tuyingira ne tutandika okuweereza ebintu ne ssente ezaali mu seefu eri abantu abakulu nga babitwala mu mmotoka ya Yusuf era mu nnyumba ye gye twabitereka.

Eddirisa Kalule ne banne mwe baayita okuyingira mu supamaketi.

Yusuf ne banne nnabanyiigira kubanga newankubadde nga nnali nkoze omulimu munene, bampa obukadde bubiri bwokka! 

Waayitawo ebbanga ttono, nnali nsalinkiriza ku ddwaaliro lya Namulundu nga mpita mu kaggeeti akatono ku ssaawa 10 ez’ekiro nga nnoonya waakusula ne balowooza nti nnali ng’enda kubabba ne bankwata ne bantwala ku poliisi e Kajjansi abansindika e Kireka abantulugunya ne njogera bannange bwe twali tukola emirimu.

Baabakwata bonna ne batutwala mu kkooti e Kajjansi ffe abaana ne batusindika e Naggulu okutuusa lwe bantadde kyokka bwe nnatuuse eka ne bangoba kati sirina we nsula.

Njagala omuntu asobola okumpa omulimu nkole era nkakasa nti sisobola kuddamu kweyunga ku kibinja ky’ababbi kyonna era njagala kubeera muntu mulamu!”

Eyali atwala poliisi y’e Kajjansi Stella Dembe agamba nti bwe baakwata akavubuka kano, baayingizaamu ab’ekitongole kya Flying Squard ne bakwata abantu abaali babba ne Kalule abakunukkiriza mu 20 era abamu baabasingisa omusango ne babasiba. Agamba nti kkooti ye yalina okulagira akalenzi okukawa okubudaabudibwa.

Kalule abadde abeera ku poliisi e Kajjansi nga gw’ekozesa okusonga ku babbi, wabula kati nawo yadduseewo tamanyiddwa gye yalaze.

‘Nnatta omukuumi wa supamaketi e Bwebajja ne bansasula obukadde 2’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa