TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Abatuuze baalaba abavubuka nga batta owa bodaboda, poliisi n’eterabawo bujulizi bubatwaza mu kkomera

Abatuuze baalaba abavubuka nga batta owa bodaboda, poliisi n’eterabawo bujulizi bubatwaza mu kkomera

By Musasi Wa

Added 24th September 2015

ABATUUZE b’omu Kiggundu zooni mu Makerere III baalaga abavubuka bataano nga batta omuvuzi wa bodaboda n’okumunyaga ne bamunyaga nga July 1, 2015. Kalondoozi wa Bukedde akulaga engeri poliisi y’e Wandegeya gye yayimbudde abavubuka bano nga tegenzeeko mu batuuze kubaggyako bujulizi.

2015 9largeimg224 sep 2015 145708160 703x422

ABATUUZE b’omu Kiggundu zooni mu Makerere III baalaga abavubuka bataano nga batta omuvuzi wa bodaboda n’okumunyaga ne bamunyaga nga July 1, 2015.

Kalondoozi wa Bukedde akulaga engeri poliisi y’e Wandegeya gye yayimbudde abavubuka bano nga tegenzeeko mu batuuze kubaggyako bujulizi.

MUHAMAD Balyejjusa yali muvuzi wa bodaboda ku siteegi y’ewa Kisekka mu Kampala. Kyokka nga July 1, 2015, abavubuka abagambibwa okuba mu kibinja ekikuba abantu mu Kawempe baamukuba ne bamutta ne bamulesa abakazi basatu n'abaana mukaaga.

Kyokka omu ku baamutta poliisi y’e Wandegeya yamuyimbudde mu ngeri eyeewuunyisa!

Wadde waliwo abatuuze abamuwaako obujulizi, poliisi y’e Wandegeya teyalinze kubukung’aanya, oba yadde okutwala omuvubuka mu kkooti wabeewo obwenkanya.

Abatuuze b'omu muluka gwa Makerere III e Kawempe n'aba famire y'omugenzi mu kwenyiwa balaajanidde omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kalea Kayihura asitukiremu ku baserikale be ku poliisi eno abataakola mirimu gyabwe mu bwerufu.

Derrick Ssali, abatuuze gwe balumiriza obutemu amaze wiiki ssatu mu kkomera e Wandegeya nga tatwaliddwa mu kkooti.

Poliisi y’e Wandegeya etwala poliisi okuli Mulago Kapaapaali, Mulago ku ddwaaliro, Kimwanyi, Kaleerwe, LDC, Gadhaffi , Kikoni A, Bugema Kikoni B, Makerere.

Zino bwe zikwata abamenyi b'amateeka naddala ab'omutawaana babatwala Wandegeya kyokka ekyewuunyisa bambega ba Poliisi tebatwala buvunaanyizibwa kukola kunoonyereza kumala, omulimu gwabwe kuteesa n'abavunaanibwa ne babawaayo ku ssente ne babayimbula.

Abatuuze okutuuka okulaajanira Gen. Kayihura kiddiridde poliisi y'e Wandegeya okuyimbula Derrick Ssali amanyikiddwa nga ‘Black’ omutuuze w'omu Kiggundu zooni ng'ono yakwatibwa poliisi y'oku Kaleerwe.

Kigambibwa nti Ssali ye yakulira abatta Balyejjusa. Balyejusa baamuttira Makerere Kavule mu Kiggundu zooni, oluvannyuma lw'omu ku bawala agambibwa okuba mu kibinja kyabwe eyeefuula omusaabaze n’apangisa Balyejjusa okuva ewa Kisekka n’amutwala ku Kavule gye baamuttira.

Kyokka omuvubuka Derrick Brown gwe yali naye yakwatiddwa poliisi y’e Nakaseke gy'abadde yaddukira n’emukwasa poliisi y’e Wandegeya.

Okusinziira ku batuuze, omuwala ono olwava ku pikipiki, yali yaakatambulako katono n’akuba enduulu nti agudde mu babbi! Balyejjusa yali tannasimbula yawalirizibwa okugenda okutaasa omuwala ono, ky’ataamanya nti lwali lukwe lwa kumubba.

Balyejjusa yagezaako okwerwanako kyokka ne birema, eky'omukisa waliwo abatuuze abaalaba Ssali ne banne nga bamutta!

Abatuuze baatemya ku Dan Ampadde akola nga OC ku poliisi y'oku Kaleerwe eyakuba olukiiko mu kifo we baamuttira abatuuze ne basoma olukalala lw'abavubuka abatemu n'abo abatta Balyejjusa.

Poliisi yakola ekikwekweto ne wabaawo abakwatibwa ne batwalibwa ku poliisi y'e Wandegeya. Ekyewuunyisa bonna baayimbulwa!

Ku bano kwaliko Kazima Mugalula 18, Asuman Kayemba 19, Zaid Ssentongo 13, Deera Nannyonjo 17 ng'ono abatuuze bamulumiriza nti ye yaluka olukwe nga yeefuula omusaabaze.

Derrick Ssali ne Derrick Brown nga bamaze okutta Balyejjusa badduka, oluvannyuma poliisi y'oku Kaleerwe yakwata Ssali n'atwalibwa ku Poliisi y'e Wandegeya gye yayimbuliddwa.

Derrick Brown poliisi yamukwatidde Nakaseke gy'abadde yaddukira yatwaliddwa ku poliisi y'e Wandegeya.

Waliwo n’amaloboozi agaluma abavubuka bano, ge baayogerera ku ssimu nga buli omu anenya munne okutta Balyejjusa kuba ekigendererwa kyabwe kyali kya ku mubbako ssente na ssimu byokka.

DERRICK BROWN ABUULIDDE ABASERIKALE EKITUUFU
Bwe yabadde ku poliisi y’e Wandegeya, Derrick Brown yagambye: Ekibinja kyaffe kirimu abantu munaana naye olunaku lwe twatta oyo Omusiraamu twali bana. Derrick Ssali naye yaliko kuba ye yaggya ssente n'essimu mu nsawo y'omugenzi.

Derrick Brown yalonkoma bonna bwe baali okutta
Balyejjusa. Ono baamututte e Luzira.

Bino obwedda abyogera bw’aseka era okumuyingiza akaduulu yagenze agooma ng'omuniga bw’atambula!

John Mukiibi, omutuuze mu Kiggundu zooni mu Makerere III yategeezezza nti wadde poliisi ezisinga abaserikale balya enguzi naye Wandegeya eyise w’erina okukoma kuba n'omuntu aliko abamulumiriza bamuyimbula.

Yagasseeko nti abatwala poliisi ezitwalibwa Wandegeya bakola ebikwekweto ne batwala abamenyi b’amateeka e Wandegeya kyokka eyo ne babaggyako ssente ne babayimbula.

“Singa poliisi zino zikkirizibwa okutwala abantu bano mu kkooti kiyinza okuyambako naye tezirina bisaanyizo bimala ng'okuwa abasibe emmere, ezimu tezirina na kaabuyonjo,” bwe yagambye.

Yagambye nti mu Makerere III mulimu ekibinja ky'abaana ekitta abantu kyokka abamu bwe bakwatibwa, bayimbulwa olw’enguzi.

"Tukimanyi bulungi ofiisa eyakoze ku musango ogwo yaweereddwa ssente era omuwendo tugumanyi naye ekyo kikyamu kuba abatuuze baalaba abavubuka abo nga batta omusajja, kati bujulizi ki obusinga awo?

Poliisi y’e Wandegeya eyinza okuvaako abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo kuba ekigendererwa kyabwe si kulwanyisa bumenyi bw'amateeka naye kubwongera mu bitundu.

Waliwo abantu abakwatibwa nga bava ku mirimu ne batwalibwa mu kkooti n'ebasindika e Luzira nga tebaliiko na bajulizi naye ate abatemu abaliko obujjulizi bbo bayimbulwa!,” bwe yagambye.

Mary Namirembe, ssentebe wa Kiggundu zooni mwe battira Balyejjusa yagambye: Poliisi y’oku Kaleerwe ekoze omulimu mulungi okukwata abatemu naye kati mpeddemu amaanyi okulaba nga Wandegeya eyimbudde omwana omukyamu ddala nga tubadde tumanyi agendako e Luzira ekitundu kifune ku mirembe.

ABA FAMIRE Y'OMUGENZI

Sarah Kulusumu Balyejjusa muganda w'omugenzi: Abaserikale abakola ku musango gw'okufa kwa mwanyinaze simanyi kye baliko, abatuuze balumiriza abavubuka nti batemu era baabalaba nga bamutta ate abasirikale bagamba nti Derrick Black mwana mulungi!

Kino kimmazeemu amaanyi. Derrick Ssali baamuyimbudde nga bagamba nti talina musango kyokka Derrick Brown ayogera nti baali bombi nga batta muganda wange. Naye Katonda talya nguzi!

Simanyi oba abaserikale abo balina famire kuba ffe omuntu waffe baamulesa abaana musanvu n'abakazi basatu. Mu kiseera kino abaana twabagabana, omukazi gwe yaleeka n'olubuto naye tumulabirira.

Olaba pikipiki y’omugenzi okugituwa ku poliisi y’e Wandegeya kwabadde kusiitaana!

Wiiki bbiri eziyise, Kalondoozi wo nnagenzeeko ku poliisi y’e Wandegeya gye nnasanze nga Dan Ampadde, atwala poliisi y’oku Kaleerwe ayomba n'abaserikale abaayimbudde Derrick Ssali.

Yayombye bwati: Mutuvumaganya mu bantu. Nze nnali mu lukiiko ng'abatuuze balumiriza abavubuka abo okutta omuntu kati mumunoonye mmwagala.

Balyejjusa yaleka omukazi ng'alina lubuto lwa myezi ena , abaana abamu bakyali bato.

Yali Sheikh mu miziki gy'omu Kampala, abamu ku bakazi kuliko Ajara Nangoobi 31 nnamba bbiri wa mwana omu, Aisha Naluzze 24 nnamba ssatu yamuleka n'olubuto , Aisha Nalumansi yamulekera abaana bataano ng'abadde yamuzimbira e Kawoko mu Wakiso disitulikiti.

Yaziikiddwa mu limbo y’e Walusubi mu Disituliki y’e Mukono kuba gye yalaama okumuziika.

RPC ATWALA KAMPALA NORTH

RPC Jackson Bahimbisibwe yategeezezza nti abatuuze abalina okwemulugunya bagende mu ofiisi atandike okunoonyereza kwe ku nsonga ezitali zimu ku poliisi gye beemulugunyaako .

KU PSU
Professional Standards Unit (PSU) nga ky’ekitongtole ekikwasisa empisa mu baserikale.

Bwe nnagenzeeyo, Umar Kiwanuka, omu ku bakola okunoonyerezza mu PSU yategeezezza nti ensonga eno babadde tebagimanyiiko nga kati batandise okunoonyereza bazuule ekituufu. Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF:04/02/07/2015


Abatuuze baalaba abavubuka nga batta owa bodaboda, poliisi n’eterabawo bujulizi bubatwaza mu kkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...