TOP
  • Home
  • Emboozi
  • ‘Lwaki omugagga gwe twasaddaaka naye omukazi n’omwana e Mbarara akyalya butaala?’

‘Lwaki omugagga gwe twasaddaaka naye omukazi n’omwana e Mbarara akyalya butaala?’

By Musasi Wa

Added 15th October 2015

RWIZI gwe mugga ogusangibwa mu disitulikiri y’e Mbarara. Omugga guno gumize ehhanda z’abantu abawera, abamu nga baguddemu bugwi ate abalala nga battiddwa ne basuulibwamu. Ani akola kino? Kalondoozi wa Bukedde aleese omu ku baakwatibwa ku ttemu ly’oku mugga guno n’anyumya byonna:

RWIZI gwe mugga ogusangibwa mu disitulikiri y’e Mbarara. Omugga guno gumize ehhanda  z’abantu abawera, abamu nga baguddemu bugwi ate abalala nga battiddwa ne basuulibwamu. Ani akola kino? 

Kalondoozi wa Bukedde aleese omu ku baakwatibwa ku ttemu ly’oku mugga guno n’anyumya byonna:

OMUGGA Rwizi gutandikira mu nsozi za Buhwezu ne guyita e Ntungamo, Sheema, Mbarara, Rakai ne guyiwa mu nnyanja Nalubaale.

Rwizi kigambo kya Lunyakitara ekitegeeza amazzi agatambula. Naye olowooza omugga guno gwakamira abantu bameka!

Kale Rwizi muveeko naye lowooza ku mugga ogukuliraanye mu kitundu kyo, olowooza gwakamira enda z’abakazi mmeka?

Naye olowooza abantu bonna abafiiridde mu mugga ogwo bagwamu bugwi oba basuulwamu nga bamaze kutemulwa?

Bantu bangi abafiiridde ku mugga Rwizi, abamu emirambo gyabwe ginnyululwa mu mazzi ate abalala ne gisangibwa ku lubalama lwagwo.

Jadresi Arinaitwe eyali mukyala wa Yoram Rwozi abatuuze ku kyalo Kachwamba- Rwanyamahembe mu ggombolola y’e Kashari e Mbarara yatemulwa nga May 23, 2010 omulambo gwe ne gusuulibwa ku mabbali g’omugga Rwizi mu Zooni y’e Kakoba e Mbarara.

Omutemu eyatta Arinaitwe, Obed Muhangi ali Luzira, omulamuzi gye yamusindika nga July 24, 2014 okusibwa emyaka 50 oluvannyuma lw’okukkiriza omusango.

Muhangi gy’ali e Luzira yeewuunya engeri ensi gy’eteriimu mazima oluvanyuma lw’omugagga gwe yatta naye omukazi ono okumwefuulira n’atatuukiriza ndagaano nga bwe yasuubiza.

Muhangi ayongerako nti batta n’abaana abalala bangi ng’ekigendererwa kya mugagga kusaddaakira bizimbe bye bye yali azimba mu kibuga Mbarara, ng’agendera ku biragiro by’omusamize gw’agambibwa okukozesa ali e Najjembe mu Mabira.

OBED MUHANGI y’ani?

 Ono azaalibwa ku kyalo Kachwamba- Rwanyamahembe mu ggombolola y’e Kashari. We yakolera omutemu buno mu 2010 yalina emyaka 18 era yaakamala omwaka gumu ng’asaliddwa ekitegeeza abuzaayo emyaka 49 era asuubirwa okuteebwa mu 2064 ng’aweza emyaka 72.

Anyumya bwati:

Natandika okukolagana n’omugagga ono mu 2007. Nnali mmukolera emirimu egitali gimu era nga nsinga kumukolera gya kusaddaaka naddala abaana abato abali wakati w’emyaka 10 ne 13.

Ku musango ogwankwasa, nga May 23, 2010 nze, mukama wange omugagga, omugenzi Jadresi Arinaitwe ne bba Yoramu Rwozi twalya ekyemisana ku wooteeri emu ku Bulemba Road e Mbarara.

Bwe twamala ekyemisana, omugagga era nga ye yali mukama wange yawa Rwozi 30,000/- n’agenda.  

Mukyala we yasigala naffe. Bwe zaawera ssaawa 9:00 ez’olweggulo, nze, omugagga ne Arinaitwe twayingira mmotoka y’omugagga n’omusajja gwe mmanyiiko erya Mbaziira.

Twavuga tudda  Kakoba, ne tubeera ng’abakwata ku kkolero ly’emisumaali wabula ne tukkirira ku mugga Rwizi nga wano we twayimirira.

Ffenna twagifulumya ne tukwata omukazi ne tumuttira mu miti gya “Oluyenje” egyali mu kasaka mu kitundu ekyo.

Nga tumaze okumutta, twalembeka omusaayi, ne tumusalako ebitundu bye eby’ekyama, ekkundi, ne tumuggyamu ensigo, omutima, olulimi, olubiriizi olusembayo waggulu olw’oku mukono gwa ddyo n’amabeere ne tubiteeka mu kyuma ekiyitibwa cooler  (soma kkuula).

Twadda ku tataitwe omugagga we yali abeera. Ekiro, nze n’omugagga twatwala ensigo emu, engalo y’omu makkati, olubiriizi, ekkundi n’omusaayi ku kizimbe omugagga kye yali azimba ku luguudo oluyitibwa Lugazi.

Ensigo endala, omutima, amabeere, obukyala n’olulimi omugagga yabitwala ew’omusawo we e Najjembe mu Mabira. Nze yansasula obukadde 45 ne nziruka ne ngenda e Kampala okwewogomako ekyosi kimale okuyita.

Oluvannyuma nnamanya nti Rwozi yagenda ew’omugagga okumubuuza mukyala we gye yali n’amugamba nti nze nnali mmulina. Yamulimba nti twakka ffenna mu nnyanja okufuna obugagga!

Waayitawo akaseera ne nkomawo e Mbarara ne ntandika okusula mu loogi ya Ruyonza Guest House, ssaategeera ngeri Rwozi gye yategeeramu we nnali, nnamulabira awo ng’antuuseeko ambuuza mukazi we gye yali!

Nnamutegeeza nti omukazi yali agenze mu nnyanja era yali ayinza obutadda kubanga yali akoleddemu ensobi noolwekyo yali waakubonerezebwa emizimu. Namugamba adde eka yeeteketegekere omulambo gwa mukazi we ogwali gugenda okudda.

Waayita ennaku ntono amawulire gaatuuka ku Rwozi nti poliisi yali ezudde omulambo gwa mukazi we ogwali  guvunze ku lubalama lw’omugga Rwizi e Kakoba. Rwozi yatuukayo n’asobola okugutegeerera ku lugoye mukazi we lwe yali ayambadde.

Poliisi yatukwata ffenna n’omugagga ne batusibira ku CPS e Mbarara. Nga tuli mu kaduukulu, omugagga yannimbalimba nti nzikkirize nti omukazi nnamutta nzekka ye omusango gumuveeko asobole okunyamba ng’ali bweru.

Nakkiriza nga ndowooza nti yali ajja kutuukiriza obweyamo bwe, ekintu ekyamulema oluvannyuma lw’okuwulira nti bansalira emyaka 50. Kati njagala poliisi eddemu okubuuliriza ku musango guno, omugagga naye asasulire ebikolobero bye yakola.

Lwe twasaddaaka omwana
Nzijukira lumu lwali Lwakutaano sijjukira nnaku za mwezi, omugagga yankubira essimu ku ssaawa nga 9:00 ku nnamba gye nkyalina ne kaakati, n’ansaba okunoonya omwana ali mu myaka 10 mmutte muggyemu ensigo, omutima n’omusaayi mbimutwalire.

Omwana Turyahabwe eyasaddaakibwa.

Nagenda ku lutindo oludda e Katete ku mugga Rwizi ne nsangawo abaana abaali bazannya ne nfunako omu ne tuwuga ffenna nga tweyongerayo.

Bwe twatuuka gye batatulabira, ne nva mu mazzi ne nzita omwana oyo ne muggyamu ebintu obugagga bye yali ayagala.

Bwe nnamala, omugagga nnamukubira essimu n’angamba nti musange ku lutindo lwa Ngaromwendi okuliraana Nyamitanga.

Mu kiseera ekyo yali avuga emmotyoka ekika kya Subaru era mwe nnamusanga ne mbimuwa. Yansasula obukadde 20.

Waliwo n’omwana omulala kitaawe gwe nnategeerako erya Mulokole ow’e Kakoba naye gwe twasaddaaka mu ngeri y’emu.”

Gwe battira omukazi
Yoram Rwozi,  bba wa Arinaitwe eyattibwa nga naye mutuuze w’e Kachwamba Rwanyamahembe agamba nti mukyala we bwe yabula teyasooka kutegeeza ku poliisi.

Era naye yakwatibwako ku musango guno wabula n’ateebwa.

Muhangi alumirizza omugagga. Ono musibe e Luzira.

Agamba:
Muhangi nnali mmutwala nga muzzukulu wange, era twali tumaze ebbanga nga tukolagana.

Mukyala wange yafuna obuzibu bw’okulumwa olubuto, Muhangi n’atutegeeza nti yalina omusawo w’ekinnansi eyali asobola okumuwonya.

Natandika okumuwa ssente nga bw’amujjanjaba kyokka nga tawona.

Lumu yatugamba nti tupangise ennyumba gye nnapangisa mu Kishwayiri ekisangibwa mu Kizungu ku 300,000/- tugira tubeera omwo nga bw’ajjanjaba mukyala wange okutuusa bw’anaawona.

Twasulangamu basatu ne Muhangi naye nga ye olumu tasulamu.

Lwe nnasemba okulaba mukyala wange  twagenda naye ne Muhangi nga njagala nsasule ssente z’omugagga era twasisinkana ku wooteeri emu mu kibuga Mbarara.

Wano we nnamuleka nabo nga Muhangi yalina okumutwala ew’omusawo omulala.

Nadda awaka okulabirira abaana nga mmanyi Muhangi ajja kudda ne mukyala wange. Nakanda kulinda nga tebadda ate nga ne Muhangi abuze.

Abaana banteeka ku nninga nga bambuuza nnyaabwe, kwe kunoonya Muhangi ambuulirire ekiriwo.

Ono nnamugwako mu Kizungu era olwamubuuza n’angamba nti mukyala wange yagenda Kampala ewa muganda we.

Namutegeeza nti oli tasobola kutambula nga tambulidde era olwava eno kwe kufuna mikwano gyange  basatu ne tuddayo mu Kizungu ne tukwata Muhangi antwale mukyala wange gy’ali.

Namutwala ku ggombolola y’e Rwanyamahembe ne mukwasa DISO gwe  nzijukirako erya Rwestingura gwe nnabuuliramu n’atusindika ku poliisi y’e Bwizibwera.  

Nnali nkyakola sitaatimenti, ne wajja owapoliisi okuva ku CPS e Mbarara eyangamba nti nange nnali nsaana kukwatibwa ku by’okufa kwa mukyala wange era wano we nkitegeerera nti gwe nnoonya yafa!

Poliisi yannemerako nti nnina okukwatibwa era bankwata ne banteeka mu kaduukulu ke kamu ne Muhangi oluvannyuma n’omugagga oli ne bamuleeta. Nategeerako nti Muhangi ye yalonkoma omugagga n’akwatibwa.  

Wabula nga bw’omanyi omunene abeera munene, omugagga ssaategeera ngeri gye yateebwamu. Ebya Muhangi okutta mukyala wange byonna mu bujjuvu nnabimanyira na mu kkooti.”


 

POLIISI Y’E BWIZIBWERA
Rwozi bwe yantegeezezza nti yagenda ku poliisi ya Bwizibwera okukola sitaatimenti, nnatuuseeyo ndabe ku fayiro.  Akulira bambega ku poliisi eno,  Geoffrey Katungi yakanyizza kunoonya fayiro nga tagirabako ekiraga nti omusango teyaguggulirawo eno.

KU POLIISI YA CPS E MBARARA
Akulira bambega Taban Chiriga olwakebedde fayiro ng’eriyo ya musango gwa butemu ku nnamba  CRB 2505/2010. Ono agamba nti fayiro teraga nti omugagga oyo ayogerwako yakwatibwa wabula eraga nti baakwata abantu basatu okuli Muhangi omusibe kati, Rwozi bba w’omugenzi n’omuvubuka ayitibwa Naboth Tayebwa.

Rwozi yalina okunnyonnyola kuba mukyala we yabula mu May, omulambo ne guzuulibwa poliisi nga June 29 ne guziikibwa nga tegumanyiddwa kyokka ye yagenda okutegeeza poliisi okubula kwa mukyala we nga August 3, 2010!”

Ofiisa Chiriga agamba nti sitaatimenti eyakolebwa ku poliisi ku musango guno, Rwozi bba teyayogera ku mugagga ate ne Muhangi yeeyogerako yekka.

OMWANA EYASADDAAKIBWA
Muhangi agamba nti waliwo omwana gwe yaggya ku lutindo oludda e Katete n’amusaddaaka ku biragiro by’omugagga.

Kino kyansindise ku kyalo kino nkakase by’agamba: 

Eno abatuuze bantuusizza ku Muky. Allen Najuna akyali mu maziga okuva omwana we lwe yabulira ku lutindo luno mu 2010 omulambo gwe ne guzuulibwa oluvannyuma lwa wiiki bbiri nga guvunze!

Era yantegezezza bwati: Sijjukira lunaku naye omwana wange Allan Turyahabwe 13, eyali asoma P.4 yali ne banne ku lutindo nga bazannya. Nnali ndi waka omu ku baganda be abato n’ajja n’angamba nti Turyahabwe yali agudde mu mugga.

Nasitukiramu okugenda ku mugga  ndabe naye nga talabikako nga ne we ntandikira sirabawo.
Nga wayise ennaku nga tunoonya omwana waliwo abantu abangamba nti waliwo abasajja be baalaba nga baggya omwana wange mu mazzi ate ne baddamu ne bamuzzaamu!

Kino kyandeekera ebibuuzo bingi nga nneebuuza ddala oba omwana wange yali aguddemu yekka oba baali bamubbye mu ngeri y’okumusaddaaka kuba ekiseera we twazuulira omulambo gwe, yali avunze nga tosobola kumanya oba waliwo ebitundu bye baamuggyamu!”

OMUGAGGA AYOGERWAKO  ANNYONYODDE

Natuukiridde omugagga ayogerwako ne mubuuza ku nsonga zino yantegeezezza bwati; Ensonga zino si mpya mu matu gange naye ebyo byonna bye boogera byabulimba era bagezaako kunsuuza ffaamu gye nnagula ku bantu abo mu 2007 nga bagamba nti nnagigula ssente ntono.

Bagezezaako obukodyo bungi naye nga balemererwa ne basalawo okuyita mu Muhangi ansibeko ogw’obutemu nga bamanyi nti bwe nnaasibwa bajja kutwala ffaamu yange.

Omusibe oyo antumidde abantu bangi hhende e Luzira mmulabe kyokka nnagaana kuba bye bannyingizaamu sibimanyi.

Wiiki ejja Muhangi waakulaga gye baaziika ebitundu ebyasalwa ku bafu n’omusamize e Najjembe ayogerwako tumulage.

‘Lwaki omugagga gwe twasaddaaka naye omukazi n’omwana e Mbarara akyalya butaala?’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...