TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Lwaki bamalaaya bakkiriziddwa okwetembeeya ne mu masinzizo?

Lwaki bamalaaya bakkiriziddwa okwetembeeya ne mu masinzizo?

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2016

Eka waleseeyo ssente mmeka? Zimala okugulako ebyetaagisa n’okufumba enkoko gye walidde ekyeggulo?!

Malaaya1 703x422

Bamalaaya nga balinda bakasitoma okumpi ne klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala.

Ssinga omuntu akubuuza nti bizinensi ki esinze okucaaka mu nsi yaffe Uganda, oli bw’asonga ku bwamalaaya owakana olekamu! Obwamalaaya busensedde ensi eno era we njogerera nga ne mu byalo, mu bafumbo, abaana abato abali mu masomero, bangi  bakola obwamalaaya. Okumanya obwamalaaya buzze,  butuuse ne mu byalo ebibadde bikyawaniridde empisa zaffe ez’obuntubulamu. Mu mboozi esooka ku ssatu ezikwata ku bwamalaaya, Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri ne muka gundi gw’otosuubiriza  naye bwe yebbirira n’agenda yeetunda......................................................................................................

Eka waleseeyo ssente mmeka? Zimala okugulako ebyetaagisa n’okufumba enkoko gye walidde ekyeggulo?!

Mukyala wo walese omugambye ayiiye, naye omanyi nti ayinza okuba yayiiyirizza ku wa bbuca?

Ye obadde okimanyi nti ennaku zino bamalaaya beetembeeyeza ne ku masinzizo? E Lugazi, bamalaaya basisinkana ku St. Peters Church, omwawule yagezaako okulwanirira ekitiibwa ky’ekkanisa yalemwa!

Kireka

Eno bamalaaya baayo enjuba bagiswama egwayo ne balumba omudaala we bakolera wabula ate eky’enjawulo kye balina n'ekifo w'otobasuubira kubasanga babaawo. Amaduuka bwe buba bwakawungeera basinga kubeera ku luguudo lw’eggaali y'omukka, emabega w’ekizimbe kya Crane Bank e kireka ne mu bukuubo.

Bwe weetegereza olaba abasajja ababagula, omu kw'omu ng’aweta akasonda okusinziira ku Muhamad Kasirye omu ku bakakkalabiza emirimu gye mu Kireka okuliraana awasimba ezidda e Mukono.

Kasirye agamba nti mu kiseera kino Kireka y’emu ku tawuni ku luguudo lw’e Jinja ekola obudde kejenge naye abafuula ekibuga kino okukola essaawa 24 nga tekiwummudde be baana bawala bano abeetundira mu kitundu.

Bangi ku bawala bano n'abakyala abeetunda banoonya kyakulya, kale okuva ku 500/- okutuuka ku 3,000/- omusajja afunira ddala omuwala naye biba byakunoonya gye mudda, si mu nju.

Eyo emabega okumpi n'oluguudo lw’eggaali y'omukka waliyo obuyumba abawala bano abamu ababeera mu Kireka mwe basula. Ebiseera ebisinga nnannyini kayumba kano y'aba ayamba banne, osobola okusanga nnannyini kayumba ng’asuza bamalaaya abalala munaana naye nga balina omufaliso gumu nga bassaako bifuba byokka.

Kasirye agamba nti abawala bano olwo baba ng’abakolera oyo abasuza kuba y’asasula landiroodi. Kati omusajja gw’afunye bw’amusasula , nnannyini nnyumba afunako 2,000/- olwo ne beesanyusa eddakiika wakati wa 10 –15 singa zisukkawo ne mweyongeramu eddakiika ttaano olwo nnannyini kayumba omwongeramu 1,000/-.

Okuva ku ssaawa 3:00 okudda waggulu abawala bano baba bali buli wamu mu Kireka, ku mbalaza z'ebizimbe baba bayimiridde awo ng'abasuubuzi b'amaduuka baggaddewo, ne ku kiraabu ezimeruka mu Kireka buli olukya.

Ku luguudo lw’e Namugongo, Kamuli Road, Blue Bar, Kireka Victoria Club, ate wano wo mudaala gwabwe era bwe batuukawo babalabirira nga bambejja kuba be basikiriza bakasitoma.

Abamu baba mu nayiti puleeya ng’abalala beetunda!

OKUMANYA Sitaani atusensedde n’akamala, bamalaaya tebakyatya kigambo kya Mukama. Ng’oggyeeko e Lugazi n’e Mukono ku Labamba, bamalaaya bwe beetundira okumpi n’amasinzizo; ne mu Kampala wakati, abantu baba mu nayiti puleeya ng’eno abawala abeetunda nabo baasonze dda.

E Makerere okumpi ne Full Gospel Church, Ku Musajjaalumbwa ku lw’e Lubaga, bamalaaya beetundira mu maaso ga kkanisa y’Abalokole; ye tobalaba ekiro nga bayimiridde okumpi ne klezia ya Yezu Kabaka mu Kampala?

E Bweyogerere yo kizibu omuntu yenna okulowooza nti bamalaaya gyebali naye mwattu nayo waafa dda! Wano basinga kusangibwa awaali Namulondo, ku luguudo oluyitibwa Kakajjo Road waliwo akabaala akakuba ebidongo obudde okukya, Kireku ku luguudo lw'eggaali y'okukka, mu Kasubi, wamu n’emabega w’ekikomera kya klezia ya St. Consolata awali akakubo akayita ku buyumba bwa poliisi!

E Seeta

Waliwo ekikubo ekigenda ku Piamo Garden waliwo bbaala abo n'emisana bakola, ku siteegi y'e Mukono edda e Jinja, abamu beefuula abalina bye bakola nti atunda bisikwiti sso ng’anoonya kasitoma. Abamu bakola ebiri nga wa lukulu, aweereza emmere mu wooteeri naye ng’omulimu gwe omukulu kwetunda.

 muwala ngayambadde enkunamyo Omuwala ng'ayambadde enkunamyo

 

E Mukono ng’ogenda okutuuka e Wantoni, ku Labamba, we bayita ku Kings, ku Sky, Kisumaali ne we bayita mu Kyondo eno oba oli mu kibondo kya bamalaaya. E Wantoni nawo ekyondo kya bamalaaya kiri kumpi ne Klezia wamu n’ekkanisa! Olaba kanso yamenya ebiyumba naye era ne babizzaawo!

Lugazi

Waliwo ekifo kye bayita ku katimba okuliraana ekkanisa ya St. Peters Lugazi Town Church era ekisinga okuluma abasumba bamalaaya bano nti bamalaaya bakozesa ndagiriro ya kkanisa, kasitoma we babasanga!

Okumpi n’ekkanisa waliwo ekiyumba ekikadde bamalaaya kye bakozesa era RDC ne poliisi baakola ekikwekweto ne babakwata wabula abalwanirira eddembe ly'obuntu ne babawolereza.

Ekyewuunyisa nti ku olwo, bamalaaya be baakwata abamu baali bava Kampala, Malaba, Jinja n'ebitundu ebirala!
Bamalaaya baagala nnyo ne ku kkanisa ya KPC mu Kampala, batuula mu kibangirizi kya Jennifer Musisi ekiro ne bateegera awo bakasitoma!

Basensedde n’ebyalo ebibadde bikyawaniridde empisa

Ppaaka ya biroole eyo nayo dipo yaabwe, ndowooza lwakuba baddereeva tebaguze malaaya baweneenya mbwa!. Ekyewuunyisa e Lugazi bamalaaya tebaliiko ssaawa, ne bwe kuba ku makya nnyo, mu ttuntu oba aawungeezi omufuna. Ekimu ku byennyamiza ensangi zino nti bamalaaya abaali bamanyiddwa mu bibuga kati ne mu byalo batuuseeyo!

Ate ekiruma nti teweetaaga buwanana bwa nsimbi, n’alina 1000/- yeefunira omukazi. Kale empisa tunaazikuuma tutya nga mu byalo gye tusindika abaana okuziyigira ku bajjajjaabwe ne bassenga, nayo obwamalaaya busenseddeyo!

Ddipo enkulu mu Uganda eya bamalaaya eri Mbikko n’e Nakibizzi bye wandisuubidde nti kyenkana byalo. E Mbikko kumpi buli kizimbe kuliko loogi, ye bizinensi esinga okufuna!

Ekisinze okukuuma omulimu g'obwamalaaya mu Mbikko ne Nakibizzi ze tuleera ezipaakinga muno kuba buli muvuzi wa tuleera ajja akalasidde, kale bagula bamalaaya ne basula nabo.

Ebiseera ebimu, embeera y'ebyokwerinda ewaliriza ababivunaanyizibwako okugoba ebimotoka bino ku makubo naye era ebiseera ebisinga abantu n'abakulembeze bagirwanyisa nti baba tebakyayingiza ssente.

Katanga mu Wandegeya, Makerere Kivvulu eno omusajja bw’aba asobola okugula walagi ofuna bamalaaya nga bw’oyagala. Emo obwamalaaya gwe mulimu ogubeezaawo abakazi abasinga wamu n’abaana baabwe.

Kawempe 

Bw'otuuka e Bwayise mu Kimombasa wano buli akwata oluguudo olwo amanyiiwo kuba bamalaaya bettanirayo. Mu Kizza zooni, Kisowera, Kigandaazi, Mulago Kifumbira, Kaleerwe nga ku katale ne Mawanda Road wonna bamalaaya babeerawo.

E Masaka bamalaaya abasinga okukolerayo bava Rwanda era bo buli ntandikwa ya mwezi bbaasi zibayiwa nga 100, era bbangi balemwa n'okudda ewaabwe ne basigalira ddala kuno.

Mu tawuni y'e Masaka waliwo loogi eyitibwa Vienna Guest House eno gye bapangisaako era ababagula we babasanga; mu Nyendo we basimbye amakanda kumpi ne loogi nga Safari Guest House, Havana ne Bukeeri.

Olwo bwe baba mu Masaka bamazeemu ekiseera nga n'ababagula tebakyalabika olwo nga balinnya okwolekera ku bizinga okuli Kalangala, n'ebitundu ebirala nga Sembabule. Wabula newankubadde abasinga bava Rwanda, ne mu Masaka mulimu abaamu.

Mpigi

eno bw’otuukayo nayo bayitirivu ddala mu Buwama basinga kuteegera ku KK Motel, Kamengo waliyo ebifo bibniri we basinga okubeera okuli Nice Motel ne Queens Pub.

Wano beekwatawo nnyo, kuno kw’ogatta omwalo gw’e Golo n'ebizinga by'e Bunjakko. Eno bakimanyi nti ssente z’abavubi ziwooma. Mu Rakai, basinga Kasensero ku mwalo n’e Kyotera. Eno abasinga bava Tanzania ne Kampala.

Kampala

Ssinga erinnya Kampala lyali lisobola okukyuka twandikiyise, Kampala ekibuga kya bamalaaya! Ab'e Kampala balina n'emitendera mwe beetundira ssaako bbeeyi ey’enjawulo, waliwo abeetundira mu bifo eby’ebbeeyi era nga beetunda ku bantu ab'ebbeeyi .

Ab'ekika kino bafunye obutitimbe bw'ensimbi mu kwetunda anti n'abakungu bangi babettanira.

Bamalaaya ab’ebbeeyi tebeesimba ku luguudo. Bano babeera mu wooteri, kasino ne bbaala ennene. Yeegulira wayini oba eccupa ya bbiya, olwo n’aliimisa abajja okumugula era yeeramula.

Omu Jane, gwe nnasaze ku Serena yahhambye nti ye bizinensi ye esinga eri ku ssimu. “Kasitoma bwe mmukolako obulungi atwala nnamba ya ssimu yange, ate bw’aba wa mutima mulungi ampendulira n’abalala. Oli bw’ankubira ebisigadde bitadikira awo,” bwe yagambye.

Butuuse mu baana b’amasomero

Ebifo nga Ndeeba bimanyiddwa nnyo mu mulimu guno era abafumbo n'abaana b'amasomero bangi abeetundirayo. Wabula oluusi kiyinza okukuzibuwalira okumanya malaaya naye ababagula bo babategeera mangu.

 amalaaya tebakyayambala nkunamyo kati bangi bambala nga muntu waabuvunaanyizibwa Bamalaaya tebakyayambala nkunamyo, kati bangi bambala nga muntu waabuvunaanyizibwa.

 

Wano oyinza okwewuunya omuwala omulungi, ayambadde obulungi bw’awanika omulundi gumu engoye, ebisambi ne bidda ebweru olwo ng’akutegeeza nti atunda!

Anti babeera ku mabbali w'enguudo okuva ssaawa 12 ez'olweggulo nga batambula mpolampola.

Kino olw'okuba kifo kya mugotteko, abawala bangi bapangisa obuyumba mwe basula nga 10 era oli olufuna kasitoma ng'atwala eyo nga biggwa .

Totyanga abawala abakola mu ssaluuni, mu buwooteeri obutonotono, mu bbaala oba abatembeeya ebintu kuba abasinga bamalaaya. Ku Kabuusu okumpi ne kiraabu ya MM, bamalaaya abamu obagulira lusiniya lwa mpuuta, olumala okulya olwo oba osasudde! Eno gye twasanze ne bamalaaya nga bo ssente ozissa ku ssimu, sikulwa ng’okola olukujjukujju n’ozimuggyako ng’amaze okukuwa ebibye!

E Najjananakumbi okumpi ne Rinsar Hotel ku luguudo lw'e Ntebe ssaako ebbaala zonna eziri ku luguudo luno, e Kibuye we bayita ku dancers pub eno yo balinga abaabatongoza era yo emanyiddwa ya lulango ku bamalaaya.

E Makindye we bayita mu Kataba bo bakola olunaku lulamba ekiro n'emisana era eno balina n'endagamuntu z'ekifo kyabwe, teri kubeegattako kutundirawo kaboozi nga tebakumanyi!

E Kabalagala, ewa Kiwa yonna bwasensera ddala. Wano mu Kampala wakati mu Kisenyi, ku Speke, Luwum street, Lubaga Road ku bubaala obuli okumpi n’essundiro ly'amafuta erya Kobil okumpi n'eyali Pride Theatre, okumpi ne Radio Uganda, ku palamenti, ku woteeri yonna bamalaaya basa.

E Mbarara

Akawungeezi ng’oggyeeko bbaala zonna, bamalaaya basinga kubeera ku luguudo Vision Empire n'obubaala obuliraanyeewo.

Nga bwe kiri awalala wonna, bbaala nnyingi kizibu okukola ssente nga tezirina bamalaaya.
Justine Twonomugisga, omu ku bawala abaweereza mu wooteeri emu yagambye nti,

“Obwamalaaya ze ssente ez’amangu z’oyinza okukola. Teebereza omuwala wa masaagi mu wooteeri, asasulwa 5000/- naye ssinga omusajja amuwa 20,000/- ayinza okuzigaana?,” bwe yabuuzizza.

E Mityana

Bamalaaya basinga kubeera ku Station Road okuliraana Club Ambiance era kino ky’ekitebe kyabwe. Wabula abasinga bava Kampala naye ab’ekitundu bo beetya era si kyangu kubasanga ku kkubo.

E Kiboga eno yo si bangi nnyo naye basinga kuba ku Club Seizers ne ku Bad Street. Luno lwe luguudo olusinga okukuhhaanya abakozi b’ebikolobero mu Kiboga! Abaana abasinga okwetunda mu Kiboga bava mu byalo eyo wansi.

E Lyantonde basinga kukasibira ku Town Council ne mu paakingi ya biroole. Abaayo okusinziira ku mutuuze Hassan Lumaama basinga kuva Mbarara, Rwanda ne Masaka.

E Mayuge mu tawuni bamalaaya bali ku bbaala ya Sobers Guest House okuva ku 3,000/- w’efunira malaaya.

E Magamaga ku bbaala ya “Guma ofe Loogi” & bar we batera okusimba ab’ebimotoka bya tuleera, eby’amafuta n’abaserikale be basinga okubagula era weebali mu bungi,

Ne ku myalo okuli; Bwonda, Nango mu ggombolola y’e Malongo, ne ku bizinga by’e Masolya, Sirinabbi, ne Kaza, bamalaaya beettanirayo nnyo okuguza ku bavubi.

Abo nno beeramula kuba abamu bava Kampala! Lw’otolowooza nti omutwalo gulina kye gunaakukolera, batandika ku 15,000/-!

Mu disitulikiti y’e Namayingo mu Namayingo Town Council ab’ebimotoka ebinene we basimba ku bbaala ya Corner View, bamalaaya nabo we ‘bapaakinga’.

E Iganga mu katawuni k’e Idudi eno dipo yaabo naddala ku kifo ekisanyukirwamu ekya Safari Bar and lodge. Abalala basangibwa ku bbaala ya Shivans.

Mu distulikiti y’e Luuka mu tawuni y’e Bulanga bittuleera we bisimba we wasinga okusimba bamalaaya abaguza baddereeva akaboozi.

E Jinja ku bbaala gye bayita Nassanga ye ddipo ya bamalaaya, abamu bakolerako ne ku kiraabu Casino e Jinja mu tawuni era abayinga bakasitoma babateega ku miryango.

E Bugiri mu katawuni k’e Naluwerere w’obasanga nga balenze, ku bbaala ya Planet Restaurant & bar ssaako Salam Bar, Bamuda bar and Guest house. Eno era basangibwa ne mu tawuni y’e Kidimba awali ekkolero ly’omuceere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.

Bamboowebuse 220x290

Newumbe ekyama yakizuula mu mabanda...

Bwe nalaba amabanda nga mangi ewaffe e Mbale ne nnoonyereza kye nyinza okugakolamu ne nfuna ssente era nazuula...

Roja 220x290

Slick Stuart ne DJ Roja bogedde...

Slick Stuart ne DJ Roja bakafulu mu kutabula ekyuma mu ggwanga balaze ebibafudde ba Dj ab’enjawuulo.

Na1 220x290

Ebya Don Nasser bibi.

Don Nasser bomwonoonedde! akwattiddwa poliisi ku misango gy'obufere.

Mushroomharvestingwebuse 220x290

Asigala awaka lima obutiko weegobeko...

Omukyala akooye okutoolerwako n'okulangirwa ssente z'akameeza weekwate okulima obutiko tojja kwejjusa