TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Poliisi y’e Bujuuko egaba etya ekizibiti ky’ente mu musango gw’obubbi gw’etenoonyerezzaako?

Poliisi y’e Bujuuko egaba etya ekizibiti ky’ente mu musango gw’obubbi gw’etenoonyerezzaako?

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2016

ABDUL Lubwama, omukinjaagi mu kabuga k’e Kyebando e Nansana agamba nti yagula ente n’ekigendererwa ky’okugitta afunemu ssente.

Simba1 703x422

ABDUL Lubwama, poliisi gwe yasiba olw’ente. Ku ddyo y'owa poliisi David Ajune

OMUKINJAAGI yagula ente n’essuubi ly’okugikolamu amagoba, wabula ente eyo emuleetedde ebizibu ebitagambika omuli n’okumusibyako mu kaduukulu. Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri poliisi y’e Bujuuko gye yeefuula omulamuzi n’eggyawo ekizibiti n’ekigaba nga tenoonyerezza.

ABDUL Lubwama, omukinjaagi mu kabuga k’e Kyebando e Nansana agamba nti yagula ente n’ekigendererwa ky’okugitta afunemu ssente.

Engeri ente gye yali ennyana, munywanyi we Kyagulanyi yamusaba bawaanyiseemu amuwe endaawo gy’aba atta ye asigaze ennyana era ne bakkiriziganya.

Nga wayise ebbanga Rashid Kabanda ow’e Bujuuko yaleeta aba poliisi ne bakwata Lubwama nga bamulumiriza okubba ente gye yawaanyisa ne Kyagulanyi.

Aba poliisi ente baagitwala ku poliisi ne baggalira Lubwama. Kagimuguza Hadijah Ssonko yabategeeza nti ente gye yaguza Lubwama, yazaalibwa wuwe era we yakulira nga buli omu agiraba.

Poliisi nga tennanoonyereza kituufu ate ekizibiti ky’ente kyabuzibwawo mu ngeri etategeerekeka!

 

 

Omusango gwa Lubwama n’okutuusa leero tegugendanga mu kkooti kuzuula kituufu oba ddala ente yali nzibe oba yagigula mu bwesimbu. 

Ekizibiti ekyandibadde kisinziirwako okuwoza omusango guno okunoonyereza kulaga nti poliisi yennyini ye yakigaba wadde nga yali tennamaliriza kukola kunoonyereza ku musango. Kijja kitya nti ne fayiro y’omusango yabula?

Lubwama alaga bwe yafuna ente eno

Lubwama ebyamutuukako abinyumya bwati: Ndi musajja mukinjaagi mu kabuga k’e Kyebando e Nansana. 

Nga June 20, 2015, nali ntudde ku mudaala gwange kwe ntundira ennyama, omuvubuka Kamada yajja n’ang'amba nti waliwo omukyala mukwano gwe eyali atunda ente.

Nayita omuvubuka wa bodaboda Moses gwe ntera okukozesa ne tugenda ew’omukyala oyo Hadijah Ssonko ku kyalo ekituliraanye ekya Bujuuko.

Nasanga ente agisibye okuliraana poliisi y’e Kyebando. Twakkiriziganya emitwalo 85 era ente n’agimpa emisana ttuku.

Nagoba ente okugitwala gye nkolera wabula mba ntuuka ku kkubo ne nsanga omwami Ibrahim Kyagulanyi.

Olw’okuba yali ammanyi nti ndi mukinjaagi, yategeererawo nti nali hhenda kusala nte eyo.

Yansaba tuwaanyise kuba ente gye nalina yali nnyana ate nga ye yalina ekirume kye ekiraawo.

Yantwala gye yali asibye endaawo ye, bwe nagiraba nakkiriza kuba nali nfunamu. Nga September 11, 2015, nali ku mudaala gwange ne wajja aba poliisi nga bakulembeddwaamu David Ajune eyeeyanjula ng’akulira poliisi y’e Bujuuko, baali ne Rashid Kabanda ne bantegeeza nti nabba ente ya Kabanda.

Nababuuza ente gye baali boogerako ne bahhamba nti eri ewa Kyagulanyi. Bah− hamba mbatwale ente gy’eri era ne mbatwalayo.

Bwe twatuukayo ne bagamba Kabanda ayimbule ente agitwale ku poliisi e Bujuuko.

Bwe natuuka ku poliisi banzigulako ogw’okubba ente ku fayiro nnamba SD06/13/07/2015 era ne bansiba.

Nakubira omukyala eyanguza ente ne mmutegeeza ng’ente gye yanguza bwe baali bagamba nti yali nzibe era Kabanda yali ku poliisi ng’alumiriza nti yali yiye.

 oliisi ye ujuuko we baagabira ente Poliisi y’e Bujuuko we baagabira ente.

POLIISI EGAANA OBUJULIZI

Muky. Ssonko yasitukiramu n’ajja ku poliisi n’abategeeza nga bwe yanguza ente eyo emisana nga n’abantu bonna balaba era n’abagamba nti bwe baba baali bankutte lwa kubba nte, bannyimbule basibemu ye kuba ye yaginguza naye nga tebawuliriza.

Ku poliisi wajjawo n’abatuuze abalala abaategeeza nga bwe bamanyi obulungi nti ente eyo yali ya Muky. Ssonko era nti yazaalibwa nga balaba n’ekulirawo okutuusa lwe yagitunda naye baagaana okuwuliriza.

Muky. Ssonko yategeeza poliisi nti oba baali bagaala okumatira, bayite Ssengooba eyagula ente eyali ezaala eyo gye baali bagamba nti gye nali nzibye era nga yali agireseewo n’abatuuze abalala nabo bababuulire ekituufu naye baagaana.

Abatuuze n’omukazi eyanguza ente olwalaba nga poliisi egaanye okubawuliriza, beddirayo ewaabwe nze ne nsigala mu kkomera.

Ekiro ekyo, ofiisa Ajune eyali agaanye okunta yakkiriza wabula nga buli kimu yasookanga kukuba masimu nga kirabika waaliwo eyali amuwa ebiragiro.

Muganda wange anneeyimirira Muganda wange Abdul Ssebaggala ye yanneeyimirira ne banta ekiro ekyo. 

Ssebaggala yabuuza owa poliisi eno ente eyali ensibisizza n’atugamba nti yali agiwadde Kabanda eyali agamba nti gwe baagibbako agira agikuuma!

Kino kyatwewuunyisa ne tumubuuza nti ayinza atya okugaba ekizibiti nga ne poliisi tennakola kunoonyereza?

Yatuddamu nti ebisigadde twali baakubitegeera era ne tudda awaka. Olupapula lwe banteerako lwali lugamba nti nalina okuddayo nneeyanjule nga September 14, 2015.

 

Nalowooza nti ku lunaku olwo nali nja kusangawo Kabanda n’abantu abalala nga ne poliisi ekoze okunoonyereza nga n’ente w’eri wabula kyanneewuunyisa obutasangawo muntu mulala yenna!

Namubuuza abaali banvuunana n’ahhamba nti sifaayo kasita nneeyanjudde. Ofiisa namugamba ampe fayiro nze ngitwale mu bakulu abasingako n’ahhamba nzireyo nga September 18, 2015 era naliyo nzekka.

Muli nnina endowooza nti osanga abantu abaalumiriza nti ente yali yaabwe baalina omupango n’abapoliisi okubba ente eyo kuba bwe baali banzigalidde ku poliisi, baagaana okuwuliriza Muky. Ssonko eyaginguza.

Obujulizi bwa Muky. Ssonko bwe bwagwa mu matu g’abaali baweereddwa ente, bapapirira okugitunda ekitegeeza nti nabo baali bakimanyi nti ente gye baali balemeddeko teyali yaabwe.

Owa poliisi Ajune eyansiba nnamutabukira ne mmugamba ampe fayiro yange wano we yahhambira nti enkeera yali waakugitwala ku poliisi e Nansana gye mba ngisanga.

OFIISA YEEWOZAAKO

Owa poliisi eno David Ajune bwe namubuuza lwaki fayiro yange yakwatibwa mu ngeri eyo yantegeeza nti fayiro eyo yali tagirinaako buyinza era yagiweereza mukama we Richard Mwijukye ku poliisi e Nansana bwe yali tannakyusibwa kutwalibwa Kajjansi.

Bwe natuuka ku poliisi e Nansana, eyali akulira bambega ku poliisi eno, Richard Mwijukye yaηηamba nti ensonga zange yali aziwuliddeko naye nga fayiro tennatuuka mu ofi isi ye. Yaηηamba nzireyo omulundi omulala wabula ne simusangayo.

Natambula emirundi munaana era ogwasembayo ne mmukwasa. Yandaga ku fayiro yange n’ankakasa nti yaliwo wabula n’ampa amagezi nti ngiveeko kuba ensonga ze nali nnemerako zaali tezikyankwatako.

Abantu bwe baakaayana ennyo ku bwannannyini bw’ente eno, nange nga bwe nneekubira enduulu, waliwo owa poliisi gwe nategeerako erya Birungi eyali ku poliisi y’e Kyebando eyagenda ku kyalo ente eno we nagigula n’aggya sitaatimenti ku baliraanwa.

Bonna baakakasa ng’ente bwe yazaalibwa awo kyokka ekyewuunyisa sitaatimenti ezo mu fayiro tebaaziteekamu era eyali akulira bambega ku poliisi y’e Nansana Mwijukye bwe yandaga fayiro zaali teziriimu.

 

Namugamba nti nali njagala kulaba oyo eyali anvunaana, awe obujulizi obukakasa nti ente yali yiye n’okumanya ente we yali.

Nalaba talina njawulo n’owa Bujuuko ne mmugamba ampe fayiro yange ngitwale mu basingawo.

Yampa olunaku lwe mba nzirayo kyokka nagenda okuddayo ng’akyusiddwa, bamututte Kajjansi.

Natuukirira aduumira poliisi y’e Nansana, Aggrey Owora n’annyambako okunoonya fayiro era twaginoonyeza ennaku bbiri n’etubula.

Wano yannoonyeza ennamba ya Mwijukye bwe namukubira yaηηamba nti ye yagireka mu ofi isi era bw’eba yabula kitegeeza nti abalimu be baagibuza!

Bwe nabuuza Owora ku fayiro eno yakkiriza nti kituufu ensonga azimanyiiko naye nti tamanyi wa fayiro w’eri kuba eyali agikolako baamukyusa.

Nadda ku poliisi e Nansana, ofi isa n’andaga olupapula oluliko ebintu Mwijukye bye yaleka ng’agenda wabula nga fayiro yange teriiko.

Namugamba nti fayiro nga tebannamukyusa yagindagako nga mulimu n’ebifaananyi by’ente. Nagezaako okuyita mu bapoliisi banne abalala naye nga bwe bamukubira, abagamba nti ye fayiro yagireka mu ofi isi e Nansana!

Ekinneewunyusa, simanyi ngeri gye baggalamu fayiro kuba omusango gw’okubba ente ogunvunaanwa, sikyeyanjula ku poliisi ne bwe ηηendayo tewali afaayo kwongezaayo bondi yange.

Ekinkwasa ennaku munywanyi wange Kyagulanyi bwe twawaanyisa ente ye atunuulira nze nga eyamuwa ente etaali ntuufu sso nga bwali bunafu bwa poliisi okugaana okunoonyereza ekituufu.

Aba poliisi banne bwe baalaba ng’ebintu binsobedde, bampa amagezi ηηende mu kitongole ekikangavvula aba poliisi ekya PSU e Bukoto.

Bwe natuukayo nabannyonyola ne baggulawo fayiro nnamba PSU/kmp/ GEF/201/2016 nga nneemulugunya ku bapoliisi.

Okuva lwe nnaguddewo fayiro eno nga March 7, 2016 tewali kya maanyi kye baakoze. Owa poliisi akola ku fayiro eno, Henry Twebaze agamba nti ensonga zino bazinoonyerezaako”. Kyokka owa poliisi Mwijukye bwe namutuukiridde yagambye: Simanyi lwaki Lubwama yeeraliikirira, ente Kabanda agirina tannagitunda oba okugisala.

Fayiro y’omusango gwe yali ebuze, naye twakozeeyo endala era eri mu ofi isi ya Division CID offi cer Wakiso.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda