TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Ssente obukadde 700 ezaali ez’okuzimba akatale k’e Seguku zaalaga wa?!

Ssente obukadde 700 ezaali ez’okuzimba akatale k’e Seguku zaalaga wa?!

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2016

ABASUUBUZI b’akatale k’e Sseguku abaagobwa mu biseera bya CHOGM mu 2007 nga basuubiziddwa okubazimbira akatale mwe banaakolera na buli kati akatale tebakazimbanga! Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri omugagga w’omu Kampala, Omar Mandela gye yafunamu ettaka ly’akatale kano.

Seguku1 703x422

Akatale k'e Sseguku akali ku kkubo

ABASUUBUZI b’akatale k’e Sseguku abaagobwa mu biseera bya CHOGM mu 2007 nga basuubiziddwa okubazimbira akatale mwe banaakolera na buli kati akatale tebakazimbanga!

Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri omugagga w’omu Kampala, Omar Mandela gye yafunamu ettaka ly’akatale kano.  

AKATALE k’e Seguku kali ku kkubo, essaawa yonna ssinga wabaawo akabenje akanene, bandifiirwa obulamu n’emmaali!

Kyokka ebizibu byabwe byatandika mu 2007 mu biseera bya CHOGM, Pulezidenti Museveni bwe yalagira bazimbirwe akatale akapya ku ttaka lyabwe lye baalina, era ne ssente ne ziweerezebwa kyokka ne bikoma awo nga w’osomera bino ettaka ly’akatale lyatundibwa dda ne ssente ezandizimbye akatale nazo zaabulira awo!

 

Ku Ssande nga April 24, 2016, omuwandiisi ow'enkalakkalira mu ofiisi ya Pulezidenti Hillary Emmannuel Musoke yasisinkanye abasuubuzi bano mu lukiiko lwe baakubye e Seguku n’abakakasa nti Pulezidenti yasazeewo okuzimba obutale bubiri ku luguudo lw'e Ntebe, ewa Zana n'e Seguku.

Yagambye nti akatale kaali kagenda kuzimbibwa, naye enkwe mu basuubuzi bennyini ze zaavaako ebizibu bye balimu, ettaka kwe baali ab’okukazimba ne litundibwa.

Abasuubuzi kati bali mu lutalo, okununula ettaka lino wabula okusinziira ku Musoke, bwe kinaagaana olwo baakunoonya ettaka eddala bazimbe akatale.

Ssente z'okuzimba akatale kano obukadde 700 ezaasooka zaabulira ku disitulikiti e Wakiso!

 

AKATALE BAKATUNDA

Richard Ayebazibwe awaamawulire mu katale k'e Seguku era agamba bwati: Akatale k'e Seguku waliwo abantu abaakatunda.

Pulezidenti yatuwa obukadde bwa ssente obusukka mu 700 tuzimbe akatale mu 2006, bwe twazifuna twazitwala ku disitulikiti e Wakiso ng'enkola ya gavumenti ezeebitundu bw’eri ne tuzikwasa eyali ssentebe wa disitulikiti eyo Ying. Ian Kyeyune wabula zaabulirayo.

Ekitwewuunyisa n'ekyapa ky'ettaka ly'akatale nakyo kyali ku disitulikiti era nakyo gye kyaggyibwa okutwalibwa, ettaka ne litundibwa kyokka bwe twabuuza ku ssentebe w'e Wakiso aliyo kati Matia Lwanga Bwanika yatutegeeza nti ekyapa baakimuggyako.

Batusuubizza akatale emirundi egisukka mu 10 naye tebakazimbanga.” Rehema Kyampaire, omusuubuzi mu katale kano ayongerako nti: Bwe baasenda akatale kaffe mu 2006, abakulembeze ne bannabyabufuzi ab'enjawulo bazze batutegeeza nga pulezidenti bw’ajja okutuzimbira akatale naye tewabaawo kikolebwa.

Nnaalongo Sarah Matovu, omu ku baatandikawo akatale ke Seguku agamba; Ettaka awaali akatale k'e Seguku gaali mayumba ga bantu nga nange nalinamu ennyumba ya mizigo ebiri n'emidaala ena. Olw'okuba twali ku kkubo, abantu baatandiikiriza okuteekawo ebintu by'okutunda era mpolampola akatale ne katandikawo mu 1981 nga waliwo emidaala ate nga mulimu n'amayumba mwe tusula.

Mu 2006 ng'eggwanga lyetegeker

 ing an yeyune Ying. Ian Kyeyune

 

a olukungaana lwa CHOGM, abakulembeze baatutegeeza nti gavumenti egenda kutuzimbira akatale ak'omulembe kubanga Kkwiini yali agenda kujja mu Uganda nga kale tebasobola kulekawo buyumba bubi ku makubo. Twasanyuka nga tumanyi tugenda kufuna eby'omulembe.

Ebiseera ebyo nagendako mu kyalo, nagenda okudda ng'ennyumaba yange n'emidaala nga byonna biri ku ttaka nga tebambuulidde. Bantegeeza nti gavumenti egenda kutuzimbira akatale ak'omulembe, baatukuba obufaananyi ffe abaalinamu poloti nti bagenda kutuzimbira batuddize ebintu byaffe nga bwe byalimu.

Abasuubuzi abaali ku kyapa ekyo twali 178 nga kiri mu mannya ga Seguku Nfuufu Growers Association kuba twesonda ssente ne tufuna ekyapa okuva mu Mitchel Courts eyali nnannyini ttaka.

Naye bwe twalaba ng’olukungaana lwa CHOGM luwedde nga teri kikoleddwa twatandika okubanja abakulembeze baffe abaali bakulemberwa Ndiwalana, Mubiru ne Feibe Mulema, ettaka lyaffe n'ebintu bye baayonoona.

Mu 2011, twagenda ku disitulikiti e Wakiso okutwalayo ensonga zaffe ne tubalemerako nnyo era mu kulemerako ennyo buli omu ne bamuwaayo 2,500,000/- nti bajja kutuwa endala oluvannyuma naye n'okutuusa kati teri kikoleddwa.

Baatulimbanga nti ekyapa kiri Wakiso naye nga tebakitulaga, olwamala okutunda ssente ze tutaamanya ne basenguka e Seguku ne banoonya obulamu awalala.

Enkaayana z'abasuubuzi ze zaalemesa enkulaakulana mu katale k'e Seguku.”

Enock Ssemuwemba Kibira nga naye musuubuzi agamba: Mu 2006 Pulezidenti bwe yali anoonya akalulu k'Obwapulezidenti yayimirirako e Seguku era kye twamusaba kutuzimbira katale.

Yatukwasa Ying. Ian Kyeyune era n’alonda akakiiko ka bantu basatu tuweebwe ssente ezizimba akatale. Enkaayana zaatandika mu katale oluvannyuma lwa Pulezidenti okutusuubiza ssente.

Olw’ebyenfuna nga buli omu ayagala okubeera ku kakiiko ako naye abaalondebwa okwali omugenzi Mayanja n'abalala ekyapa baakiwa Ying. Kyeyune.

Kyeyune bwe yava ku bukulembeze bw'e Wakiso mu 2011, ebyapa byonna byaweebwa Bwanika kyokka enkaayana za ani alina obuvunaanyizibwa ku ssente bwe zeeyongera mu maaso, abaali batukulira ne batunda ettaka ne baliguza omugagga Mandela era kati kuliko kibaati, ffe tuli ku kkubo tuyagga.

Lwe baayimiriza pulezidenti

Ashiraf Kiweewa, ssentebe w'abasuubuzi abakolera ku kkubo ku luguudo lw'e Ntebe agamba; Abasuubuzi embeera gye bakoleramu mbi, bakolera mu makubo emmotoka eziyimirira okutikka n'okutikkula abantu zibasumbuwa.

Bwe wabaawo obujagalalo ebintu byonoonebwa kale twetaaga obuyambi era tukoze bingi okulaba nga tuyambibwa.

Twakayimiriza Pulezidenti Museveni emirundi ebiri nga tatwetegekedde. Mu 2015 bwe tweyala mu luguudo, Pulezidenti yayita nze ne ngenda ku mmotoka ye ne mmubuulira ebizibu byaffe ebituluma ng'abasuubuzi era n’atusuubiza okutukolera ku bizibu byaffe wabula n’atulabula obutakola bikolwa bya ffujjo. Kale tulina essuubi nti pulezidenti agenda kutuyamba kuba nayogerako naye.”

Ssentebe w'akatale k'e Segulu, Badru Kabigumira agamba: Tuludde nga tulaajanira Pulezidenti okutuwa akatale naye ke tufunye omubaka wa pulezidenti tufunye ku kaseko ku matama.

Mu biseera bya CHOGM pulezidenti yatuwa ssente obukadde 700, ne tuziwa Ying. Kyeyune naye tetumanyi gye zadda.

Kyokka Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Matia Lwanga Bwanika agamba nti, “Ssente ezizimba obutale gyeziri mu minisitule ya gavumenti ezeebitundu naye teziri ku disitulikiti. Ffe tetulina ssente za basuubuzi zonna naye okubazimbira akatale abasuubuzi balina okubeera n'ekyapa ky'ettaka we bagenda okuzimba era bwe banaakireeta, akatale katandikirawo okuzimbibwa.

Obuzibu bw'akatale k'e Seguku, abasuubuzi bennyini beeryamu olukwe ne batunda ettaka lyabwe, ne bagabana ssente era baaguza omugagga Mandela kati ateekateeka okuzimbawo essundiro ly'amafuta kale bbo bennyini be beeremesa okubazimbira akatale.

 

Kyokka eyali mmemba mu katale k’e Seguku akaagulibwa  agamba si bamativu era baatutte Mandela mu kkooti.

Ali Bidda agamba: Bannaffe abaali batukulembera mu katale k’e Seguku mu biseera bya CHOGM kwaliko Henry Osinga, Aloysious Tusingwire, Lydia Nampewo ne Eva Nakazibwe.

Bano be baakozesa olukujjukujju ne baggyayo ekyapa ky’akatale ku disitulikiti e Wakiso ne bakiguza omugagga Mandela ku buwumbi bubiri kyokka abasuubuzi ne batwanjulirako akawumbi kamu ke twalina okugabana.

Wabula ffe abantu omunaana okwali; nze Ali Bidda, Ismail Kabali, Francis Batte, Rehema Najjemba, Florence Namutebi, Mathias Kasozi n’abalala twagaana kubanga ssente baali batuwa ntono okusinziira ku ezo ze baabalirira mu ttaka lyaffe.

Emyaka ebiri egiyise twagenda mu minisitule y’ebyettaka ne tussa envumbo ku kyapa kuba kyali kikyusiddwa okuva mu mannya ga Seguku Market Association Ltd okudda mu ga Mandela.

Naffe twagala Mandela atuliyirire ssente ezigya mu bintu byaffe ebyayonoonebwa. Ettaka lino eryogerwako lyaffe abasuubuzi ba Seguku Market Association Limited abaali balikoleramu sso si abaali bakolera ku kkubo.”

Looya wa Seguku Market Vendors Association, Fred Ssemugenyi agamba nti akawumbi akamu, ezaaweebwa abasuubuzi abamu, zajja mu bitundu bibiri.

Ekitundu ekisooka zaali obukadde 700. Okusinziira ku ngabanya ya ssente zino eralagibwa, abasuubuzi baafunako obukadde 430, eyabawola ssente okugoba ku by’okutunda ettaka lino ( aba Dynamic Microfinance LTD baafuna obukadde 120 ate looya (R.M Ruhinda Advocates & Solicitors) n’afuna obukadde 150.

Omulundi ogwokubiri baabawa obukadde 300, abasuubuzi ne bafunako obukadde 200 ate looya R.M Ruhinda n’afunako obukadde 100! Olwo ekyapa ne kikyusibwa okudda mu mannya ga Mandela Auto Spares LTD nga 12.09.2013.

Kyokka Ian Kyeyune, eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso nga kati RDC wa disitulikiti agamba; Abasuubuzi abo bennyini be beeryamu enkwe ne batunda ettaka lyabwe okwali kulina okuzimbibwa akatale.

Baabuzibwabuzibwa eyali omubaka wa Palamenti owa Makindye, Issa Kikungwe eyali agenderera okulemesa enkola ya gavumenti.

Yakola kakuyege wa maanyi era okukkakkana ng’ekigendererwa kye kituukiridde n’aggya abasubuzi ku mulamwa.

Kye balina okukola kuddamu kugula ttaka ku Mandela oba bagule ettaka eddala baddemu bafune akatale. Mu biseera bya CHOGM abasuubuzi bonna abaali bakolera ku luguudo lwe Ntebe baalagirwa okuvaako wabula bazimbirwe obutale obw’omulembe era mu pulojekiti eno obutale bubiri okuli ak’e Kajjansi ne Abayitababiri bwazimbibwa kuba bo baalina ettaka lyabwe naye ab’e Seguku olw’okuba baatunda eryabwe tebaasobola kuzimbirwa katale.

Tewali ssente nkalu ze nakwatako kuba ssente zaali za kuvaayo kuzimba butale naye bano tebaalina ttaka. Kye baba bakola banoonyereze omuntu omutuufu gwe baawa ssente zaabwe bazimubanje.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo