TOP

Ssembatya bamunyaze mu bulamu ne mu kufa!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2016

Nga tannayingira byabufuzi, Ssembatya yaliko omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobusuubuzi era ne mu Palamenti yali minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku byobusuubuzi.

Ssembatya11 703x422

Omugenzi Ssembatya

KUBAMU akafaananyi ng’omukuza mukadde wammwe gwe yabawa addukanye emmaali ye, oluvannyuma agibakwase nga mukuze, abeefuulira n’agitunda ate n’atabakombya wadde omunwe gw’ennusu! Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri ofiisi ya Administrator General, gye yatundamu emmaali y’omugenzi Africanus Ssembatya Kivumbi oluvannyuma ly’okudingisa n’okudyekadyeka aba famire ye n’egaana okubaddiza ebyobugagga ebyo.

AFRICANUS Ssembatya Kivumbi yali mubaka wa Palamenti owa Masaka South. Ku myaka 45 gyokka , omutemu yamuggyako obulamu bwe, bwe yattirwa awo ku luguudo lwa Wampeewo Avenue e Kololo mu October wa 1983, abazigu bwe baamukuba amasasi abiri mu mutwe!

Ono y’omu ku babaka ba Palamenti abana abattibwa ku mulembe gwa Obote II, abalala kuliko Dr. James Ruremenkuba Muhangi (Bushenyi), George Masuura Bamuturaki ( Kabalore) ne Dr. Ibanda.

  


 

 bamu ku bamulekwa ba bomugenzi sembatya kuva ku kkono emabega lorence andawula aria abachwa ose akivumbi ate mu maaso r uliet abazza ne odney sembatya izito Abamu ku bamulekwa ba b’omugenzi Ssembatya. Okuva ku kkono emabega: Florence Nandawula, Maria Nabachwa, Rose Nakivumbi ate mu maaso, Dr. Juliet Nabazza ne Rodney Ssembatya Kizito.

 

Wayise emyaka egisoba mu 30 bukya Ssembatya afa, bamulekwa be tebafunanga byabugagga bye. Byasigala mu ofiisi ya Administrator General, era bamulekwa bategedde wiiki eno nti ofiisi eno ebyobugagga yabitunda omwaka oguwedde, wadde bamaze emyaka egisoba mu 10 nga basaba ebintu byabwe bibaddizibwe naye ng’abakungu mu ofiisi eno bassaawo kiremya.

Ebyakasemba okutundibwa ky’ekyapa ky’ettaka erya desimoolo 25 erisangibwa e Kawempe ku Vol. 654 folio 19, plot 179!

Nga tannayingira byabufuzi, Ssembatya yaliko omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobusuubuzi era ne mu Palamenti yali minisita ow’ekisiikirize avunaanyizibwa ku byobusuubuzi.

Kyokka okumala emyaka 10 bamulekwa b’omugenzi Ssembatya babadde basaba empapula ezibawa obuyinza okuddukanya emmaali yaabwe okuva mu ofiisi ya Administrator General nga bazibammye okutuusa wiiki eno lwe baakitegedde nti emmaali baagitunda.


Omu ku bamulekwa, Rodney Kizito Ssembatya ow'e Makindye agamba nti kitaawe yakubwa amasasi nga October 3, 1983.
 

Agamba: Taata yaleka bamulekwa mwenda mu bamaama bana. Mulekwa eyali asinga obukulu mu kiseera ekyo yali wa myaka 20 abasigadde twali bato ddala.

Mu 1987, waaliwo olukiiko lw'ekika, ofiisi ekola ku nsonga z'abafu mwe yawandiikira ebyobugagga bya kitaffe byonna nga muno mwalimu abakulu mu kika, omusumba Adrian Ddungu ne bassenga.

Abasinga twasoma era ssente twaziggyanga mu ofiisi ya Administrator General nga tuyambibwako omusumba Ddungu eyali ayambako okuddukanya ebyobugagga bya kitaffe.

Mu 1999 ebintu byatandika okugabwa. Waatuuzibwawo olukiiko lwa famire nga muno omu ku bannamwandu Noeline Nanteza (ow’empeta) eyalina bamulekwa basatu (3) okuli Dr. Juliet Ndibazza, Maria Nabachwa ne Carol Nakiganda baasaba omugabo ogwabwe ne baweebwa ettaka e Kabalagala lya yiika bbiri. 

Mu kiseera kino maama oyo yali yadduka okugenda ebweru mu 1987. Mwannyinaffe Dr. Juliet Nabazza eyaliwo ku lwa banne mu lukiiko olwo yalabika nga tasiimye era yafuluma nga munyiivu.

Baali baagala bongerwe ku byobugagga kyokka eyali agaba ebintu bino, Mw. O.M.J Ndawula eyali akulira ofiisi ya Administrator General, n'abagamba nti kyali tekisoboka kubanga waaliwo abaana abalala abaalina nabo okuweebwa.

Waliwo mwannyinaffe eyazaalibwa yekka, Agnes Nakiwala eyali abeera mu Northern Ireland mu kiseera ekyo, ono yaweebwa ettaka e Muyenga lya desimoolo 50.

Eky'ennaku yafa nga talese mwana era wano ettaka lye yafuna lyalina okudda mu bintu by'omugenzi okuddamu okugabibwa. Nga mwannyinaffe akyali mulamu, waliwo baganda be ku ludda lwa nnyina abaagezaako okwagala okubba ettaka lino engeri gye yali abeera ebweru kyokka nnyina n'abalemesa.

Oluvannyuma lw'okufa twalina okukola kyonna kye tusobola okubatangira okulitwala nga bwe baali baagala.

Bwe twebuuza ku ofiisi ya Administrator General yatuwa amagezi tufune ebbaluwa ezituwa obuyinza ku ttaka lino. Yatuwa ‘certificate of no objection nga February 5, 2016 olwo ne tusaba mu kkooti nga February 9, 2016, kyokka na buli kati tetufunanga bbaluwa zino anti buli lwe tutuuka mu ofiisi ye Mw. Ndawula atubuzaabuza.

 

Ezimu ku nsonga z’agamba eziremesa okutuwa obuyinza ku ttaka lino, nti bannyinaffe aba maama Nanteza bassaayo ebbaluwa nga bagamba nti baagula ettaka lino nga bali wamu n'omugenzi Nakiwala.

Kyokka bwe kyazuulibwa nti lyamuweebwa buweebwa olwo ne bakyusa nti Nakiwala yaleka omwana omuwala ayitibwa Sharon Deborah Makula, nti era be bamulabirira.

Bwe tubasaba okumuleeta tumulabeko bagamba tebamanyi gy’ali!

Ng’obujulizi bwe buti bubuze, twebuuza ensonga lwaki ofiisi esigala ng'etubuzaabuza n'okugaana okutuwa ebiwandiiko ebitukkiriza okuddukanya ebyobugagga bya kitaffe nga tukuze ate nga tewali nsonga ndala yonna egaanisa?

EKKOLERO LYA AFRO LEATHER GOODS MANUFACTURING LTD, E KAWEMPE

Ekkolero lino limu ku byobugagga bya kitaffe era okusinziira ku bye twafunako yalitandika ne banne abalala babiri okwali Sadrudin Kara ne Mansorali Hudda era bwe badduka okudda ewaabwe mu 1972, kitaffe ye yasigala aliddukanya.

Okusinziira ku mpapula eziraga okuwandiisa kkampuni, bonsatule baalina emigabo gyenkanankana. Ekkolero lyali likola nsawo z’abakyala n’emisipi.

Oluvannyuma lwa kitaffe okufa, tubadde tetumanyi bikolebwa okutuuka mu 2012, abatwala ekkolero lino lwe baayisa ekirango mu zimu ku mpapula z'amawulire nga balanga olukuηηaana lwa bonna n'abo abalina bye bamanyi ku kkolero lino nga baagala okutunda ettaka kwe liri.

Kitaffe yalina emigabo mu kkampuni eno ate nga n'ettaka kwe litudde lya kitaffe era nga n'ekyapa kiri mu mannya ga kitaffe.

Twasooka okwebuuza ku Admin. General kye tubeera tukola ye n'atugamba tugende mu lukiiko olwo. Bwe twatuukayo, abatwala ekkolero lino okwali Khtoon Hudda (mutabani wa Mansorali Hudda) ne looya omugenzi Stephen Musisi owa kkampuni ya Mubiru, Musoke, Musiri & Co. Advocates ne baatutegeeza nti bo tebalina buzibu bwonna wabula tulina okufuna ebbaluwa ekakasa nti tuli baana b'omugenzi kubanga bo bamanyi nnamwandu Nanteza n'abaana be abasatu era nga bano mu kiseera kino be baganyulwa mu kkolero lino ku lwa kitaffe.

Twaddayo mu ofiisi ya Administrator General, ne tumutegeeza atuwe ebbaluwa era Mw. Robert Boogere, omumyuka wa Administrator General n'atugamba nti talina buzibu nakyo kyokka na kati buli lwe tugendayo atutegeeza nga bw'atalina budde!

Twasooka ne tubivaako olwo ne tuddamu mu 2014 era twamuwandiikira ebbaluwa nga 22/Sept/ 2014 n'atugamba agenda kutuwa ebbaluwa eno nga 02/Oct/2014.

Twaddayo mu okumujjukiza mu April, 2016 kyokka era yatutambuza omwezi gwonna nga tewali ky'akola.

TWEKUBIRA ENDUULU

Tumaze okukwatagana ne bannamateeka ba Kodili &co. Advocates ne tuwandiikira kkooti enkulu e Nakawa nga tugisaba okutunula mu nsonga z'okufuna obuvunaanyizibwa ku ttaka lya mwannyinaffe Agnes Nakiwala n'okuweebwa empapula z'okuk

 

wasaganya ebyobugagga bya kitaffe ng'abaana be okuli Rose Nakivumbi, Grace Najjemba, Florence Nandawula, Rodney Ssembatya Kizito, Africanus Mugagga Kivumbi.

Mu bbaluwa endala eyawandiikiddwa nga 10, June, ekwata ku nsonga z'ekkolero lya Leather Goods Manufacturing Ltd bannamateeka bagamba nti Admin. General yasuulirira oba yalemererwa okukola ku nsonga z'emigabo gya bamulekwa okusobola okuganyulwa era ng'aweereddwa ennaku 14 okukola ku nsonga zino.

EWA ADMINISTRATOR GENERAL

Mw. Robert Boogere, amyuka Administrator General yagambye: Ensonga za bamulekwa bano nzimanyi era ebbanga fayiro ly'emaze ddene, waliwo ebyobugagga abaana bye babadde baagala okutunda naye nga waliwo omwana eyaleetebwa banne ayitibwa Adrian Ddungu, abaana abamu oluvannyuma gwe baatandika okutankana.

Kyokka nga n’omusika waabwe yali yawandiika ebbaluwa ekakasa nti oyo muganda waabwe.

Nze nabagamba bagende bonna babakebere omusaayi, bakakase oba mwana waabwe olwo tulyoke tubawe ‘letters of administration’.

Ezo ensonga za kkampuni ya Afro Leather twazoogerako, ng’abaana abo basaba ebbaluwa ebanjula mu kkampuni. Baali bagoba nsonga za migabo gya kitaawe, naye ensonga y’omwana Ddungu ye yalemesa, wayise emyezi etaano era tebaddanga.

Nze siwulirangako nti ettaka ly’e Kawempe lyatundibwa. Ku ttaka ly’omugenzi Nakiwala, ensonga ekyasibye, twagala tukakase oba yaleka azadde oba teyazaala.

Wabula Mw. Boogere ky’atannyonnyodde kiki ofiisi ya Adminisitrator General ky’ekozeewo okuzza ebyobugagga bino mu bantu abatuufu. 

Muky. Rashidah Batanula, omukungu mu ofiisi eno agamba nti ofiisi ya Administrator General esobola okusigaza ebintu by’omugenzi ssinga bamulekwa babeera nga bakyali bato abatasobola kukwasaganya byabusika.

Ssinga wabeerawo ekiragiro kya kkooti ku by’obusika bino ofiisi eno ebisigaza okutuuka ensonga eziri mu kkooti lwe zigonjoolwa. 

Ssinga omugenzi abeera yassa ofiisi ya Administrator General okubeera emu ku baddukanya ebyobugagga bye ng’afudde era nga yakirambika mu ddaame. 

Ssinga wabeerawo obutakkaanya mu bamulekwa abalina okufuna ku by’obusika bye yaleka ng’okubawa obuyinza okubiddukanya kiyinza okuvaako obuzibu obw’amaanyi n’enkaayana. 

Ssinga bamulekwa bakkiriziganya okulekera ofiisi ya Administrator General ensonga z’okuddukanya eby’obusika olw’ensonga zaabwe.

Ofiisi ya Administrator General esobola okutunda ebintu by’omufu?

Muky. Batunula annyonnyola nti ofiisi ya Admin. General esobola okutunda ebyobugagga by’omuntu ssinga ekiraba ng’okusobola okuba obulungi ebintu bino erina kusooka kubitunda egabe ssente ezo. 

Ssinga bamulekwa bakkiriziganya okubitunda bagabane ssente okuva mu byobugagga ebyabalekerwa. 

Ssinga wabeerawo ekiragiro kya kkooti nga kiwa ofi isi ya Administrator General obuyinza okutunda ebintu bino okusobola okumalawo enkaayana n’okussaawo obwenkanya mu ngeri y’okubigabana. 

Ssinga omugenzi abeera nga yali tamazeeyo ssente za kugula kyabugagga ekyo ng’eyakimuguza ayagala okumalayo ssente ze.

 

LOOYA KY’AGAMBA

Julius Galisonga owa Julius Galisonga & Co. Advocates agamba nti abantu bangi abalina obuzibu bwa ofiisi ekola ku nsonga z’abafu okulwisa okubawa amabaluwa g’okuddukanya ebyobugagga byabwe.

“Omuntu okutwala omwaka n’okusoba ng’onoonya mpapula za kuddukanya byabugagga bya muntu wo eyafa, kibeera kikalubye era wano osobola okwekubira enduulu mu kkooti y’amaka n’osaba ebbaluwa ebalagira okukuwa empapula zino era bangi bayise mu nkola eno ne bafuna obuyinza,” bwe yagambye. Ebirala birinde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.

Supremenew 220x290

Ndirangwa asabye poliisi esookenga...

Ndirangwa agambye nti singa poliisi ekwata omuntu ng’emaze okumunoonyerezaako obulungi ku musango gwe babeera...

Ntebe18 220x290

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine...

Ekibaddewo ku kudda kwa Bobi Wine okuva ku kisaawe e Ntebe okutuuka e Magere mu makaage