TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Omukozi omu n’afiirwa eriiso omulala ne bamutemako ekigere ne wabulawo aliwa!

Omukozi omu n’afiirwa eriiso omulala ne bamutemako ekigere ne wabulawo aliwa!

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd September 2016

Omuyindi ono yasimbula kattulakita akakozesebwa okutikka n'okitikkula (Forklift) okutandika okusika ebyali mu konteyina kyokka ngenda okulaba ng'akantuuzizza ku kigere ekisajja ekya kkono kyonna ne kisesebbuka

Gentex1 703x422

William Kayizzi eriiso lyafa lwa pulasitiika kulikubaate Francis Musobya ng’alaga ekigere ekyasalibwako.

ABANTU basatu be baakafuna obubenje obw’enjawulo mu kkampuni ekola ebintu bya pulasitiika eya Gentex Enterprises LTD e Ntinda.

Kalondoozi wa Bukedde alaga engeri abantu bano gye bafiirwa emirimu ne bagenda nga tebaliyiriddwa ate nga kye kizibu mu makampuni mangi mu Uganda  

NGA April, 11 2013 Bukedde yafulumya amawulire g'omukozi wa kkampuni ya Gentex ku ttabi lyayo ery'e Ntinda ayitibwa Geoffrey Sombe 28 eyali omutuuze w’e Mbuya-Kinnawattaka eyafiira ku mulimu nga kigambibwa nti yaseerera n'agwa era n'afiirawo.

Aziz Magombe omu ku bakozi yategeeza nti Sombe yali akoze emisana lyonna eggulolimu, bakama be ne bamulagira okukola n'ekiro ekyamuleetera okukoowa.

Wadde nga waaliwo okulaajana kuti, na kati tewali kyakoleddwa.

Abakozi abafunye obuzibu mu kkampuni ya Gentex bagenze bawera, mulimu abafiiriddwa ebitundu by’omubiri ng'amaaso, ebigere, emikono n'ebirala.

Nafiirwa eriiso

William Kayizzi omutuuze w’e Kiyunga-Mukono ku kyalo Kisaamya agamba nti yali mukozi wa kkampuni ya Gentex Enterprises LTD era gye yafunira akabenje akaamuggyamu eriiso kyokka bakama be ne bamusenza luti.

Annyonnyola:

Gentex kkampuni ekola ebintu bya pulasitiika omuli ttanka, payipo n’ebirala eby’okuzimbisa. Nze nali nkola ku masiini. Nga March 29, 2016 bwe nali mpita awali munnange eyali atemaatema payipu ezaali zireeteddwa nga sikulaapu ziddemu okukozesebwa mu kukola payipu empya akapapajjo ne kabuukako ne kankuba eriiso lya kkono ne liyiika okuggwaamu!

Bwe nafuna akabenje kano, naddusibwa mu ofiisi y’abakulu abaddukanya kkampuni eno, wabula baagaana okuntwala mu ddwaaliro, ne nzira ewaffe mu kyalo okumala ennaku ssatu kyokka ng’obulumi bundi bubi.

Bakozi bannange baasigala bankubira ssimu era be bansondera ssente ne ngenda mu ddwaaliro e Mengo ng’eno omusawo gye yantegeereza nti eriiso lyali likulukuse ne liggwaamu nga lyakuggyamu!

Mu kiseera kino omutwe gwali gunzimbye nga gubuliddemu. Bakama bange aba Gentex Enterprises LTD bansanga mu ddwaaliro e Mengo ne banzigyayo ne bantwala mu ddwaaliro lyabwe lye bakozesa erya Dr. Agarwal’s Eye Hospital e Nakasero nabo ne bantegeeza nti lyali liweddemu nga lirina kuggyibwamu kyokka nga basobola okulikaza ne lisigalamu naye nga terikyalaba.”

Kyokka Dr. Sujatha ow’eddwaaliro lya Dr. Agarwal’s Eye Hospital eyeekebejja Kayizzi nga April 6, 2016 agamba mu bbaluwa gye yawandiika nga May 21, 2016 nti yamujjanjaba obulwadde obuyitibwa ‘fungal corneal ulcer’, nti era yali atandise okukuba ku matu!

N’afundikira ng’agamba nti kati Kayizzi asobola okukola obulimu obutonotono obutali bwa kukakaalukana. Kyokka omusawo okuva mu ddwaaliro lya AAR yannyonnyodde nti ‘fungal corneal ulcer’ eba yinfekisoni y’amaaso ng’eva ku buwuka obwa fangasi, obuyinza okulya akabubi akabikka eriiso. Kati akapapajjo ka pulasitiika okukuba eriiso ne livaamu bikwatagana bitya ne yinfekisoni?

Kayizzi agamba: Aba Gentex baatandika okunzijanjaba nga be basasulira obujjanjabi era omusawo yangamba nti okusobola okutereera obulungi kiyinza okuntwalira ebbanga erisoba mu mwaka kyokka oluvannyuma lw’omwezi gumu gwokka bandagira nti nnina okuddamu okukola oba si ekyo tebagenda kuddamu kunsasulira ssente za bujjanjabi.  

Baakoma okumpa ssente z’eddwaaliro nga 08/06/016 era wadde nalina okuddayo okulaba omusawo nga 23/06/016 saddayo kubanga ssaalina ssente.

Nneekubira enduulu mu minisitule y'abakozi n'ekikula ky'abantu ne mpeebwa amagezi okugenda waakiri nfune ssente zange eza NSSF kyokka bwe nadda ewa bakama bange, bampandiikire ebbaluwa ensemba okufuna ssente zange bandagira okuwandiika ebbaluwa erekulira omulimu nabo balyoke bampe ebbaluwa ensemba.

Ebbaluwa nagiwandiika nga June 10, 2016 ne nzisaamu n’ensonga nti sikyasobola kulaba bulungi. Kyokka ekyewuunyisa Dayirekita Mw. H.V Gorsia bwe yali awandiika ebbaluwa ensemba ku olwo lwennyini, yassaamu nti ndekulidde kubanga njagala kudda mu kyalo mbeere eyo, ensonga lwaki nali ndekulira yagaana okugissaamu!

Ate nga ye yali esinga obukulu era na buli kati ssente zange eza NSSF sizifunanga. Naddukirako ne mu kibiina ekirwanirira eddembe ly'obuntu kyokka nayo saafunayo kuyambibwa.

Nagenda mu KCCA e Nakawa ng'eno bampa ebbaluwa ebalagira okundiyirira kyokka aba kkampuni bantegeeza nti nnina kukolagana na kkampuni yaabwe eya yinsuwa y’eba etuliyirira.

Mu kiseera kino nasigala awo nga sirina mwasirizi kubanga n'abakozesa abasinga tebaagala kukozesa baliko bulemu kyokka nga nnina abaana ne famire ate nga ne be ndaga densite yange balowooza si yange kuba baagimpa eriiso ddamu ate kati lyafa.

Kati kubamu akafaananyi, ng’okoledde mu kkampuni emyaka mwenda nga nze bwe nakolera mu Gentex, n’ofuna obuzibu ne batakuliyirira!

Bantemako ekigere

Francis Musobya 25, mutuuze w'e Mbuya nga mu kiseera kino akola bwamakanika.

Naye bye yanfuna mu Gentex abinyumya bwati: Nga 19/06/2014 lwe nafuna akabenje akanviirako okusalibwako ekigere ekisajja ekya kkono, nali nkola mu kkampuni ya Gentex mu kitongole kya HDP.

Ku lunaku olwo nnali nkola, omu ku bakama baffe Omuyindi n’ampita n'abavubuka abalala musanvu okugenda okutikkula konteyina y'ebikozesebwa eyali ereeteddwa.

Twali munaana ffekka kyokka nga tulina okugitikkula mu ssaawa emu yokka, nze kwe kumugamba nti omulimu nga munene nnyo! Yatandika okuyomba nti tuli banafu.

 

Bantwala mu kasenge omuterekebwa eddagala (laabu) ne bangiwako eddagala okukendeeza omusaayi ogwali gufukumuka oluvannyuma ne banzirusa mu ddwaaliro lya Ntinda Life Link n'oluvannyuma ne bantwala ku Shree R. Medical Center e Kamwokya ng'eno omusawo gye yantegeereza nti akagere kaalina okusalibwako.

Nga mmaze okufuna obujjanjabi, twavuga okudda ku kkampuni olwo ne bantegeeza nti bagenda kumpa 36,000/- ze mbadde nkolera wiiki kyokka nga zino zaali tezimmala kubanga nalina okutambula okuddanga mu ddwaaliro nga nkozesa bodaboda ya 6,000/- okuva e Mbuya okutuuka e Kamwokya n'okudda n'okulya.

Nabasaba okunnyongera ku ssente era bampa 70,000/-. Mu bbanga lya wiiki ssatu baalagira omusawo okumpa ebbaluwa ekakasa nti mponye era nsobola okudda ku mulimu kubanga bwe nagendanga okusaba ssente nga bantegeeza nti nnina okudda ntandike okukola.

Baakoma nga July, 07 2014 okumpa obuyambi nga n’omwezi tegunnawera!

Nali sikyalina ssente, bwe nagendayo bangamba nnina okuddamu okukola era bampa 36,000/- nkomewo ku Mmande eyali eddako naye nga nali nkyali mu bulumi.

Bwe nabagamba nti nkyali mu bulumi, bampa empapula nti nzisseeko omukono okundiyirira kyokka ng’ebiriko sibitegeera era ne ngaana.

Nagenda ku poliisi y'e Ntinda ne nzigulawo omusango gw'okutuusibwako obuvune obw’amaanyi ku fayiro nnamba 32/19/06/2014.

Nagezaako n'okufuna looya okunnyamba kyokka naye talina kye yannyamba olwo ne nzirukirako mu bitongole ebirala ebiyamba abakozi abafunye obuzibu kyokka nayo sirina buyambi bwe nafunayo.”

  Ku GENTEX -Abo twabasasula tebabanja

Omu ku bakulira kkampuni eno gwe nayogedde naye ku nnamba y’essimu 0772786080 yangambye nti: Abantu bano bye boogera si bituufu, kubanga baaliyirirwa nga bayita mu kkampuni yaabwe eya yinsuwa eya UAP era tewali abanja ku bonna.”

Maneja wa kkampuni ya Gentex, H. V Gorsia agamba nti baasasula abantu bano era baabasaasaanyizaako obutitimbe bwa ssente nga babajjanjabisa mu malwaliro agasinga obulungi mu Uganda.

Agamba nti bassaawo embeera eyamba abakozi baabwe obutafuna bubenje nga bakola emirimu gya kkampuni era ababeera babufunye bubeera ng’obulala bwonna bwe bugwawo.

“Ntwala abakozi bange nga kintu ekisinga omuwendo kubanga nkimanyi be balina okukola emirimu gya kkampuni n’okugitwala mu maaso nga y’ensonga lwaki buli kibagwako nfuba okubayamba n’okubajjanjabisa. Kino kye kitukuumidde ku ntikko okumala emyaka 30”, Gorsia bwe yagambye.

Yagambye nti omusawo yajjanjaba Kayizzi era n’afulumya lipoota ng’eraga nti akyasobola okulaba era n’ategeeza nti yali asobola okutandika okukola emirimu emitonotono mu bbanga lya mwezi gumu n’ekitundu kyokka ye Kayizzi n’ategeeza nti yali ayagala kudda waka awummule.

“Ng’oggyeeko okubeera nga Kayizzi namujjanjaba olw’okuba mukozi wange, namulabirira nga muganda wange kubanga nange bwe nafunako akabenje ku liiso bwe nneefumita ppini mu liiso nga kyali e Buyindi, omusawo yanzijanjabira olunaku lumu lwokka ne mpona!

Engeri gye kiri nti ne ku Agarwal waliwo basawo Bayindi, nkakasa yafuna obujjanjabi obumala nga n’ebbanga ly’omwezi ogumu n’ekitundu lyali limala eriiso okuwona”, Gorsia bw’agamba.

Annyonnyola nti ebisinga ku nsasula n’okukwataganya ensonga z’abantu bano byakwasibwa kkampuni yaabwe eya yinsuwa.

Mu yinsuwa Daniel Ssemakula okuva mu kkampuni ya yinsuwa eya UAP, aba Gentex gye bagamba erina okuliyirira abakozi baayo yategeezezza: Byonna abakozi abo bye boogera bikyamu, Kayizzi ensonga ze ziri mu ofiisi y'abakozi era baamutuma empapula naye teyazitwalayo.

Gye buvuddeko yazitwalayo kyokka wadde twagala okumusasula naye omusawo eyamukolako yamussa mu ddaala ly’okuliyirirwa lya 0 ku 100 ekitegeeza nti talina kuliyirirwa, ate nga naffe tugendera ku musawo ky'agambye kuba y’abadde amujjanjaba.

Aba Gentex bajjanjaba abakozi abo; 

Kayizzi baamusaasaanyaako obukadde nga munaana n'okusoba. Omukozesa ky'alina okukola kukujjanjaba kyokka, olumala ng’aweereza empapula mu yinsuwa okumuliyirira.

Eno y'ensonga lwaki tusasula obuzibu bumaze kuwona era omusawo bw'akuwa 0 ku 100 tewali ngeri yinsuwa gy’ekusasulamu.

Nze natwala empapula za Kayizzi e Nakawa mu ofiisi y'abakozi. Ofiisi y'abakozi yawa ekiteeso tufune endowooza y'omusawo omulala naye nga nakyo kirimu okusoomooza kuba omusawo ataamujjanjaba okuwa embalirira kiyinza okubeera ekizibu.

Ate abo abakozi tewali yabagoba, Kayizzi yawandiika ebbaluwa ng’agamba takyayagala kukola oluvannyuma lw'omusawo okuwandiika ebbaluwa ekakasa nti yali awonye ng'asobola okudda ku mulimu. Sisuubira nti ye nga Kayizzi asobola okuwangula kkampuni ennamba.

Ate ye ow'ekigere twamusaba empapula nga tazirina, n'afuna ne ku looya naye bwe twamusaba empapula teyadda kati giri mu myaka ebiri.

Bw'ofuna akabenje ku mulimu Gentex olina okugenda mu ofiisi y'ebyemirimu n'ofuna ffoomu LD 31, 35 ne 87. Omukozi eyafa yakubwa masannyalaze ge yakwatako era kaali kabenje era twamuliyirira, era abakozi bakolera mu mbeera nnungi!

Ofiisi y'abakozi e Nakawa

Okusinziira ku bbaluwa eyawandiikibwa ekitongole ky'abakozi (Nakawa Labour office) nga July, 18, 2016 n'essibwako omukono gwa Irene Nabbumba atwala ofiisi eno eraga nti aba Gentex tebaabategeezaako nga Kayizzi afunye akabenje ng’etteeka eririyirira abakozi bwe liragira.

Yawabula era nti omukozi afunye obulumi nga Kayizzi bwe yafuna, kkampuni yalina okumujjanjaba era bw’aba alina ssente endala ze yakozesa balina okuzimuddiza.

Ekibi nti Gentex yategeera ku kabenje ka Kayizzi n’esooka egaana okumujjanjaba okutuusa lwe yamusanga mu ddwaaliro nga wayise ennaku era ng’eriiso livuddemu.

Meeya w’e Nakawa, Ronald Nsubuga Balimwezo yagambye nti ekizibu ekikyaliwo, etteeka ly'abakozi likyali linafu ddala naddala ku kuliyirira abantu abafunye obubenje ekika kino kubanga baweebwa ssente ntono nnyo.

“Nsaba Palamenti ebageyo etteeka eddala eriyamba abakozi nga Kayizzi okuliyirirwa obulungi. Ekirungi tugenda kuyingira mu nsonga zino okulaba nga wabeerawo obwenkanya,” bwe yagambye.

Omukozi alina okuliyirirwa

Munnamateeka Julius Galisonga owa Galisonga & Co Advocates agamba nti okusinziira ku tteeka erirambika okuliyirira abakozi (Work man’s compensation Act, 2000), omukozi afuna akabenje ng’ali ku mulimu, agenda oba ng’ava ku mulimu mukama we alina okumuliyirira.

“Okuliyirirwa kuno kusinziira ku bunene bwa kabenje k’afunye era lipoota y’omusawo y’eraga obunene buno okusinziirwa okubalirira obungi bwa ssente z’ona okusasulwa”, Galisonga bw’agamba.

Annyonnyola nti obunene buno bussibwa mu mitendera egy’enjawulo kyokka nga ssinga omuntu akabenje k’afunye kamuviirako okufuna obulemu obw’enkalakkalira nga Kayizzi, alina okuweebwa ssente eziwera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...