TOP

Ani afuuse namujinga alya yunivasite y’e Busoga!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2017

Abaffe, ani aloga Busoga oyo atannassa mbugo era namujinga ki alya ekitundu kino nti n’akati akabiriiti akamu bwe kati akabadde kamulisa ekitundu kyabwe koolekedde okuzikira!

Busoga11 703x422

Ekimu ku bizimbe bya Busoga University

Akakiiko akavunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) kaaweerezza yunivasite ya Busoga ekiwandiiko ekibalabula okubaggala olw’obutaba na bisaanyizo bimala kufulumya ba diguli.

Kuno baabagattiddeeko ebintu ntoko bye balina okukolako obutaggalwa naye abaffe yunivasite eno eyaakamala emyaka 20 namujinga avudde wa agitadde ku bunkeke.

Kalondoozi wa Bukedde Online akuleetedde namujinga w’ava.

Enkuba ebindabinda, enzikiza ekutte ku yunivasite y’e Busoga era ekizimba kisambye eddagala akakiiko k’amattendekero aga waggulu bwe kaweerezza ebbaluwa ebalaga nga bwe bagenda okugiggalawo.

Emyaka 20 egiyise, eyali Omulabirizi wa Busoga, Cyprian Bamwoze, sipiika Rebbecca Kadaga, Dr. David Kantaale Kazungu, Polof. Bakwesegha, Frank Nabwiso n’abalala baatuula ne batema empenda ku ngeri y’okuggya Abasoga mu bwavu.

Emu ku mpenda zino kwali kutandikawo yunivasite abaana b’e Busoga okubawonya olugendo nga banoonya aw’okusomera n’okubanguyiza okukulaakulanya ekitundu.

Abandibadde bajaganya okuweza emyaka 20 nga bali mu nsiike y’okugunjula abaana b’eggwanga ne Busoga, laba ate bwe bali mu kusala entotto okulaba ng’ettendekero lino terisazzibwamu.

Abaffe, ani aloga Busoga oyo atannassa mbugo era namujinga ki alya ekitundu kino nti n’akati akabiriiti akamu bwe kati akabadde kamulisa ekitundu kyabwe koolekedde okuzikira!

Okwekalakaasa baafuuka baana baliwo. Abasomesa bwe baba ng’abadda mu nteeko, ng’abayizi basitula enkundi ng’olusoma lw’omwaka gwe twakakuba emabega beekalakaasizzaamu emirundi esatu!

 bamu ku bayizi abaatikkirwa diguli ku yunivasite ya usoga Abamu ku bayizi abaatikkirwa diguli ku yunivasite ya Busoga.

 

KAJJAMPUNI ABALAGALA MU BBWA

Mu 2013, emivuyo egyali gimaze ebbanga nga giri munda, gyasajjuka bwe kyazuulibwa nti waliwo abayizi okuva mu mawanga agatwetoolodde omuli Kenya, Sudan ne Tanzania abaali baaweebwa diguli oluvannyuma lw’okusomera emyezi mukaaga!

Kino olwazuulibwa ne balagirwa okukikomya mbagirawo.

Ekyapa kya yunivasite kyasingibwa mu bbanka wabula ssente ezeewolebwa tezaakozesebwa kukulaakulanya ttendekero olwo ebbanja ne lyetuuma mu buwumbi busatu n’omusobyo.

Ku bbanja lino n’abasomesa babanja omusaala gwa mwaka gumu n’ekitundu.

Akakiiko kaweerezza ekiwandiiko

Nga January 5, 2017 dayirekita w’akakiiko akavunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu (NCHE), Dr. John Kagume yawandiise ng’agamba nti, nga beesigama ku kawaayiro 98 (1) (b) ak’amateeka ag’amatendekero aga waggulu, bamalirizza emitendera egyetaagisa okuggala Busoga yunivasite.

Yalaze nti kino baakiraga ne mu katabo ka Gavumenti aka Uganda Gazzette nga December 19, 2016, ku nnamba 1054/ 2016.

Owebyamawulire mu kakiiko kano, Saul Waigolo, yategeezezza nti olunaasazaamu layisinsi mu bujjuvu, Busoga yunivasite ejja kuba tekyawandiisa bayizi.

Akakiiko kano aka NCHE kaasooka ne kayimiriza okuwandiisa abayizi ku yunivasite eno, abakungu ne balemerako ne baddukira mu Kkooti.

Baawaabira Ssaabawolereza wa Gavumenti ne NCHE okubayimiriza nga tebeewozezaako, era kkooti n’ebawa ekiragiro ekisazaamu eky’akakiiko.

 muserikale ngasoya omusajja ebibuuzo Omuserikale ng’asoya omusajja ebibuuzo.

 

EBIBAVUNAANIBWA AKAKIIKO

Emivuyo egifumbekedde akakiiko gye kanenya aba yunivasite kuliko enzirukanya y’emirimu, obutaba n’avunaanyizibwa ku nzirukanya ya nsimbi ng’asanga y’akwata ssente, obutawa basomesa misaala n’okuyingiza abayizi ab’ekibogwe abatatuusa bubonero busaanidde muyizi kuyingira yunivasite.

Amatabi 2 gaggalwa

Yunivasite eno yatandikibwa ku musingi gwa Kkanisa ya Uganda mu 1996 ku CMS e Iganga nga kati lirina abayizi 2,500.

Erina amatabi amalala okuli Kamuli, Jinja , Lugazi naye olw’emivuyo, ery’e Kaliro ne Pallisa ge gaasooka okuggalwa.

Kadaga, nga ye ssentebe w’olukiiko olufuga yunivasite eno, agamba nti baayagala okuyamba Abasoga abaavu okuweerera abaana baabwe, bafune satifikeeti, dipulooma ne diguli okwewala ez’ewala ez’ebbeeyi.

Ekkanisa nayo yali yaakufunamu emisolo, okuwa abantu emirimu, abagagga bapangise abayizi hositeero ne bizinensi endala zitojjere.

Moses Isadha, omusuubuzi mu kibuga ky’e Iganga agamba: Wano waafuuka mpuku ya banyazi, wakati mu basomesa okwekkokola amyuka Cansala, Polo. David Lameck Kibikyo okutta yunivasite.

Ku ttabi ery’e Kamuli, ennimiro ez’okusomerako zaazika ne zifuuka zzaaliro lya mmese na misu.

Ate bwe gutuuka ku ssamba y’emicungwa n’emiyembe eyalina okukozesebwa abasoma ebyobulimi kizibu okwawula ebibala bino ku miti emirala.

Ekisaawe ky’omupiira kimaze emyaka etaano nga tekisaayibwa, kyafuuka nsiko.

Ente eziyigirwako abayizi oyinza okugamba baaziggye mu ddungu anti zaakonziba.

 bamu ku bayizi abaatikkirwa diguli ku yunivasite ya usoga Abamu ku bayizi abaatikkirwa diguli ku yunivasite ya Busoga.

 

ABAYIZI BAKAABA

Omwaka oguwedde, abayizi ku ttabi ly’e Kamuli beekalakaasa, bwe baamala wiiki ssatu nga tebalaba ku basomesa, ng’ate fiizi baazibakandanga.

Bwe baakubiranga abasomesa nga babaddamu nti ekibagaana okujja babanja emyezi munaana n’omusobyo, n’ekyaddirira abayizi kwekalakaasa.

Baazingiza avunaanyizibwa ku byensoma, Sofia Zikusooka mu ofiisi ne bamuggyamu engatto ne bamutuuza wansi ne bamusibira mu ofiisi okumala essaawa ttaano.

Baagenda okubaggulira ng’entuuyo zibayiseemu ne babawa nsalessale basikirize abasomesa badde.

BULI OLUKYA FIIZI ZIRINNYA

Ab’e Kamuli balojja. Ambrose Bogere, asoma omwaka ogwokubiri mu busomesa agamba: Twasasula 215,000/- ez’okwewandiisa mu Promotional Exams 2016 naye na kati Kyambogo ekyabanja.”

Willy Kasaale, asoma obusomesa agamba: Fiizi zirinnya awatali kwebuuza ku bazadde. Mu 2015, twasasula 450,000/- , kati ziri 810,000/-.”

Merita Namwase agamba: Baatimba abaayita ebigezo kyokka nga tekuli bivudde mu bigezo, bwe babuuza Kyambogo ebaddamu nti ebanja ssente kyokka ffe twasasula.

Paul Jacob Dada, ali ku dipulooma y’obusomesa agamba: Tusomera mu kibiina kimu n’abalimisa n’abajjanjaba ente, kale ebyo bikwatagana bitya?”

Abasomesa bangi baayuuya naye waliwo Polof. Kibikyo b’attira ku liiso n’abasasula kkaasi mu nkiso.

Nali sikyasobola ku gumiikiriza ku mpisa ng’ataasoma Moses Gulere, eyasomesaako ku ttabi ly’e Kamuli agamba: Yunivasite yali etabuse nga tukola ng’abataasoma.

Embeera teyali nnungi ne tumala ebbanga nga tubanja kwe kufuna gye nzirukira abasobola okussa ekitiibwa mu bye nkola”.

Kigambibwa nti Polof. Kibikyo ettendekero yalifuula lya famire, nga muwala we, Lucy Nakisuuyi ye mubalirizi w’ebitabo, muganda we Samuel Waiswa y’amyuka omuwandiisi wa yunivasite kyokka teyabayisa mu mitendera.

Omwaka oguwedde, ssentebe w’ekibiina ky’abasomesa ku yunivasite, Thomas Mayende yasaba poliisi ebuulirize ku Kibikyo akulira yunivasite.

Ku Polof. Kibiikyo by’akoze, byogerwa mwe muli okumala gagoba abakozi ekireetedde ebitongole ebimu okutambula nga biwenyera olw’okubiteekamu abantu ab’ekibogwe.

Okugeza, mu 2015, yagoba Frank Nabwiso, eyali omuwandiisi wa yunivasite awatali nsonga nnambulukufu n’amusikiza Dr. Samuel Bagabo bwe baazirunda.

Nabwiso yaddukira mu kkooti n’asinga omusango era obukadde bw’abanja busoba mu 150.

Bamulanga obutawa basomesa abato mukisa okweyongerayo okusoma, atwala mikwano gye ate abakuze mu myaka!

Mu lukiiko lw’okutema empenda okulaba ng’enjuyi eziri mu nkaayana zikkaanya, sipiika Kadaga lwe yatuuza gye buvuddeko, yalemereddwa okubaggatta.

Baasabye akkirize Kibiikyo adde ebbali poliisi emubuulirizeeko n’agaana ne batabuka n’okumulangira ebikankana.

KKANISA ky ’egamba ku nsonga zino

Yunivasite eri ku musingi gw’Ekkanisa ya Uganda naye terina mannyo.

Omulabirizi wa Busoga eyawummula, Dr. Sosan Michael Kyomya atuuzizza enkiiko eziwerako ne zitavaamu kalungi.

Mu ngeri y’emu, egwa olubege n’etewuliriza ludda lw’abasomesa yadde abayizi, nti ogwayo kulyowa myoyo, si byanjigiriza.

POLOF KIBIIKYO AYOGEDDE

We nakwatira enkasi, yunivasite yalina ebbanja lya buwumbi butaano era kye kyatwala ettundutundu lya ssente.

Amabanja nasikira masikire nga ku gano kuliko aga Pay As You Earn (PAYE) n’aga National Social Security Fund (NSSF).

Amabanja gano simanyi lwe gaggwa kuba n’ebizibu byongera kwetuuma.

Banvunaana okuwa muwala wange Lucy Nakisuuyi ekifo naye natunula nga sirabawo atuukana na kifo.

Ate ensonga z’okutwala abakuze okwongera okusoma ezo sijja kuzoogerako kuba ziri tekiniko.

POLOF. LAMECK KIBIiKYO Y’ANI?

Nzaalwa y’e Busoga ng’alina diguli eyookusatu mu byenfuna.

Yakolerako ku yunivasite e Makerere, e Rwanda, bwe yakomawo n’asikira Polof Christopher Bakwesegha ku Busoga yunivasite.

Alina ehhombo ye egamba nti, “Ekibi ekikyo kisinga ekya mwiino ekirungi,” (ekibi ekikyo kisinga ekya munno ekirungi).

AKAKIIKO BYE KAAGALA YUNIVASITE EKOLE

  • Okulonda Cansala anaakola ku nsonga z’abayizi, abasomesa n’enzirukanya y’emirimu.
  • Wabeewo enkola ennungamu okulinnyisa abasomesa amadaala.
  • Baleete abasomesa abatendeke ate basigaze n’ababaddeko abayivu ekimala.
  • Okulonda olukiiko olufuga yunivasite ng’amateeka bwe galagira.
  • Okuwandiisa amatabi ery’e Jinja ne Bugiri era zissibwemu buli kalonda eyeetaagisa.
  • Alipoota ezirambika ensoma y’abayizi n’ensomesa zirina okukolebwa.
  • Pulogulaamu ezitali mu nkola zitegeezebwe akakiiko.
  • Okulaba nti aba diguli basoma emyaka esatu so si myezi mukaaga.
  • Yunivasite erage bw’egenda okuvvuunuka ejjengo ly’amabanja, n’ekiddako ng’egamaze.
  • Bateeke okunoonyereza okukoleddwa abasomesa mu mikutu gy’amawulire.
  • Basseewo obukiiko obw’enjawulo obwa “senate” nga bulina ebbeetu okukola emirimu gyabwo.
  • Balambike engeri y’okufuna “Chater” ey’abalema okufuna mu myaka 20.
  • Balage engeri gye banaakolamu emirimu nga bakkaanya.
  • Bassseewo akatabo akanaagobererwa okukola ku nsonga z’obusosoze mu bakozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda