TOP
  • Home
  • Kalondoozi
  • Poliisi y’e Kawempe etulugunya etya abatuuze ne wabulawo abakuba ku mukono!

Poliisi y’e Kawempe etulugunya etya abatuuze ne wabulawo abakuba ku mukono!

By Musasi wa Bukedde

Added 6th April 2017

Poliisi eriwo kukwasisa mateeka kyokka ate abaserikale abamu e Kawempe babeemulugunyaako okumenya amateeka mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

Namala1 703x422

Namala

ABATUUZE mu bitundu eby’enjawulo mu Kawempe balumirizza poliisi okubatulugunyiza mu kaduukulu ng’ebaggulako emisango egitaliiyo.

Bagamba nti babakuba ne bawulubala n’okubaggyako ssente okubata era kuno kwe baasinzidde okuloopa atwala poliisi y’oku Kaleerwe mu kitongole kya PSU ekikwasisa abapoliisi empisa.

Kalondoozi wa Bukedde alaze entabwe y’obutakkaanya w’eva.

Poliisi eriwo kukwasisa mateeka kyokka ate abaserikale abamu e Kawempe babeemulugunyaako okumenya amateeka mu ngeri gye bakolamu emirimu gyabwe.

E Kawempe, abatuuze bavuddeyo ne balumiriza poliisi ez’enjawulo okuli ey'oku Kaleerwe, Kakungulu, Kapaapaali, Kimwanyi, Kikoni, Kawempe Ku ttaano, Kagugube ne Kanyanya nga bwe zikwata ekisooka okutulugunya ababa bakwatiddwa ku misango egy’enjawulo.

Embeera eno evuddeko abantu abamu okuddukira mu kitongole ekikwasisa abaserikale ba poliisi empisa (PSU) okwekubira enduulu era abamu bakozesa ebiwundu ebiba bibatuusiddwaako abaserikale ng'obujulizi.

 

Waliwo abagamba nti tebakyasobola kutuula, abalala bafuka musaayi olw’okutulugunyizibwa ennyo.

Bo abatuuze abatwalibwa poliisi y'oku Kaleerwe okuli ebyalo Lufula, Ssebina, Kibe, Good Hope, Mayinja, Kiggundu, Dobbi , Min Triangle baalumirizza Isaac Ongom akulira poliisi y'oku Kaleerwe nti yeenyigira mu kukuba abantu n'okubayungako emisango.

Baagasseko nti Ongom takoma kukuba bantu wabula n'okubuza ebizibiti, abamu ku bakulembeze ba Lufula baagambye nti waliwo ente ezizze zikwatibwa nga ziteeberezebwa okuba enzibe kyokka olutegeeza ku poliisi, Ongom azibuzaawo ate naye ne yeekweka okumala wiiki nnamba okutuusa ng’embeera ekkakkanye n’akomawo.

Munisipaali y’e Kawempe  erimu  poliisi enkulu bbiri  ezitwala endala  okuli Kawempe  esangibwa okumpi n’eddwaaliro lya KCCA ekulirwa DPC  Ronald Wotwali   n’ey’e Wandegeya eri okumpi n'ebitaala ng'ekulirwa DPC  Joseph Nsabimana.

Wandegeya etwala poliisi   okuli Kimwanyi, Kagugube, Makerere , Mulago ku ddwaaliro, Mulago Kapaapaali, Kaleerwe  n’endala. Ey’e Kawempe etwala poliisi okuli ey’e Makerere-Kikoni, Nabweru, Maganjo, Kawempe ku kataka,Ttula , Bwaise, Kakungulu, Kanyanya ,Ssekannyonyi, Nammere, Kanyanya mu kitala n’endala nga zino zifugibwa ba OC .

Poliisi endala gye bagamba nti  abaserikale bakuba abantu ya Kakungulu   mu Kirokole nga wiiki ewedde  waliwo Kansala eyagyogerako mu kkanso y’e Kawempe nga bw’esuszizza okuggyako abantu ssente nga banonyeeyo abasibe  nga bw’oba tolina mitwalo 10 tosobola kuggyayo musibe akwatiddwa obwakireereese.

John Mulindwa, omutuuze w’e Kawempe ku ttaano yategeezezza nti abaserikale ba poliisi baava ddala ku mulamwa gw'okukuuma abantu n'ebintu byabwe nga kati abamu  beenyigira mu bumenyi bw'amateeka.

Yagambye nti poliisi y'oku Kaleerwe, Kakungulu, Kanyanya, Mulago, Kapaapaali, Kimwanyi, Wandegeya ,Kikoni tebasobola kukukolera ku musango nga tolina ssente

"Nze kati ntunula butunuzi kuba aba Buli yatulugunyiziddwa ajje tumuyambe-DPC Nsabimana Poliisi bakoze kya maanyi okuvumaganya Gavumenti.

Okwata otya omuntu n'omutuusa ku poliisi n'omukuba kwagala kumutta kyokka nga tannasalirwa  musango?

Owatulafiki agoba atya ddereeva nga bwe baakoze wiiki ewedde n’agwa mu mazzi n’afa!", Mulindwa bwe yabuuzizza.

Yayongeddeko nti  poliisi zino zirina n'ebitabo eby'ekimpatiira, ebikozesebwa okutiisatiisa abantu era olumukwata nga bakimanyi talina musango bafuna ekisango kye bamusibako olwo omusango ne baguyingiza mu kitabo ekitali kituufu okumulaga nti byaddala

BANKUBYE WAYA KU KABINA

Judith Namala 29, omutuuze w’e Mulago agamba baamukubye emiggo ne waya ku kabina:

Nabadde nva ku mulimu gw’okutunda wooteeri ku Mawanda Rd ne baze ku ssaawa 6:00 ez'ekiro wiiki bbiri eziyise naye tuba tunaatera okutuuka awaka we tusula twasanze abaserikale ng'abamu bali mu ngoye eza bulijjo.

Baatubuuzizza ebitwogerako ne tubibalaga oluvannyuma baatugambye nti tugende tubimalire ku poliisi

Olwatuuse baatulagidde  tuggyemu engatto batuyingize mu kaduukulu, bwe  twababuuzizza  kye  tukoze nga tebatuddamu , omu ku baserikale yatulagidde tugalamire wansi n’aggyayo waya n’atandika okutukuba nga bw’atugamba nti lwaki tuwalira okutuyingiza akaduukulu?

Twasuze ku kawunta ne batugamba nti tulinde OC.

OC Isaac Ngomu olwatuuse omuserikale n’amugamba nti twakoze effujjo  era ne batandikirawo okutukuba ne baze era okumuggyawo nga baze amaaso gazimbye ne bamuyingizza mu kkomera ne bahhamba nti ngende eka.

Bwe nakomyewo emisana okunona baze bansabye emitwalo 10. Olw’okuba baze yabadde akubiddwa nnyo, OC yakutte emitwalo esatu n’agituwa agende yejjanjabise!’

Brian  Ngodhe, omutuuze  w'omu Kiggundu zooni mu muluka gwa Makerere III ng'atunda ddagala lya mannyo y'omu ku baakwatibwa poliisi y'oku Kaleerwe n’akubwa  era annyonnyola bwati: Era ono yatutte omusango ku PSU ng’aloopa abaserikale b’e Kawempe okutulugunya ekyalo.

Ku Lwokubiri ekiro nabadde nva mu kibuga ne mukwano gwange Fred  Bisirikirwa nga tudda waka, bwe twatuuse ku nkulungo y'oku Bbiri ku ssaawa 3:00 ez'ekiro waliwo mmotoka ey'ekika kya Double Cabin eyatukubyemu amataala abavubuka abalala abaatubadde mu maaso ne badduka naffe kwe kudduka .

Abaserikale baatugobye ne batukwatira ku bbaala ya DB9 ku luguudo lw’e Gayaza ne batandika okutukuba n’okutusamba. Obwedda batugamba  nti tuli babbi, oluvannyuma baatutaddeko empingu wakati mu kutukuba nga bakozesa bbatuuni.

Baatututte ku poliisi  y'oku Kaleerwe kyokka ate nayo baagenze mu maaso n’okutukuba.

Baatuyimbudde ku makya oluvannyuma lw’akulira ebyokwerinda mu muluka gwa Makerere III, Paul Kibuuka okulemerako nti tetuli bamenyi b’amateeka.

Kibuuka yagambye nti amaze ebbanga ng’abantu bamuwa lipooti z’abaserikale okubatulugunya ne yeebuuza oba abapoliisi bano balina ekigendererwa ky’okukyayisa Gavumenti n’okuvumaganya ekitongole kya Poliisi.

 

DPC w’e WANDEGEYA

Joseph Nsabimana, aduumira poliisi eziri mu divizoni  y’e Wandegeya yategeezezza nti ensonga ya poliisi okutulugunya abantu mu kitundu ky’atwala abadde takimanyiiko nga wano we yasabidde omuntu yenna eyatulugunyiziddwa okugenda mu ofiisi ye bagonjoole ensonga Isaac Ongom, atwala poliisi y'oku Kaleerwe gwe balumiriza nti atulugunya abantu yategeezezza nti gano awulidde mawulire mapya, abadde takimanyiiko nti poliisi ye ey'oku Kaleerwe etulugunya abantu.

Yagasseeko  nti abantu abagamba nti abakuba tabamanyi era talina muntu gw’aggyako ssente

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...