AMAKA agawera 10 e Lweza ku lw’e Ntebe galindiridde okusengulwa omugagga w’omu Kampala, Drake Lubega mu ngeri y’okunyigiriza.
Kalondoozi wa Bukedde alaze engeri amateeka g’ebyettaka gye gamenyebwa abantu abamu ne watabaawo kibakolebwako.
ETTEEKA lya Uganda ligamba nti abantu abali ku ttaka bwe liba litundibwa nnannyini lyo be basooka okuweebwa omukisa ne beegula.
Wabula ebiseera bingi kino si bwe kikolebwa, nnannyini ttaka olw’okulowooza nti abeebibanja tajja kubafunamu ssente ze yeetaaga, abayita ebbali n’alifunira omugagga aligula, olwo landiroodi omuggya n’akozesa obukambwe bwonna bw’asobola okusengula abeebibanja, oluusi ng’abadondodde ng’abawaamu ssente ezitasobola yadde okuzimba ekisenge ekimu!

Kino bwe kiri ne mu mugagga w’omu Kampala, Drake Lubega asengudde famire 10 mu Lweza A mu munisipaali ya Makindye- Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abatuuze bali ku ttaka liwezaako disimoolo 85 kyokka abamu abawadde obukadde bubiri, abalala obukadde mwenda ng’agula ebibanja byabwe wamu n’amaka, sso nga we yagula mu bukyamu kubanga abeebibanja tewali yabawa mukisa kwegula, wali mu kibuga.
Abatuuze bagamba nti baagezaako okwegula ku nnannyini ttaka, Eric Zimula wabula n’abalemesa oluvannyuma lw’okukolagana ne Drake Lubega n’alimuguza.
Abatuuze bagamba nti Drake Lubega ne kayungirizi we Mwebaza Kayumba bazze babatiisatiisa ng’ettaka bwe liri erya Pulezidenti Museveni, nti era bwe batakkiriza ssente zonna ze banaaba babawadde, bajja kuviiramu awo!
BADRU KATAMBA
Poloti yange nagigula nga November 14, 2015 eriko obuwanvu bwa ffuuti 45 ku ffuuti 36 ku ffuuti 20, nagigula obukadde butaano.
Ng’omuvubuka nnali njagala kuwona bupangisa era ssente ezaagulawo nazifuna mu bugubi nga nzisonda okuziweza.
Ku ntandikwa y’omwaka guno, twatandika okuwulira olugambo nti nnannyini ttaka ayagala kutundawo.
Twamutuukirira n’atugaana okwegula kwa ssekinnoomu ng’ayagala ettaka alitundire wamu. Yatugamba nti twesonde awamu tuweze obukadde 150 ffenna abatuuze atuwe ekyapa buli omu yeesaleko.
Twatandika okusala amagezi okulaba nga tusonda ssente era twali tugenda okumuwa ssente ate n’aguza omugagga Drake Lubega era ono yamulabula nti tatwalagala ku ttaka lye.
Yatugamba nti tukkirize ssente zonna z’anaatuwa wabula ekyasinga okututabula kwe kulaba ng’atuwa ssente za kujereegerera.
Mu poloti yange gye nagula emyaka ebiri egiyise ku bukadde butaano, ayagala kumpa obukadde bubiri.
Nagezaako okumugamba nga bwe kitasoboka wabula yahhamba nti ettaka ennaku zino lyagwa ebbeeyi!
Ekizibu kino tekyatuuka ku nze nzekka wabula ne batuuze bannange ssente z’abawa ntono nnyo. Twasalawo okwogera naye nga twagala waakiri twegule n’atugamba nti buli poloti ayagala okwegula asasule obukadde 150 kyokka ye twawulira nti ettaka lyonna yaligula obukadde 190 ng’akimanyi bulungi nti kuliko abeebibanja.

Drake yatandika okuyiwa ettaka n’okusenda nga poloti ezimu bwe twagezaako okumugamba nga bwe tujja okwekubira enduulu n’atugamba nti tewali we tuyinza kwekubira nduulu ne tuyambibwa kubanga ettaka ly’agula lya Museveni!
Kino kyatiisa abamu ne bakkiriza ssente entono kubanga ebya Uganda ennaku zino bimanyiddwa, bakusengula n’akatono ke wandifunye n’otokafuna.
Sarah Nalubega eyabadde ku ffuuti 50 x40 ne 32 yamuwadde obukadde 9 mu ngeri y’okunyigiriza era n’akkiriza.
Bwe yayiwa ettaka mu poloti yange nagenda ku poliisi y’e Kajjansi ne nzigulawo omusango gw’okusaalimbira mu poloti yange ku fayiro nnamba SD/11/7/2017 wabula poliisi bajja ku poloti yange wabula bwe baayogera n’omugagga Drake, fayiro yakoma awo teyaddamu kutambula.
Nakanda kwewuuba ku poliisi nga buli omu anneesamba. Nabadde ndi awo Drake Lubega n’ajja n’akulira poliisi y’e Kajjansi, Hassan Musooba ne bankwata ne bantwala ku poliisi.
Drake yansabye endagaano ne mmulaga enjokyemu n’agigaana. Bwe nagenze okuleeta eteri njokyemu, nasanze ku poliisi taliiwo, nagenze okutuuka ku poloti yange ng’amaze okusenda ennyumba yange gye nnabadde nzimba!’
SAM LUBEGA
Nze nninawo amayumba ga mirundi ebiri, awamu waliwo amayumba g’amaduuka gali ku poloti eri ku ffuuti 50x100 ate amalala gali ku poloti ewezaako ffuuti 65x100 era wano we nkulidde kubanga ekibanja kino kyali kya bazadde bange.
Baganda bange nabo balinako ebibanja era abamu be baguzaako abalala.
Amayumba ge nninako gali ku luguudo era bagapangisa ssente eziwera wabula kyanneewuunyisa okulaba nga omuntu ava eri atandika okutusindiikiriza nga tulinga abaafuna ebibanja bino mu bukyamu.
Ekisinga okwewuunyisa Drake olunaku lwe yagula ettaka lino naffe lwe lunaku lwe twali tugenda okwegula kubanga twali tukkaanyizza ne nnannyini ttaka okumuwa obukadde 150 olwo ffe tunoonye engeri gye twewaamu ebyapa okusinziira ku buli bunene bwa poloti buli omu bw’alina.
Drake bwe yagula yatutegeeza nti asinga kwagala abali oludda lw’emanga era abamu yabasasula. Ekisinga okunnuma nze amayumba gange ku poloti zombi ngabaliriramu obukadde obusoba mu 300 kyokka ye ayagala kumpa obukadde 150.
DERRICK LULE
Nnannyini ttaka bwe yagaana okwegula kwa ssekinnoomu, twasalawo tutuule ng’abatuuze tumuwe ssente ez’awamu nga bwe yali ayagala. Ssente ze twakkaanyaako bwe zaawera, tuba tugenda okuzimuwa waliwo eyatemya ku mugagga eyapaaza ebbeeyi, n’awa Zimula ssente ezisinga ku zaffe ze twali tukkaanyizzaako.
Bwe baayiwa ettaka mu poloti ya Katumba n’agenda ku poliisi y’e Kajjansi, kayungirizi wa Drake ayitibwa Kayumba yatwatulira nti tutawaanira bwereere okugenda ku poliisi kubanga DPC w’e Kajjansi baali bamulabyemu mu ngeri ey’enjawulo era twali tetujja kuyambibwa.

MWEBAZA KAYUMBA
Ono ye kayungirizi w’omugagga Drake Lubega. Bwe namubuuzizza ku nsonga zino ez’okugamba nti ettaka lino lya Pulezidenti Museveni n’okuba nga yagamba ng’aba poliisi bwe baabawa ssente, Mwebaze yabyegaanye n’agamba nti okwo kwonoona linnya lya mukama we kubanga ettaka lino Drake yaligula era n’asasula abantu abamu ne bagenda abalala tannaba kubasasula era ajja kubasasula essaawa yonna.
KU POLIISI E KAJJANSI
Atwala poliisi eno, Hassan Musooba bwe namubuzizza ku nsonga z’ettaka lino yajulizza mukama we, omuduumizi wa poliisi eno (DPC), Hillary Mukiiza.
Ono bwe namubuuzizza yagambye bwati; Ensonga ezo sizimanyiiko era tezijjanga ku poliisi yaffe mpozzi nga baatuula eyo ne bazimalira eyo.
Oyo bbulooka agamba nti bampa ssente tammanyi na bwe nfaanana wabula bakozesa amannya g’abantu okufuna bye baagala.
Bw’aba nga Drake asenda poloti z’abantu nga tebamaze kukkaanya, oyo yeetaaga kukwata bukwasi kubanga ky’akola kimenya mateeka.

GEORGE SSEKANDI
Ono ye ssentebe w’ekyalo era yagambye: Ffe aba LC obuyinza bwaffe bukoma mu bibanja, bwe butuuka mu ttaka ebyo bibeera bya kkooti. Waliwo omukyala omu eyajja nga yeemulugunya ne mmusindika ku poliisi.
Obuzibu obuliwo abantu abatunda tebakyajja mu ofiisi zaffe wabula babikolera mu balooya. Nnaakafuna okwemulugunya kwa muntu omu yekka.
DRAKE LUBEGA
Bwe nabuuzizza omugagga Drake Lubega, yantegeezezza nti ye e Lweza takimanyiiko nti alinayo ettaka noolwekyo tamanyi kyakukolera bantu abo.
Wabula okusinziira ku ndagaano gye nalabyeko ng’agula poloti ya Sarah Nalubega eyakolebwa nga July 21, 2017, kyankakasizza nti ddala Drake ye yagula ettaka lino. Endagaano eno eri wakati wa Sarah Nalubega ne Drake Lubega akasanduuko 2839 Kampala era yamusasula obukadde 9.
Endagaano eno yakolebwa mu ofiisi ya bannamateeka ba M/S Kirumira &Co. Advocates abasangibwa ku Jesco Plaza plot 10 Wilson Road.
Looya Adam Kirumira yasoose kugamba nti ensonga ezo talina ky’azimanyiiko mbuuze Drake Lubega kennyini wabula bwe namutegeezezza nga bwe nnina endagaano nga zikoleddwa kkampuni ye eya M/S Kirumira& Co. Advocates yagambye bw’ati; Endagaano ze nakola ku bantu abaamuguza ebibanja, bannannyini bibanja bennyini bajja mu offisi yange ne bazikola.
Baali baamala dda okutegeeragana era nze ssaaliyo nga bategeeragana wabula nakola kya kukola ndagaano ne babawa ssente. Abo abagamba nti babanyigiriza sibimanyi kubanga abajja wano bajja beeyagalidde era beereeta bokka.
Sirina kirala kye mmanyi kikwata ku bantu abali ku bibanja ebyo era ebikolebwayo sibimanyi.
ERIC ZIMULA
Ono ye nnannyini ttaka eyatunze ab’e Lweza. Bwe namubuuzizza ensonga eyavuddeko okutunda abatuuze yantegezezza bwati;
Abatuuze nabawa omukisa beegule naye ne balemererwa. Namala ebbanga ddene nga mbagamba naye nga tebafaayo.
Kituufu nagaana okwegula kwa ssekinnoomu kubanga abasenze baali boonoonye ettaka lyange nga batunda bupoloti obutono obutakkirizibwa kufunako kyapa mu mateeka.
Ekirala abasenze bwe baali batunda ebibanja, tebaasookanga kuntegeeza nze nga nnannyini ttaka ekintu ekimenya amateeka ne nsalawo okuguza musenze munnaabwe Drake Lubega kubanga naye yalinako ekibanja.
Munnamateeka Antony Wameli owa Wameli & Co Advocates agamba nti okusinziira ku mateeka, oweekibanja bw’aba talina ssente za kwegula, asobola okutegeeragana ne nnannyini ttaka n’amusalako akatundu n’amuwa ekyapa oba okusigala ng’asolooza busuulu oba okukkiriziganya n’amuwa ssente z’ekibanja n’amuviira.
Wabula ssinga oweekibanja takkiriziganya na ssente nnannyini ttaka z’amuwa mu kibanja, buli omu asigala w’ali.