Mary Bwogi, kakuyege wa NRM yafiirwa mutabani we omukulu omwezi oguwedde. Wabula tannamuziika kuba ali mu kkooti ne muwala we Nakimera bwe bakaayanira omulambo.
Kalondoozi wa Bukedde alaze katemba ali mu kkooti.
OMULAMBO gwa Tucker Kalibbala Bisiba Bwogi (51) gumaze ku nsi kumpi mwezi mulamba nga nnyina ne mwannyina w’omugenzi bagulwanira!
Buli omu ayagala y’aba agutambuza agukomyewo mu Uganda okuguziika! Bwogi mutabani wa Mary Bwogi n’omugenzi Hannington James Bwogi eyaliko dayirekita wa UTV kati eyitibwa UBC.
Yattibwa ku mulembe gwa Idi Amin mu October wa 1972 era n’omulambo gwe tegulabikanga. Ye mutabani we Kalibbala Bwogi yafiiridde e Bungereza nga August 25 , 2017.

Nnamwandu Bwogi agamba nti bba yamulekera abaana bana, ng’omukulu Harriet Wanyana yalina emyaka 9.
Kalibbala Bwogi yalina 7, Everlyn Nakimera yali w’esatu ate asembaayo obuto Paul Balintuma Bwogi nga wa myezi ena .
“Wabula ssezaala wange Dr. Ernest Kalibbala Balintuma yali akyaliwo era yankwatirako kuba nali nkyali muwala muto. Ono yafa mu December wa 1980,” bw’ajjukira.
Muwala we Nakimera kati ye muk’omubakaa Amos Lugoloobi (Ntenjeru North) era ssentebe w’akakiiko akakola ku bajeti mu Palamenti E Bungereza, nnamwandu wa Kalibbala, ayitibwa Jennifer Bwogi essuubi alirina mu bafamire, basonde ssente ezikomyawo omwagalwa we ku butaka bamuziike, naye n’eno e Uganda si birungi!
Wabaluseewo okusika omuguwa, maama w’omugenzi Muky. Bwogi ne muwala we Nakimera (49) buli omu agamba nti y’alina obuvunaanyizibwa okukola ku kuziika Kalibbala.
Mary Bwogi Eby’okukomyawo omwana wange birabika bikalubye naye ate sisobola kukkiriza mulambo gwe kugwokya bampeereze vvu.
Waliwo amakubo ge nsobola okufunamu ssente ezikomyawo omulambo naye muwala wange ne kkooti z’omu Uganda bannemesezza.
Omukisa nasoose kuguwa muwala wange Nakimera, eyagamba nti alina obusobozi obukomyawo mwannyina, kyokka buli kiseera ayongezaayo.
Nze kwe kwekubira enduulu mu Kkooti e Mpigi, ew’omulamuzi Wilson Musene Masalu nga mmusaba okumpa olukusa ku ssente obukadde 68, ab’ekitongole ky’ebyenguudo (UNRA) ze balina okutuliyirira mu ttaka lyaffe kwe bagenda okuyisa oluguudo e Kayenje okumpi ne Gombe, bampeeko omugabo gwange nzize omulambo naye birabika bikalubye.
Ekinnuma abaana bonna bakkirizza mpeebwe omugabo gwange, kyokka Nakimera afuuse ekyambika! Biba bigenda okuyitamu, Nakimera n’ampa-waabira nti nnemedde ebyobugagga bya kitaabwe!
Yannumirizza n’eyali kaminsona mu by’ettaka, Sarah Kulata nti twakozesa olukujjukujju ne tujingirira omukono gwe (Nakimera) ne tukyusa ebyapa ne bidda mu mannya gange Mary Bwogi!”
Ekitongole kya UNRA kyasalawo ssente okuzikwasa kkooti kubanga Nakimera awakanya nnyina nti talina kugabana ku byabugagga bya byalekebwawo kitaawe ne jjajjaawe Balintuma.

MU KKOOTI
Ku Lwokubiri lwa wiiki ewedde nga September 12, Muky. Bwogi ne famire ye baabadde mu kkoti.
Muky. Bwogi yategeezezza Omulamuzi Musene nga bw’alina obuzibu bw’okukomyawo omulambo gw’omwana we.
Kyokka omulamuzi yagambye nti alina kusooka kukakasa oba bonna aba famire abaabaddewo balina okufuna ku ssente z’oluguudo.
Nakimera yawanise mangu omukono n’ategeeza Kkooti nga bwe watali kikyabanja kubanga eby’okukola ku ntambuza z’omulambo yabadde amaze okubikolako.
“Ttikiti n’ebiwandiiko byonna ebituusa kuno omulambo nabimalirizza era ssebo omulamuzi, tewali kikyabanja. Maama talina kukwata ku ssente zino kubanga ziriko obukwakkulizo, bw’aba ayagala agende yeewole,” Nakimera bwe yagambye.
Kyokka Muky. Bwogi yaleese akatambi ke yabadde akutte eggulolimu, omulamujzi n’akawuliriza nga muganda wa Nakimera ayitibwa Olive ayogera ku mbeera n’engeri gye babonaabonamu n’omulambo e Bungereza awatali ntambula .
Mu katambi, Olive yalaze nti Nakimera yabadde amaze okukola ku ntambula ya bamulekwa ba Kalibbala, wabula obuzibu buli mu kutambuza mulambo kuba emikolo gyakutwala ssente nnyingi.
Akatambi kaalaze nti omulambo bwe guggyibwa mu firiigi, gulina okusabirwa, kyokka Faaza agenda okusoma emmisa asasuza buli ssaawa.
Baasazeewo Faaza asome mmisa okumala eddakiika 45. Akatambi kalaga nti Nakimera talina kye yaakozeewo, beeetaaga obukadde 12 okukola ku nsonga zonna. Ku zino obukadde mwenda zaakutambuza mulambo ku nnyonyi.
Omu ku baami eyalaze nti mukwano gw’omugenzi eyabadde mu katambi yategeezezza ng’ebintu by’okufiirwa e Bulaya bwe bitali byangu kubanga buli kimu kyakusasulira.
Yategeezeza nti mukwano gwabwe yafudde kyokka balina obuzibu kubanga balina okukola, tebasobola kuva ku mulimu ne badda mu by’okungubaga.
Muky. Bwogi yagambye nti bwe binaagaana, ensonga ajja kuzitwala wa Pulezidenti Museveni ne Sipiika wa Palamenti awawaabire mukoddomi we, omubaka Amos Lugoloobi nti y’ayingiridde ensonga z’amaka ge n’okuwaga mukazi we Nakimera ssaako n’okumuvuma n’amuweebuula.
OMULAMUZI musene
Bwe yamaze okuwuliriza, omulamuzi yasabye Nakimera alage ddi lw’ayinza okutuukiriza ekisuubizo ky’okuzza omulambo gwa mwannyina.
Nakimera yasabye aweebwe ennaku 10 okuzza omulambo eziggwaako enkya Lwokutaano. Yagambye nti nnyina alina abanene mu Gavumenti abajja okumukubagiza kale ng’alina okubategekera.
Ekyewuunyisa maama ne muwala we buli omu akumye olumbe lulwe! Nakimera olumbe lwa mwannyina alukumye Makindye mu maka ge, ate maama olumbe alukumye Nakulabye mu maka g’omufu Kalibbala mu Ssenkatuuka zooni!
Evelyn Nakimera bwe bakaayana ne nnyina.
NAKIMERA
Nze ndi mwetegefu okukola ku byentambuza y’omulambo.
Era olumbe lwa mwannyinaze nja kulukola ndumalirize bulungi. Maama alina emisango gy’okujingirira omukono gwange n’atwala ebyobugagga byaffe. Ssente za UNRA zirina kugenda butereevu ku akawunti y’omuntu ekyapa ky’ettaka mwe kiri, kale tebazikwatako tumale okuwoza.
Maama agende yewole ssente bwaba ayagala okukola olumbe alifuna ssente n’azizzaawo .
Maama tanjagala kubeera mu lumbe lwa mwannyinaze era yankubiddeyo.
Bantaddeko ne poliisi enkwate ssinga nininnyayo.” Kyokka omulamuzi Musene yagambye nti maama ne muwala we Nakimera bakwatibwako ku muntu eyafudde.
Yawadde Nakimera obudde akole ku nsonga z’okukomyawo omulambo baleme kusaba kkooti kuwa Muky. Bwogi mugabo ku ssente z’oluguudo! Wabula Muky. Bwogi kino kyamuggye mu mbeera n’alangira omulamuzi okwekubiira. Omulamuzi oluvannyuma yakkirizza Muky. Bwogi aweebweyo obukadde buna ku munaana ze yabadde asabye atambuze olumbe n’okutegekera abantu be engeri Nakimera gye yabadde yeeyamye okutambuza omulambo gwa mwannyina.
Wabula kino Nakimera yakiwakanyizza n’akalambira nti ssente z’oluguudo tezikwatibwako.
Looya wa Nakimera, Nicholas Walyema Mwasane oluvannyuma yamatizza omulamuzi bawe Muky. Bwogi obukadde buna okuva mu nsawo ya Nakimera era ekyakoleddwa.
Oluvannyuma bakkaanyizza Nakimera akole ku by’okuziika, anoonye 9,000,000/- ez’okutambuza omulambo, okuba n’ebbeetu okwetaayiza mu kuziika mwannyina n’okumenyawo ekya poliisi okumukwata.
Kyokka Muky. Bwogi oluvannyuma yagambye nti yassizza omukono ku biwandiiko by’ataategedde!
BYATANDIKA BITYA?
Muky. Bwogi yafumbiriganwa ne bba Hannington James Bwogi mu 1963 ne bazaala abaana bana. Baabeeranga Mbuya okutuusa Bwogi lwe yabuzibwawo.

Muky. Bwogi agamba:
Abaana bange nabakuza bulungi era nabasomesa. Okuggyako Nakimera antawaanyizza, yadduka mu ssomero e Katikamu n’alekayo fiizi n’agenda n’omujaasi eyamuwasa n’amuzaalamu, naye bibadde bitambula bulungi. Bwe baakula, abaana nabalaga ebyobugagga byabwe.
Nakimera ne Balintuma nasalawo okubawa obukulu okuddukanya ebyobugagga bya jjajjaabwe Kalibbala. Tucker ye yasikira kitaawe, saamanya nti kye nakola mu bulungi kigenda okunfuukira ekizibu.
Ebyobugagga ebyange Ssezaala yabinkwasa ne baze tannafa era n’atukwasa ebyapa by’ettaka musanvu okuli ery’e Ntebe yiika196, Kayenje –Mpigi lya Mayiro emu, Luweero Mayiro emu, Mityana Mayiro emu, Mutundwe yiika emu n’e Nakulabye yiika emu. Era abaana nzize mbagabira. Naye Nakimera andeebuukanyizza mu kko
oti, tulina emisango kumpi buli kkooti . Nsaasaanyizza ssente mu bintu ebitaliimu ezandibadde zikola ebirala. Abalamuzi bangi bakoze ku misango gyaffe bagikooye.
Nakimera alina ssente kubanga abadde atunda ettaka nga bw’ayagala kyokka tayagala banne batunde.
Tayagala baana ba baganda be abaafa bagabane kyokka nga kibakakatako mu mateela okufuna. Nakimera yansibisaako n’e Luzira lwa byabugagga bino. Antambuzza mu Kkooti ez’enjawulo omuli emisango 13 ng’agamba nabba ettaka lyabwe.
Ebyapa byange byonna agenda abiteekako envumbo, sikyalina bwekyusizo. Kati ensonga azitaddemu ne bba Lugoloobi, obwedda y’awa ebiragiro Kkooti ereme kumpa ssente. Yanvumye nga bwe saasoma era nve ku bintu by’abaana bye neesibako.
Lugoloobi ye yasooka okweteekawo ng’alaga bw’agenda okukola ku nsonga z’okuleeta omulambo gw’omwana wange. Bwe yagenda e Bungereza, yategeeza nnamwandu wa Kalibbala nti ssente z’okutambuza omulambo, obukadde omwenda waakuzibawola! Omusango ogusembyeyo nga mpawaabira Nakimera fayiro GF 777/2017.
Guli Kibuli, naddukira mu ofiisi y’ebyettaka oluvannyuma eyannyunga ku ofiisi ekola ku kunoonyereza ku misangeyanyunga ku offisi ekola ku kunoonyereza ku misango. Era bampadde omuserikale ankuume sikulwa omwana ankola ekintu!” Cissy Mudhasi, omumyuka w’omuwaabi wa kkooti e Mpigi yasabye aba famire eno bawabule maama ne muwala we.
Yabanjulidde ssente ezikaayanirwa n’agamba nti agenda kuzikuuma okutuusa nga batuuse ku kukkaanya.

OMUBAKA LUGOLOOBI
Bwe namubuuzizza lwaki atulugunya omukadde yagambye: Maama abadde tayagala mutabani we Tucker nga mulamu, kati afudde ayagala mulambo? Tayagala muntu yenna ayingira mu nsonga z’okulwanirira Nakimera.
Ettaka maama ly’alwanira lya baana, ebyobugagga bino tebimukwattako wabula bya baana be .
Nze neddira Nvuma, siri wa Nseenene naye nvaayo kulwanirira ddembe lya baana. Kati mutabani we yafudde naye yasimbye dda amakanda nti ennyumba eno agenda kugyezza kubanga Tucker yagenda okugifuna yagisikira nga yali ya bba Bwogi!
Ekirungi maama aliko ekiwandiiko bakuntumye, ssaawa yonna agenda kukwattibwa atwalibwe mu kkooti ya Buganda Road, awoze emisango gy’ettaka. Maama yalina amaka ge yafuna era ettaka ly’e Nakulabye n’aligabanya abaana basatu okuli Nakimera , Balintuma ne Tucker .
Kati Tucker abadde akolagana ne Nakimera era gw’abadde yakwasa obuvunaanyizibwa ku byobugagga bwe mu Uganda. Kati maama ayagala kugyezza nga Nakimera abadde agiyonja bulungi!
Oyo maama yandibadde talwanira bya Nseenene kubanga yafumbirwa awalala. Tucker bw’abadde ajja mu ggwanga abadde asula wange era Nakimera abadde amwagala.”
Kyokka Muky. Bwogi agamba nti mutabani we afudde alaajana akomezebwewo mu Uganda, kubanga abasawo baali baamuwa emyezi ebiri okufa, naye Nakimera y’amubuzaabuzizza okutuusa lw’afudde!
Bw’oba olina ky’omanyi ku nsonga zino, oba ekirala kyonna ky’oyagala tunoonyerezeeko weereza obubaka ku 0752628931.